Ddesemba
Lwakubiri, Ddesemba 1
N’aggula ebirowoozo byabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.—Luk. 24:45.
Abayigirizwa ba Yesu bakkiriza Ekigambo kya Katonda, era ne bafuba nnyo okukikolerako mu bulamu bwabwe. (Yok. 17:6) Wadde kyali kityo, baali tebategeera nsonga lwaki Yesu yafa ng’omumenyi w’amateeka. Yesu yali akimanyi nti okubuusabuusa kwe baalina tekwava ku kuba nti baalina omutima omubi, wabula kwava ku kuba nti baali tebategeera bulungi Byawandiikibwa. (Luk. 9:44, 45; Yok. 20:9) Bwe kityo yabayamba okutegeera amakulu g’ebyo bye baali basoma mu Byawandiikibwa. Weetegereze engeri ekyo gye yakikolamu bwe yalabikira abayigirizwa babiri nga bali mu kkubo bagenda mu Emawo. Yesu teyabuulirirawo bayigirizwa be abo nti ye yali ye. Mu kifo ky’ekyo, yababuuza ebibuuzo. Lwaki? Oboolyawo yali ayagala boogere ekyabali ku mutima era baakyogera. Baamugamba nti baali basuubira Yesu okununula Abayisirayiri mu bufuzi bw’Abaruumi obwali bubanyigiriza. (Luk. 24:18-27) Yesu yakozesa Ebyawandiikibwa okubayamba okutegeera ebyo ebyali bibaddewo. Oluvannyuma akawungeezi ako, Yesu yalabikira abayigirizwa abalala era nabo n’abannyonnyola amakulu g’Ebyawandiikibwa.—Luk. 24:33-48. w24.10 14 ¶9-10
Sirina kintu kyonna kye nkola ku bwange; naye ebintu bino mbyogera nga Kitange bwe yanjigiriza.—Yok. 8:28.
Byonna Yesu bye yakolanga ne bye yayogeranga yabiyigira ku Kitaawe ow’omu ggulu. Ekibiina kya Yakuwa kikoppye ekyokulabirako Yesu kye yassaawo nga kikozesa Ekigambo kya Katonda okutuyamba okumanya ekituufu n’ekikyamu era nga kituwa obulagirizi. (2 Tim. 3:16, 17) Bulijjo tujjukizibwa okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukolera ku ebyo bye tusoma. Tuganyulwa nnyo bwe twesomesa Bayibuli nga tukozesa ebitabo ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tuba tusobola okugeraageranya enjigiriza za Bayibuli n’obulagirizi obutuweebwa ekibiina. Bwe tukiraba nti obulagirizi bwe tufuna bwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, tweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa. (Bar. 12:2) Yesu yabuuliranga “amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Luk. 4:43, 44) Ate era yalagira abagoberezi be okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka obwo. (Luk. 9:1, 2; 10:8, 9) Leero abo bonna abali mu kibiina kya Yakuwa babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka buli we babeera. w24.04 9 ¶5-7
Byonna by’otulagidde tujja kubikola, era tujja kugendanga yonna gy’onootutumanga.—Yos. 1:16.
Weeyongere okwesiga obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Mu Isirayiri ey’edda, Yakuwa yakozesa Musa ate oluvannyuma n’akozesa Yoswa okuwa abantu be obulagirizi. (Yos. 1:17) Abayisirayiri ebintu byabagenderanga bulungi bwe bakkirizanga nti abasajja abo baali bakiikirira Yakuwa Katonda. Oluvannyuma lw’ebyasa bingi ng’Ekibiina Ekikristaayo kitandiseewo, abatume 12 be baawanga ebibiina obulagirizi. (Bik. 8:14, 15) Oluvannyuma abatume abo beegattibwako abakadde abalala mu Yerusaalemi. Okukolera ku bulagirizi bw’abasajja abo abaali abeesigwa, kyaviirako ‘ebibiina okweyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.’ (Bik. 16:4, 5) Mu kiseera kyaffe, naffe ebintu bitugendera bulungi bwe tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. w24.07 10 ¶10
Nzudde Dawudi omwana wa Yese, asanyusa omutima gwange.—Bik. 13:22.
Yakuwa yali ayagala nnyo Kabaka Dawudi, era yagamba nti yali ‘asanyusa omutima gwe.’ Naye Dawudi alina ebibi eby’amaanyi ennyo bye yakola, omwali okwenda n’okutta. Okusinziira ku Mateeka ga Musa yali agwanira kufa. (Leev. 20:10; Kubal. 35:31) Kyokka Yakuwa yali ayagala kuyamba Dawudi yeenenye. Yatuma nnabbi Nasani gy’ali wadde nga Dawudi yali tannalaga kabonero konna nti yali yeenenyeza. Nasani yakozesa olugero okuyamba Dawudi okutegeera nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi nnyo. Dawudi yakwatibwako nnyo era ne yeenenya. (2 Sam. 12:1-14) Yawandiika zabbuli eraga nti ddala yawulira bubi nnyo olw’ekyo kye yali akoze. (Zab. 51, obugambo obuli waggulu) Ebigambo ebiri mu zabbuli eyo bizzizzaamu aboonoonyi bangi amaanyi ne bibaleetera okwenenya. Mazima ddala tusiima nnyo okuba nti Yakuwa yayamba Dawudi okwenenya. w24.08 10 ¶9
Mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.—Bar. 12:2.
