Zabbuli 35:1-28
Zabbuli ya Dawudi.
35 Ai Yakuwa, mpolereza nga mpoza n’abalabe bange;+Lwanyisa abo abannwanyisa.+
2 Kwata engabo yo entono* n’ennene,+Ojje onnyambe.+
3 Abo abankijjanya+ bagalulire effumu lyo n’embazzi yo.*
Ŋŋamba nti: “Nze bulokozi bwo.”+
4 Abo abaagala okusaanyaawo obulamu bwange ka baswale era bafeebezebwe.+
Abo abasala enkwe okunzikiriza ka baddeyo emabega nga baswadde.
5 Ka babeere ng’ebisusunku ebitwalibwa embuyaga;Malayika wa Yakuwa k’abagobe.+
6 Ekkubo lyabwe ka libeemu enzikiza n’obuseerezi,Nga malayika wa Yakuwa abagoba.
7 Kubanga banteze ekitimba awatali nsonga;Bansimidde ekinnya awatali nsonga.
8 Akabi ka kabatuukeko nga tebamanyi;Ekitimba kye bateze ka kibakwase;Ka bakigwemu bazikirire.+
9 Naye nze nja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’akoze;Nja kujaganya olw’ebikolwa bye eby’obulokozi.
10 Amagumba gange gonna gajja kugamba nti:
“Ai Yakuwa, ani alinga ggwe?
Ateesobola omuwonya abamusinga amaanyi,+Ateesobola n’omunaku obawonya abo ababanyaga.”+
11 Abajulizi ab’ettima bavaayo,+Ne bambuuza ebintu bye sirina kye mmanyiiko.
12 Mu birungi bansasulamu bibi,+Bandeetera okuwulira ng’afiiriddwa.
13 Naye bwe baali abalwadde, nnayambala ebibukutu;Nneerumya ne nsiiba,Era essaala zange bwe zitaddibwangamu,*
14 Nnatambulatambulanga nga nkungubaga ng’akungubagira mukwano gwange oba muganda wange;Nnakutama olw’ennaku ng’omuntu akungubagira nnyina.
15 Naye bwe nneesittala, baasanyuka ne bakuŋŋaana;Baakuŋŋaana wamu banteege bankube;Banjuzaayuza era tebaasirika.
16 Abatatya Katonda banduulira,Bannumira obugigi.+
17 Ai Yakuwa, olituusa wa okutunula obutunuzi?+
Bwe bannumba, ntaasa.+
Obulamu bwange obw’omuwendo* butaase empologoma envubuka.+
18 Kale nnaakwebazanga nga ndi mu kibiina ekinene;+Nnaakutenderezanga nga ndi mu bantu abangi.
19 Abo abankyawa awatali nsonga tobakkiriza kusanyukira nnaku yange;Abo abankyawa awatali nsonga+ tobakkiriza kuntunuuliza bunyoomi.+
20 Kubanga teboogera bigambo bya mirembe;Naye bateesa eby’obulimba ku bantu ab’emirembe abali mu nsi.+
21 Baasamya akamwa kaabwe okunvunaana,Nga bagamba nti: “Otyo! Amaaso gaffe gakirabye.”
22 Ai Yakuwa, okirabye. Tosirika.+
Ai Yakuwa, tombeera wala.+
23 Golokoka; situka ontaase.
Yakuwa Katonda wange, mpolereza mu musango gwe mpoza.
24 Ai Yakuwa Katonda wange, nnamula okusinziira ku butuukirivu bwo,+Tobakkiriza kusanyukira nnaku yange.
25 Ka baleme kugamba nti: “Otyo! Ekyo kye twali twagala.”
Ka baleme kugamba nti: “Tumumize.”+
26 Ka bonna baswale era bakwatibwe ensonyi,Abo abasanyukira obuyinike bwange.
Abo abanneeguluumirizaako ka bambale obuswavu n’okufeebezebwa.
27 Naye abo abasanyuka olw’obutuukirivu bwange ka boogerere waggulu n’essanyu;Buli kiseera ka bagambe nti:
“Yakuwa, oyo asanyuka okulaba ng’omuweereza we ali mu mirembe, agulumizibwe.”+
28 Olwo olulimi lwange lunaayogeranga* ku butuukirivu bwo,+Era lunaakutenderezanga okuzibya obudde.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
^ Oba, “n’embazzi yo ey’emitwe ebiri.”
^ Oba, “bwe zaakomangawo mu kifuba kyange.”
^ Obut., “bwokka bwe nnina.”
^ Oba, “lunaafumiitirizanga.”