Maaki
Ssande, Maaki 1
Oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.—Bar. 6:7.
Mu Bayibuli tusoma ku bantu abaali abatuukirivu naye oluvannyuma ne bafuuka abatali batuukirivu. Kabaka Sulemaani y’omu ku bantu abo. Yayigirizibwa bulungi amakubo ga Yakuwa, era Yakuwa yamuwa emikisa mingi. Kyokka oluvannyuma yatandika okusinza bakatonda ab’obulimba. Ekyo kye yakola kyanyiiza nnyo Yakuwa, era ebizibu ebyavaamu byakosa eggwanga lya Isirayiri okumala ebyasa bingi. Kyo kituufu nti Bayibuli egamba nti Sulemaani ‘yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,’ omwali abasajja abeesigwa, gamba nga Kabaka Dawudi. (1 Bassek. 11:5-9, 43; 2 Bassek. 23:13) Naye engeri Sulemaani gye yaziikibwamu bukakafu obulaga nti ajja kuzuukira? Bayibuli tetubuulira. Okuzuukira kirabo okuva eri Omutonzi waffe atwagala. Akiwa abo b’ayagala okubawa akakisa okumuweereza emirembe gyonna. (Yob. 14:13, 14; Yok. 6:44) Sulemaani anaaweebwa ekirabo ekyo? Yakuwa y’amanyi; ffe tetumanyi. Naye kye tumanyi kiri nti, Yakuwa ajja kukola ekituufu. w24.05 4 ¶9
Nja kubeeranga mu weema yo emirembe n’emirembe.—Zab. 61:4.
Bwe twewaayo eri Yakuwa tuba tukyaziddwa mu weema ye ey’akabonero. Tuba n’emmere nnyingi nnyo ey’eby’omwoyo era n’abalala ababa bakyaziddwa mu weema ya Yakuwa bafuuka mikwano gyaffe. Weema ya Yakuwa ey’akabonero teri mu kifo kimu kyokka. Esangibwa buli wamu awali abaweereza ba Yakuwa. (Kub. 21:3) Ate abaweereza ba Yakuwa abaafa nga beesigwa? Bakyali bagenyi mu weema ya Yakuwa? Yee! Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa akyabajjukira era gy’ali bakyali balamu. Yesu yagamba nti: “Okumanya nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yakiraga ng’ayogera ku byaliwo ku kisaka, bwe yayita Yakuwa, ‘Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Si Katonda wa bafu naye wa balamu, kubanga eri ye bonna balamu.”—Luk. 20:37, 38. w24.06 3 ¶6-7
Yakuwa ge maanyi gange era ye ngabo yange.—Zab. 28:7.
Zadooki yagenda e Kebbulooni n’eby’okulwanyisa nga mwetegefu okulwana. (1 Byom. 12:38) Yali mwetegefu okugenda ne Dawudi mu lutalo okulwanyisa abalabe ba Isirayiri. Zadooki ayinza okuba nga teyalina bumanyirivu bungi mu kulwana, naye yali muvumu. Zadooki eyali aweereza nga kabona yayigira wa okuba omuvumu? Yali yeetooloddwa abasajja abaali ab’amaanyi era abavumu. Kya lwatu nti ekyokulabirako ky’abasajja abo kyamuyamba okuba omuvumu. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Dawudi yayolekanga obuvumu ‘n’akulemberamu Isirayiri mu ntalo,’ kyaviirako Abayisirayiri bonna okumuwagira okuba kabaka. (1 Byom. 11:1, 2) Bulijjo Dawudi yeesiganga Yakuwa okumuyamba okulwanyisa abalabe be. (Zab. 138:3) Waliwo abasajja abalala abaateerawo Zadooki ekyokulabirako ekirungi, nga mu bano mwe mwali Yekoyaada ne mutabani we omulwanyi eyali ayitibwa Benaya awamu n’abaami b’ennyumba 22 abaawagira Dawudi.—1 Byom. 11:22-25; 12:26-28. w24.07 3 ¶5-6
Katonda akulaga ekisa kye akusobozese okwenenya.—Bar. 2:4.
Sawulo ow’e Taluso yayigganya nnyo abagoberezi ba Yesu. Kirabika Abakristaayo bangi baali bamutwala ng’omuntu eyali tasobola kukyuka. Naye Yesu yali akimanyi nti Sawulo yali asobola okwenenya n’okukyuka. Yesu ne Kitaawe baalaba engeri ennungi mu Sawulo. Yesu yagamba nti: “Omusajja oyo kibya kye nnonze.” (Bik. 9:15) Yesu yakola n’ekyamagero okuyamba Sawulo okwenenya. (Bik. 7:58–8:3; 9:1-9, 17-20) Oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo, Sawulo oluvannyuma eyamanyibwa ng’omutume Pawulo, emirundi mingi yalaga nti yali asiimye ekisa n’obusaasizi Yakuwa ne Yesu bye baali bamulaze. (1 Tim. 1:12-15) Pawulo bwe yawulira ku kizibu eky’amaanyi ekikwata ku bugwenyufu ekyali mu kibiina ky’e Kkolinso, yakwata atya ensonga eyo? Ebyo Pawulo bye yayogera bituyamba okukimanya nti Yakuwa bw’anenya omwonoonyi akikola mu ngeri ey’okwagala, era omwonoonyi bwe yeenenya amulaga obusaasizi. w24.08 13 ¶15-16
Omwana wa Katonda yalabisibwa asobole okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.—1 Yok. 3:8.
Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yakuwa yagenda alaga engeri abantu aboonoonyi gye bandibadde basobola okufuna enkolagana ennungi naye. Abbeeri, omwana wa Adamu ne Kaawa owokubiri, ye muntu eyasooka okukkiririza mu Yakuwa oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo mu Edeni. Olw’okuba Abbeeri yali ayagala Yakuwa era ng’ayagala okumusanyusa n’okumusemberera, yawaayo ssaddaaka gy’ali. Okuva bwe kiri nti Abbeeri yali mulunzi wa ndiga, yatoola ezimu ku ndiga ze n’azitta, n’aziwaawo nga ssaddaaka eri Yakuwa. Ekyo Yakuwa yakitwala atya? ‘Yasiima Abbeeri era n’asiima n’ekiweebwayo kye.’ (Lub. 4:4) Yakuwa era yasiima ssaddaaka ezaaweebwayo abantu abalala abaali bamwagala era baali bamwesiga, gamba nga Nuuwa. (Lub. 8:20, 21) Yakuwa bwe yasiima ssaddaaka ng’ezo, yakiraga nti abantu aboonoonyi basobola okusiimibwa mu maaso ge era nti basobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. w24.08 3 ¶5-6
Ebigere byange byabulako katono okuwaba; ebigere byange byali binaatera okuseerera.—Zab. 73:2.
Bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya tuyinza okuwulira obulumi obw’amaanyi. (Mub. 7:7) Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa gamba nga Yobu ne Kaabakuuku, nabo baawulira bwe batyo. (Yob. 6:2, 3; Kaab. 1:1-3) Wadde nga kya bulijjo okuwulira bwe tutyo, tulina okuba abeegendereza tuleme okukola ekintu eky’obusirusiru ne twongera kwonoona mbeera. Abo abayisa abalala mu ngeri etali ya bwenkanya bwe balabika ng’abatabonerezebwa tuyinza okwebuuza obanga ddala kya magezi okukola ekituufu. Lowooza ku muwandiisi wa Zabbuli omu. Yalaba abantu ababi nga bayisa bubi abantu abalungi, naye nga balabika ng’abanyumirwa obulamu. Yagamba nti: “Abo be babi abatafuna kizibu kyonna.” (Zab. 73:12) Ate era yasoberwa nnyo olw’obutali bwenkanya bwe yali alaba ne kiba nti yatuuka n’okulowooza nti si kya magezi okuweereza Yakuwa. Yagamba nti: “Bwe nnagezaako okukitegeera, kyannakuwaza.”—Zab. 73:14, 16. w24.11 3 ¶5-7
Mutendereze Yakuwa, mmwe ebika eby’amawanga; mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.—Zab. 96:7.
Tuwa Yakuwa ekitiibwa olw’ekyo ky’ali. Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okuwa Yakuwa ekitiibwa. Ye muyinza w’ebintu byonna era amaanyi ge tegaliiko kkomo. (Zab. 96:4-7) Alina amagezi mangi nnyo era geeyolekera mu bintu bye yakola. Ye Nsibuko y’obulamu bwaffe era y’abubeezaawo. (Kub. 4:11) Mwesigwa. (Kub. 15:4) Buli ky’akola ebivaamu biba birungi, era bulijjo atuukiriza by’asuubiza. (Yos. 23:14) Eyo ye nsonga lwaki nnabbi Yeremiya yagamba bw’ati Yakuwa: “Tewali n’omu alinga ggwe, mu b’amagezi bonna ab’omu mawanga n’ab’omu bwakabaka bwabwe bwonna”! (Yer. 10:6, 7) Mazima ddala tulina ensonga nnyingi kwe tusinziira okuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. Tuwa Yakuwa ekitiibwa, era tumwagala. Mu butuufu, ensonga esingira ddala obukulu lwaki tumuwa ekitiibwa eri nti tumwagala nnyo. w25.01 3 ¶5-6
Omuntu omubi mumuggye mu mmwe.—1 Kol. 5:13.
Abalabe ba Katonda bagezaako okulabisa ebintu ebirungi ebikwata ku kibiina kya Yakuwa ng’ebibi. Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti Yakuwa asuubira abo abamusinza okuba abayonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. Yakuwa atwetaagisa okuggya mu kibiina kye abo bonna abakola ebintu ebibi nga si beetegefu kukyusa nneeyisa yaabwe. (1 Kol. 5:11, 12; 6:9, 10) Tunywerera ku kiragiro ekyo eky’omu Byawandiikibwa. Naye olw’okuba tugondera ekiragiro ekyo, abalabe baffe bagamba nti tetwagala bantu, tusalira abalala omusango, era nti tetugumiikiriza bantu bannaffe. Tulina okumanya ali emabega w’obulumbaganyi buno. Sitaani Omulyolyomi y’ali emabega w’ebintu byonna eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa. Ye “kitaawe w’obulimba.” (Yok. 8:44; Lub. 3:1-5) N’olwekyo, tusuubira Sitaani okukozesa abantu be okwogera ebintu eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa. w24.04 10-11 ¶13-14
Tebiireme kutuukirira.—Ezk. 33:33.