Bangi bakkiriza nti okuba omuzadde buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. Bw’oba oli omuzadde ng’olina omwana omuto, osiimibwa nnyo olw’okumuyamba okunyweza okukkiriza kwe. (Ma. 6:6, 7) Omwana wo bw’agenda akula, ayinza okutandika okubuuza ebibuuzo ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu, omuli n’emitindo gya Bayibuli egy’empisa. Mu kusooka oyinza okweraliikirira olw’ebyo omwana wo by’abuuza. Oyinza n’okulowooza nti ebibuuzo by’abuuza biraga nti okukkiriza kwe kunafuye. Naye ekituufu kiri nti abaana bwe bagenda bakula beetaaga okubuuza ebibuuzo okusobola okunyweza okukkiriza kwabwe. (1 Kol. 13:11) N’olwekyo tosaanidde kweraliikirira. Ebibuuzo byonna omwana wo by’abuuza mu bwesimbu ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu, oyinza okubitwala ng’ebikuwa akakisa okumuyamba okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza. w24.12 14 ¶1-2
Tuli abo abalina okukkiriza okusobola okuwonyaawo obulamu.—Beb. 10:39.
Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okuwonawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kitandise mu Buyudaaya. (Beb. 10:37-38) Yesu yali yagamba abagoberezi be nti bwe bandirabye nga Yerusaalemi kyetooloddwa amagye, bandibadde balina okuddukira mu nsozi. Okubuulirira okwo kwali kukwata ku Bakristaayo bonna ka babe abo abaali babeera mu kibuga ekyo, oba abaali babeera mu byalo bya Buyudaaya. (Luk. 21:20-24) Mu kiseera ekyo amagye bwe gaalumbanga ekitundu, abantu baddukiranga mu kibuga nga Yerusaalemi ekyabanga kyetooloddwa bbugwe. Okuddukira mu nsozi kyalabika ng’ekitaali kya magezi era kyali kyetaagisa okukkiriza okw’amaanyi okukolera ku bulagirizi obwo. Abakristaayo Abebbulaniya era baalina okwesiga abo Yesu be yali akozesa okuwa ekibiina obulagirizi. Abo abaali batwala obukulembeze bayinza okuba nga balina obulagirizi bwe baawa kisobozese bonna mu kibiina okukolera ku bulagirizi bwa Yesu mu kiseera ekituufu era mu ngeri entegeke obulungi.—Beb. 13:17. w24.09 10 ¶9-10
Yagaba abantu ng’ebirabo.—Bef. 4:8.
Yesu bwe yali ku nsi, yakolera ddala omulimu Kitaawe gwe yali amutumye okukola. (Yok. 17:4) Naye teyalina ndowooza egamba nti, ‘Bw’oba oyagala ekintu kikolebwe mu ngeri entuufu, ggwe olina okukyekolera.’ Yatendeka abalala okukola omulimu gw’okubuulira. Yakwasa abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obw’okulabirira endiga za Yakuwa n’okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Yesu yawabula butereevu abayigirizwa be, naye mu ngeri ey’okwagala. Abamu ku bo baalinamu okubuusabuusa era yabatereeza. (Luk. 24:25-27; Yok. 20:27) Yabayamba okumanya obukulu bw’okukulembeza okuyamba abantu ba Katonda mu kifo ky’okukulembeza emirimu gyabwe. (Yok. 21:15) Yabajjukiza nti kikulu obuteegeraageranya na balala. (Yok. 21:20-22) Yabayamba okutereeza ezimu ku ndowooza enkyamu ze baalina ku Bwakabaka, era yabayamba n’okwemalira ku mulimu gw’okubuulira.—Bik. 1:6-8. w24.10 15-16 ¶13-14
Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.—Zab. 37:29.
Okuba abawulize kiwonyaawo obulamu. Okufaananako Abayisirayiri abaali banaatera okuyingira Ensi Ensuubize, naffe tunaatera okuyingira mu nsi empya era tulabe ensi eno ng’efuuliddwa Olusuku lwa Katonda. (Is. 35:1; Luk. 23:43) Sitaani ne badayimooni bajja kuba tebakyaliwo. (Kub. 20:2, 3) Amadiini ag’obulimba gajja kuba tegakyalimbalimba bantu kubaggya ku Yakuwa. (Kub. 17:16) Gavumenti z’abantu ezinyigiriza zijja kuba tezikyaliwo. (Kub. 19:19, 20) Mu nsi empya tewajja kubaayo bajeemu. (Zab. 37:10, 11) Buli wamu abantu bajja kuba bagondera amateeka ga Yakuwa ag’obutuukirivu, agasobozesa abantu okuba mu mirembe n’obumu. Bajja kuba baagalana era nga beesigaŋŋana. (Is. 11:9) Ekiseera ekyo nga kijja kuba kirungi nnyo! N’ekisinga obukulu, bwe tunaasigala nga tuli bawulize eri Yakuwa tujja kusobola okubeera ku nsi emirembe gyonna.—Yok. 3:16. w24.11 9 ¶7
Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna.—Mat. 24:14.
