EKIBUUZO 15

Oyinza otya Okufuna Essanyu mu Bulamu?

“Okulya enva endiirwa awali okwagalana kisinga okulya ennyama y’ente ensava awali okukyawagana.”

Engero 15:17

“Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.”

Isaaya 48:17

“Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.”

Matayo 5:3

“Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.”

Matayo 22:39

“Ebyo bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”

Lukka 6:31

“Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”

Lukka 11:28

“Omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.”

Lukka 12:15

“Bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.”

1 Timoseewo 6:8

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”

Ebikolwa 20:35