Luganda
Ssebutemba
/assets/ct/28ada02fb0/images/syn_placeholder_sqr.png
es26 lup. 88-98

Ssebutemba

Lwakubiri, Ssebutemba 1

Ssebutemba

Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza.—2 Kol. 13:5.

Tulina okufuba okukula mu by’omwoyo era n’okusigala nga tuli bakulu. Ekyo okusobola okubaawo, tulina okwewala okwekakasa ekisukkiridde. (1 Kol. 10:12) Kikulu ‘okwekeberanga’ buli kiseera okulaba obanga tweyongera okukula mu by’omwoyo. Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abakkolosaayi, yaddamu okulaga obukulu bw’okufuba okusigala nga bakulu. Wadde ng’Abakristaayo abo baali bakuze mu by’omwoyo, Pawulo yabalabula ku kabi akali mu kutwalirizibwa endowooza y’ensi. (Bak. 2:​6-10) Ne Epafula eyali amanyi obulungi Abakristaayo abo, yabasabira ‘basobole okuba abatuukiridde,’ oba abakulu. (Bak. 4:12) Ekyo kituyigiriza ki? Pawulo ne Epafula baali bakimanyi nti omuntu okusigala nga mukulu mu by’omwoyo alina okufuba era aba yeetaaga n’obuyambi bwa Yakuwa. Baali baagala Abakristaayo abo basigale nga bakulu mu by’omwoyo wadde nga baalina ebibasoomooza. w24.04 6-7 ¶16-17

Yakuwa ali naffe. Temubatya.—Kubal. 14:9.

Okutya Yakuwa kitegeeza okumwagala ennyo n’okwewala ekintu kyonna ekitamusanyusa. Twagala nnyo okuyiga okwawulawo ekituufu ku kikyamu n’amazima ku bulimba, tusobole okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Nge. 2:​3-6; Beb. 5:14) Bwe tuba nga tutya abantu okusinga bwe tutya Katonda, tusobola okuwaba ne tuva mu mazima. Lowooza ku baami 12 abaagenda okuketta ensi Yakuwa gye yali asuubizza okuwa Abayisirayiri. Kkumi ku bakessi abo, okutya kwe baalina eri Abakanani kwali kwa maanyi okusinga okwagala kwe baalina eri Yakuwa. Baagamba Bayisirayiri bannaabwe nti: “Tetusobola kulwanyisa bantu abo kubanga ba maanyi okutusinga.” (Kubal. 13:​27-31) Kyo kituufu nti mu ndaba ey’obuntu, Abakanani baali ba maanyi nnyo. Naye omuntu yenna okugamba nti Abayisirayiri baali tebasobola kulwanyisa balabe baabwe, yali talowooza ku Yakuwa. w24.07 9 ¶5-6

Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?—Lub. 18:25.

Tulina ensonga kwe tusinziira okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa bw’alamula abantu ekyo ky’asalawo kiba kituufu? Yee! Nga Ibulayimu bwe yali akimanyi obulungi, Yakuwa “Omulamuzi w’ensi yonna” atuukiridde, alina amagezi mangi nnyo, era musaasizi. Yatendeka Omwana we era yamuwa obuyinza bwonna obw’okusala omusango. (Yok. 5:22) Yakuwa ne Yesu bamanyi ekyo ekiri ku mutima gwa buli muntu. (Mat. 9:4) N’olwekyo, buli muntu gwe balamula, ekyo kye basalawo kiba kituufu. Ka bulijjo twesigenga Yakuwa nti asalawo mu ngeri entuufu. Tukimanyi nti ffe tetulina busobozi bwa kusala musango; Yakuwa ye musazi w’emisango atuukiridde. (Is. 55:​8, 9) Eyo ye nsonga lwaki okusala omusango kwonna tukuleka mu mikono gya Yakuwa n’Omwana we. Ate era tukimanyi nti Kabaka waffe, Yesu, akoppera ddala obwenkanya bwa Kitaawe n’obusaasizi bwe.—Is. 11:​3, 4w24.05 7 ¶18-19

Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.—Nge. 3:32.

Kikulu nnyo okuba nga twogera amazima mu mutima gwaffe. Ekyo tukirabira ku ekyo ekyaliwo Firipo bwe yatwala mukwano gwe Nassanayiri eri Yesu. Wadde nga Yesu yali tasisinkanangako Nassanayiri, yagamba nti: “Laba Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.” (Yok. 1:47) Yesu yakiraba nti Nassanayiri yali mwesigwa nnyo. Nassanayiri naye yali muntu atatuukiridde nga ffe. Kyokka teyaliimu bunnanfuusi bwonna, wabula yali mwesigwa mu bintu byonna. Yesu yasiima nnyo Nassanayiri olw’okubeera omwesigwa. Ebisinga obungi ku ebyo ebyogerwako mu Zabbuli 15 ebituyamba okusanyusa Yakuwa bikwata ku ngeri gye tuyisaamu abalala. Zabbuli 15:3 walaga nti oyo akyala mu weema ya Yakuwa “takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala, takola muntu munne kintu kibi, era tayogera bubi ku mikwano gye.” Okukozesa obubi ekirabo eky’okwogera mu ngeri ng’eyo kisobola okutuviirako okulumya abalala.—Yak. 1:26. w24.06 10 ¶7, 9; 11 ¶10

Mukama waffe, ne dayimooni zituwulira bwe tukozesa erinnya lyo.—Luk. 10:17.