Obunnabbi obwo butuukirizibwa leero ku kigero ekitabangawo. Obubaka obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda buli mu nnimi ezisukka mu 1,000, era abantu abasinga obungi mu nsi basobola okubufuna ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Kyokka Yesu era yagamba abayigirizwa be nti we yandijjidde, bandibadde ‘tebannamalako bibuga,’ kwe kugamba, bandibadde tebannabuulira buli muntu kinnoomu. (Mat. 10:23; 25:31-33) Ebigambo bya Yesu ebyo bijja kutuukirira ne mu kiseera kyaffe. Abantu bukadde na bukadde babeera mu bitundu omulimu gw’okubuulira gye gukugirwa ennyo. Okugatta ku ekyo, abaana bikumi na bikumi bazaalibwa buli ddakiika. Tukola kyonna kye tusobola okubuulira amawulire amalungi mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.” (Kub. 14:6) Naye ekituufu kiri nti tetujja kusobola kutuusa mawulire malungi ku buli muntu kinnoomu ali ku nsi ng’enkomerero tennajja. w24.05 10 ¶6-7
Tebakyali babiri, wabula nga bali omubiri gumu.—Mat. 19:6.
Yesu yabudaabudanga abalala era yabazzangamu amaanyi okuyitira mu ebyo bye yayogeranga. Teyakambuwaliranga bagoberezi be. (Luk. 8:47, 48) Mazima ddala yateerawo abaami Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Yesu yalagira abaami okuba abeesigwa eri bakyala baabwe. Yajuliza ebigambo Kitaawe bye yayogera bwe yagamba nti omwami ‘anaanywereranga ku mukazi we.’ (Mat. 19:4-6) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okunywerera” obutereevu kitegeeza “okugatta awamu.” N’olwekyo okwagala okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo, kulina okuba nga kwa maanyi nnyo ne kiba nti balina okuba ng’abagattiddwa awamu. Singa omu ku bo akola ekintu ekirumya munne, bombi baba bakosebwa. Omwami aba n’okwagala ng’okwo eri mukyala we, yeewala okutunuulira ebifaananyi eby’obuseegu eby’engeri yonna. Yeewalira ddala ‘okutunuulira ebintu ebitagasa.’ (Zab. 119:37) Mu ngeri eyo, aba yakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira mukazi mulala yenna n’amwegomba, okuggyako mukazi we.—Yob. 31:1. w25.01 10 ¶12-13
Katonda waffe . . . ajja kusonyiyira ddala.—Is. 55:7.
Abantu baba bategeeza ebintu eby’enjawulo bwe bagamba nti “Nkusonyiye.” Engeri Yakuwa gy’atusonyiwamu ffe abantu abatatuukiridde ya njawulo nnyo ku ngeri gye tusonyiwaganamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ggwe osonyiyira ddala, bw’otyo olyoke oweebwe ekitiibwa.” (Zab. 130:4) Mu butuufu, Yakuwa ‘asonyiyira ddala.’ Y’atuyamba okumanya kye kitegeeza okusonyiwa. Mu nnyiriri ezimu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abawandiisi ba Bayibuli baayogera ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu nga bakozesa ekigambo ekitakozesebwa ku ngeri abantu gye basonyiwamu. Yakuwa bw’asonyiwa omuntu, ebibi by’omuntu oyo biba biggiddwawo. Enkolagana Katonda gy’alina n’omuntu oyo ebadde eyonoonese eddawo. Yakuwa bw’asonyiwa asonyiyira ddala. w25.02 8 ¶1-3
Yatulagira okubuulira abantu n’okuwa obujulirwa mu bujjuvu.—Bik. 10:42.
Abantu ne bwe batatuwuliriza, ffe tuba tutuukirizza omulimu gwaffe. Lwaki? Kubanga tuba tukoze ekyo Yakuwa ne Yesu kye baagala tukole, kwe kugamba, tuba tuwadde obujulirwa. Ne bwe tutasanga bantu ba kubuulira, oba ne bwe bagaana okuwuliriza obubaka bwaffe, tusobola okufuna essanyu kubanga tuba tukimanyi nti tusanyusizza Kitaffe ow’omu ggulu. (Nge. 27:11) Ate era tusobola okufuna essanyu singa mubuulizi munnaffe asanga omuntu mu kitundu kye tubuuliramu ayagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Omunaala gw’Omukuumi ogumu gwageraageranya omulimu gwe tukola ku kunoonya omwana abuze. Bangi beenyigira mu kunoonya omwana oyo, era bamunoonya mu bitundu ebitali bimu. Omwana bw’azuulibwa, buli omu aba musanyufu so si oyo yekka aba azudde omwana oyo. Mu ngeri y’emu, buli omu mu kibiina ayambako mu kufuula abantu abayigirizwa. Bonna mu kibiina beetaagisa okusobola okumalako ekitundu kye tubuuliramu, era bonna basanyuka nnyo omuntu omupya bw’atandika okujja mu nkuŋŋaana. w24.04 18 ¶13-14
Abo bonna abaalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo ne bafuuka bakkiriza.—Bik. 13:48.
