Zabbuli 13:1-6

  • Okulindirira obulokozi bwa Yakuwa

    • “Ai Yakuwa, olituusa wa?” (1, 2)

    • Yakuwa akolera abantu ebirungi bingi (6)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 13  Ai Yakuwa, olituusa wa okunneerabira? Mirembe gyonna? Olituusa wa okunneekweka?+  2  Ndituusa wa okweraliikirira,N’okuba n’ennaku mu mutima gwange buli lunaku? Omulabe wange alituusa wa okunkajjalako?+  3  Ntunuulira onziremu, Ai Yakuwa Katonda wange. Amaaso gange gawe ekitangaala nneme okufa,*  4  Omulabe wange aleme kugamba nti: “Mmuwangudde!” Tokkiriza balabe bange kusanyuka nga ngudde.+  5  Nneesiga okwagala kwo okutajjulukuka;+Omutima gwange gujja kusanyukira ebikolwa byo eby’obulokozi.+  6  Nja kuyimbira Yakuwa olw’okuba ankoledde ebirungi bingi.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Obut., “kwebaka mu kufa.”