Zabbuli 79:1-13

  • Essaala amawanga bwe gaalumba abantu ba Katonda

    • “Tufuuse kivume” (4)

    • ‘Tuyambe olw’erinnya lyo’ (9)

    • “Baliraanwa baffe basasule emirundi musanvu” (12)

Zabbuli ya Asafu.+ 79  Ai Katonda, amawanga galumbye obusika bwo;+Boonoonye yeekaalu yo entukuvu;+Bafudde Yerusaalemi entuumu y’ebifunfungu.+  2  Emirambo gy’abaweereza bo bagiwadde ebinyonyi bigirye. Emibiri gy’abantu bo abeesigwa bagiwadde ensolo enkambwe ez’omu nsi.+  3  Bayiye omusaayi gwabwe buli wamu mu Yerusaalemi ng’abayiwa amazzi,Era tewali n’omu asigaddewo agenda okubaziika.+  4  Tufuuse kivume eri baliraanwa baffe;+Abo abatwetoolodde batusekerera era batuduulira.  5  Ai Yakuwa, onoomala bbanga ki ng’oli musunguwavu? Mirembe gyonna?+ Obusungu bwo bunaakoma ddi okubuubuuka ng’omuliro?+  6  Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.+  7  Kubanga balidde Yakobo,Era ensi ye bagifudde matongo.+  8  Totuvunaana nsobi za bajjajjaffe.+ Tolwawo kutusaasira,+Kubanga tufeebezeddwa nnyo.  9  Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe tuyambe,+Olw’erinnya lyo ery’ekitiibwa;Tununule era tusonyiwe ebibi* byaffe olw’erinnya lyo.+ 10  Lwaki amawanga gandibuuzizza nti: “Katonda waabwe ali ludda wa?”+ Nga tukirabako n’amaaso gaffe, amawanga ka gakitegeereNti wabaddewo okuwoolera eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiibwa.+ 11  Wulira okusinda kw’omusibe.+ Kozesa amaanyi go amangi* owonye* abo abasaliddwa ogw’okufa.*+ 12  Baliraanwa baffe basasule emirundi musanvu,+Olw’ebivumo bye bakuvumye, Ai Yakuwa.+ 13  Olwo ffe abantu bo era endiga z’omu ddundiro lyo,+Tunaakwebazanga emirembe gyonna;Era tunaalangiriranga ettendo lyo emirembe n’emirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Obut., “bikka ku bibi.”
^ Obut., “omukono gwo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “osumulule.”
^ Obut., “abaana b’okufa.”