Mazima ddala twesunga nnyo okulaba ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusuubira abalala bangi okutwegattako mu kumusinza ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Ate era tukwatiddwako nnyo okukimanya nti ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, wayinza okubaawo abantu abava ku ludda lwa Sitaani ne batwegattako okutendereza Yakuwa! Nga tulindirira ebyo okubaawo, tulina omulimu omukulu ennyo ogw’okukola. Tulina enkizo ey’okubuulira abantu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era ng’omulimu ogwo teguliddamu kukolebwa. Mu kiseera kye kimu, tulina okweyongera okulabula abantu. Abantu beetaaga okukimanya nti enkomerero y’ensi ya Sitaani eneetera okutuuka. Olw’okwagala kwe tulina eri amawulire amalungi, eri abantu, n’okusingira ddala eri Yakuwa Katonda n’erinnya lye, tujja kweyongera okubuulira n’obunyiikivu okutuusa Yakuwa lw’anaagamba nti, “Omulimu mugumalirizza!” w24.05 19 ¶14-16
Mwambale obwetoowaze nga mukolagana n’abalala, kubanga Katonda alwanyisa ab’amalala naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.—1 Peet. 5:5.
Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yayigiriza Peetero n’Abatume abalala obukulu bw’okuba abeetoowaze. Abatume bateekwa okuba nga beewuunya nnyo okumulaba ng’akola omulimu ogwandibadde gukolebwa omuweereza. Yesu yaggyako ekyambalo kye eky’okungulu, ne yeesiba ttawulo mu kiwato, n’ateeka amazzi mu bbenseni, n’atandika okubanaaza ebigere. (Yok. 13:4, 5) Kiteekwa okuba nga kyamutwalira ekiseera ekiwerako okunaaza ebigere by’abatume bonna 12, omwali ne Yuda eyali agenda okumulyamu olukwe. Naye Yesu yeetoowaza n’akola omulimu ogwo n’agumaliriza. Oluvannyuma yagamba abatume be nti: “Mutegedde kye mbakoze? Mumpita ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi. Kale, oba nga nze, Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne.”—Yok. 13:12-14. w25.03 10 ¶9-11
Ompa amagezi n’onnuŋŋamya, era oluvannyuma ojja kuntuusa mu kitiibwa.—Zab. 73:24.
Ensi ekifuula kizibu gye tuli okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Abantu bangi tebaagala na kukikkiriza nti Katonda gy’ali. Emirundi mingi abo abatagoberera mitindo gya Yakuwa balabika ng’abali obulungi. Ekyo oluusi kiyinza okugezesa okukkiriza kwaffe. Wadde nga tetubuusabuusa nti Katonda gy’ali, tuyinza okutandika okwebuuza obanga ddala anaatuyamba. Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yawulirako bw’atyo. Abantu be yalimu baamenyanga amateeka ga Yakuwa, naye ng’alaba ebintu bibagendera bulungi. Ekyo kyamuleetera okwebuuza obanga ddala kyali kisaana okuweereza Katonda. (Zab. 73:11-13) Kiki ekyayamba omuwandiisi wa Zabbuli oyo okutereeza endowooza ye? Yafumiitiriza ku ekyo ekyandituuse ku abo abalekera awo okwesiga Yakuwa. (Zab. 73:18, 19, 27) Ate era yafumiitiriza ku miganyulo egiri mu kuweereza Katonda. Naffe tusaanidde okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwadde. w24.06 25 ¶16-17
Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente.—Beb. 13:5.
Mu biseera eby’edda, abamu baanyigirizanga baganda baabwe abaali abaavu nga babasaba amagoba ku ssente ze baabanga babawoze. Ate era abamu ku balamuzi baalyanga enguzi ne basingisa omusango abantu abataabanga na musango. Ebikolwa ng’ebyo Yakuwa abikyayira ddala. (Ezk. 22:12) Kikulu okwekebera tumanye endowooza gye tulina ku ssente. Weebuuze: ‘Ntera okulowooza ku ssente ne ku ebyo bye zisobola okugula? Bwe nneewola ssente ndwawo okusasula nga ŋŋamba nti oyo eyazimpola tazetaaga? Okubeera ne ssente kindeetera okulowooza nti ndi wa kitalo kyokka nga nkaluubirirwa okuyamba abalala? Bakkiriza bannange mbatwala nti baagala nnyo ebintu olw’okuba balina ssente nnyingi? Abagagga be nkolako emikwano ate abaavu ne mbeewala?’ Tusobola okukiraga nti enkizo eyo tugitwala nga ya muwendo nnyo nga twewala okwagala ennyo ssente. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa tasobola kutwabulira! w24.06 12-13 ¶17-18
Sikkiriza kutambulira mu kkubo lyonna ebbi, nsobole okukolera ku kigambo kyo.—Zab. 119:101.