Bwe weeteekerateekera obulungi obuweereza, kijja kukuyamba obutatya nnyo kubuulira balala. Yesu yayamba abayigirizwa be okweteekateeka ng’abatuma okubuulira. (Luk. 10:​1-11) Olw’okuba abayigirizwa abo baakolera ku ebyo Yesu bye yabagamba, baasobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe era baafuna essanyu lingi. Tuyinza tutya okweteekerateekera okubuulira? Tusaanidde okulowooza ku ebyo bye tuba tugenda okwogerako, era n’engeri gye tunaabyogeramu mu ngeri eya bulijjo. Ate era kirungi okulowooza ku ngeri abantu gye banaakwatibwako ebyo bye tuba tugenda okubabuulira, era n’engeri gye tunaakwatamu buli mbeera. Bwe tuba nga twogera n’abantu, tusaanidde okuba abakkakkamu, okussaako akamwenyumwenyu, n’okubalaga okwagala. w24.04 16 ¶6-7

Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna.—Kub. 4:11.

Ensonga esinga obukulu lwaki tubuulira amawulire amalungi eri nti twagala nnyo Yakuwa Katonda n’erinnya lye ettukuvu. Omulimu gw’okubuulira tugutwala ng’engeri emu ey’okutenderezaamu Katonda waffe gwe twagala ennyo. Tukkiriza n’omutima gwaffe gwonna nti Yakuwa Katonda ow’amaanyi agwanidde okuweebwa ekitiibwa n’ettendo. Tumuwa ekitiibwa n’ettendo bwe tubuulira abalala obukakafu obulaga nti ye ‘yatonda ebintu byonna’ era nti ye yatuwa obulamu bwe tulina. Ate era tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okubuulira mu bujjuvu ng’embeera bwe zitusobozesa. (Mat. 6:33; Luk. 13:24; Bak. 3:23) Mu bufunze, tuyinza okugamba nti twagala nnyo okwogera ebikwata ku Katonda waffe gwe twagala. Twagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku linnya lye n’ekyo kye likiikirira. w24.05 17 ¶11

Y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.—Beb. 11:6.

Mu kiseera kino Yakuwa atuwa emirembe era atuyamba okuba abamativu. Ate mu biseera eby’omu maaso ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo. Tuli bakakafu nti Yakuwa ayagala okutuwa empeera era nti alina obusobozi okugituwa. Ekyo kituyamba okusigala nga tumuweereza n’obwesigwa, ng’abaweereza be abaaliwo mu biseera eby’edda bwe baakola. Ekyo kyennyini Timoseewo eyaliwo mu kyasa ekyasooka kye yakola. (Beb. 6:​10-12) Timoseewo yassa obwesige mu Yakuwa. (1 Tim. 4:10) Eyo ye nsonga lwaki yaweereza n’obunyiikivu. Mu ngeri ki? Omutume Pawulo yamukubiriza okwongera okulongoosa mu ngeri gye yali ayigirizaamu mu buweereza ne mu kibiina. Ate era Timoseewo yalina okuteerawo abato n’abakulu ekyokulabirako ekirungi. Era yaweebwa n’obuvunaanyizibwa obutaali bwangu, obwali buzingiramu okuwabula abo abaali beetaaga okuwabulwa. (1 Tim. 4:​11-16; 2 Tim. 4:​1-5) Timoseewo yali mukakafu nti Yakuwa yandimuwadde empeera.—Bar. 2:​6, 7w24.06 22-23 ¶10-11

Yakuwa yalabulanga Isirayiri ne Yuda ng’ayitira mu bannabbi be bonna.—2 Bassek. 17:13.

Emirundi mingi Yakuwa yakozesa bannabbi be okulabula abantu be n’okugezaako okubatereeza. Ng’ekyokulabirako, okuyitira mu Yeremiya Yakuwa yagamba nti: “Ggwe Isirayiri omujeemu, komawo . . . sijja kukutunuuliza busungu, kubanga ndi mwesigwa . . . sijja kusigala nga ndi musunguwavu. Kkiriza ensobi yo, kubanga ojeemedde Yakuwa.” (Yer. 3:​12, 13) Okuyitira mu nnabbi Yoweeri, Yakuwa yagamba nti: “Mudde gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.” (Yow. 2:​12, 13) Ate okuyitira mu nnabbi Isaaya yagamba nti: “Mwerongoose; muggye mu maaso gange ebikolwa byammwe ebibi; mulekere awo okukola ebibi.” (Is. 1:​16-19) Ate era okuyitira mu Ezeekyeri, Yakuwa yagamba nti: “Ddala nsanyukira okufa kw’omubi? . . . Kye njagala si kwe kuba nti aleka ebikolwa bye asigale nga mulamu? Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, . . . kale mukyuke musigale nga muli balamu.” (Ezk. 18:​23, 32) Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba abantu nga beenenya, kubanga ayagala babeere balamu emirembe gyonna! w24.08 9 ¶5-6

Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.—2 Tim. 3:16.