N’oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene okutandika, kisoboka okuba nti abamu ku abo abanaalaba nga “Babulooni Ekinene” kizikiriziddwa, bajja kukijjukira nti Abajulirwa ba Yakuwa bamaze ebbanga ddene nga boogera ku nsonga eyo. Kyandiba nti abamu ku abo abanaalaba ekyo nga kibaawo bajja kutandika okukkiririza mu Yakuwa? (Kub. 17:5) Ekyo bwe kinaaba bwe kityo, kijja kuba kifaananako n’ekyo ekyaliwo mu Misiri mu kiseera kya Musa. Kijjukire nti “ekibiina ekinene eky’abantu abataali Bayisirayiri” beegatta ku Bayisirayiri nga bava e Misiri. Abamu ku bantu abo bayinza okuba nga baatandika okukkiririza mu Yakuwa bwe baalaba ng’ebyo Musa bye yayogera ku Bibonyoobonyo Ekkumi bituukirira. (Kuv. 12:38) Singa ekintu ekifaananako bwe kityo kibaawo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, tunaakitwala nti si kya bwenkanya abantu okutwegattako ng’ebula ekiseera kitono enkomerero etuuke? Kya lwatu nedda! Twagala okuba nga Kitaffe ow’omu ggulu, “Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi.”—Kuv. 34:6. w24.05 11 ¶12-13
Nywereranga ku mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo.—2 Tim. 1:13.
Kiki ekiyinza okubaawo singa tuva ku “mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo”? Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu kyasa ekyasooka, kirabika olugambo lwali lusaasaana mu Bakristaayo nti olunaku lwa Yakuwa lwali lwamala dda okutuuka. Kirabika waliwo ebbaluwa gye baafuna ng’erabika ng’eyali ewandiikiddwa omutume Pawulo ng’eyogera ku nsonga eyo. Nga tebafuddeeyo kusooka kwekenneenya bukakafu, abamu ku Bakristaayo ab’omu Ssessalonika bakkiriza obulimba obwo era ne batandika n’okubusaasaanya. Bandibadde tebabuzaabuzibwa singa bajjukira ebintu omutume Pawulo bye yali abayigirizza bwe yali ng’akyali nabo. (2 Bas. 2:1-5) Pawulo yali alabudde bakkiriza banne obutamala gakkiriza buli kintu kye bawulira. Era okubayamba obutaddamu kubuzaabuzibwa, yafundikira ebbaluwa ey’okubiri gye yawandiikira Abassessalonika n’ebigambo bino: “Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange, era ke kabonero aka buli bbaluwa yange; eno ye ngeri gye mpandiikamu.”—2 Bas. 3:17. w24.07 12 ¶13-14
Mwetaaga okugumiikiriza.—Beb. 10:36.
Abakristaayo Abebbulaniya baalina okugumira ebintu ebyagezesa okukkiriza kwabwe ng’embeera mu Buyudaaya egenda yeeyongera okwonooneka. Wadde ng’abamu ku bo baali baagumira okuyigganyizibwa okw’amaanyi, bangi baali baafuuka Abakristaayo mu kiseera we waabeererawo emirembe emisaamusaamu. Omutume Pawulo yabajjukiza nti baalina okweteekerateekera okuyigganyizibwa n’okuba abeetegefu okusigala nga beesigwa okutuukira ddala okufa nga Yesu bwe yakola. (Beb. 12:4) Kyokka Obukristaayo bwe bwagenda busaasaana, Abayudaaya abaali batayagala Bakristaayo beeyongera okusunguwala n’okubakolako ebikolwa eby’obukambwe. Ng’ekyokulabirako, emyaka mitono emabega Abayudaaya abasukka mu 40 “beerayirira nga bagamba nti bakolimirwe singa balya oba banywa nga tebannatta Pawulo.” (Bik. 22:22; 23:12-14) Wadde ng’embeera yali bw’etyo, Abakristaayo abo baalina okukuŋŋaananga awamu okusinza, okubuulira amawulire amalungi, n’okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe. w24.09 12 ¶15
[Yesu] n’agamba maama we nti: “Laba, mutabani wo!”—Yok. 19:26.
Yokaana yali mukwano gwa Yesu era yali mutume we. (Mat. 10:2) Yokaana yatambulanga ne Yesu ng’akola omulimu gw’okubuulira, yalaba ebyamagero bye yakolanga, era yamunywererako ne mu mbeera enzibu. Yalaba Yesu ng’attibwa era yamulaba ng’azuukidde. Yalaba ekibiina Ekikristaayo nga kikula, era olw’okuba yawangaala nnyo yalaba amawulire amalungi nga ‘gaabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’ (Bak. 1:23) Yokaana bwe yali ng’akaddiye nnyo yafuna enkizo ey’okuwandiika ekitabo ky’Okubikkulirwa. (Kub. 1:1) Yawandiika n’ekitabo ky’Enjiri ekiyitibwa erinnya lye, era yawandiika n’ebbaluwa ssatu ezaaluŋŋamizibwa. Ebbaluwa ye ey’okusatu yagiwandiikira Omukristaayo omwesigwa eyali ayitibwa Gayo, gwe yali atwala ng’omwana we omwagalwa ow’eby’omwoyo. (3 Yok. 1) Ebyo omusajja oyo omwesigwa bye yawandiika bizizzaamu abagoberezi ba Yesu amaanyi n’okutuusa leero. w24.11 12 ¶15-16
Abaami, . . . bakazi bammwe [mubasseemu] ekitiibwa.—1 Peet. 3:7.
