Zabbuli 3:1-8

  • Okwesiga Katonda ne mu mbeera enzibu

    • ‘Lwaki abalabe bayitiridde obungi?’ (1)

    • “Obulokozi bwa Yakuwa” (8)

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali adduka Abusaalomu mutabani we.+ 3  Ai Yakuwa, lwaki abalabe bange bayitiridde obungi?+ Lwaki bangi basituka okunnwanyisa?+  2  Bangi banjogerako nti: “Katonda tajja kumulokola.”+ (Seera)*  3  Naye ggwe, Ai Yakuwa, oli ngabo enneetoolodde,+Ggwe kitiibwa kyange+ era ggwe ayimusa omutwe gwange.+  4  Nja kukoowoola Yakuwa,Era ajja kunziramu ng’ayima ku lusozi lwe olutukuvu.+ (Seera)  5  Nja kugalamira wansi nneebake;Era nja kuzuukuka nga situukiddwako kabi,Kubanga Yakuwa annyamba.+  6  Sitya nkumi na nkumi z’abantuAbasimbye ennyiriri ku buli luuyi okunnwanyisa.+  7  Situka Ai Yakuwa! Ndokola Ai Katonda wange!+ Ojja kukuba abalabe bange bonna ku luba;Ojja kumenyaamenya amannyo g’ababi.+  8  Obulokozi bwa Yakuwa.+ Omukisa gwo guli ku bantu bo. (Seera)

Obugambo Obuli Wansi