Zabbuli 2:1-12

  • Yakuwa n’oyo gwe yafukako amafuta

    • Yakuwa asekerera amawanga (4)

    • Yakuwa ateekawo kabaka (6)

    • Muwe omwana ekitiibwa (12)

2  Lwaki amawanga geegugungaEra abantu ne balowooza ekintu* ekitaliimu?+  2  Bakabaka b’ensi beeteekateeka,N’abakungu bakuŋŋaanye wamu*+Okulwanyisa Yakuwa n’oyo gwe yafukako amafuta.*+  3  Bagamba nti: “Ka tukutule enjegere zaabweEra tusuule eri emiguwa gyabwe!”  4  Oyo atudde mu ggulu aliseka;Yakuwa alibanyoomoola.  5  Mu kiseera ekyo alyogera gye bali nga musunguwavuEra alibatiisa mu busungu bwe obubuubuuka,  6  Ng’agamba nti: “Nze kennyini ntadde kabaka wange+Ku lusozi lwange olutukuvu, Sayuuni.”+  7  Ka nnangirire ekiragiro kya Yakuwa;Yaŋŋamba nti: “Oli mwana wange;+Olwa leero nfuuse kitaawo.+  8  Nsaba, nange ndikuwa amawanga okuba obusika bwoN’ensi yonna okuba eyiyo.+  9  Oligamenyaamenya ng’okozesa ddamula ey’ekyuma,+Oligaasaayasa ng’ekintu eky’ebbumba.”+ 10  Kale kaakano mmwe bakabaka mube bagezi;Mmwe abalamuzi b’ensi mukkirize okuwabulwa.* 11  Muweereze Yakuwa n’okutyaMusanyuke nga bwe mukankana. 12  Muwe omwana ekitiibwa;*+ bwe mutakola mutyo, Katonda ajja kusunguwala*Muzikirire muve mu kkubo,+Kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Balina essanyu abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “ne bafumiitiriza ku kintu.”
^ Oba, “bateesezza.”
^ Oba, “ne Kristo we.”
^ Oba, “mulabuke.”
^ Obut., “Munywegere omwana.”
^ Obut., “bwe mutakola mutyo, ajja kusunguwala.”