Zabbuli 32:1-11
Zabbuli ya Dawudi. Masukiri.*
32 Alina essanyu oyo asonyiyiddwa ensobi ye, oyo asonyiyiddwa ekibi kye.*+
2 Alina essanyu oyo Yakuwa gw’atwala nti taliiko musango,+Oyo alina omutima ogutaliimu bulimba.
3 Bwe nnasirika, amagumba gange gaggwerera olw’okuba nnali nsinda okuzibya obudde.+
4 Kubanga emisana n’ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga.+
Amaanyi gange gaakalira ng’amazzi bwe gakalira mu bbugumu eribaawo mu kiseera eky’omusana. (Seera)
5 Kyaddaaki nnakwatulira ekibi kyange;Saabikka ku nsobi yange.+
Nnagamba nti: “Nja kwatulira Yakuwa ebyonoono byange.”+
Era wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.+ (Seera)
6 Eyo ye nsonga lwaki buli muntu omwesigwa anaasabanga ggwe+Ng’okyayinza okufunika.+
Olwo n’amazzi aganjaala tegalimutuukako.
7 Oli kifo kyange eky’okwekwekamu;Ojja kunkuuma nneme kulaba nnaku.+
Ojja kunneetoolooza amaloboozi ag’essanyu ag’okulokolebwa.+ (Seera)
8 Wagamba nti: “Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu.+
Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.+
9 Tobeera ng’embalaasi oba ennyumbu etalina magezi,+Gy’olina okusooka okuteeka ekyuma mu kamwa n’enkoba mu kifuba okugikkakkanyaN’eryoka ejja w’oli.”
10 Ababi baba n’ebibaleetera obulumi bingi;Naye oyo eyeesiga Yakuwa okwagala kwe okutajjulukuka kumwetooloola.+
11 Mmwe abatuukirivu musanyuke olw’ebyo Yakuwa by’akoze, era mujaganye;Mwogerere waggulu n’essanyu, mmwe mmwenna abalina omutima omugolokofu.