Abantu ba Katonda bonna bafuna emmere ey’eby’omwoyo y’emu, baweebwa obulagirizi bwe bumu, era bonna bakuumibwa mu by’omwoyo. Ekiraga nti Yakuwa tasosola kwe kuba nti asobozesa abantu bangi nga bwe kisoboka mu nsi okufuna Bayibuli. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu mu kusooka byawandiikibwa mu nnimi zino ssatu: Olwebbulaniya, Olulamayiki, n’Oluyonaani. Abo abasobola okusoma ennimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, balina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa okusinga abo abatasobola? Nedda. (Mat. 11:25) Okuba nti tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa tekisinziira ku buyigirize bwe tulina oba ku busobozi bw’okumanya ennimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Abayivu bokka Yakuwa si b’asobozesa okufuna amagezi ge, wabula asobozesa abantu bonna okwetooloola ensi okugafuna, ka babe nga bayivu oba nedda. Ekigambo kye Bayibuli kivvuunuddwa mu nnimi nkumi na nkumi era bwe kityo abantu okwetooloola ensi basobola okuganyulwa mu njigiriza za Bayibuli ne bamanya engeri gye bayinza okuba mikwano gye.—2 Tim. 3:​16, 17. w24.06 6-7 ¶13-15

Okuzikirizibwa [kwa Yerusaalemi] kunaatera okutuuka.—Luk. 21:20.

Okuzikirizibwa kw’enteekateeka y’Ekiyudaaya Yesu kwe yayogerako kwali kunaatera okutuuka. Abakristaayo baali beetaaga okukozesa ekiseera ekyali kisigaddeyo okweteekateeka nga bakulaakulanya engeri gamba ng’okukkiriza n’obugumiikiriza. (Beb. 10:25; 12:​1, 2) Tunaatera okwolekagana n’okubonaabona okusingira ewala okwo Abakristaayo Abebbulaniya kwe baayolekagana nakwo. (Mat. 24:21; Kub. 16:​14, 16) Fumiitiriza ku gamu ku magezi Yakuwa ge yawa Abakristaayo abo naffe agasobola okutuyamba. Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okwesomesa Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako. (Beb. 5:14–6:1) Pawulo yakozesa Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okunnyonnyola bakkiriza banne ensonga lwaki engeri Abakristaayo gye baali basinzaamu yali esingira wala engeri Abayudaaya gye baali basinzaamu. Pawulo yali akimanyi nti okweyongera okutegeera amazima kyandiyambye Abakristaayo abo okumanya endowooza ez’obulimba basobole okuzeewala. w24.09 8-9 ¶2-3; 10 ¶6

Mazima ddala Mukama waffe yazuukidde.—Luk. 24:34.

Abayigirizwa ba Yesu baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Lwaki? Abamu baali baaleka amaka gaabwe, ab’eŋŋanda zaabwe, ne bizineesi zaabwe, okusobola okugoberera Yesu ekiseera kyonna. (Mat. 19:27) Abalala baali baboolebwa olw’okuba baali bafuuse abayigirizwa ba Yesu. (Yok. 9:22) Beefiiriza ebintu ebyo olw’okuba baali bakkiriza nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa. (Mat. 16:16) Naye Yesu bwe yattibwa, ebyo bye baali basuubira byalabika ng’ebyali bitatuukiridde era baggwaamu nnyo amaanyi. Kya lwatu Yesu yali akimanyi nti abayigirizwa be okunakuwala kyali tekiraga nti baali banafuye mu by’omwoyo, wabula baali banakuwadde olw’okuba baali bafiiriddwa Mukama waabwe. N’olwekyo okuviira ddala ku lunaku lwe yazuukira, yatandikirawo okuzzaamu mikwano gye amaanyi. Ng’ekyokulabirako, yalabikira Maliyamu Magudaleena bwe yali ku ntaana we baamuziika. (Yok. 20:​11, 16) Yalabikira n’abayigirizwa ababiri abaali bagenda mu kyalo ekyali kiyitibwa Emawo. Era yalabikira n’omutume Peetero. w24.10 13 ¶5-6

Bulijjo [mubeere] beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe.—1 Peet. 3:15.

