Buuka ogende ku bubaka obulimu

Emirembe n’Essanyu

Abantu bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi, bayinza okulowooza nti tebasabola kubeera basanyufu oba kuba na mirembe mu mutima. Kyokka, Bayibuli eyambye abantu bangi nnyo okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo buli lunaku, okuweweeza ku bulumi bwe balina, n’okufuna ekigendererwa mu bulamu. Naawe Bayibuli esobola okukuyamba okuba omusanyufu.

 

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Abantu okuva mu mbeera ez’enjawulo bannyonnyola engeri gye baalekamu emize emibi era kati balina enkolagana ennungi ne Katonda.

Omwagalwa Wo bw’Afa

Ofiiriddwa omuntu gw’oyagala? Weetaaga obuyambi ku ky’okukola ng’oli mu nnaku ey’amaanyi?

Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu

Bwe mukolera ku magezi agali mu Bayibuli, mujja kuba n’obufumbo obulungi era n’amaka agalimu essanyu.

Yiga Bayibuli

Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?—vidiyo Empanvuko

Bayibuli eyambye abantu bangi nnyo okwetooloola ensi yonna okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye beebuuza. Naawe wandyagadde okumanya Bayibuli ky’eyigiriza?

Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?

Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa ng’abantu abayigiriza abalala Bayibuli ku bwereere. Laba engeri gye bakikolamu.

Saba Omuntu Akukyalire

Mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekikwata ku Bayibuli oba yiga ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.