Zabbuli 116:1-19
116 Njagala Yakuwa,Olw’okuba awulira* eddoboozi lyange, olw’okuba awulira okuwanjaga kwange.+
2 Atega okutu n’ampuliriza,*+Era nja kumukoowoola obulamu bwange bwonna.*
3 Emiguwa gy’okufa gyanneezingirira;Amagombe* gannyweza.+
Ennaku n’obuyinike byansukkirirako.+
4 Naye nnakoowoola erinnya lya Yakuwa ne ŋŋamba nti:+
“Ai Yakuwa mponya!”
5 Yakuwa wa kisa era mutuukirivu;+Katonda waffe musaasizi.+
6 Yakuwa akuuma abatalina bumanyirivu.+
Amaanyi bwe gaali gampedde, yandokola.
7 Sijja kuddamu kweraliikirira,Kubanga Yakuwa ankoledde eby’ekisa.
8 Omponyezza okufa.
Owonyezza amaaso gange okukaaba, n’ekigere kyange okwesittala.+
9 Nja kutambulira mu maaso ga Yakuwa nga nkyali mulamu.
10 Nnalina okukkiriza, kyennava njogera+Wadde nga nnali mbonaabona nnyo.
11 Nnatya ne ŋŋamba nti:
“Buli muntu mulimba.”+
12 Yakuwa nnaamusasula kiOlw’ebirungi byonna by’ankoledde?
13 Nja kutoola ekikopo eky’obulokozi,*Era nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa.
14 Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa,Mu maaso g’abantu be bonna.+
15 Mu maaso ga Yakuwa,Okufa kw’abantu be abeesigwa kwa muwendo nnyo.+
16 Ai Yakuwa nkwegayirira,Kubanga ndi muweereza wo.
Ndi muweereza wo, omwana w’omuzaana wo.
Onsumuludde enjegere.+
17 Nja kuwaayo gy’oli ssaddaaka ey’okwebaza;+Nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa.
18 Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa,+Mu maaso g’abantu be bonna,+
19 Mu mpya z’ennyumba ya Yakuwa,+Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi.
Mutendereze Ya!*+

