Zabbuli 64:1-10

  • Okuwonyezebwa enkwe ezisalibwa mu kyama

    • “Katonda ajja kubalasa” (7)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 64  Ai Katonda, wulira eddoboozi lyange nga nkwegayirira.+ Kuuma obulamu bwange nneme okutya omulabe.  2  Mponya enkwe ababi ze basala mu kyama,+Mponya ekibinja ky’abakozi b’ebibi.  3  Olulimi lwabwe baluwagala ng’ekitala;Ebigambo byabwe eby’obukambwe babireega ng’obusaale,  4  Okulasa ataliiko musango nga basinziira mu bifo gye beekweka;Bamulasa mangu ddala awatali kutya.  5  Banywerera ku bigendererwa byabwe ebibi;*Bateesa ku ngeri gye bayinza okukweka emitego gyabwe. Bagamba nti: “Ani anaagiraba?”+  6  Banoonyayo engeri endala ez’okukolamu ebibi;Basala enkwe mu kyama,+Ebirowoozo ebiri mu mutima gwa buli omu ku bo tebitegeerekeka.  7  Naye Katonda ajja kubalasa;+Mangu ddala akasaale kajja kubafumita.  8  Olulimi lwabwe lujja kubaleetera okugwa;+Abo bonna abanaakiraba bajja kunyeenya emitwe.  9  Abantu bonna bajja kutya;Bajja kulangirira Katonda by’akoze,Era bajja kutegeera ebikolwa bye.+ 10  Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukoledde era ajja kuddukira gy’ali;+Abo bonna abalina omutima omugolokofu bajja kujaganya.*

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “Buli omu akubiriza munne okukola ebibi.”
^ Oba, “kwenyumiriza.”