Buuka ogende ku bubaka obulimu

Enkuŋŋaana z’Ekibiina ez’Abajulirwa ba Yakuwa

LABA

Manya ebikwata ku nkuŋŋaana zaffe. Noonya ekifo ekikuli okumpi awabeera enkuŋŋaana zaffe.

Amawulire Agakwata ku Coronavirus (COVID-19): Mu bitundu bingi, tuyimirizza enkuŋŋaana eziba mu bifo mwe tusinziza ebiyitibwa Kingdom Hall oba enkuŋŋaana eziba mu bibinja. Bw'oba nga wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku Bayibuli oba ku Bajulirwa ba Yakuwa, tukusaba ojjuzeemu foomu eri mu kitundu Saba Okuyigirizibwa Bayibuli era Omujulirwa wa Yakuwa ali mu kitundu kyo ajja kukukubira oba kukuwandiikira.

Noonya Ekifo Ekikuli Okumpi (opens new window)

Biki Ebibeera mu Nkuŋŋaana Zaffe?

Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana emirundi ebiri buli wiiki okusinza Katonda. (Abebbulaniya 10:24, 25) Mu nkuŋŋaana ezo twekenneenya Bayibuli by’eyigiriza era n’engeri gye bituyamba mu bulamu bwaffe, era buli muntu wa ddembe okuzibeeramu.

Mu nkuŋŋaana zaffe ezisinga mubaamu okukubaganya ebirowoozo. Zitandika era ne zikomekkerezebwa n’oluyimba n’okusaba.

Ne bw’oba toli Mujulirwa wa Yakuwa osobola okubeerawo mu nkuŋŋaana zaffe. Twaniriza abantu bonna okuzibeeramu. Okuyingira kwa bwereere era teri kusolooza ssente.