Zabbuli 122:1-9
Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi.
122 Nnasanyuka bwe baŋŋamba nti:
“Tugende mu nnyumba ya Yakuwa.”+
2 Kaakano ebigere byaffe biyimiriddeMu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi.+
3 Yerusaalemi kibuga ekyazimbibwaNga kigattiddwa wamu.+
4 Ebika bigenze mu kyo,Ebika bya Ya,*Ng’etteeka eryaweebwa Isirayiri bwe ligamba,Okutendereza erinnya lya Yakuwa.+
5 Eyo entebe ez’okulamulirako gye zaateekebwa,+Entebe z’ennyumba ya Dawudi.+
6 Musabe mu Yerusaalemi mubeemu emirembe.+
Abo abakwagala, ggwe ekibuga, bajja kuba mu mirembe.
7 Emirembe ka gyeyongere okuba mu bbugwe wo,N’obutebenkevu mu minaala gyo.
8 Ku lwa baganda bange ne bannange nja kugamba nti:
“Emirembe ka gibeere mu ggwe.”
9 Ku lw’ennyumba ya Yakuwa Katonda waffe,+Nja kukusabira obeere bulungi.
Obugambo Obuli Wansi
^ “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.