Okusobola okwekuuma ne tutakola kibi nga tukemeddwa, tulina okuyiga okwagala ebintu ebirungi. Bwe tuyiga ‘okukyawa ekibi’ ne ‘twagala ekirungi’ tujja kweyongera okuba abamalirivu okukola ekituufu. (Am. 5:15) Bwe tuba nga twagala ebintu ebirungi era kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu singa twesanga mu mbeera ezikifuula ekizibu gye tuli okukola ekituufu. Tusaanidde okwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo. Bwe tuba mu nkuŋŋaana oba nga tuli mu kubuulira, tweyongera okwagala okusanyusa Yakuwa. (Mat. 28:19, 20; Beb. 10:24, 25) Bwe tusoma Bayibuli era ne tufumiitiriza, tweyongera okwagala ebintu ebirungi era ne tukyawa ebibi. (Yos. 1:8; Zab. 1:2, 3; 119:97) Tusaanidde okukijjukira nti Yesu yagamba abayigirizwa be nti: ‘Musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.’ (Mat. 26:41) N’olwekyo tusaanidde okukozesa ebintu byonna Yakuwa by’atuwa okutuyamba era n’okuba abamalirivu okukola ebimusanyusa.—Yak. 4:8. w24.07 17-18 ¶14-16
Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu. Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.—Zab. 32:8.
Abo ababa batendeka abalala basaanidde okukoppa engeri Yakuwa gy’agabiramu abalala amagezi. Kijjukire nti Yakuwa bw’aba agabira abalala amagezi, agabagabira mu bungi. Naffe abo be tuba tutendeka, tusaanidde okubayigiriza byonna bye tuba tumanyi. Tetusaanidde kubaako bye twesigaliza nga tutya nti oluvannyuma bayinza okudda mu kifo kyaffe. Ate era tetusaanidde kuba na ndowooza egamba nti, ‘Nze tewali yantendeka! Naye k’ayige ku lulwe.’ Abantu ba Yakuwa tebalina kuba na ndowooza ng’eyo. Mu kifo ky’ekyo, abo be tutendeka twagala nnyo okubabuulira byonna bye tumanyi era n’okukola kyonna kye tusobola okubatendeka. (1 Bas. 2:8) Tuba tusuubira nti nabo bajja kuba ‘basobola okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala.’ (2 Tim. 2:1, 2) Bwe tuba abeetegefu okugabira abalala amagezi ge tulina, ffe awamu nabo tweyongera okufuna essanyu n’amagezi. w24.09 29 ¶12-13
Kinnoomu tuli bitundu bya mubiri, nga buli kimu kyetaaga kinnaakyo.—Bar. 12:5.
Bw’oba ng’owulira nti tolina busobozi bwa njawulo, toggwaamu maanyi. Tewali kubuusabuusa nti olina engeri ezisobola okukufuula ow’omugaso eri ekibiina. Ojja kuganyulwa nnyo singa osaba Yakuwa okukuyamba era ne weekenneenya ebyo omutume Pawulo bye yayogera ebiri mu 1 Abakkolinso 12:12-30. Ebigambo bya Pawulo ebyo bikyoleka bulungi nti okufaananako abaweereza ba Yakuwa abalala, weetaagibwa mu kibiina era oli wa muwendo nnyo. Kola kyonna ky’osobola okuba ow’omugaso eri Yakuwa n’eri bakkiriza banno. Ba mukakafu nti abakadde bajja kukulowoozaako era bajja kukuwa obuvunaanyizibwa bw’osobola okutuukiriza mu kiseera kino. (Bar. 12:4-8) Abakristaayo bonna balina okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, balina okuba abagabi, era balina okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri esanyusa Katonda. w24.11 17 ¶12-13
Yatandika okusaba Yakuwa n’okukaaba ennyo.—1 Sam. 1:10.
Kaana yayolekagana n’ebizibu ebiwerako ebyamuleetera okukaaba amaziga ag’ennaku. Ekimu ku bizibu bye yalina kyali nti omwami we yalina omukazi omulala eyali ayitibwa Penina, era omukazi oyo yalinga anyooma Kaana. Ng’oggyeeko ekyo, Kaana yali tazaala ate nga ye Penina alina abaana abawerako. (1 Sam. 1:1, 2) Penina yayeeyanga Kaana olw’obutazaala. Kaana yawulira bubi nnyo ne kiba nti ‘yakaabanga era n’alemwa n’okulya.’ Ate era “yali munakuwavu nnyo.” (1 Sam. 1:6, 7, 10) Kiki Kaana kye yakola okusobola okufuna obuweerero? Ekimu ku ebyo ebyamuyamba kiri nti yagenda ku weema entukuvu okusinza Yakuwa. Ng’ali eyo, yeegayirira Yakuwa nti: ‘Tunuulira ennaku y’omuweereza wo era onzijukire.’ (1 Sam. 1:11) Yakuwa yalaba amaziga ge yali akaaba, yawuliriza okusaba kwe, era oluvannyuma yamusobozesa okuzaala.—1 Sam. 1:19, 20; 2:21. w24.12 21 ¶5-7
Okusingira ddala nnayagala nnyo abaana b’abantu.—Nge. 8:31.
