Engero 21:1-31

  • Yakuwa aluŋŋamya omutima gwa kabaka (1)

  • Obwenkanya businga ssaddaaka (3)

  • Obunyiikivu buvaamu ebirungi (5)

  • Oyo atawuliriza munaku naye taddibwamu (13)

  • Si kya magezi okuwakanya Yakuwa (30)

21  Omutima gwa kabaka gulinga emikutu gy’amazzi mu mukono gwa Yakuwa.+ Aguzza buli gy’ayagala.+  2  Amakubo g’omuntu gonna galabika ng’amatuufu gy’ali,+Naye Yakuwa akebera emitima.*+  3  Okukola ekituufu era eky’obwenkanyaKisanyusa Yakuwa okusinga ssaddaaka.+  4  Amaaso ag’amalala n’omutima ogwekulumbaza—Ye ttaala emulisa ababi, era ebyo byonna kwonoona.+  5  Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi,*+Naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.+  6  Eby’obugagga ebifunibwa mu bulimbaBiringa olufu oluggwaawo amangu, era kyambika.*+  7  Ababi ebikolwa byabwe eby’obukambwe biribasaanyaawo,+Kubanga tebaagala kukola bya bwenkanya.  8  Ekkubo ly’omuntu aliko omusango si ttereevu,Naye ebikolwa by’omulongoofu biba birungi.+  9  Waakiri obeera ku nsonda y’akasolya k’ennyumbaOkusinga okubeera n’omukazi omuyombi* mu nnyumba.+ 10  Omuntu omubi yeegomba ebintu ebibi;+Era takwatirwa muntu yenna kisa.+ 11  Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina bumanyirivu yeeyongera okuba ow’amagezi,Era ow’amagezi bw’ayigirizibwa, yeeyongera okumanya.*+ 12  Katonda omutuukirivu yeetegereza ennyumba y’omubi;Afufuggaza ababi ne bazikirira.+ 13  Oyo atawuliriza kukaaba kwa munakuNaye alikoowoola n’ataddibwamu.+ 14  Ekirabo ekigabibwa mu kyama kikkakkanya obusungu,+N’enguzi eweebwa mu nkukutu* ekkakkanya ekiruyi. 15  Kya ssanyu omutuukirivu okukola eby’obwenkanya,+Naye emitawaana girindiridde abo abakola ebibi. 16  Omuntu awaba okuva mu kkubo ery’amageziAjja kwegatta ku abo abaafa.+ 17  Omuntu ayagala eby’amasanyu ajja kwavuwala;+N’oyo ayagala ennyo omwenge n’amafuta tajja kugaggawala. 18  Omubi kye kinunulo ky’omutuukirivu,Era ow’enkwe kye kinunulo ky’abagolokofu.+ 19  Waakiri obeera mu ddunguN’otobeera na mukazi muyombi* era anyiiganyiiga.+ 20  Ebintu eby’omuwendo omungi n’amafuta biba mu nnyumba z’abo abalina amagezi,+Naye omusirusiru ayonoona* by’alina.+ 21  Buli afuba okunoonya obutuukirivu n’okwagala okutajjulukukaAjja kufuna obulamu, obutuukirivu, n’ekitiibwa.+ 22  Omuntu ow’amagezi asobola okulinnya bbugwe w’ekibuga* eky’ab’amaanyi,N’amenya ekigo kyabwe kye beesiga.+ 23  Omuntu afuga akamwa ke n’olulimi lweYeewala emitawaana.+ 24  Omuntu eyeetulinkiriza era eyeewaanaAyitibwa mwetulinkirize.+ 25  Omugayaavu kye yeegomba kijja kumutta,Kubanga tayagala kukola.+ 26  Olunaku lwonna asiiba yeegomba,Naye ye omutuukirivu agaba era takodowala.+ 27  Ssaddaaka z’ababi za muzizo.+ Naye ate kiba kitya bwe ziweebwayo n’ekigendererwa ekibi!* 28  Awa obujulizi obw’obulimba ajja kuzikirira,+Naye omuntu awuliriza n’obwegendereza ajja kuwa obujulizi obukkirizibwa.* 29  Omuntu omubi taba na nsonyi ku maaso,+Naye omugolokofu ekkubo lye liba kkakafu.*+ 30  Tewayinza kubaawo magezi, kutegeera, wadde okuteesa mu kuwakanya Yakuwa.+ 31  Embalaasi zitegekerwa olunaku lw’olutalo,+Naye obulokozi buva eri Yakuwa.+

Obugambo Obuli Wansi

^ Oba, “ebiruubirirwa.”
^ Oba, “emiganyulo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “eri abo abanoonya okufa.”
^ Oba, “abeeba.”
^ Oba, “amanya eky’okukola.”
^ Obut., “N’enguzi mu kifuba.”
^ Oba, “abeeba.”
^ Obut., “amira.”
^ Oba, “okuwangula ekibuga.”
^ Oba, “awamu n’ebikolwa ebiswaza.”
^ Obut., “ajja kwogera emirembe gyonna.”
^ Oba, “ekkubo lye alifuula kkakafu.”