Zabbuli 21:1-13

  • Emikisa gya kabaka eyeesiga Yakuwa

    • Kabaka wa kuwangaala (4)

    • Abalabe ba Katonda bajja kuwangulwa (8-12)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 21  Ai Yakuwa, kabaka asanyuka olw’amaanyi go; +Asanyuka nnyo olw’ebikolwa byo eby’obulokozi.+  2  Omuwadde omutima gwe bye gwagala;+Tomummye ky’akusaba. (Seera)  3  Omuwa emikisa n’ebintu ebirungi;Ossa ku mutwe gwe engule eya zzaabu omulungi.*+  4  Yakusaba obulamu n’obumuwa,+Okuwangaala, emirembe n’emirembe.  5  Ebikolwa byo eby’obulokozi bimuleetera ekitiibwa kingi.+ Omuwa obukulu n’ettendo.  6  Omufuula wa mukisa emirembe n’emirembe;+Omuleetera okuba omusanyufu kubanga oli naye.+  7  Kabaka yeesiga Yakuwa;+Talisagaasagana* olw’okwagala okutajjulukuka okw’oyo Asingayo Okuba Waggulu.+  8  Omukono gwo gulikwata abalabe bo bonna;Omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo bonna abatakwagala.  9  Lw’oliboolekeza obwanga olibafuula ng’abasuuliddwa mu kyokero. Yakuwa alibamira mu busungu bwe, era omuliro gulibasaanyaawo.+ 10  Bazzukulu* baabwe olibazikiriza ne baggwaawo ku nsi,N’abaana baabwe olibazikiriza ne baggwaawo mu bantu. 11  Kubanga baayagala okukukola akabi;+Basaze enkwe ezitaatuukirire.+ 12  Olibaleetera okudduka ne baddayo+Bw’olibaleegamu omutego gwo ogw’obusaale.* 13  Ai Yakuwa, situka mu maanyi go. Tuliyimba ennyimba okutendereza amaanyi go.

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “alongooseddwa.”
^ Oba, “Talitagala.”
^ Obut., “Ebibala.”
^ Obut., “obuguwa bw’omutego gw’obusaale.”