Zabbuli 135:1-21
135 Mutendereze Ya!*
Mutendereze erinnya lya Yakuwa;Mumutendereze mmwe abaweereza ba Yakuwa,+
2 Mmwe abayimiridde mu nnyumba ya Yakuwa,Mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.+
3 Mutendereze Ya, kubanga Yakuwa mulungi.+
Muyimbe ennyimba ezitendereza erinnya lye, kubanga kirungi.
4 Ya yeerondera Yakobo,Yeerondera Isirayiri okuba ekintu kye ekiganzi.*+
5 Nkimanyi bulungi nti Yakuwa mukulu;Mukama waffe mukulu okusinga bakatonda abalala bonna.+
6 Yakuwa akola buli kintu ky’ayagala+Mu ggulu ne ku nsi, mu nnyanja ne mu buziba bwonna.
7 Aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi;Akolera enkuba ebimyanso;*Aggya empewo mu materekero ge,+
8 Yatta ababereberye b’e Misiri,Abantu n’ensolo.+
9 Yakola obubonero n’ebyamagero mu ggwe, Misiri,+Ku Falaawo ne ku baweereza be bonna.+
10 Yazikiriza amawanga mangi+N’atta bakabaka ab’amaanyi+
11 —Sikoni kabaka w’Abaamoli,+Ogi kabaka wa Basani,+N’asaanyaawo obwakabaka bwonna obw’omu Kanani.
12 Ensi yaabwe yagiwa abantu be okuba obusika,Obusika bwa Isirayiri abantu be.+
13 Ai Yakuwa, erinnya lyo libeerawo emirembe n’emirembe.
Ai Yakuwa, ettutumu lyo* libeerawo mu mirembe gyonna.+
14 Yakuwa ajja kulwanirira abantu be,+Era ajja kusaasira abaweereza be.+
15 Ebifaananyi by’amawanga bya ffeeza ne zzaabu,Byakolebwa na mikono gya bantu.+
16 Birina emimwa naye tebyogera;+Birina amaaso naye tebiraba;
17 Birina amatu naye tebiwulira.
Mu kamwa kaabyo temuli mukka.+
18 Abantu ababikola balifuuka nga byo,+Awamu n’abo bonna ababyesiga.+
19 Mmwe ennyumba ya Isirayiri, mutendereze Yakuwa.
Mmwe ennyumba ya Alooni, mutendereze Yakuwa.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi, mutendereze Yakuwa.+
Mmwe abatya Yakuwa, mutendereze Yakuwa.
21 Yakuwa atenderezebwe mu Sayuuni,+Oyo abeera mu Yerusaalemi.+
Mutendereze Ya!+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Oba, “ekintu kye eky’omuwendo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “aw’okuyita.”
^ Oba, “erinnya lyo.” Obut., “ekijjukizo kyo.”