Engero 13:1-25

  • Abaagala okubuulirirwa baba ba magezi (10)

  • Ekisuubirwa ekirwawo kirwaza omutima (12)

  • Omubaka omwesigwa aleeta ebirungi (17)

  • Okutambula n’ab’amagezi kifuula omuntu ow’amagezi (20)

  • Okukangavvula kiraga okwagala (24)

13  Omwana ow’amagezi akkiriza okubuulirira kwa kitaawe,+Naye omunyoomi tawuliriza ng’anenyezebwa.*+  2  Omuntu by’ayogera bye bimuviiramu ebirungi,+Naye ab’enkwe baagala bya bukambwe.  3  Oyo afuga akamwa ke* akuuma obulamu bwe,+Naye oyo ayasamya ennyo akamwa ke ajja kugwa mu mitawaana.+  4  Omugayaavu abaako ebintu bye yeegomba, naye tewali ky’alina,+Kyokka omunyiikivu afuna byonna by’ayagala.*+  5  Omutuukirivu akyawa obulimba,+Naye ebyo ababi bye bakola biswaza era biweebuula.  6  Obutuukirivu bukuuma oyo ataliiko kya kunenyezebwa,+Naye ebikolwa ebibi bisuula omwonoonyi.  7  Waliwo omuntu eyeeyisa ekigagga, naye nga talina kantu;+Ne wabaawo omulala eyeeyisa ng’omwavu, naye ng’alina eby’obugagga bingi.  8  Eby’obugagga by’omuntu bye binunula obulamu bwe,+Naye abaavu tebabaako kibatiisa.*+  9  Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,*+Naye ettaala y’ababi ejja kuzikizibwa.+ 10  Okwetulinkiriza kuvaamu ennyombo,+Kyokka abo abanoonya okubuulirirwa* baba n’amagezi.+ 11  Eby’obugagga ebifunibwa amangu* biggwaawo mangu,+Naye eby’obugagga omuntu by’afuna empolampola* byeyongera okwala. 12  Ekisuubirwa* bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala,+Naye ekyegombebwa bwe kifunibwa kiba ng’omuti ogw’obulamu.+ 13  Oyo anyooma bye bamuyigiriza* ajja kwolekagana n’ebizibu ebinaavaamu,+Naye assa ekitiibwa mu kiragiro ajja kufuna empeera.+ 14  Okuyigiriza kw’omuntu* ow’amagezi ye nsibuko y’obulamu,+Kubanga kuwonya omuntu emitego gy’okufa. 15  Omuntu omutegeevu aganja,Naye ekkubo ly’ab’enkwe lijjudde ebizibu. 16  Omuntu omutegeevu yeeyisa mu ngeri ey’amagezi,+Naye omusirusiru ayolesa obusirusiru bwe.+ 17  Omubaka omubi agwa mu mitawaana,+Naye omubaka omwesigwa aleeta ebirungi.+ 18  Atafaayo ku kubuulirirwa ayavuwala era aswala,Naye akkiriza okugololwa* agulumizibwa.+ 19  Ekyegombebwa bwe kifunibwa kisanyusa omuntu,+Naye abasirusiru tebaagalira ddala kulekayo bibi.+ 20  Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi,+Naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.+ 21  Aboonoonyi ebizibu bibalondoola,+Naye abatuukirivu bafuna ebirungi.+ 22  Omuntu omulungi alekera bazzukulu be eby’obusika,Naye obugagga bw’ababi buterekerwa batuukirivu.+ 23  Ennimiro z’abaavu zibala emmere nnyingi,Naye eyinza* okutwalibwa olw’obutali bwenkanya. 24  Atakwatira mwana we muggo* aba tamwagala,+Naye oyo amwagala, anyiikira* okumukangavvula.+ 25  Omutuukirivu alya n’akkuta,+Naye embuto z’ababi tezibaamu kantu.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “ng’agololwa.”
^ Oba, “eyeefuga mu by’ayogera.”
^ Obut., “ajja kugejja.”
^ Obut., “tebawulirayo abanenya.”
^ Obut., “kisanyuka.”
^ Oba, “abateesa.”
^ Oba, “Eby’obugagga ebiva mu butaliimu.”
^ Obut., “by’akuŋŋaanya n’engalo.”
^ Oba, “Essuubi.”
^ Oba, “ekigambo.”
^ Oba, “Etteeka ly’omuntu.”
^ Oba, “okuwabulwa.”
^ Oba, “ayinza.”
^ Oba, “Atakangavvula mwana we; atabonereza mwana we.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ayanguwa.”