Luganda
Agusito
/assets/ct/fa815d8e9f/images/syn_placeholder_sqr.png
es26 lup. 77-88

Agusito

Lwamukaaga, Agusito 1

Agusito

Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo.—Mat. 24:21.

Twagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka bakolere ku kulabula okwo era batwegatteko mu kusinza okulongoofu. Naye kiki ekinaatuuka ku abo abatakolera ku kulabula okwo kati? Kiyinzika okuba nti Yakuwa ajja kuwonyaawo abantu abanaakyusa endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okulaba nga Babulooni Ekinene kizikiriziddwa. Ekyo bwe kiba kityo, kikulu nnyo kati n’okusinga bwe kyali kibadde okweyongera okulabula abantu. Ebyo bye tubabuulira kati biyinza okubasobozesa okubaako ekintu ekikulu kye bajjukira mu kiseera ekyo. (Geraageranya Ezeekyeri 33:33.) Oboolyawo bajja kujjukira ebintu bye twababuulira nga tubalabula, bakyuse amakubo gaabwe batwegatteko mu kusinza okw’amazima ng’ekiseera kikyaliyo. Okufaananako omukuumi w’ekkomera mu Firipi eyakyusa endowooza ye oluvannyuma lwa “musisi ow’amaanyi” okuyita, oboolyawo abamu ku bantu abatawuliriza bubaka bwaffe kati bajja kukyusa endowooza yaabwe oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, okuyinza okugeraageranyizibwa ku musisi ow’amaanyi.—Bik. 16:​25-34. w24.05 17 ¶9-10

Kristo ye nkomerero y’Amateeka.—Bar. 10:4.

Waliwo ekintu ekikulu kye tuyiga mu ebyo omutume Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Abamu baali tebeeyongedde kukula mu by’omwoyo. Mu butuufu baali ‘bafuuse abeetaaga amata so si emmere enkalubo.’ (Beb. 5:12) Baali tebafuddeeyo kumanya bintu ebipya Yakuwa bye yali abayigiriza okuyitira mu kibiina. (Nge. 4:18) Ng’ekyokulabirako, abamu ku Bakristaayo Abayudaaya baali bakyagamba nti Amateeka ga Musa gaalina okugobererwa wadde ng’Amateeka ago gaali gaggibwawo emyaka nga 30 emabega oluvannyuma lwa ssaddaaka ya Yesu okuweebwayo. (Tit. 1:10) Omuntu yenna asoma ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya akiraba nti ddala ebbaluwa eno erimu emmere enkalubo. Ebyo ebiri mu bbaluwa eyo Abakristaayo abo bye baali beetaaga okusobola okuba abakakafu nti engeri Abakristaayo gye baali basinzaamu yali esingira wala ey’Ekiyudaaya. Ekyo kyandibayambye okuba abavumu ne beeyongera okubuulira.—Beb. 10:​19-23. w24.04 6 ¶15

Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.—Bik. 24:15.

Okuva mu kiseera Adamu ne Kaawa lwe baawuliriza Sitaani ne bajeemera Yakuwa Katonda, abantu buwumbi na buwumbi bafudde. Kiki ekinaatuuka ku bantu abo bonna? Abantu abatonotono, kwe kugamba, abagoberezi ba Kristo abeesigwa 144,000, bajja kuzuukizibwa bafune obulamu obutasobola kuzikirira mu ggulu. (Kub. 14:1) Ate abantu abasinga obungi abeesigwa abaali baagala Yakuwa bajja kuzuukira mu ‘kuzuukira kw’abatuukirivu,’ era bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna kasita banaasigala nga beesigwa mu kiseera eky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi ne mu kugezesebwa okusembayo. (Dan. 12:13; Beb. 12:1) Ate era mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu “abatali batuukirivu,” omuli abo abataaweereza Yakuwa, oba ‘abaakolanga n’ebintu ebibi,’ bajja kuweebwa akakisa okukyusa enneeyisa yaabwe, basobole okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Yok. 5:29; Luk. 23:​42, 43) Kyokka abantu abamu baali babi nnyo, ne kiba nti Yakuwa yasalawo nti tebajja kuzuukizibwa.—Luk. 12:​4, 5w24.05 2 ¶3; 5 ¶15; 6 ¶17

Banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye emitima gyabwe gindi wala.—Is. 29:13.