Ekinunulo kituyamba okukiraba nti Yesu ayagala nnyo abantu, nnaddala abayigirizwa be. (Yok. 13:1) Ng’ekyokulabirako, Yesu yali akimanyi nti ebintu ebimu bye yandiyiseemu mu buweereza bwe ku nsi tebyandibadde byangu, nnaddala engeri gye yandifuddemu. Kyokka bwe yali atuukiriza obuweereza bwe ku nsi teyakolanga bintu kutuukiriza butuukiriza luwalo. Mu kifo ky’ekyo, yabuuliranga, yayigirizanga, era yaweerezanga abantu n’omutima gwe gwonna. Ne ku lunaku lwe yali agenda okuttibwa, yanaaza abatume be ebigere era n’abagamba ebintu bingi okubayigiriza, okubazzaamu amaanyi, n’okubabudaabuda. (Yok. 13:12-15) Ate bwe yali ku muti ogw’okubonaabona, yayamba omumenyi w’amateeka eyali akomereddwa okumpi naye okuba n’essuubi, era yakola n’enteekateeka omutume Yokaana alabirire maama we. (Luk. 23:42, 43; Yok. 19:26, 27) N’olwekyo okwagala Yesu kw’alina tekweyolekera mu kufiiririra bantu kwokka, naye era kweyolekera ne mu ngeri gye yabayisaamu ng’ali ku nsi. w25.01 23 ¶11
Yabonerezebwa tube n’emirembe, era olw’ebiwundu bye twawonyezebwa.—Is. 53:5.
Waliwo ekyokulabirako Bayibuli ky’ekozesa okutuyamba okutegeera eddembe lye tufuna Yakuwa bw’atusonyiyira ddala. Bayibuli eraga nti olw’okuba tetutuukiridde tuli “baddu ba kibi.” Naye Yakuwa bw’atusonyiwa tuba ‘ng’abaggiddwa mu buddu bw’ekibi.’ (Bar. 6:17, 18; Kub. 1:5) Bwe tumanya nti Yakuwa atusonyiye, tufuna essanyu lingi nnyo okufaananako omuddu aba asumuluddwa mu buddu. Olw’okuba Yakuwa yawaayo ekinunulo okuyitira mu Mwana we, mu ngeri ey’akabonero tulinga abaawonyezebwa. (1 Peet. 2:24) Bwe tukola ekibi twonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa ne tufuuka balwadde mu by’omwoyo. Naye olw’ekinunulo, Yakuwa asobola okutusonyiwa ebibi byaffe ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Ng’omuntu awonyezeddwa obulwadde obw’amaanyi bw’awulira essanyu eringi, naffe tuwulira essanyu lingi bwe tuwonyezebwa mu by’omwoyo ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. w25.02 11 ¶16; 13 ¶17
Bwe mweyongera okukola ebintu bino, temujja kugwa.—2 Peet. 1:10.
Mu lugero olukwata ku ttalanta, Yesu yayogera ku baddu babiri abaali abeesigwa eri mukama waabwe, ne ku muddu omu ataali mwesigwa gy’ali. (Mat. 25:14-30) Abaddu ababiri abeesigwa bakiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa. Mukama waabwe Yesu, abayita okusanyukira awamu naye. Bafuna empeera yaabwe ey’omu ggulu, nga kwe kuzuukira okusooka. (Mat. 25:21, 23; Kub. 20:5b) Ku luuyi olulala, ekyokulabirako ekibi eky’omuddu omugayaavu kirimu okulabula eri abaafukibwako amafuta. Kulabula ki? Balina okuba abanyiikivu. Okufaananako olugero olukwata ku bawala embeerera, ne mu lugero olukwata ku ttalanta Yesu yali tategeeza nti abaafukibwako amafuta bandibadde bagayaavu. Wabula, yali alaga ekyandibaddewo bwe bandirekedde awo okuba abanyiikivu. Bandibadde tebasigala nga “beesigwa ng’abo abaayitibwa era abaalondebwa,” era tebandikkiriziddwa kuyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. w24.09 22 ¶10; 23 ¶12-13.
Mumanye ebintu ebisinga obukulu.—Baf. 1:10.
Ffenna twagala okuba nga tusobola okwetuusaako ebyetaago byaffe awamu n’eby’ab’omu maka gaffe. (Mub. 7:12; 1 Tim. 5:8) Kya lwatu bwe tuba tusalawo omulimu gwe tunaakola, tulowooza ne ku ssente mmeka ze tunaafuna. Naye omuntu bw’aba ng’alowooza ku ssente zokka z’anaafuna, kiyinza okulaga nti atambula lwa kulaba. Bwe tuba nga tutambula lwa kukkiriza era tujja kulowooza ne ku ngeri omulimu gwe twagala okukola gye gunaakwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Omulimu guno gunanneetaagisa okwenyigira mu bintu Yakuwa by’akyawa?’ (Nge. 6:16-19) ‘Gunaataataaganya enteekateeka zange ez’eby’omwoyo? Oba gunaanviirako okumala ekiseera kiwanvu nga siri wamu na ba mu maka gange?’ Bwe kiba ng’eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo kiri nti yee, kiba kya magezi obutakola mulimu ogwo ka kibe nti emirimu si myangu kufuna. Bwe tuba nga ddala tutambula lwa kukkiriza, ebyo bye tusalawo bijja kukyoleka nti tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe.—Mat. 6:33; Beb. 13:5. w25.03 21 ¶5-6
Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne, nga musaasiragana, nga musonyiwagana.—Bef. 4:32.