Omwami ayagala mukyala we aba amutwala nti wa muwendo. Amutwala ng’ekirabo eky’omuwendo ennyo okuva eri Yakuwa. (Nge. 18:22; 31:10) Ekyo kimuleetera okumuyisa mu ngeri ey’ekisa era eraga nti amuwa ekitiibwa ne bwe baba nga bali mu kwegatta. Tamuwaliriza kwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta ebimuleetera okuwulira nti aweebuddwa oba ebimuleetera okulumirizibwa omuntu we ow’omunda. Ate era omwami naye kennyini alina okwewala okukola ekintu ekinaamuleetera okulumirizibwa omuntu we ow’omunda. (Bik. 24:16) Abaami, mube bakakafu nti Yakuwa asiima nnyo bw’abalaba nga mufuba okwagala bakyala bammwe n’okubassaamu ekitiibwa mu mbeera zonna ez’obulamu. Mube bamalirivu okuwa bakyala bammwe ekitiibwa nga mwewala okubakola ebintu ebibaweebuula, obutabalaga kisa, obutabassaamu kitiibwa, era mufube okubalaga okwagala. Bwe mukola bwe mutyo, muba mukiraga nti mubaagala era nti mubatwala nti ba muwendo. Bwe mwagala bakyala bammwe era ne mubawa ekitiibwa, muba munyweza enkolagana yammwe ne Yakuwa.—Zab. 25:14. w25.01 13 ¶17-18
[Yeewaayo] ku lwaffe asobole okutununula . . . n’okutulongoosa tubeere abantu be, ekintu kye ekiganzi, abanyiikirira ebikolwa ebirungi.—Tit. 2:14.
Ekimu ku bintu ebyawulawo abaweereza ba Yakuwa ku bantu abalala abeeyita Abakristaayo, kwe kubuulira n’obunyiikivu. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli banyiikivu, oboolyawo n’okweyongerera ddala okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira? Okwekenneenya ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kisobola okutuyamba okuba abanyiikivu mu kubuulira. Yesu bwe yali ku nsi, obunyiikivu bwe yalina mu mulimu gw’okubuulira tebwakendeerako. Mu butuufu, ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yeeyongera bweyongezi okuba omunyiikivu. Okufaananako omusajja eyali alima mu nnimiro y’emizabbibu eyamala emyaka esatu ng’alabirira omutiini ogwali gutabala, Yesu yamala emyaka ng’esatu ng’abuulira Abayudaaya, naye abasinga obungi ku bo tebakkiriza bubaka bwe. Wadde kyali kityo, teyalekera awo kubabuulira. Yali ng’omulimi w’emizabbibu eyasigala ng’alina essuubi nti oboolyawo ekiseera kyandituuse omutiini ne gubala. (Luk. 13:6-9) Tusobola okusigala nga tuli banyiikivu leero bwe togondera ebyo Yesu bye yatulagira era ne tukola ebyo bye yakola. w25.03 14-15 ¶1-4
Omuntu omutegeevu yeeyisa mu ngeri ey’amagezi.—Nge. 13:16.
Watya singa wabaawo omuntu gw’olaba nti ayinza okuba omutuufu ow’okuwasa? Wandibadde omutegeerezaawo nti oyagala okweyongera okumumanya? Bayibuli egamba nti omuntu ow’amagezi asooka kumanya nga tannabaako ky’akola. N’olwekyo kiba kya magezi okusooka okwetegereza omuntu okumala ekiseera nga tonnaba kumugamba nti omwagala. Oyinza otya okwetegereza omuntu naye ng’okikola mu ngeri ey’amagezi? Bwe muba mu nkuŋŋaana oba nga musanyukirako wamu n’ab’oluganda abalala, oyinza okubaako ebintu bye weetegereza ebiraga embeera y’omuntu oyo ey’eby’omwoyo, engeri ze, n’enneeyisa ye. Mikwano gye be baani era biki by’ayogerako? (Luk. 6:45) Ebiruubirirwa bye bikwatagana n’ebibyo? Oyinza okwogerako n’abakadde mu kibiina kye oba n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo abamumanyi obulungi. (Nge. 20:18) Oyinza okubuuza abalala ekyo kye bamumanyiiko. (Luus. 2:11) Nga weetegereza omuntu oyo, weewale okukola ebintu ebiyinza okumumalako emirembe. Kirage nti ofaayo ku nneewulira ye era tomulondoola. w24.05 22 ¶7-8
Kyaddaaki nnakwatulira ekibi kyange.—Zab. 32:5.
