Zabbuli 39:1-13

  • Obulamu bumpi

    • Omuntu mukka bukka (5, 11)

    • “Tobuusa maaso maziga ge nkaaba” (12)

Eri akubiriza eby’okuyimba; mu ngeri ya Yedusuni.*+ Zabbuli ya Dawudi. 39  Nnagamba nti: “Nja kwegenderezangaNneme kwonoona na lulimi lwange.+ Nja kusibanga emimwa gyange+Ng’omubi ali we ndi.”  2  Nnasirika ne soogera;+Nnabunira n’ekirungi ne sikyogerako,Naye obulumi bwange bwali bwa maanyi nnyo.*  3  Omutima gwange gwayaka mu nda yange. Bwe nnali ndowoolereza,* omuliro gweyongera okwaka. Awo olulimi lwange ne lwogera nti:  4  “Ai Yakuwa, nnyamba mmanye enkomerero yange bw’eriba,N’omuwendo gw’ennaku zange bwe guli,+Ndyoke mmanye obulamu bwange bwe buli obumpi.*  5  Ompadde obulamu bumpi;*+Ekiseera kye nnaawangaala tekirina bwe kiri mu maaso go.+ Mazima ddala buli muntu mukka bukka ne bw’aba wa maanyi atya.+ (Seera)  6  Obulamu bw’omuntu bulinga kisiikirize. Ateganira bwereere.* Atuuma obugagga nga tamanyi ani alibweyagaliramu.+  7  Ai Yakuwa, kati nsuubire ki? Ggwe wekka ggwe ssuubi lyange.  8  Ndokola okuva mu kwonoona kwange kwonna.+ Tokkiriza musirusiru kunfuula kya kusekererwa.  9  Nnasirika;Saayasamya kamwa kange+Kubanga kino ggwe wakikola.+ 10  Nzigyaako ekibonyoobonyo ky’ontaddeko. Nnyenjebuse olw’omukono gwo okunkuba. 11  Omuntu omugolola ng’omubonereza olw’ensobi ye;+Ng’ekiwuka bwe kisaanyaawo ebintu, naawe bw’osaanyaawo ebintu by’atwala ng’eby’omuwendo. Mazima ddala buli muntu mukka bukka.+ (Seera) 12  Wulira okusaba kwange Ai Yakuwa,Wuliriza okuwanjaga kwange.+ Tobuusa maaso maziga ge nkaaba. Kubanga ndi mugwira gy’oli,+Omutambuze ayita obuyisi,* nga bajjajjange bonna bwe baali.+ 13  Lekera awo okuntunuulira n’obusungu, nsobole okusanyukaNga sinnafa ne mba nga sikyaliwo.”

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “bweyongera.”
^ Oba, “nsinda.”
^ Oba, “nga bwe ndiwo akaseera obuseera.”
^ Obut., “obulamu obwenkana ng’obugazi bw’ekibatu.”
^ Obut., “Awogganira bwereere.”
^ Oba, “Omusenze.”