Bulijjo tulina okufuba okutunuulira baganda baffe nga Yakuwa bw’abatunuulira. Ekyo tukikola nga tussa ebirowoozo ku ngeri zaabwe ennungi so si ku butali butuukirivu bwabwe, oluvannyuma obujja okuggwaawo. Tusobola okugonjoola obutakkaanya bwonna bwe tulina mu ngeri ey’okwagala. Bwe tukola tutyo, abantu abaagala okuyisibwa bwe batyo bajja kusikirizibwa okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo. Bulijjo ka tweyongere okusiima olusuku luno Yakuwa lwe yatuteerawo. Buli ayagala okuzzibwamu amaanyi, okuba omumativu, okuba omukkakkamu, n’okuwulira ng’alina obukuumi, asaanidde okujja mu lusuku luno era n’obutaluvaamu. Kyokka tusaanidde okwegendereza, kubanga Sitaani akola kyonna ky’asobola okulaba ng’atusendasenda tuluveemu. (1 Peet. 5:8; Kub. 12:9) Tetusaanidde kukkiriza Sitaani kulutuggyamu. Ka bulijjo tweyongera okukuuma olusuku luno nga lulungi, nga lulongoofu, era nga lulimu emirembe. w24.04 24-25 ¶18-19
Musooke munoonyenga Obwakabaka.—Mat. 6:33.
Abazadde, musobola okuyamba abaana bammwe okwagala okuweereza Yakuwa. Okuyitira mu bye mwogera ne bye mukola, muyambe abaana bammwe okukitegeera nti ebintu eby’omwoyo, gamba ng’okusoma Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, bye bisinga obukulu mu bulamu. Bwe mutakola mutyo, abaana bammwe bayinza obutafuna nkolagana yaabwe ku bwabwe ne Yakuwa. Bayinza okulowooza nti “Bajulirwa ba Yakuwa olw’okuba bazadde baabwe nabo Bajulirwa ba Yakuwa.” N’ekivaamu, okusinza okw’amazima bayinza okukussa mu kifo eky’okubiri oba okukuviirako ddala. Omuntu eyalekera awo okuweereza Yakuwa aba takyasobola kuddamu kumuweereza? Aba asobola, kubanga asobola okwenenya n’addamu okusinza Yakuwa. Ekyo okusobola okukikola, kiyinza okumwetaagisa okwetoowaza, n’akkiriza abakadde mu kibiina okumuyamba. (Yak. 5:14) Naye ka kibe nti kimwetaagisa kufuba atya, okuddamu okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi. w24.07 24-25 ¶18-19
Muddukenga ebikolwa eby’obugwenyufu.—1 Kol. 6:18.
Muyinza mutya okusigala nga muli bayonjo mu mpisa? Omukwano gwammwe bwe gunaagenda gweyongera, buli omu ajja kuwulira ng’ayagala okubeera awali munne. Kiki ekinaabayamba okusigala nga muli bayonjo mu mpisa? Mwewale okunyumya ku bintu eby’obugwenyufu, okubeera mmwekka, oba okunywa ennyo omwenge. (Bef. 5:3) Ebintu ebyo bisobola okubaleetera okwagala okwegatta, ne kibabeerera kizibu okukola ekituufu. Kiba kirungi okwogera ku kye musobola okukola okusigala nga muwaŋŋana ekitiibwa era nga munywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. (Nge. 22:3) Omukwano gwammwe bwe gugenda gweyongera okunywera, muyinza okubaako ebintu bye mukola okwoleka omukwano. Naye bwe biba nga bisiikuula okwegomba okw’okwegatta, kiyinza okubabeerera ekizibu okusalawo obulungi. (Luy. 1:2; 2:6) Ebikolwa ebyoleka omukwano bisobola n’okubaleetera okumenya amateeka ga Yakuwa. (Nge. 6:27) N’olwekyo nga mwakatandika okwogerezeganya, mwogere ku mitindo gya Yakuwa ne ku ebyo bye mujja okukola ne bye mutajja kukola nga mulagaŋŋana omukwano.—1 Bas. 4:3-7. w24.05 29 ¶10-11
Ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda.—Mat. 5:37.
