Zabbuli 7:1-17

  • Yakuwa Mulamuzi mutuukirivu

    • “Nnamula, Ai Yakuwa” (8)

Oluyimba olw’okukungubaga Dawudi lwe yayimbira Yakuwa olw’ebigambo bya Kuusi Omubenyamini. 7  Ai Yakuwa Katonda wange, nzirukidde gy’oli.+ Mponya abo bonna abanjigganya era ndokola.+  2  Baleme kuntaagulataagula ng’empologoma,+Ne bantwala nga tewali n’omu antaasa.  3  Ai Yakuwa Katonda wange, bwe mba nga nze musobya,Bwe mba nga nnakola ebitali bya bwenkanya,  4  Bwe mba nga oyo ankolera ebirungi mmukoze ebibi,+Oba bwe mba nga nnanyaga ebintu by’omulabe wange awatali nsonga,*  5  Omulabe wange k’angobe ankwate;K’anninnyirire ku ttaka nfeEkitiibwa kyange kisaanewo mu nfuufu. (Seera)  6  Situka mu busungu, Ai Yakuwa;Yimuka olwanyise abalabe bange abaswakidde;+Golokoka ku lwange, olagire wabeewo obwenkanya.+  7  Amawanga ka gakwetooloole;Era ojja kugavunaana ng’oyima waggulu.  8  Yakuwa ajja kulamula amawanga.+ Nnamula, Ai Yakuwa, okusinziira ku butuukirivu bwangeN’okusinziira ku bugolokofu bwange.+  9  Nkwegayiridde komya ebikolwa ebibi eby’ababi. Naye kuuma abatuukirivu,+Kubanga ggwe Katonda omutuukirivu+ akebera emitima+ n’enneewulira.*+ 10  Katonda ye ngabo yange,+ era ye Mulokozi w’abo abalina omutima omugolokofu.+ 11  Katonda Mulamuzi mutuukirivu,+Buli lunaku Katonda alangirira emisango gy’asalidde ababi. 12  Omuntu bw’ateenenye,+ Katonda awagala ekitala kye;+Aleega omutego gwe ogw’obusaale.+ 13  Ateekateeka eby’okulwanyisa bye eby’omutawaana;Ateekateeka obusaale bwe obwakaayakana.+ 14  Laba omuntu ali olubuto lw’ebintu ebibi;Afuna olubuto lw’ebintu ebibi n’azaala obulimba.+ 15  Asima ekinnya ekiwanvu,Naye n’agwa mu kinnya kyennyini ky’asimye.+ 16  Emitawaana gy’aleeta gijja kumuddira,+Ebikolwa eby’obukambwe by’akola bijja kumuddira. 17  Nnaatenderezanga Yakuwa olw’okuba mwenkanya;+Nnaayimbanga okutendereza erinnya lya Yakuwa+ Oyo Asingayo Okuba Waggulu.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ate nga saatuusa kabi ku oyo anjigganya awatali nsonga.”
^ Oba, “agezesa emitima n’ensigo.”