Zabbuli 89:1-52

  • Okuyimba ku kwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka

    • Endagaano ne Dawudi (3)

    • Ezzadde lya Dawudi lya kuwangaala emirembe gyonna (4)

    • Eyafukibwako amafuta ayita Katonda ‘Kitaawe’ (26)

    • Endagaano ya Dawudi ejja kunywezebwa (34-37)

    • Omuntu tayinza kusimattuka magombe (48)

Masukiri.* Zabbuli ya Esani+ Omwezera. 89  Nnaayimbanga emirembe n’emirembe ku ngeri Yakuwa gy’alagamu okwagala okutajjulukuka. Akamwa kange kanaamanyisanga obwesigwa bwo eri abantu b’emirembe gyonna.  2  Kubanga ŋŋambye nti: “Okwagala okutajjulukuka kujja kuzimbibwa* emirembe gyonna;+Onywezezza obwesigwa bwo mu ggulu.”  3  Wagamba nti: “Nkoze endagaano n’oyo gwe nnalonda;+Ndayiridde Dawudi omuweereza wange nti:+  4  ‘Nja kunyweza ezzadde+ lyo emirembe n’emirembe,Era nja kunyweza entebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.’”+ (Seera)  5  Eggulu litendereza ebyamagero byo, Ai Yakuwa,Ekibiina ky’abatukuvu kitendereza obwesigwa bwo.  6  Ani mu ggulu ayinza okugeraageranyizibwa ku Yakuwa?+ Ani mu baana ba Katonda+ alinga Yakuwa?  7  Katonda atiibwa mu lukiiko* lw’abatukuvu;+Wa kitiibwa era wa ntiisa eri abo bonna abamwetoolodde.+  8  Ai Yakuwa Katonda ow’eggye,Ani akwenkana amaanyi, Ai Ya?+ Obwesigwa bwo bukwetoolodde.+  9  Ofuga obusungu bw’ennyanja;+Amayengo gaayo bwe gatumbiira ogakkakkanya.+ 10  Ofufuggazza Lakabu+ n’aba ng’omuntu attiddwa.+ Osaasaanyizza abalabe bo n’omukono gwo ogw’amaanyi.+ 11  Eggulu liryo n’ensi yiyo;+Ettaka ne byonna ebiririko+ ggwe wabikola. 12  Ggwe watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;Taboli+ ne Kerumooni+ zitendereza erinnya lyo n’essanyu. 13  Omukono gwo gwa maanyi;+Engalo zo zirina amaanyi;+Omukono gwo ogwa ddyo gugulumiziddwa.+ 14  Obutuukirivu n’obwenkanya gye misingi gy’entebe yo ey’obwakabaka;+Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa biyimirira mu maaso go.+ 15  Balina essanyu abo abamanyi okukuba emizira.+ Ai Yakuwa, batambulira mu kitangaala ky’amaaso go. 16  Basanyuka okuzibya obudde olw’erinnya lyo,Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo. 17  Kubanga ggwe kitiibwa ky’amaanyi gaabwe,+Era amaanyi gaffe gagulumizibwa* olw’okusiima kwo.+ 18  Yakuwa ye nnannyini ngabo yaffe,Omutukuvu wa Isirayiri ye nnannyini kabaka waffe.+ 19  Mu kiseera ekyo, ng’oyitira mu kwolesebwa, wagamba abo abeesigwa gy’oli nti: “Ow’amaanyi mmuwadde amaanyi;+Ngulumizza oyo eyalondebwa mu bantu.+ 20  Nzudde Dawudi omuweereza wange;+Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu.+ 21  Engalo zange zijja kumuwanirira,+Era omukono gwange gujja kumuwa amaanyi. 22  Tewali mulabe anaamuggyako musolo,Era tewali muntu atali mutuukirivu anaamubonyaabonya.+ 23  Nja kubetenta abalabe be mbaggye mu maaso ge,+Era nja kutta abo abatamwagala.