Twagala abalala batwesige nti tujja kubayamba nnaddala nga boolekagana n’ebizibu. (Nge. 17:17) Kiki kye tusaanidde okukola okubeera abantu abeesigika? Tusaanidde okukoppa Yakuwa buli lunaku, gamba nga tutuukiriza bye tusuubiza era nga tufuba okukuuma ebiseera. Ekibiina kiganyulwa kitya abakadde bwe baba nga beesigika? Ab’oluganda ne bannyinaffe bwe bakimanya nti basobola okutuukirira abakadde wonna we babeetaagira, kibayamba obuteeraliikirira nnyo. Ate era bawulira nti baagalibwa bwe bakimanya nti abakadde beetegefu okubayamba. Era bakadde bwe babuulirira bakkiriza bannaabwe nga bakozesa Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa mu kifo ky’okwesigama ku ndowooza yaabwe, bakkiriza bannaabwe babeesiga. Ab’oluganda ne bannyinaffe era beesiga omukadde akuuma ebyama era akolera ku ebyo by’ayogera. w24.06 30 ¶14-15
Olibawa emirembe egitaggwaawo, kubanga ggwe gwe beesiga.—Is. 26:3.
Leero tetusuubira Yakuwa kuggyawo bizibu byonna bye tufuna, naye bulijjo asobola okutubudaabuda. (Zab. 41:3) Okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, asobola okutuwa amaanyi, amagezi, n’emirembe ku mutima ne tuguma. (Nge. 18:14; Baf. 4:13) Ate era atubudaabuda okuyitira mu kisuubizo ekiri mu Bayibuli ekiraga nti obulwadde bwonna bujja kuggwaawo. (Is. 33:24) Yakuwa yawandiisa mu Kigambo kye ebigambo ebibudaabuda ebisobola okutuzzaamu amaanyi bwe tuba nga tuyita mu mbeera enzibu ennyo. (Bar. 15:4) Mwannyinaffe omu abeera mu bugwanjuba bwa Afirika bwe yazuulwamu kkookolo, emirundi mingi yakaabanga. Agamba nti: “Ekyawandiikibwa ekisinga okunzizaamu amaanyi ye Isaaya 26:3. . . . Olunyiriri olwo lunkakasa nti Yakuwa asobola okutuwa emirembe era asobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna.” Waliwo ekyawandiikibwa ekikuzzaamu amaanyi bw’oba ng’oyolekagana n’embeera ezirabika nga nzibu nnyo, oboolyawo ezikuleetera n’okuwulira nti tolina ssuubi lyonna? w24.12 24 ¶17-18
Bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera n’amukwatirwa ekisa, n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.—Luk. 15:20.
Abakadde baagala abo ababa bavudde mu kibiina okusonyiyibwa. Baba baagala endiga ezo ezaabula ‘okukomawo eka.’ (Luk. 15:22-24, 32) Wabaawo essanyu lingi nnyo mu ggulu omwonoonyi bwe yeenenya, era bwe kityo bwe kiba ne ku nsi! (Luk. 15:7) Kyeyoleka bulungi nti Yakuwa tayagala boonoonyi abateenenya okusigala mu kibiina. Naye asigala akyabayamba. Ayagala bakomewo gy’ali. Endowooza Yakuwa gy’alina ku boonoonyi abeenenya yeeyolekera mu bigambo bino ebiri mu Koseya 14:4, awagamba nti: “Ndibawonya obutali bwesigwa bwabwe. Ndibaagala okuviira ddala ku mutima, kubanga obusungu bwange bubavuddeko.” Abakadde bwe bamanya endowooza Yakuwa gy’alina, bafuba okwetegereza okulaba obanga waliwo akabonero konna akalaga nti omwonoonyi atandise okwenenya. Ate era ebigambo ebyo bisaanidde okuleetera abo ababa bavudde ku Yakuwa okukiraba nti abaagala era ayagala bakomewo gy’ali awatali kulwa. w24.08 28 ¶8-9
Mulage nti musiima.—Bak. 3:15.
Ekituufu kiri nti abamu bayinza obutalaga nti basiimye bye tubawadde. Emirundi egimu tuyinza okuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, oba ebintu byaffe okuyamba omuntu, naye n’alabika ng’atasiimye. Ekyo bwe kibaawo, tuyinza tutya okwewala okuggweebwako essanyu lyaffe oba okunyiiga? Tusaanidde okukijjukira nti essanyu lye tufuna mu kugaba terisinziira ku ngeri oyo gwe tuba tugabidde gy’atwalamu ekyo kye tuba tumuwadde. (Bik. 20:35) Tusobola okufuna essanyu mu kugaba, abalala ne bwe balabika ng’abatasiima bye tubawa. Mu ngeri ki? Kijjukire nti bw’ogabira abalala oba okoppa Yakuwa. Yakuwa awa abantu ebintu ebirungi ka babe nga babisiima oba nedda. (Mat. 5:43-48) Yakuwa atusuubiza nti naffe bwe tugabira abalala ‘nga tetusuubira kusasulwa, empeera yaffe ejja kuba nnene.’ (Luk. 6:35) N’olwekyo abalala bwe batasiima ebyo by’oba obawadde, toggwaamu maanyi. Kijjukire nti Yakuwa ajja kukuwa empeera olw’ebirungi by’okolera abalala n’olw’okugabira abalala n’essanyu.—Nge. 19:17; 2 Kol. 9:7. w24.09 29 ¶14-16