Omuntu ayagala okukyazibwa Yakuwa alina okuba ‘ng’ayogera amazima mu mutima gwe.’ (Zab. 15:2) Ekyo tekikoma ku kwewala kulimba. Yakuwa ayagala tube beesigwa mu byonna bye twogera ne bye tukola. (Beb. 13:18) Ekyo kikulu nnyo kubanga “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Nge. 3:32) Abo ‘aboogera amazima mu mitima gyabwe’ tebeefuula nti bagondera Yakuwa nga waliwo abantu, ate ne bamenya amateeka ge nga tewali abalaba. Beewala obukuusa. Omuntu omukuusa ayinza okutandika okulowooza nti agamu ku mateeka ga Yakuwa tegakola. (Yak. 1:​5-8) Ayinza okujeemera Yakuwa mu bintu ye by’alaba ng’ebitali bikulu. Era bwe watabaawo kibi kimutuukako olw’obujeemu obwo, ayinza okutandika okukola ebintu ebibi n’okusingawo. Wadde ng’aba alowooza nti aweereza Yakuwa, Yakuwa aba tasiima buweereza bwe. (Mub. 8:11) Naye ffe twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna. w24.06 10 ¶7-8

Mube banywevu . . . nga mwesibye mu biwato byammwe olukoba olw’amazima.—Bef. 6:14.

Abantu ba Yakuwa baagala nnyo amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Okukkiriza kwaffe kwesigamiziddwa ku mazima ago. (Bar. 10:17) Tukkiriza nti Yakuwa yassaawo ekibiina Ekikristaayo okuba “empagi era omusingi ogw’amazima.” (1 Tim. 3:15) Sitaani ayagala nnyo okulaba nti tulekera awo okwesiga Bayibuli oba obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa. (Bef. 4:14) Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani ajja kulimbalimba amawanga agaleetere okulwanyisa Yakuwa. (Kub. 16:​13, 14) Ate era tukimanyi nti Sitaani ajja kweyongerera ddala okugezaako okubuzaabuza abantu ba Yakuwa. (Kub. 12:9) N’olwekyo, kikulu nnyo gye tuli okuyiga okwawulawo amazima ku bulimba era n’okugondera amazima. (Bar. 6:17; 1 Peet. 1:22) Ekyo kyetaagisa bwe tuba ab’okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene! w24.07 8 ¶1-3

Ekiragiro kino kye nkuwa leero si kizibu nnyo gy’oli era tekiri wala.—Ma. 30:11.

Yakuwa bwe yafuula Abayisirayiri eggwanga, baamusuubiza nti baali bajja kukwata Amateeka ge. Bwe bandigakutte, yandibakuumye era yandibawadde emikisa. Naye bwe bandimujeemedde oba bwe bandisazeewo okusinza bakatonda abalala, yandibadde alekera awo okubawa emikisa era bandibadde babonaabona. Wadde kyali kityo, baali bakyasobola okuddamu okusiimibwa mu maaso ge. Bandikomyewo eri Yakuwa Katonda waabwe era ne bawuliriza eddoboozi lye. (Ma. 30:​1-3, 17-20) Mu ngeri endala, bandibadde beenenya. Bwe bandyenenyezza, Yakuwa yandibadde abasemberera era n’addamu okubawa emikisa. Enfunda n’enfunda abantu ba Yakuwa baamujeemera. Ekyo kyabaviirako okubonaabona. Naye Yakuwa yasigala agezaako okuyamba abantu be baddemu okumuweereza. Enfunda n’enfunda yabatumira bannabbi okubakubiriza okwenenya badde gy’ali.—2 Bassek. 17:​13, 14. w24.08 9 ¶4-5

Ekibiina ekyali mu Yerusaalemi kyatandika okuyigganyizibwa ennyo.—Bik. 8:1.

Abakristaayo Abebbulaniya abaali babeera mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya baafuna ebizibu eby’amaanyi mu myaka egyaddako oluvannyuma lwa Yesu okufa. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikiddwawo, Abakristaayo baatandika okuyigganyizibwa ennyo. Ate oluvannyuma nga wayise emyaka nga 20, Abakristaayo baabonaabona nnyo olw’obwavu n’olw’enjala ey’amaanyi eyagwa mu kitundu ekyo. (Bik. 11:​27-30) Kyokka awo nga mu mwaka gwa 61 E.E., Abakristaayo baafuna emirembe emisaamusaamu naddala bw’olowooza ku ebyo ebyali bijja mu maaso. Mu kiseera ekyo baafuna ebbaluwa okuva eri omutume Pawulo, era ebbaluwa eyo yajjira mu kiseera ekituufu. Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya yajjira mu kiseera ekituufu kubanga emirembe Abakristaayo abo gye baalina gyali tegigenda kumala kiseera kiwanvu. Mu bbaluwa eyo, Pawulo yawa Abakristaayo abo amagezi agandibayambye okugumiikiriza okubonaabona kwe baali banaatera okwolekagana nakwo. w24.09 8 ¶1-2

Banzizaamu nnyo amaanyi.—Bak. 4:11.