+ 24  Obwesigwa bwange n’okwagala kwange okutajjulukuka biri naye,+Era amaanyi ge gajja* kugulumizibwa mu linnya lyange. 25  Nja kuteeka omukono gwe* ku nnyanja,N’omukono gwe ogwa ddyo ku migga.+ 26  Ajja kunkoowoolanga nti: ‘Ggwe Kitange,Katonda wange, Olwazi olw’obulokozi bwange.’+ 27  Nja kumufuula omwana omubereberye,+Asinga bakabaka b’ensi.+ 28  Nja kumulaga okwagala kwange okutajjulukuka emirembe n’emirembe,+N’endagaano gye nnakola naye terigwa butaka.+ 29  Nja kunyweza ezzadde lye emirembe n’emirembe,Era entebe ye ey’obwakabaka nja kugiwangaaza ng’eggulu.+ 30  Abaana be bwe banaalekanga amateeka gangeEra ne batatambula nga bwe mbalagira, 31  Bwe banaamenyanga amateeka gangeEra ne batakwata biragiro byange, 32  Obujeemu bwabwe nja kububonerezanga n’omuggo+Era nja kubonerezanga ensobi zaabwe nga nzikuba emiggo. 33  Naye sirirekayo kumulaga kwagala kwange okutajjulukuka,+Era sirirema kutuukiriza kye nnasuubiza. 34  Sirimenya ndagaano yange,+Wadde okukyusa ekyo emimwa gyange kye gyayogera.+ 35  Mu butukuvu bwange ndayidde lumu ne mmala,Dawudi sirimulimba.+ 36  Ezzadde lye linaabeerawo emirembe n’emirembe;+Entebe ye ey’obwakabaka enaawangaala ng’enjuba mu maaso gange.+ 37  Ejja kunywezebwa emirembe n’emirembe ng’omwezi,Ng’omujulirwa omwesigwa ali ku ggulu.” (Seera) 38  Naye omusudde eri era omwesambye;+Osunguwalidde oyo gwe wafukako amafuta. 39  Olese endagaano gye wakola n’omuweereza wo;Ojolonze engule ye n’ogisuula ku ttaka. 40  Omenye bbugwe we yenna ow’amayinja;Ebigo bye obifudde bifunfugu. 41  Abayitawo bonna bamunyaga;Afuuse kivume eri baliraanwa be.+ 42  Abalabe be obawadde obuwanguzi;*+Abamukyawa bonna obaleetedde okusanyuka. 43  Ozzizza emabega ekitala kye,Tomuganyizza kuwangula lutalo. 44  Ekitiibwa kye okikomezza,Era entebe ye ey’obwakabaka ogisudde wansi. 45  Okendeezezza ennaku z’obuvubuka bwe;Omwambazza obuswavu. (Seera) 46  Ai Yakuwa, onootuusa wa okwekweka? Oneekweka mirembe na mirembe?+ Obusungu bwo buneeyongera okubuubuuka ng’omuliro? 47  Jjukira nti obulamu bwange bumpi!+ Abantu bonna wabatondera bwereere? 48  Waliwo omuntu omulamu ataliraba kufa?+ Asobola okwetaasa amaanyi g’amagombe?* (Seera) 49  Ebikolwa byo eby’edda eby’okwagala okutajjulukuka biruwa, Ai Yakuwa,Bye walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?+ 50  Jjukira, Ai Yakuwa, ebivumo bye bavuma abaweereza bo;Jjukira engeri gye ngumira* ebivumo by’amawanga gonna; 51  Engeri abalabe bo gye boogedde obubi ku oyo gwe wafukako amafuta, Ai Yakuwa;Engeri gye boogedde obubi ku ebyo byonna by’akoze. 52  Yakuwa atenderezebwe emirembe n’emirembe. Amiina era Amiina.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “kubeerawo.”
^ Oba, “mu lukuŋŋaana.”
^ Obut., “Ejjembe lyaffe ligulumizibwa.”
^ Obut., “Era ejjembe lye lijja.”
^ Oba, “obuyinza bwe.”
^ Obut., “Owanise omukono gw’abalabe be ogwa ddyo.”
^ Obut., “engeri gye nsitulira mu kifuba kyange.”