Omuzadde, yamba omwana wo okuba omwetegefu okunnyonnyola abalala ensonga lwaki akkiriza nti eriyo Omutonzi. Engeri emu ekyo gy’oyinza okukikolamu kwe kwekenneenyeza awamu naye ebyo ebiri ku jw.org/lg mu kitundu, “Enjigiriza za Bayibuli,” wansi wa “Ssaayansi ne Bayibuli.” Oluvannyuma omwana wo ayinza okulondawo by’asobola okukozesa okunnyonnyola abalala nti eriyo Omutonzi, era weegezeemu naye. Bwe wabaawo abeetegefu okukubaganya naye ebirowoozo, muyambe okubannyonnyola mu ngeri ennyangu era abayambe okufumiitiriza. Ng’ekyokulabirako, muyizi munne ayinza okumugamba nti: “Nze nzikiririza mu ebyo byokka bye nsobola okulaba. Katonda simulabangako.” Omwana wo ayinza okugamba muyizi munne oyo nti: “Kuba akafaananyi ng’otambula mu kibira ekiri ewala ennyo okuva awali abantu. Oba okyatambula, n’osanga oluzzi olwazimbibwa obulungi. Kiki ky’oyinza okulowooza? Wateekwa okuba nga waliwo eyalukola. Bwe kityo bwe kiri ne ku nsi n’ebintu byonna ebiramu ebigiriko. Wateekwa okuba nga waliwo eyabikola!” w24.12 18 ¶16

Abakadde si be baba n’amagezi, era abo abawangadde si be baba n’okutegeera?—Yob. 12:12.

Ffenna twetaaga obulagirizi nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo mu bulamu. Obulagirizi obusinga obungi tusobola okubufuna okuva eri abakadde n’Abakristaayo abalala abakulu mu by’omwoyo. Bwe baba nga batusingira ddala obukulu, tetusaanidde kukitwala nti amagezi ge batuwa tegakyakola. Yakuwa ayagala tuyigire ku abo abatusinga obukulu. Olw’okuba babaddewo ekiseera kiwanvu, bayise mu bintu bingi okutusinga era ekyo kibayambye okufuna amagezi. Mu biseera by’edda, Yakuwa yakozesa abaweereza be abaali bakaddiye okuzzaamu amaanyi abantu be n’okubawa obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Musa, Dawudi, n’omutume Yokaana. Baaliwo mu biseera bya njawulo era embeera zaabwe zaali za njawulo. Bwe baali banaatera okufa, balina amagezi amalungi ge baawa abaweereza ba Yakuwa abaali abato ku bo. Buli omu ku basajja abo abeesigwa yalaga nti kikulu nnyo okugondera Katonda. Ka tube bato oba bakulu, tusobola okuganyulwa mu kubuulirira okulungi kwe baawa.—Bar. 15:4; 2 Tim. 3:16. w24.11 8 ¶1-2

Okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu.—Yok. 6:53.

Mu biseera bya Nuuwa, Katonda yagaana abantu okulya omusaayi. (Lub. 9:​3, 4) Ate era mu Mateeka ge yawa Abayisirayi, yabalagira obutalya musaayi. Oyo yenna eyandiridde omusaayi yandibadde ‘attibwa.’ (Leev. 7:27) Yesu yakubiriza Abayisirayiri okukwata amateeka gonna Katonda ge yali abawadde. (Mat. 5:​17-19) N’olwekyo tayinza kuba nga yali akubiriza abantu abaali bamuwuliriza okulya omubiri gwe gwennyini oba okunywa omusaayi gwe. Yesu yali akozesa lulimi lwa kabonero nga bwe yakola ng’ayogera n’omukazi Omusamaliya. Yamugamba nti: “Amazzi ago ge nnaamuwa . . . gawa obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 4:​7, 14) Yesu yali tategeeza nti omukazi oyo yandifunye obulamu obutaggwaawo ng’abaako amazzi g’anywa okuva mu luzzi olumu. Mu ngeri y’emu, yali tategeeza nti abantu be yali ayogera nabo ng’ali e Kaperunawumu bandifunye obulamu obutaggwaawo nga balya omubiri gwe gwennyini era nga banywa n’omusaayi gwe. w24.12 9 ¶4-6

[Muweeyo] emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda, musobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza.—Bar. 12:1.

Abaami Abakristaayo balina okwegendereza baleme kufuna ndowooza nkyamu ensi gy’erina ku bakazi. Lwaki? Ensonga emu eri nti, emirundi mingi ebyo omuntu by’akola biva ku ebyo by’alowooza. Omutume Pawulo yalabula Abakristaayo abaali mu Rooma ‘okulekera awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.’ (Bar. 12:​1, 2) Pawulo we yawandiikira Abakristaayo abo, waali wayise ekiseera bukya ekibiina ky’omu Rooma kitandikibwawo. Kyokka, ebigambo bya Pawulo biraga nti Abakristaayo abamu mu kibiina ekyo baali bakyatwalirizibwa enneeyisa n’endowooza y’ensi. Eyo y’ensonga lwaki yabakubiriza okukyusa endowooza yaabwe n’enneeyisa yaabwe. Okubuulirira okwo kukwata ne ku baami Abakristaayo leero. Kya nnaku nti abamu ku bo batwaliriziddwa endowooza y’ensi era bayisa bubi bakyala baabwe. w25.01 9 ¶4

Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, nga mukola ng’abalabirizi.—1 Peet. 5:2.