Engeri emu Yakuwa gy’akiragamu nti atwagala kwe kukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba nga tulina ebizibu. Bakkiriza bannaffe batubudaabuda nga babeerako wamu naffe era nga batuwuliriza nga tubabuulira engeri gye twewuliramu. Bayinza okutusomerayo ekyawandiikibwa ekizzaamu amaanyi oba okusabirako awamu naffe. (Bar. 15:4) Oluusi mukkiriza munnaffe ayinza okutujjukiza endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu ekimu ne kituyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Bakkiriza bannaffe era bayinza okubaako ebintu bye batukolera, gamba ng’okututeekerateekera eky’okulya nga tuli mu nnaku. Okusobola okufuna obuyambi okuva eri abalala, kiyinza okutwetaagisa okubasaba okutuyamba. (Nge. 17:17) Bayinza obutamanya ngeri gye twewuliramu oba kiki kye twetaaga. (Nge. 14:10) N’olwekyo, ba mwetegefu okubuulirako mikwano gyo abakulu mu by’omwoyo engeri gye weewuliramu. Bategeeze ekiyinza okukuyamba. Oyinza okusalawo okubuulirako omukadde omu oba babiri abakwanguyira. Bannyinnaffe abamu kibanguyira okubaako mwannyinaffe omukulu mu by’omwoyo gwe beeyabiza. w24.10 10 ¶15-16

Buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu [ajja kufuna] obulamu obutaggwaawo.—Yok. 6:40.

Abantu bangi bafuba okulya obulungi n’okukola dduyiro basobole okuba abalamu obulungi. Wadde kiri kityo, baba bakimanyi nti okukola ebintu ebyo tekiremesa muntu kukaddiwa oba okufa. Oboolyawo balowooza nti tekisoboka kubaawo mirembe gyonna. Kyokka mu Yokaana 3:16 ne 5:​24, Yesu yalaga nti abantu basobola okufuna “obulamu obutaggwaawo.” Yesu yakola eky’amagero n’aliisa abantu nkumi na nkumi emigaati n’ebyennyanja. Ekyamagero ekyo kyali kyewuunyisa nnyo. Naye Yesu kye yagamba abantu enkumi n’enkumi abaamugoberera e Kaperunawumu okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya ku lunaku olwaddako kyali kyewuunyisa nnyo n’okusingawo. Yabagamba nti yali ajja kuzuukiza abantu abaafa era nti bandifunye obulamu obutaggwaawo. (Yok. 6:​39, 40) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti abantu bangi abaafa bajja kuzuukira era nti ggwe n’ab’eŋŋanda zo musobola okubeerawo emirembe gyonna. w24.12 8 ¶1-2

Abaami, . . . bakazi bammwe [mubasseemu] ekitiibwa ng’ekibya ekinafu.—1 Peet. 3:7.

Lipooti emu eyafulumizibwa Ekitongole ky’eby’Obulamu eky’Ensi Yonna gye buvuddeko awo yalaga nti abasajja bangi bakuba bakyala baabwe, babavuma, oba babayisa bubi mu ngeri endala. Omusajja akola bw’atyo ayinza okuwa mukyala we ekitiibwa nga bali mu bantu, naye bwe baba nga bali bokka awaka n’amutulugunya. Kiki ekiviirako abasajja abamu okuyisa obubi bakyala baabwe? Bayinza okuba nga mu maka mwe baakulira baata baabwe baali bayisa bubi bamaama baabwe, era nga balowooza nti si kikyamu okuyisa obubi omukazi. Abalala bayinza okuba ng’okusinziira ku buwangwa bwabwe, “omusajja omutuufu” alina okuyisa obubi mukazi we okusobola okumulaga nti ye nnyinimu. Abalala bayinza okuba nga tebaayigirizibwa kufuga busungu. Abasajja abamu balaba ebifaananyi eby’obuseegu era ekyo kibaviiriddeko okuba n’endowooza enkyamu ku bakazi ne ku bikolwa eby’okwegatta. Ate era okunoonyereza kulaze nti mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, abasajja bangi baatandika okuyisa obubi bakazi baabwe. Kya lwatu, tewali n’emu ku nsonga ezo erina kuleetera musajja kuyisa bubi mukazi we. w25.01 8 ¶2-3

Okuva Kristo bwe yabonaabona mu mubiri, nammwe mubeere n’endowooza ng’eyiye.—1 Peet. 4:1.

“Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.” (Luk. 10:27) Yesu yagamba nti eryo ly’etteeka erisinga obukulu mu Mateeka ga Musa. Weetegereze nti okwagala Yakuwa kuzingiramu omutima gwaffe, kwe kugamba, ebyo bye twagala awamu n’enneewulira zaffe. Ate era kuzingiramu okumwagala n’obulamu bwaffe bwonna n’amaanyi gaffe gonna. Kyokka era kuzingiramu okumwagala n’amagezi gaffe gonna, kwe kugamba endowooza gye tuba nayo ku bintu ebitali bimu. Tulina okufuba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa. Kya lwatu, tetusobola kutegeerera ddala mu bujjuvu ndowooza ye. Naye bwe twekenneenya “endowooza ya Kristo” kisobola okutuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa, kubanga Yesu yakoppera ddala endowooza ya Kitaawe.—1 Kol. 2:16. w25.03 8 ¶1

Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.—Bef. 1:7.

Olw’okuba Yesu yali atuukiridde, yali yenkanankana ne Adamu nga tannayonoona. (1 Kol. 15:45) Yesu bwe yafa yasobola okutangirira ekibi kya Adamu, kwe kugamba, okuzzaawo ekyo Adamu kye yali atufiirizza. (Bar. 5:19) N’olwekyo, Yesu yafuuka “Adamu ow’oluvannyuma.” Tekyetaagisa muntu mulala atuukiridde okujja asasulire ekyo Adamu kye yali atufiirizza. Yesu yafa “omulundi gumu.” (Beb. 7:27; 10:12) Kati olwo, njawulo ki eriwo wakati w’enteekateeka y’okutangirira n’ekinunulo? Enteekateeka y’okutangirira ky’ekyo Katonda ky’akolawo abantu okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okusobozesa ebibi by’abantu aboonoonyi okutangirirwa. Omuwendo ogwo gukiikirirwa omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa ku lwaffe.—Beb. 9:14. w25.02 5 ¶12-13

Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.—1 Kol. 10:13.

Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa mulamu, kituyamba okuba n’endowooza etagudde lubege ku bizibu bye twolekagana nabyo. Mu ngeri ki? Tutandika okukiraba nti ebizibu bye twolekagana nabyo birina akakwate n’ensonga enkulu eriwo wakati wa Yakuwa ne Sitaani. Sitaani agamba nti bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi tujja kuva ku Yakuwa. (Yob. 1:​10, 11; Nge. 27:11) Naye bwe tusigala nga tuli beesigwa nga twolekagana n’ebizibu, tukiraga nti twagala nnyo Yakuwa era nti Sitaani mulimba. Mu kitundu gy’obeera gavumenti eziyiza omulimu gwaffe, oyolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna, abantu tebaagala kuwuliriza mawulire malungi g’obabuulira, oba oyolekagana n’ekizibu eky’engeri endala? Bwe kiba kityo, kijjukire nti embeera gy’oyitamu ekuwa akakisa okusanyusa omutima gwa Yakuwa. Ate era kijjukirenga nti Yakuwa tasobola kukuleka kwolekagana n’ebigezo by’otosobola kugumira. Ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okugumiikiriza. w24.06 22 ¶9

Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.—Yak. 1:14.

Omanyi ebintu ebikifuula ekyangu gy’oli okukola ekibi? Kiba kya kabi nnyo okubuusa amaaso obunafu bwaffe, oba okulowooza nti tuli banywevu nnyo tetusobola kukola kibi. (1 Yok. 1:8) Tusaanidde okukijjukira nti Pawulo yagamba nti n’abo “abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo” bayinza okukola ekibi nga bakemeddwa singa tebaba bulindaala. (Bag. 6:1) Tulina okuba abeesimbu ne tukkiriza obunafu bwe tulina obukifuula ekyangu gye tuli okukola ekibi. (2 Kol. 13:5) Bwe tumanya obunafu bwe tulina, kiki kye tusaanidde okukola? Tusaanidde okufuba ennyo okwewala okukola ekibi! Ng’ekyokulabirako, mu biseera by’edda, ekitundu ky’ekibuga ekyalinga ekyangu abalabe okuyitamu gyalinga miryango gyakyo. N’olwekyo emiryango egyo gye gyali gisinga okukuumibwa obutiribiri. Mu ngeri y’emu, tulina okwegendereza ennyo, obunafu bwaffe buleme okutuviirako okukola ekibi.—1 Kol. 9:27. w24.07 15 ¶5-7

Mweyongere okubala ebibala mu buli mulimu omulungi era mweyongere okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.—Bak. 1:10.