Abakadde tebanguwa kukitwala nti omwonoonyi tajja kwenenya. Wadde ng’abamu bayinza okwenenya omulundi gwe basooka okutuulako n’abakadde, abalala bayinza okwetaaga ekiseera ekisingawo. N’olwekyo, abakadde bayinza okusalawo okwogerako n’omwonoonyi emirundi egisukka mu gumu. Oboolyawo oluvannyuma lw’okwogera naye omulundi ogusooka, ayinza okutandika okufumiitiriza ku ebyo bye baba boogedde naye. Ayinza okwetoowaza n’asaba Yakuwa amusonyiwe. (Zab. 38:18) Bwe kityo, bwe baddamu okutuula naye omulundi omulala, ayinza okukyoleka nti kati endowooza ye ya njawulo ku eyo gye yalina mu kusooka. Okusobola okuyamba omwonoonyi okwenenya, abakadde bakyoleka nti bamulumirirwa, era bamulaga ekisa. Basaba Yakuwa awe omukisa okufuba kwabwe era baba basuubira nti omwonoonyi oyo ajja kwekuba mu kifuba yeenenye.—2 Tim. 2:25, 26. w24.08 22-23 ¶12-13
“Sisanyukira kufa kwa muntu yenna,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. “Kale mukyuke musigale nga muli balamu.”—Ezk. 18:32.
Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirira! Ayagala aboonoonyi badde gy’ali. (2 Kol. 5:20) Eyo ye nsonga lwaki mu byafaayo byonna, enfunda n’enfunda azze akubiriza abantu be abajeemu, omuli abantu kinnoomu, okwenenya badde gy’ali. Abakadde mu kibiina balina enkizo ey’okukolera awamu ne Yakuwa nga bafuba okuyamba aboonoonyi okwenenya. (Bar. 2:4; 1 Kol. 3:9) Lowooza ku ssanyu eriba mu ggulu ng’aboonoonyi beenenyezza! Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu afuna essanyu eryo buli endiga ye eba yabula lw’ekomawo mu kibiina. Buli lwe tufumiitiriza ku busaasizi bwa Yakuwa ne ku kisa ky’alaga, tweyongera okumwagala.—Luk. 1:78. w24.08 31 ¶16-17
Yesu bwe yamanya nti baali banaatera okujja okumukwata bamufuule kabaka, n’addayo ku lusozi n’abeera eyo yekka.—Yok. 6:15.
Singa Yesu yakkiriza okufuulibwa kabaka, yandibadde yeenyigira mu by’obufuzi by’Abayudaaya abaali bafugibwa Abaruumi. Mu kifo ky’ekyo, yabaviira “n’addayo ku lusozi.” Wadde ng’abalala baagezaako okumupikiriza okwenyigira mu by’obufuzi, teyakkiriza. Tumuyigirako ki? Kya lwatu, abalala tebajja kutugamba kubawa migaati oba kuwonya balwadde mu ngeri ey’ekyamagero, era tebajja kugezaako kutufuula bakabaka oba abakulembeze b’eggwanga. Naye bayinza okutukubiriza okwenyigira mu by’obufuzi nga batugamba okubaako gwe tulonda, oba okubaako engeri gye tuwagira omuntu gwe bawulira nti ajja kutereeza embeera. Naye ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kitegeerekeka bulungi. Yagaana okwenyigira mu by’obufuzi era oluvannyuma yagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yok. 17:14; 18:36) Abakristaayo leero basaanidde okukoppa eky’okulabirako Yesu kye yassaawo. Tuwagira Bwakabaka bwa Katonda, tubuwaako obujulirwa, era tusaba bujje.—Mat. 6:10. w24.12 4 ¶5-6
Oyo akkiriza ebiragiro byange n’abikwata, y’oyo anjagala. Era oyo anjagala Kitange ajja kumwagala, era nange nja kumwagala era nneeyoleke gy’ali.—Yok. 14:21.
Bw’oba weesomesa, fumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’oyiga. Ng’ekyokulabirako, koppa obwenkanya bwa Yakuwa nga weewala okusosola abalala. Koppa okwagala Yesu kw’alina eri Kitaawe n’eri abalala ng’oba mwetegefu okubonaabona ku lw’erinnya lya Yakuwa, era ng’oba mwetegefu okwefiiriza ku lwa bakkiriza banno. Ate era koppa Yesu ng’obuulira abalala nabo basobole okufuna akakisa ak’okukkiriza ekirabo eky’omuwendo ennyo Yakuwa kye yawa abantu. Gye tunaakoma okutegeera ekinunulo era n’okukisiima, gye tujja okukoma okwagala Yakuwa n’Omwana we. Ekyo nabo kijja kubaviirako okweyongera okutwagala. (Yak. 4:8) N’olwekyo, ka tukozese ebintu Yakuwa by’atuwadde okweyongera okuyiga ku kinunulo. w25.01 25 ¶16-17
Ebibi byange byonna obisudde emabega wo.—Is. 38:17.