Ne leero abakadde bakola nnyo. Babuulizi ba njiri. (2 Tim. 4:5) Babuulira n’obunyiikivu, bateekateeka omulimu gw’okubuulira mu kitundu omuli ekibiina kyabwe, era batendeka abalala basobole okubuulira n’okuyigiriza obulungi. Era bakola ng’abalamuzi abasaasizi era abatalina kyekubiira. Omukristaayo bw’akola ekibi eky’amaanyi, abakadde bafuba okumuyamba asobole okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa. Mu kiseera kye kimu, bafuba okulaba nti ekibiina kisigala nga kiyonjo. (1 Kol. 5:​12, 13; Bag. 6:1) Okusingira ddala, abakadde bakola ng’abasumba. (1 Peet. 5:​1-3) Bawa emboozi ze baba bateeseteese obulungi, bafuba okumanya buli omu mu kibiina, era bakyalira bakkiriza bannaabwe basobole okubazzaamu amaanyi. Abakadde abamu bayambako mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, okuteekateeka enkuŋŋaana ennene, bakola ne ku bukiiko obukwanaganya eby’eddwaliro n’obwo obukola ku kukyalira abalwadde, era balina n’emirimu emirala mingi. Mazima ddala bakola nnyo ku lwaffe! w24.10 20 ¶9

Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.—1 Kol. 15:22.

Mu Bayibuli ekigambo “okununulibwa” kitegeeza okuteebwa oba okusumululwa. Okusumululwa okwo kwasoboka olw’okuba ekinunulo kyasasulwa. Ekyo omutume Peetero yakyogerako bw’ati: “Mukimanyi nti ffeeza oba zzaabu, ebintu ebiggwaawo, si bye byabanunula okuva mu mpisa ezitaliimu ze mwafuna ku bajjajjammwe. Naye mwanunulibwa omusaayi ogw’omuwendo, ogwa Kristo, ogulinga ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo wadde ebbala.” (1 Peet. 1:​18, 19) Olw’ekinunulo ekyaweebwayo, tusobola okusumululwa mu buddu bw’ekibi n’okufa. (Bar. 5:21) Mazima ddala, tusiima nnyo Yakuwa ne Yesu olw’okutununula okuyitira mu musaayi gwa Yesu ogw’omuwendo. w25.02 5 ¶15-16

Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera.—Nge. 28:14.

Tuyinza tutya okwekuuma? Lowooza ku ekyo kye tuyigira ku muvubuka ayogerwako mu Engero essuula 7. Yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’omukazi omugwenyufu. Olunyiriri 22 lulaga nti omuvubuka oyo yagenda ‘mangu’ eri omukazi oyo. Naye ng’ennyiriri ezisooka bwe ziraga, omuvubuka oyo alina ebintu ebitali bya magezi bye yasooka okukola ebyamuviirako okugwa mu kibi. Kiki ekyaviirako omuvubuka oyo okugwa mu kibi? Okusookera ddala, yatambula akawungeezi “ng’ayita okumpi n’ekkubo erikyama ew’omukazi [omugwenyufu].” Oluvannyuma yayolekera ennyumba ye. (Nge. 7:​8, 9) Ekyaddirira, bwe yalaba omukazi oyo teyamudduka. Mu kifo ky’ekyo, yamukkiriza okumunywegera era n’amuwuliriza ng’amugamba nti yali awaddeyo ssaddaaka ez’emirembe, oboolyawo ng’agezaako okumuleetera okulowooza nti teyali muntu mubi. (Nge. 7:​13, 14, 21) Singa omuvubuka oyo yali yeewaze okukola ebintu ebyo, yandibadde yeewaze embeera eyamuviirako okukola ekibi. w24.07 16 ¶8-9; 19 ¶19

Mubeere beetegefu okumusonyiwa n’okumubudaabuda.—2 Kol. 2:7.

Yakuwa takkiriza bantu abakola ebibi eby’amaanyi ne bateenenya okusigala mu bantu be. Abamu bayinza okulowooza nti olw’okuba Yakuwa musaasizi yandibadde akkiriza aboonoonyi abateenenya okusigala mu kibiina. Naye Yakuwa bw’atyo si bw’alaga obusaasizi. Wadde nga Yakuwa musaasizi, takkiriza buli nneeyisa, era emitindo gye egikwata ku kituufu n’ekikyamu tegikyuka. (Yud. 4) Mu butuufu singa Yakuwa yali akola bw’atyo, obwo tebwandibadde busaasizi kubanga kyandibadde kyonoona ekibiina kyonna. (Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33) Kyokka era tukiraba nti Yakuwa tayagala muntu n’omu kuzikirizibwa. Ayagala okulokola abantu buli lwe kiba kisoboka. Alaga obusaasizi abantu abakyusa endowooza yaabwe n’enneeyisa yaabwe era abaagala okutereeza enkolagana yaabwe naye. (Ezk. 33:11; 2 Peet. 3:9) N’olwekyo, omusajja ow’omu kibiina ky’e Kkolinso bwe yeenenya n’alekayo ekibi kye yali akola, Yakuwa yakozesa omutume Pawulo okunnyonnyola ab’omu kibiina ky’e Kkolinso nti baali basaanidde okumusonyiwa n’okumwaniriza ng’akomyewo mu kibiina. w24.08 17 ¶7; 18-19 ¶14-15

Ebyo bwe mwabikoleranga omu ku baganda bange bano abasembayo okuba aba wansi, mwabanga mubikolera nze.—Mat. 25:40.

