Oyanirizibwa
Essanyu ery’Olubeerera
Olukuŋŋaana Olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa 2026
Okuyingira kwa bwereere • Teri kusolooza ssente
Ebinaabeera mu Lukuŋŋaana
Olwokutaano: Ojja kulaba engeri Ebyawandiikibwa gye biragamu nti Katonda n’Omwana we Yesu baagala obeere musanyufu.
Olwomukaaga: Tujja kwekenneenya ebyo Yesu bye yayigiriza ebiri mu Matayo essuula 5-7, tulabe engeri gye bisobola okutuyamba okufuna essanyu ery’olubeerera.
Ssande: Mu kwogera okulina omutwe, “Wazuula eky’Obugagga?” tujja kulaba engeri okuyiga amazima agali mu Bayibuli gye kiyambye abantu bangi okuba abasanyufu.
Omuzannyo
Ebikwata ku Buweereza bwa Yesu: Ekitundu 4-6
Tujja kulaba engeri Yesu gye yayigirizaamu ebibiina by’abantu, gye yawonyamu abalwadde ne gye yazuukizaamu abafu. Buli lunaku tujja kulabayo ekitundu kimu eky’omuzannyo ogwo omunyuvu ennyo.
Genda ku jw.org olabe programu yonna ey’olukuŋŋaana era olabe ne vidiyo zino wammanga:
Enkuŋŋaana Zaffe Ennene Zibeera Zitya?
Laba ebimu ku ebyo ebibeera ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa.
Laba bye tugenda okuyiga ku lukuŋŋaana olwo olunene.
Yesu yakozesa atya ebirabo bye yalina okuyamba abalala?
Laba ebitundu ebyo eby’omuzannyo bye twalaba mu nkuŋŋaana ennene ezaggwa