Ekyawandiikibwa kya leero era kiyinza okuvvuunulwa bwe kiti: “Ebibi byange byonna obiggye mu maaso go.” Ekyokulabirako ekyo kiraga nti Yakuwa atwala ebibi by’aboonoonyi abeenenya n’abisuula wala nga tebikyasobola kulabika. Ebigambo ebyo era biyinza okuvvuunulwa bwe biti: “Ebibi byange obifudde ng’ebitabangawoko.” Ensonga eyo era eggumizibwa mu kyokulabirako ekirala ekisangibwa mu Mikka 7:18, 19. Mu nnyiriri ezo Yakuwa ayogerwako ng’asuula ebibi mu buziba bw’ennyanja. Mu biseera by’edda ekintu bwe kyasuulibwanga mu buziba bw’ennyanja kyabanga tekisoboka kuggibwayo. Ebyokulabirako ebyo bituyambye okukiraba nti Yakuwa bw’atusonyiwa atutikkula omugugu gw’ebibi byaffe. Mazima ddala, nga Dawudi bwe yagamba, “Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako ebibi byabwe.” (Bar. 4:7) Ekyo kye kitegeeza okusonyiyira ddala! w25.02 9 ¶7-8
Musanyuke era mujaganye emirembe gyonna olw’ekyo kye ntonda.—Is. 65:18.
Waliwo olusuku leero ku nsi olulimu abantu abakola ebintu ebirungi. Lulimu abantu bukadde na bukadde abali mu mirembe egya nnamaddala. Abo abali mu lusuku olwo bamaliridde obutaluvaamu. Ate era baagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka okubeegattako. Lusuku ki olwo? Lwe lusuku olw’eby’omwoyo! Mu ngeri eyeewuunyisa, Yakuwa ataddewo ekifo eky’akabonero ekirimu abantu be abali mu mirembe era abali obumu, wadde nga babeera mu nsi ya Sitaani ejjudde obukyayi n’ebintu ebirala ebibi. (1 Yok. 5:19; Kub. 12:12) Katonda waffe atwagala alaba obulumi ensi ya Sitaani bw’ereetera abantu, naye aleetera abaweereza be okuwulira nti balina obukuumi, ne kibayamba okweyongera okumuweereza nga basanyufu. Ekigambo kye kyogera ku lusuku luno ‘ng’ekifo eky’okuddukiramu’ era ‘ng’ennimiro efukirirwa obulungi.’ (Is. 4:6; 58:11) Olw’okuba abo abali mu lusuku luno Yakuwa abawa emikisa, basanyufu era bawulira nga balina obukuumi mu nnaku zino enzibu ennyo ez’enkomerero.—Is. 54:14; 2 Tim. 3:1. w24.04 20 ¶1-2
Mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.—Baf. 4:6.
Bw’oba ng’onoonya omuntu ow’okuwasa oteekwa okuba ng’ekyo okitegeezezzaako Yakuwa. Kya lwatu nti Yakuwa talina muntu yenna gw’alondera wa kuwasa. Naye afaayo ku nneewulira yo era asobola okukuyamba ng’onoonya omuntu ow’okuwasa. N’olwekyo weeyongere okumusaba. (Zab. 62:8) Musabe akuyambe okuba omugumiikiriza era akuwe amagezi. (Yak. 1:5) Ne bw’otofuna muntu mu kiseera kye wandyagadde, Yakuwa asuubiza okweyongera okukulabirira mu by’omubiri n’okufaayo ku nneewulira yo. (Zab. 55:22) Kyokka weegendereze oleme kuba ng’eky’okunoonya omuntu ow’okuwasa ky’otwala ng’ekisinga obukulu mu bulamu bwo. (Baf. 1:10) Essanyu erya nnamaddala terisinziira ku kuba nti omuntu mufumbo oba si mufumbo, wabula lisinziira ku kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Mat. 5:3) Era kati ng’oli bwannamunigina, olina ebiseera bingi okugaziya ku buweereza bwo. (1 Kol. 7:32, 33) Kozesa bulungi ebiseera ebyo. w24.05 21 ¶4; 22 ¶6
Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.—Baf. 2:4.
Mwandimaze bbanga ki nga mwogerezeganya? Okwanguyiriza okusalawo kitera okuvaamu ebizibu. (Nge. 21:5) N’olwekyo, ekiseera kye mumala nga mwogerezeganya kirina okuba nga kibamala buli omu okutegeera munne obulungi. Kyokka tekirina kuba kiwanvu nnyo, okuggyako nga ddala kyetaagisa. Bayibuli egamba nti: “Ekisuubirwa bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala.” (Nge. 13:12) Abalala bayinza batya okuyamba aboogerezeganya? Tuyinza okubayita okuliirako awamu naffe, okutwegattako mu kusinza kw’amaka, oba okusanyukirako awamu naffe. (Bar. 12:13) Beetaaga omuntu anaabawerekerako, beetaaga entambula, oba ekifo we basobola okunyumizaako nga bali bokka? Bwe kiba kityo, tusobola okubaako kye tukola okubayamba. (Bag. 6:10) Singa abo aboogerezeganya bakusaba okubawerekerako, ako katwale ng’akakisa k’oba ofunye okubayamba. Bw’oba obawerekedde, tobaleka kubeera bokka; naye osaanidde okupimaapimamu okumanya ddi lw’olina obutababeera ku lusegere basobole okubaako bye boogera nga bali bokka. w24.05 30 ¶13-14
Nnamuwa ekiseera yeenenye.—Kub. 2:21.