Mu lugero olukwata ku ndiga n’embuzi, Yesu yalaga engeri gy’ajja okulamulamu abantu ng’asinziira ku kuba nti baawagira baganda be abaafukibwako amafuta oba tebaabawagira. (Mat. 25:​31-46) Okulamula abantu okwo kujja kubaawo mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ ng’olutalo lwa Amagedoni lunaatera okutandika. (Mat. 24:21) Ng’omusumba bw’ayawula endiga ku mbuzi, ne Yesu ajja kwawulawo abo abawagira baganda be abaafukibwako amafuta ku abo abatabawagira. Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Yesu, oyo Yakuwa gwe yalonda okuba omulamuzi, ajja kulamula mu butuukirivu. (Is. 11:​3, 4) Yeetegereza ebyo abantu bye bakola, bye balowooza, ne bye boogera, nga mw’otwalidde n’engeri gye bayisaamu baganda be abaafukibwako amafuta. (Mat. 12:​36, 37) Yesu ajja kuba amanyi abo abaawagira baganda be abaafukibwako amafuta n’omulimu gwe bakola. Emu ku ngeri enkulu abo abalinga endiga gye bawagiramu baganda ba Kristo, kwe kubayambako mu mulimu gw’okubuulira. w24.09 20-21 ¶3-4

Mwekenneenyenga ebintu byonna.—1 Bas. 5:21.

Tusobola okukakasa nti ebyo bye tukkiriza bituufu nga tubigeraageranya n’ekyo Bayibuli ky’egamba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muvubuka abuusabuusa obanga wa mugaso eri Yakuwa. Okuba nti alowooza bw’atyo, yandikitutte nti ddala kituufu si wa mugaso eri Yakuwa? Nedda. Alina ‘okwekenneenya ebintu byonna’ ng’afuba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo. Bwe tuba tusoma Ekigambo kya Katonda, tuba “tuwulira” Yakuwa ng’ayogera gye tuli. Naye okusobola okumanya endowooza gy’alina ku bibuuzo ebimu bye twebuuza, kitwetaagisa okufuba. Tusaanidde okuzuula ebyawandiikibwa ebikwata ku bibuuzo bye twebuuza, era ne tubinoonyerezaako okusobola okufuna eby’okuddamu. Tusobola okunoonyereza nga tukozesa ebintu ekibiina kya Yakuwa bye kituwadde ebituyamba okunoonyereza. (Nge. 2:​3-6) Tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byaffe. Oluvannyuma tusaanidde okunoonya emisingi gya Bayibuli era n’amagezi agasobola okutuyamba mu mbeera yaffe. w24.10 25 ¶4-5

[Okwagala] tekwenoonyeza byakwo.—1 Kol. 13:5.

Yakuwa tasobola kuwa mukisa muntu yenna eyeetwala nti wa waggulu. (1 Kol. 10:​24, 33; 13:4) Ebiseera ebimu n’abayigirizwa ba Yesu ab’oku lusegere baayagalanga okufuna enkizo ezimu nga balina ebiruubirirwa ebikyamu. Lowooza ku ekyo omutume Yakobo ne Yokaana kye baakola. Baasaba Yesu okubawa ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe. Yesu teyabasiima olw’ekyo kye baasaba. Mu kifo ky’ekyo, yagamba abatume bonna 12 nti: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe, era buli ayagala okubeera ow’olubereberye mu mmwe ateekeddwa okubeera omuddu wa bonna.” (Mak. 10:​35-37, 43, 44) Ab’oluganda abaagala okuba abaweereza ng’ekiruubirirwa kyabwe kya kuweereza balala, baba ba mugaso nnyo eri ekibiina.—1 Bas. 2:8. w24.11 15-16 ¶7-8

Bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.—Nge. 15:22.

Bwe tuba tuliko bye tusalawo, okwagala kujja kutuleetera okunoonya ebigasa “abalala” n’okubeera abeetoowaze. (1 Kol. 10:​23, 24, 32; 1 Tim. 2:​9, 10) Awo tujja kusobola okusalawo mu ngeri eraga nti twagala abalala era nti tubassaamu ekitiibwa. Bw’oba nga ky’osalawo kikulu nnyo, lowooza ku ebyo ebyetaagisa okusobola okukituukiriza. Yesu yatukubiriza ‘okubalirira ebyetaagisa.’ (Luk. 14:28) N’olwekyo, fumiitiriza ku biseera by’onoomala, ebintu ebyetaagisa, n’okufuba kw’onootekamu okusobola okutuukiriza ekyo ky’oyagala okusalawo. Mu mbeera ezimu, kiyinza okukwetaagisa okwogerako n’ab’omu maka go okumanya buli omu ky’anaakola okusobola okutuukiriza ekyo ky’oyagala okusalawo. Lwaki kya magezi okukola bw’otyo? Kiyinza okukuyamba okukitegeera nti weetaaga okukyusaamu okusobola okutuukiriza ekyo ky’oyagala okusalawo, oba nti weetaaga kusalawo mu ngeri ndala. Era bwe weebuuza ku b’omu maka go n’owuliriza bye bakugamba, bajja kuba beetegefu okukolera awamu naawe okusobola okutuukiriza ky’osazeewo. w25.01 18-19 ¶14-15

Musanyuke era mujaganye.—Is. 65:18.

