Zabbuli 102:1-28
Essaala y’omuntu abonaabona era ali mu buyinike,* n’ategeeza Yakuwa ebimweraliikiriza.+
102 Ai Yakuwa, wulira okusaba kwange;+Okuwanjaga kwange ka kutuuke gy’oli.+
2 Tonkweka bwenyi bwo nga ndi mu nnaku.+
Ntegera okutu;*Nnyanukula mangu bwe nkukoowoola.+
3 Kubanga obulamu bwange buggwaawo ng’omukka,N’amagumba gange gengereredde ng’amanda agaaka.+
4 Omutima gwange gulinga omuddo ogwokeddwa akasana ne gukala,+Kubanga nneerabira n’okulya emmere yange.
5 Olw’okuba nsinda nnyo,+Nsigadde magumba meereere na lususu.+
6 Nfaanana nga kimbala ow’omu lukoola;Nninga ekiwuugulu mu matongo.
7 Sikyebaka ku tulo;*Nninga ekinyonyi ekiri kyokka waggulu ku nnyumba.+
8 Abalabe bange banvuma okuzibya obudde.+
Abo abansekerera* bakozesa erinnya lyange bwe baba bakolima.
9 Evvu lye ndya ng’emmere,+Era bye nnywa bitabuddwamu amaziga,+
10 Olw’obusungu bwo n’ekiruyi kyo,Wansitula n’onkasuka eri.
11 Ennaku zange ziringa ekisiikirize ekiggwaawo,+Era mpotoka ng’omuddo.+
12 Naye ggwe Ai Yakuwa, obeerawo emirembe gyonna,+Ettutumu* lyo lya mirembe gyonna.+
13 Mazima ddala ojja kuyimuka osaasire Sayuuni,+Kubanga kye kiseera okumulaga ekisa;+Ekiseera ekigereke kituuse.+
14 Amayinja ge gasanyusa abaweereza bo,+Era baagala nnyo enfuufu ye.+
15 Amawanga gajja kutya erinnya lya Yakuwa,Era bakabaka bonna ab’omu nsi bajja kutya ekitiibwa kyo.+
16 Kubanga Yakuwa ajja kuddamu azimbe Sayuuni;+Ajja kulabikira mu kitiibwa kye.+
17 Ajja kuwuliriza okusaba kw’abanaku;+Tajja kugaya ssaala zaabwe.+
18 Bino biwandiikiddwa okuganyula omulembe oguliddawo,+Abantu abalibaawo* basobole okutendereza Ya.
19 Yakuwa atunula wansi ng’ayima mu watukuvu we waggulu,+Atunuulira ensi ng’ayima mu ggulu,
20 Okuwulira okusinda kw’omusibe,+Okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa,+
21 Erinnya lya Yakuwa lisobole okulangirirwa mu Sayuuni+N’ettendo lye mu Yerusaalemi,
22 Ng’amawanga n’obwakabaka bikuŋŋaanye wamuOkuweereza Yakuwa.+
23 Yanzigyako amaanyi gange nga nkyali muto;Yasala ku nnaku zange.
24 Nnagamba nti: “Ai Katonda wange,Tonzigyaawo nga sinnakaddiwa,Ggwe abeerawo emirembe n’emirembe.+
25 Edda ennyo wassaawo emisingi gy’ensi,N’eggulu nalyo mulimu gwa mikono gyo.+
26 Birisaanawo naye ggwe olisigalawo;Byonna birikaddiwa ng’olugoye.
Olibikyusa ng’ekyambalo, era biriggwaawo.
27 Naye ggwe tokyuka, era emyaka gyo tegirikoma.+
28 Abaana b’abaweereza bo bajja kubeera mu mirembe,N’abaana baabwe balibeera mu maaso go olubeerera.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “era anafuye.”
^ Oba, “Kutama owulire.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nkozze mpeddewo.”
^ Oba, “abanjerega.”
^ Oba, “Erinnya.” Obut., “Ekijjukizo.”
^ Obut., “abalitondebwa.”