Zabbuli 8:1-9
Eri akubiriza eby’okuyimba; ku Gittisu.* Zabbuli ya Dawudi.
8 Ai Yakuwa Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna;Ekitiibwa kyo okitadde waggulu n’okusinga eggulu!+
2 Oyolesezza amaanyi go okuva mu kamwa k’abaana abato n’abawere+Olw’abalabe bo,Okusirisa omulabe n’oyo awoolera eggwanga.
3 Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo,Omwezi n’emmunyeenye bye wakola,+ nneebuuza nti,
4 Omuntu kye ki, ggwe okumulowoozaako,Omwana w’omuntu kye ki, ggwe okumufaako?+
5 Wamukola ng’abulako katono okuba nga bamalayika,*Era wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
6 Wamuwa obuyinza ku mirimu gy’emikono gyo;+Wateeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye:
7 Ebisibo byonna n’ente,N’ensolo ez’omu nsiko,+
8 Ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja eby’omu nnyanja,Buli ekiyita mu nnyanja.
9 Ai Yakuwa Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna!