Isaaya yalaga ensonga lwaki ‘tusanyuka era tujaganya’ olw’okubeera mu lusuku olw’eby’omwoyo. Olusuku luno Yakuwa ye yalussaawo. (Is. 65:​18, 19) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yakuwa atukozesa okuyamba abantu okuva mu bibiina by’ensi ebitayigiriza bantu mazima agamukwatako, ne bajja mu lusuku luno olw’eby’omwoyo! Tusiima nnyo emikisa gye tufuna olw’okubeera mu lusuku luno, era twagala nnyo okugitegeezako abalala. (Yer. 31:12) Ate era tusiima nnyo essuubi lye tulina. Bayibuli egamba nti tujja ‘kuzimba ennyumba tuzibeeremu, era nti tujja kusimba ennimiro z’emizabbibu tulye ebibala byamu.’ Tetujja “kuteganira bwereere” kubanga Yakuwa ajja kutuwa omukisa. Yakuwa atusuubiza okuba mu bulamu obulungi era obw’amakulu. Amanyi buli omu kye yeetaaga era ‘ajja kuwa buli kiramu bye kyagala.’—Is. 65:​20-24; Zab. 145:16. w24.04 22-23 ¶11-12

Katonda lwe lwazi lwange olugumu, era kye kiddukiro kyange.—Zab. 62:7.

Yakuwa tumufuula Olwazi lwaffe nga tumwesigira ddala. Tuli bakakafu nti bwe tumugondera ne mu mbeera enzibu, ffe tuganyulwa. (Is. 48:​17, 18) Bwe tulaba engeri gy’atuyambamu, tweyongera okumwesiga. Tweyongera okuba abakakafu nti ye yekka asobola okutuyamba okugumira ebizibu ka bibe bya maanyi bitya. Okufaananako olwazi olunene, Yakuwa munywevu era takyukakyuka. Engeri ze n’ekigendererwa kye tebikyuka. (Mal. 3:6) Adamu ne Kaawa bwe baamujeemera, teyakyusa kigendererwa ky’alina eri abantu. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, Yakuwa “tayinza kukola kintu kikontana n’ekyo ky’ali.” (2 Tim. 2:13) Kino kitegeeza nti ka kibe ki ekibaawo oba ka kibe ki abalala kye bakola, Yakuwa takyusa ngeri ze, kigendererwa kye, n’emitindo gye. Olw’okuba Katonda waffe takyuka, tuli bakakafu nti ajja kutulokola era nti ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu.—Zab. 62:​6, 7w24.06 27-28 ¶7-8

Omuntu ow’ekyama ow’omu mutima wa muwendo nnyo.—1 Peet. 3:4.

Bw’oba ng’olina gw’oyogerezeganya naye, kiki ekinaakuyamba okusalawo obanga onoofumbiriganwa naye? Buli omu asaanidde okumanya obulungi munne. Oyinza okuba ng’olina ebintu bye wali omanyi ku muntu oyo nga temunnatandika kwogerezeganya. Naye kati olina akakisa okumanya omuntu “ow’ekyama ow’omu mutima.” Ekyo kizingiramu okumanya embeera ye ey’eby’omwoyo, engeri ze, era n’ebyo by’alowoozaako. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, oba osaanidde okuba ng’osobola okuddamu ebibuuzo nga bino: ‘Omuntu ono ye mutuufu ow’okufumbirwa oba ow’okuwasa?’ (Nge. 31:​26, 27, 30; Bef. 5:33; 1 Tim. 5:8) ‘Nsobola okumulaga okwagala n’okumufaako, era naye asobola okukola kye kimu gye ndi?’ Buli omu asobola okubuusa amaaso obunafu bwa munne?’ (Bar. 3:23) Bwe mugenda mweyongera okumanyagana, kikulu okukijjukira nti ekisinga obukulu si kwe kuba nti mukwatagana mu buli kimu, wabula kwe kuba nti buli omu asobola okugumiikiriza munne mu ebyo bye mutafaanaganya. w24.05 27 ¶5

Nnyonoonye mu maaso ga Yakuwa.—2 Sam. 12:13.

