Zabbuli 136:1-26

  • Okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe

    • Eggulu n’ensi byakolebwa mu ngeri ya bukugu (5, 6)

    • Falaawo yafiira mu Nnyanja Emmyufu (15)

    • Katonda ajjukira abennyamivu (23)

    • Awa ebiramu byonna emmere (25)

136  Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi;+Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+  2  Mwebaze Katonda wa bakatonda,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.  3  Mwebaze Mukama w’abakama,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.  4  Ye yekka akola ebyewuunyisa ennyo,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+  5  Yakozesa bukugu okukola eggulu,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.  6  Yayaliirira ensi ku mazzi,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.  7  Yakola ebyaka ebinene,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,  8  Enjuba okufuganga emisana,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,  9  Omwezi n’emmunyeenye okufuganga ekiro,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 10  Yatta ababereberye b’e Misiri,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 11  Yajja Abayisirayiri mu Misiri,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe, 12  N’omukono ogw’amaanyi+ era ogugoloddwa,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 13  Yayawulamu Ennyanja Emmyufu wakati,*+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 14  Yayisa Isirayiri wakati mu yo,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 15  Yasuula Falaawo n’amagye ge mu Nnyanja Emmyufu,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 16  Yakulemberamu abantu be n’abayisa mu ddungu,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 17  Yawangula bakabaka ab’amaanyi,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 18  Yatta bakabaka ab’amaanyi,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe, 19  Sikoni+ kabaka w’Abaamoli,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe, 20  Ne Ogi+ kabaka wa Basani,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 21  Ensi yaabwe yagiwa abantu be okuba obusika,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe, 22  Obusika bwa Isirayiri omuweereza we,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 23  Yatujjukira bwe twali nga tufeebezeddwa,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+ 24  Yatununulanga okuva mu mukono gw’abalabe baffe,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 25  Awa ebitonde byonna ebiramu emmere,+Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe. 26  Mwebaze Katonda ow’omu ggulu,Kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.

Obugambo Obuli Wansi

^ Obut., “Ennyanja Emmyufu yagyawulamu ebitundutundu.”