Abakadde basaanidde okufuba okumanya ebintu ebiba byaviiriddeko omuntu okukola ekibi. Ng’ekyokulabirako, omuntu oyo azze anafuwa mpola mu by’omwoyo olw’okuba yalagajjalira okwesomesa oba okubuulira? Abadde asaba lumu na lumu era ng’essaala ze teziviira ddala ku mutima? Abadde akolera ku kwegomba okubi kw’afuna? Abadde n’emikwano emibi oba abadde yeesanyusaamu mu ngeri etasaana? Ebintu ebyo biyinza okuba nga bikutte bitya ku mutima gwe? Ategeera engeri Kitaawe Yakuwa gy’akwatiddwako olw’ebyo by’azze asalawo n’olw’engeri gye yeeyisaamu? Abakadde basobola okubuuza omuntu ebibuuzo ng’ebyo okumuyamba okulowooza ku bintu ebiba byamuviiriddeko okunafuwa mu by’omwoyo n’akola ekibi. Ekyo bakikola mu ngeri ey’ekisa, era tebamubuuza bintu ebimukwatako bye batateekeddwa kumanya. (Nge. 20:5) Ate era basobola okukozesa ebyokulabirako okuyamba omuntu okufumiitiriza n’okukitegeera nti kye yakoze kyabadde kikyamu. Oboolyawo ku mulundi gwe basooka okutuulako naye, omuntu oyo ayinza okutandika okuwulira obubi olw’ekyo ky’aba yakoze. Ayinza n’okwenenya. w24.08 22 ¶9-11
Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.—Luk. 4:43.
Yesu yabuulira n’obunyiikivu “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” kubanga yali akimanyi nti ekyo Katonda kye yali ayagala akole. Okubuulira yali akutwala nga gwe mulimu ogusinga obukulu mu bulamu bwe. Ne bwe yali abuzaayo ekiseera kitono amalirize obuweereza bwe ku nsi, yatambulanga “mu bibuga byonna ne mu bubuga bwonna ng’ayigiriza” abantu. (Luk. 13:22) Ate era yatendeka abayigirizwa abalala okukolera awamu naye mu mulimu gw’okubuulira. (Luk. 10:1) Ne leero okubuulira gwe mulimu ogusinga obukulu Yakuwa ne Yesu gwe baagala tukole. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Tusobola okweyongera okuba abanyiikivu mu kubuulira singa tutunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira. Yakuwa ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okuwulira amawulire amalungi basobole okumanya amazima agamukwatako. (1 Tim. 2:3, 4) Eyo ye nsonga lwaki atutendeka tusobole okweyongera okulongoosa mu ngeri gye tukolamu omulimu ogwo oguwonyaawo obulamu. Abantu ne bwe batakkiriza kuyiga Bayibuli mu kiseera kino, bayinza okutandika okuyiga ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnaggwaako. w25.03 15-16 ¶5-7
Oyo amulamusa aba assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi.—2 Yok. 11.
Buli Mukristaayo asaanidde okukozesa omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli ng’asalawo engeri y’okuyisaamu omuntu eyaggibwa mu kibiina. Abamu bayinza okusalawo okubuuza ku muntu oyo oba okumwaniriza ng’azze mu nkuŋŋaana. Naye tetusaanidde kunyumya naye kumala kiseera ekiwera oba okukolera awamu naye ebintu ebirala. Kyokka abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Bayibuli tegamba nti ‘Omukristaayo alamusa omuntu ng’oyo aba assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi?’ (2 Yok. 9-11) Ebyo ebiri mu nnyiriri ezo biraga nti obulagirizi obwo bwali bukwata ku bakyewaggula n’abalala abatumbula ebikolwa ebivumirirwa mu Bayibuli. (Kub. 2:20) N’olwekyo, omuntu bw’aba ng’asaasaanya enjigiriza za bakyewaggula, oba ng’akubiriza abalala okukola ebikolwa ebibi, abakadde tebakola nteekateeka kumukyalira. Wadde kiri kityo, omuntu oyo ayinza okutuusa ekiseera ne yeenenya. Naye ng’ekyo tannakikola, tetumulamusa era tetumuyita kujja mu nkuŋŋaana. w24.08 30-31 ¶14-15
Mu mitima gyabwe baasigala tebategedde.—Mak. 6:52.
Oluvannyuma lwa Yesu okuliisa abantu, yagamba abatume be basaabale bagende e Kaperunawumu era ye n’addayo ku lusozi, bw’atyo ne yeewala abantu okumufuula kabaka. (Yok. 6:16-20) Abatume bwe baali basaabala, omuyaga ogw’amaanyi gwatandika okukunta era ennyanja n’efuukuuka. Oluvannyuma Yesu yajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, era n’agamba omutume Peetero okukola kye kimu. (Mat. 14:22-31) Yesu bwe yalinnya eryato, omuyaga gwakkakkana. Abatume baawuniikirira nnyo era ne bagamba nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.” (Mat. 14:33) Wadde kyali kityo, baali tebalaba kakwate kaliwo wakati w’ekyamagero ekyo n’ekyo kye yali akoze eky’okuliisa abantu emigaati. Ng’ayogera ku kyamagero ekyo kye kimu, Makko yagamba nti: “[Abatume] ne bawuniikirira nnyo, kubanga baali tebategedde makulu g’ekyamagero eky’emigaati.” (Mak. 6:50-52) Abatume abo baali tebannategeera nti Yakuwa yali awadde Yesu amaanyi okukola ebyamagero bingi ebisinga ne ku kuliisa abantu emigaati. w24.12 5 ¶7
[Katonda] ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.—1 Tim. 2:4.
