Zabbuli 85:1-13
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Oluyimba.
85 Ai Yakuwa, olaze ensi yo ekisa;+Okomezzaawo abaana ba Yakobo abaali batwaliddwa mu buwambe.+
2 Abantu bo obasonyiye ensobi zaabwe;Wabasonyiwa ebibi* byabwe byonna.+ (Seera)
3 Wafuga obusungu bwo bwonna;Waleka obusungu bwo obungi.+
4 Tuzzeewo,* Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe,Era toyongera kutunyiigira.+
5 Onootusunguwalira mirembe gyonna?+
Obusungu bwo bunaabanga ku buli mulembe ogunaddawo?
6 Toddemu kutuzzaamu maanyi,Abantu bo basanyuke olw’okubeera ggwe?+
7 Ai Yakuwa, tulage okwagala kwo okutajjulukuka,+Otulokole.
8 Nja kuwuliriza Yakuwa Katonda ow’amazima ky’anaagamba,Kubanga ajja kulangirira emirembe eri abantu be+ abeesigwa,Naye tebaddamu okwekakasa ekisukkiridde.+
9 Mazima ddala obulokozi bwe buli kumpi n’abo abamutya,+Ekitiibwa kye kiryoke kibeerenga mu nsi yaffe.
10 Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa bijja kusisinkana;Obutuukirivu n’emirembe bijja kunywegeragana.+
11 Obwesigwa bujja kumeruka mu nsi,N’obutuukirivu bujja kuyima mu ggulu butunule wansi.+
12 Ddala Yakuwa ajja kutuwa ebirungi,+Era ensi yaffe ejja kuleeta ekyengera kyayo.+
13 Obutuukirivu bujja kutambulira mu maaso ge,+Bukolere ebigere bye ekkubo.

