Zabbuli 113:1-9

  • Katonda abeera waggulu, ayimusa omunaku

    • Erinnya lya Yakuwa litenderezebwa emirembe gyonna (2)

    • Katonda akutama (6)

113  Mutendereze Ya!* Mmwe abaweereza ba Yakuwa mumutendereze,Mutendereze erinnya lya Yakuwa.  2  Erinnya lya Yakuwa litenderezebweOkuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.+  3  Erinnya lya Yakuwa litenderezebwe+Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.  4  Yakuwa ali waggulu okusinga amawanga gonna;+Ekitiibwa kye kiri waggulu okusinga eggulu.+  5  Ani alinga Yakuwa Katonda waffe,+Abeera* waggulu?  6  Akutama n’atunuulira eggulu n’ensi,+  7  N’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu. Ayimusa omwavu n’amuggya mu ntuumu y’evvu,*+  8  Okumutuuza n’ab’ebitiibwa,N’ab’ebitiibwa mu bantu be.  9  Awa omukazi omugumba amaka,N’afuna abaana* n’aba musanyufu.+ Mutendereze Ya!*

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Oba, “Atuula ku ntebe y’obwakabaka.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku kasasiro.”
^ Obut., “abaana ab’obulenzi.”
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.