Zabbuli 73:1-28

  • Omusajja atya Katonda addamu okuba n’endowooza ennungi

    • “Ebigere byange byali binaatera okuseerera” (2)

    • “Nnabanga mweraliikirivu okuzibya obudde” (14)

    • “Okutuusa lwe nnayingira mu kifo kya Katonda ekitukuvu” (17)

    • Ababi bayimiridde awali obuseerezi (18)

    • Okusemberera Katonda kirungi (28)

Zabbuli ya Asafu.+ 73  Mazima ddala Katonda mulungi eri Isirayiri, mulungi eri abo abalina emitima emirongoofu.+  2  Naye nze ebigere byange byabulako katono okuwaba;Ebigere byange byali binaatera okuseerera.+  3  Kubanga ab’amalala* bankwasa obuggya,Bwe nnalaba ng’ababi balina emirembe.+  4  Tebaba na bulumi mu kufa kwabwe;Emibiri gyabwe miramu bulungi.*+  5  Tebalina bizibu ng’abantu abalala,+Era tebabonaabona ng’abantu abalala.+  6  Amalala kyegava gaba ng’omukuufu gwabwe;+Ebikolwa eby’obukambwe ne biba ng’ekyambalo kyabwe.  7  Obugagga bwabwe* bubaleetera okukanuka amaaso;Bafunye bingi okusinga ebyo omutima gwabwe bye gwali gulowooza.  8  Baduula era ne boogera ebintu ebibi.+ Boogeza malala nga batiisatiisa okunyigiriza abalala.+  9  Boogera nga gy’obeera bagulumidde ng’eggulu,Batambulatambula mu nsi ng’olulimi lwabwe lwogera kyonna kye baagala. 10  Abantu be kyebava badda gye bali,Era banywa ku mazzi gaabwe amangi. 11  Bagamba nti: “Katonda amanya atya?+ Ddala Oyo Asingayo Okuba Waggulu bino abimanyi?” 12  Abo be babi abatafuna kizibu kyonna.+ Bongera kutuuma bugagga.+ 13  Mazima nteganidde bwereere okukuuma omutima gwange nga mulongoofu,Era ne nnaaba engalo zange okulaga nti siriiko musango.+ 14  Nnabanga mweraliikirivu okuzibya obudde;+Buli ku makya nnakangavvulwanga.+ 15  Naye singa nnayogera ebintu bino,Nnandibadde ndiddemu abantu bo* olukwe. 16  Bwe nnagezaako okukitegeera,Kyannakuwaza, 17  Okutuusa lwe nnayingira mu kifo kya Katonda ekitukuvu eky’ekitiibwa,Ne ntegeera ebiseera byabwe eby’omu maaso bwe biriba. 18  Mazima ddala, obateeka awali obuseerezi.+ Obasuula ne bazikirira.+ 19  Nga basaanawo mu bwangu!+ Nga baggwaawo mu bwangu, mu ngeri ey’entiisa! 20  Ai Yakuwa, bw’oligolokoka, olibeerabira*Okufaananako ekirooto omuntu kye yeerabira ng’azuukuse. 21  Naye omutima gwange tegwali musanyufu,+Muli munda* nnali mpulira obulumi obw’amaanyi. 22  Nnali musirusiru era nga sitegeera;Mu maaso go nnali ng’ensolo etalina magezi. 23  Naye kaakano ndi naawe buli kiseera;Onkutte ku mukono ogwa ddyo.+ 24  Ompa amagezi n’onnuŋŋamya,+Era oluvannyuma ojja kuntuusa mu kitiibwa.+ 25  Ani gwe nnina mu ggulu? Tewali kirala kyonna kye njagala ku nsi okuggyako ggwe.+ 26  Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okunafuwa,Naye Katonda lwe lwazi lw’omutima gwange era ye gwe mugabo gwange emirembe n’emirembe.+ 27  Abo abakwewala balizikirira. Olizikiriza* abo bonna abataba beesigwa ne bakuleka.*+ 28  Naye nze, okusemberera Katonda kirungi gye ndi.+ Yakuwa Mukama Afuga Byonna mmufudde kiddukiro kyange,Nsobole okulangirira ebikolwa bye byonna.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “abeewaana.”
^ Oba, “Balina embuto nnene.”
^ Obut., “Amasavu gaabwe.”
^ Obut., “omulembe gw’abaana bo.”
^ Obut., “olibanyooma.”
^ Obut., “Mu nsigo zange.”
^ Obut., “Olisirisa.”
^ Obut., “abo abenda ne bakuleka.”