Tusobola okukyoleka nti tusiima okwagala Yakuwa kwe yatulaga nga tukozesa ekiseera ky’Ekijjukizo okulaga Yakuwa nti tusiima ekinunulo kye yawaayo ku lwaffe. Ng’oggyeeko okweteekateeka okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, tusaanidde n’okuyita abalala okubaawo. Abo b’onooyita ku mukolo ogwo bannyonnyole ebyo ebijja okubaayo. Bajja kuganyulwa nnyo bw’onoobalaga vidiyo, Lwaki Yesu Yafa? ne Okujjukira Okufa kwa Yesu. Abakadde basaanidde okufuba okuyita abo abaggwaamu amaanyi. Lowooza ku ssanyu erinaaba mu ggulu ne ku nsi ng’ezimu ku ndiga za Yakuwa ezaabula zikomyewo mu kisibo kye! (Luk. 15:4-7) Ku mukolo gw’Ekijjukizo ka tufube okwaniriza bonna abanaabaawo, naye okusingira ddala abapya oba abo abanaaba bamaze ekiseera kiwanvu nga tebajja mu nkuŋŋaana. Twagala bawulire nti tubasanyukidde.—Bar. 12:13. w25.01 29 ¶15
Katonda ye yatwagala n’atuma Omwana we okuba ssaddaaka etangirira ebibi byaffe tusobole okutabagana ne Katonda.—1 Yok. 4:10.
Wadde ng’ekinunulo kituyamba okukitegeera nti Yakuwa Katonda mwenkanya, okusingira ddala kituyamba okutegeera nti alina okwagala kungi nnyo. (Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9, 10) Yakuwa yasindika omwana we okutufiirira olw’okuba ayagala tubeerewo emirembe gyonna, era olw’okuba ayagala tubeere ab’omu maka ge. Lowooza ku kino: Adamu bwe yayonoona, Yakuwa yamugoba mu maka ge agalimu abaweereza be abamusinza. N’ekyavaamu, ffenna tuzaalibwa nga tetuli ba mu maka ga Yakuwa. Naye olw’ekinunulo ekyaweebwayo, Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe era oluvannyuma ajja kuleeta mu maka ge abantu bonna abamukkiririzaamu era abamugondera. Ne mu kiseera kino tusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne bakkiriza bannaffe. Mazima ddala Yakuwa yatulaga okwagala kungi nnyo!—Bar. 5:10, 11. w25.01 21 ¶6
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 9) Yokaana 12:12-19; Makko 11:1-11
Bwe kuti okwagala kwa Katonda bwe kwayolesebwa.—1 Yok. 4:9.
Ekinunulo oteekwa okuba ng’okitwala nga kirabo kya muwendo nnyo! (2 Kol. 9:15) Olw’okuba Yesu yawaayo bulamu bwe nga ssaddaaka, osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda. Ate era olina n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Mazima ddala tusaanidde okusiima ennyo ekinunulo, n’okusiima ennyo Yakuwa eyakola enteekateeka okukituwa olw’okuba atwagala nnyo! (Bar. 5:8) Okusobola okutuyamba okusigala nga tusiima ekinunulo, n’obutakitwala ng’ekitali kya muwendo, Yesu yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe ogubaawo buli mwaka. (Luk. 22:19, 20) Omwaka guno ekijjukizo kijja kubaawo ku Lwokuna, Apuli 2, 2026. Kya lwatu nti ffenna tuteekateeka okubaawo. Mu kiseera ky’Ekijjukizo tujja kuganyulwa nnyo bwe tunaawaayo ebiseera okufumiitiriza ku ekyo Yakuwa n’Omwana we kye baatukolera. w25.01 20 ¶1-2
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 10) Yokaana 12:20-50
Mu kifo kya ffeeza, mulondewo bye mbayigiriza, ne mu kifo kya zzaabu asinga obulungi, mulondewo okumanya.—Nge. 8:10.
Osobola okweyongera okuyiga ebikwata ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe batulaga, singa weeyongera okufumiitiriza ku ebyo bye bakukoledde. Oboolyawo mu kiseera ky’Ekijjukizo eky’omwaka guno, oyinza okusalawo okusoma n’obwegendereza ekitabo ky’Enjiri kimu oba bibiri. Tosoma bintu bingi omulundi gumu. Mu kifo kyekyo, soma mpolampola nga bw’onoonya ensonga endala ezituleetera okwagala Yakuwa ne Yesu. Bw’oba ng’omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa, oyinza okuba nga weebuuza obanga wakyaliyo ebintu ebipya by’osobola okuyiga ku bintu gamba ng’obwenkanya bwa Katonda, okwagala kwe, n’ekinunulo. Ekituufu kiri nti bulijjo tujja kubangako ebipya bye tuyiga ku bintu ebyo n’ebirala. N’olwekyo soma era weekenneenye ebyo ebiri mu bitabo byaffe eby’esigamiziddwa ku Bayibuli. w25.01 24-25 ¶13-15
Okusoma Bayibuli Okukwata ku Kijjukizo: (Ebyaliwo emisana: Nisaani 11) Lukka 21:1-36