Kabaka Dawudi alina ekibi eky’amaanyi kye yakola. Naye nnabbi Nasani bwe yajja gy’ali n’ayogera ku kibi ekyo, Dawudi yeetoowaza ne yeenenya. (Zab. 51:​3, 4, 17, obugambo obusooka) Kabaka Keezeekiya naye yayonoona mu maaso ga Yakuwa. (2 Byom. 32:25) Okufaananako Dawudi, Keezeekiya yeetoowaza ne yeenenya. (2 Byom. 32:26) N’ekyavaamu, Yakuwa yamutwala nti yali kabaka mwesigwa ‘eyakolanga ebirungi.” (2 Bassek. 18:3) Kiki kye tuyiga? Tusaanidde okwenenya ebibi byaffe, era ne tufuba nnyo obutabiddamu. Watya singa abakadde batuwabula ne ku buntu obulabika ng’obutono? Tetusaanidde kukitwala nti Yakuwa takyatwagala, oba nti abakadde tebatwagala. Ne bakabaka ba Isirayiri abaali abalungi baawabulwanga era baakangavvulwanga. (Beb. 12:6) Bwe tuwabulwa, tusaanidde (1) okukkiriza okuwabulwa okwo, (2) okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa (3) n’okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Bwe twenenya ebibi byaffe, Yakuwa atusonyiwa.—2 Kol. 7:​9, 11. w24.07 21 ¶8; 22 ¶9, 11

Omuntu omubi mumuggye mu mmwe.—1 Kol. 5:13.

Singa omwonoonyi agaana okukyusaamu wadde ng’abakadde bagezezzaako enfunda n’enfunda okumuyamba okwenenya, aggibwa mu kibiina. (2 Bassek. 17:​12-15) Ebikolwa bye biba biraga nti asazeewo obutagoberera mitindo gya Yakuwa. (Ma. 30:​19, 20) Ekirango kiyisibwa nti takyali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Ekigendererwa ky’okuyisa ekirango ekyo tekiba kya kuswaza mwonoonyi. Ekirango ekyo kiyisibwa ekibiina kisobole okukolera ku bulagirizi buno: “Mulekere awo okukolagana” n’omuntu oyo era “n’okulya temulyanga na muntu ng’oyo.” (1 Kol. 5:​9-11) Waliwo ensonga ennungi lwaki Yakuwa yatuwa ekiragiro ekyo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.” (1 Kol. 5:6) Abantu abateenenya bibi byabwe bwe bataggibwa mu kibiina, kiyinza okuviirako abalala okulowooza nti tebeetaaga kunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.—Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33. w24.08 27 ¶3-4

Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.—Baf. 4:13.

Tetusobola kuwa balala maanyi butereevu. Naye tusobola okukozesa amaanyi gaffe okubayamba. Ng’ekyokulabirako, bakkiriza bannaffe abakaddiye oba abaliko obulemu tusobola okubayambako okubagulira ebintu bye beetaaga oba okubakolerako emirimu gy’awaka. Oba tusobola okuyambako mu kulongoosa n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Ate era kikulu okukijjukira nti ebigambo birina amaanyi. Olinayo omuntu gw’omanyi ajja okuganyulwa ennyo bw’onoomugamba ebigambo ebiraga nti osiima by’akola? Olinayo gw’omanyi eyeetaaga okubudaabudibwa? Bwe kiba kityo, baako ky’okolawo okuyamba abantu ng’abo. Oyinza okubakyalira, okubakubira essimu, okubawandiikira akabaluwa, oba okubaweereza mesegi. Tosaanidde kweraliikirira ebyo by’onooyogera. Ebigambo ebitonotono by’onooyogera okuva ku mutima, biyinza okuba nga by’ebyo mukkiriza munno bye yeetaaga okusobola okusigala nga mwesigwa oba okusobola okufuna obuweerero.—Nge. 12:25; Bef. 4:29. w24.09 28 ¶8-10

Omusajja yenna bw’aluubirira okuba omulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi.—1 Tim. 3:1.

Bw’oba ng’omaze ekiseera ng’okola ng’omuweereza mu kibiina, oyinza okuba ng’ofubye nnyo okukulaakulanya engeri ezeetaagisa kufuuka omukadde. Wandyagadde okukola “omulimu omulungi” abakadde gwe bakola? Buvunaanyizibwa ki omukadde bw’aba nabwo? Awoma omutwe mu kubuulira, afuba okukyalira bakkiriza banne n’abazzaamu amaanyi, ayigiriza, era azimba ekibiina mu ebyo by’ayogera ne mu kyokulabirako ky’assaawo. Tekyewuunyisa nti Bayibuli abakadde ebayita ‘ebirabo mu abantu.’ (Bef. 4:8) Oyinza otya okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’omukadde? Okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’omukadde si kye kimu n’okutuukiriza ebisaanyizo by’okufuna omulimu ogw’okweyimirizaawo. Emirundi mingi mu nsi, bw’oba ng’olina obukugu oyo anoonya abakozi bwe yeetaaga, osobola okufuna omulimu. Okwawukana ku ekyo, bw’oba ng’oyagala kulondebwa ng’omukadde, tolina kukoma ku kubeera mukugu mu kubuulira n’okuyigiriza. Olina okuba ng’otuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa abakadde bye balina okutuukiriza ebyogerwako mu 1 Timoseewo 3:​1-7 ne Tito 1:​5-9. w24.11 20 ¶1-3