Buuka ogende ku bubaka obulimu


OKUYIGA BAYIBULI NGA WALIWO AKUYAMBAKO

Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

Kuno kuba kuyiga Bayibuli ku bwereere nga waliwo gw’okubaganya naye ebirowoozo, era ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino:

  • Nnyinza ntya okufuna essanyu mu bulamu?

  • Ebintu ebibi n’okubonaabona biriggwaawo?

  • Ndiddamu okulaba abantu bange abaafa?

  • Ddala Katonda anfaako?

  • Nnyinza kusaba ntya Katonda okusobola okuwulira essaala zange?

Okuyiga kwa Bwereere

Okuyiga kwa bwereere, era ojja kufuna ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! kya bwereere, ky’onookozesa mu kuyiga era ojja kufuna ne Bayibuli bw’oba ogyagala.

Mu Budde Obukwanguyira

Osobola okufuna omuntu anaayiga naawe nga mulabagana maaso ku maaso, nga muyigira ku ssimu, oba ku Intaneeti.

Towalirizibwa Kuyiga

Osobola okulekera awo okuyiga wonna w’oba oyagalidde.

Okuyiga kuno kubeera kutya?

Ojja kufuna omuntu akuyamba okuyiga Bayibuli nga mwogera ku nsonga emu ku emu. Bwe munaaba muyiga nga mukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, ojja kutegeera ebiri mu Bayibuli n’engeri gye biyinza okukuyambamu. Okusobola okumanya ebisingawo, laba vidiyo eno oba laba ebibuuzo abantu bye batera okubuuza ebikwata ku kuyiga kuno.

Wandyagadde okulaba ebimu ku ebyo by’onooyiga?

Laba amasomo agasooka ag’ekitabo kye mujja okukozesa.

Wandyagadde okutandika okuyiga?

Nyiga ku bigambo bino wansi okole enteekateeka yo ey’okuyiga.