Zabbuli 105:1-45
105 Mwebaze Yakuwa,+ mukoowoole erinnya lye,Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga!+
2 Mumuyimbire, muyimbe ennyimba ezimutendereza,Mufumiitirize* ku bikolwa bye byonna eby’ekitalo.+
3 Mwenyumiririze mu linnya lye ettukuvu.+
Omutima gw’abo abanoonya Yakuwa ka gusanyuke.+
4 Munoonye Yakuwa+ n’amaanyi ge.
Mumunoonyenga bulijjo.
5 Mujjukire ebikolwa eby’ekitalo bye yakola,Ebyamagero bye n’emisango gye yalangirira,+
6 Mmwe ezzadde lya* Ibulayimu omuweereza we,+Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.+
7 Ye Yakuwa Katonda waffe.+
Alamula ensi yonna.+
8 Ajjukira endagaano ye emirembe n’emirembe,+Ajjukira kye yasuubiza,* okutuusa emirembe olukumi,+
9 Endagaano gye yakola ne Ibulayimu,+N’ekirayiro kye yalayirira Isaaka,+
10 Ekirayiro kye yanyweza kibeere ng’etteeka eri Yakobo;Kibeere ng’endagaano ey’olubeerera eri Isirayiri,
11 Ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani+Okuba omugabo gw’obusika bwo.”+
12 Ekyo yakyogera nga bakyali batono,+Baali bakyali batono nnyo era nga bagwira mu nsi eyo.+
13 Baatambulanga okuva mu ggwanga erimu okudda mu ddala,N’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala.+
14 Teyakkiriza muntu n’omu kubabonyaabonya,+Naye yanenya bakabaka ku lwabwe,+
15 Ng’agamba nti, “Temukwata ku bantu bange abaafukibwako amafuta,Era bannabbi bange temubakolako kabi.”+
16 Yaleeta enjala mu nsi;+N’abalemesa okufuna emmere.*
17 Yatuma omuntu n’abasookayoEyatundibwa okuba omuddu, ng’oyo ye Yusufu.+
18 Ebigere bye baabisiba enjegere,*+Era baamusiba ebyuma mu bulago
19 Okutuusa kye yayogera lwe kyatuukirira,+Ekigambo kya Yakuwa kye kyamulongoosa.
20 Kabaka yalagira asumululwe,+Omufuzi w’amawanga yamusumulula.
21 Yamuwa obukulu ku nnyumba yeNe ku bintu bye byonna,+
22 Okuba n’obuyinza ku baami* be nga bw’ayagalaN’okuwa abantu be abakadde amagezi.+
23 Awo Isirayiri n’agenda e Misiri,+Yakobo n’abeera mugwira mu nsi ya Kaamu.
24 Katonda yayaza nnyo abantu be;+N’abafuula ba maanyi okusinga abalabe baabwe.+
25 Yaleetera emitima gy’abalabe abo okukyuka ne bakyawa abantu be,Ne basalira abaweereza be enkwe.+
26 Yatuma Musa omuweereza we,+Ne Alooni+ gwe yalonda.
27 Baakola obubonero bwe mu Bamisiri,Ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.+
28 Yasindika ekizikiza ensi n’ekwata enzikiza;+Tebaajeemera bigambo bye.
29 Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,N’atta ebyennyanja byabwe.+
30 Ensi yaabwe yajjula ebikere,+Ne bituuka ne mu bisenge bya kabaka.
31 Yalagira kawawa okubalumba,N’obutugu mu bitundu byabwe byonna.+
32 Enkuba yaabwe yagifuula muzira,N’asindika ne laddu* mu nsi yaabwe.+
33 Yakuba emizabbibu gyabwe n’emitiini gyabweN’amenyaamenya emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 Yagamba enzige zibalumbe,Enzige ento ezitabalika.+
35 Zaalya ebimera byonna mu nsi eyo;Zaalya ebibala by’ettaka.
36 Awo n’atta ababereberye bonna mu nsi yaabwe,+Abaggulanda baabwe.
37 Yaggyayo abantu be nga balina ffeeza ne zzaabu;+Mu bika byabwe temwali muntu n’omu munafu.
38 Misiri yasanyuka nga bavuddeyo,Kubanga baali bafunye entiisa ya Isirayiri.+
39 Yayanjuluza ekire okubasiikiriza,+N’abateerawo n’omuliro okubawa ekitangaala ekiro.+
40 Bwe baasaba ennyama, yabawa obugubi;+Yabawanga emmere okuva mu ggulu ne bakkuta.+
41 Yayasaamu olwazi amazzi ne gafukumuka;+Ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.+
42 Kubanga yajjukira ebintu ebitukuvu bye yali yasuubiza Ibulayimu omuweereza we.+
43 Yaggyayo abantu be nga bajaganya,+Abalonde be nga boogerera waggulu n’essanyu.
44 Yabawa ensi z’amawanga;+Baasikira ebyo amawanga amalala bye gaateganira,+
45 Yakola bw’atyo basobole okukwata ebiragiro bye,+Era bakwatenga amateeka ge.
Mutendereze Ya!*
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Mwogere.”
^ Oba, “bazzukulu ba.”
^ Obut., “ekigambo kye yalagira.”
^ Obut., “N’amenya buli muti gw’omugaati.” Oboolyawo kitegeeza emiti kwe baaterekanga emigaati.
^ Obut., “Ebigere bye baabibonyaabonya n’enjegere.”
^ Obut., “Okusiba abaami.”
^ Oba, “n’ennimi z’omuliro.”
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.