Zabbuli 4:1-8

  • Essaala eyoleka obwesige mu Katonda

    • “Bwe musunguwala temwonoona” (4)

    • ‘Nja kwebaka mirembe’ (8)

Eri akubiriza eby’okuyimba; kugenderako ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. 4  Bwe nkukoowoola, nnyanukula, Ai Katonda wange omutuukirivu.+ Mu buyinike bwange nteeraawo obuddukiro.* Nkwatirwa ekisa owulire okusaba kwange.  2  Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okumpeebuula? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu nsa n’okunoonya ebitali bya mazima. (Seera)  3  Mukimanye nti Yakuwa ayisa mu ngeri ya njawulo oyo omwesigwa gy’ali;*Yakuwa ajja kuwulira bwe nnaamukoowoola.  4  Bwe musunguwala temwonoona.+ Mwogerere mu mitima gyammwe ku bitanda byammwe, era musirike. (Seera)  5  Muweeyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,Era mwesige Yakuwa.+  6  Waliwo bangi abagamba nti: “Ani anaatulaga ebirungi?” Ekitangaala ky’obwenyi bwo ka kitwakire, Ai Yakuwa.+  7  Omutima gwange ogujjuzza essanyuErisinga ery’abo abakungudde emmere ennyingi era abalina omwenge omusu omungi.  8  Nja kugalamira nneebake mirembe,+Kubanga, Ai Yakuwa, ggwe wekka andeetera okuba mu mirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Obut., “ngaziyiza ekifo.”
^ Oba, “ayawulawo oyo omwesigwa gy’ali.”