Omulimu omulungi ogwogerwako mu kyawandiikibwa kya leero guzingiramu okubuulira amawulire amalungi. N’olwekyo, bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera era tweyongera okukiraba nti kikulu nnyo okubuulira abalala amawulire amalungi. Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu Kigambo kya Katonda, tetusaanidde kwanguyiriza nga twesomesa oba nga tufumiitiriza. Bw’oba okisoma, waayo ebiseera ebimala. Bw’osanga ekyawandiikibwa ekikuzibuwalira okutegeera, tokiyitako buyisi. Mu kifo ky’ekyo, kozesa Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza okulaba engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kinnyonnyolwamu. Bw’owaayo ebiseera ebimala okwesomesa, kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu. (1 Bas. 5:21) Gy’okoma okuba omukakafu, gy’okoma okunyumirwa okubuulirako abalala ku ebyo by’oba oyize. w24.04 15 ¶4-5

Mbawandiikira okukakasa obanga muli bawulize mu bintu byonna.—2 Kol. 2:9.

Dawudi yagamba Yakuwa nti: “Oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.” (Zab. 86:5) Nnabbi Mikka yagamba nti: “Katonda ki alinga ggwe asonyiwa ensobi n’okwonoona?” (Mi. 7:18) Ate ye nnabbi Isaaya yagamba nti: “Omubi aleke ekkubo lye n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; akomewo eri Yakuwa anaamusaasira, eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiyira ddala.” (Is. 55:7) Okusobola okukoppa Yakuwa, ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso baalina okusonyiwa omwonoonyi eyeenenya era ne bamukakasa nti bamwagala. Bwe baakolera ku kubuulirira okwo baakiraga nti baali “bawulize mu bintu byonna.” Kyo kituufu nti waali wayiseewo myezi bwezi bukya omusajja oyo aggibwa mu kibiina, naye okukangavvula okwo kwali kumusobozesezza okwenenya. N’olwekyo, kyali tekyetaagisa bakadde kulwawo kumukomyawo mu kibiina. w24.08 17-18 ¶12-13

Omu alitwalibwa omulala alirekebwa.—Mat. 24:40.

Tuli mu kiseera nga wanaatera okubaawo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kulamula buli muntu anaaba ku nsi. Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nsi ng’anaatera okujja okulamula. Yawa abayigirizwa be ‘akabonero’ akandiraze okubeerawo kwe ‘n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.’ (Mat. 24:3) Ebyo bye yayogera bisangibwa mu Matayo essuula 24 ne 25, mu Makko essuula 13, ne mu Lukka essuula 21. Yesu yagera engero ssatu ezirimu okulabula. Engero ezo ze zino, olw’endiga n’embuzi, olw’abawala embeerera ab’amagezi n’abasirusiru, n’olwa ttalanta. Buli lumu ku ngero ezo, lutuyamba okutegeera engeri enneeyisa y’omuntu gy’ejja okukwata ku ngeri gy’agenda okulamulwamu. w24.09 20 ¶1-2

Buli kimu kye mukola mukikolenga mu kwagala.—1 Kol. 16:14.

Lowooza ku Yesu Kristo eyatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi. Buli kimu kye yakolanga yakikolanga olw’okuba ayagala nnyo Kitaawe n’abantu. Okwagala okwo kwamuleetera okuweerezanga n’obunyiikivu era n’okukola emirimu egyali gitwalibwa okuba egya wansi okusobola okuyamba abalala. (Mat. 20:28; Yok. 13:​5, 14, 15) Ow’oluganda, okwagala bwe kuba nga kwe kukuleetera okwagala okuba omuweereza, Yakuwa ajja kukuwa emikisa era ajja kukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo eby’eby’omwoyo gamba ng’okufuuka omuweereza. (1 Peet. 5:5) Mu nsi, abo abeetwala okuba aba waggulu abantu batera okubeegomba. Ekyo si bwe kiri mu kibiina kya Yakuwa. Okufaananako Yesu, okwagala bwe kuba nga kwe kukubiriza ow’oluganda okuluubirira enkizo, aba teyeegwanyiza bitiibwa oba okuba n’obuyinza ku balala. Omuntu eyeegwanyiza ebitiibwa oba obuyinza ku balala, bw’alondebwa okuba omuweereza ayinza okugaana okukola egimu ku mirimu egya wansi egyetaagisa okusobola okulabirira endiga za Yakuwa ez’omuwendo. Ayinza okwetwala nti wa waggulu nnyo okukola emirimu ng’egyo.—Yok. 10:12. w24.11 15 ¶6-7

Omwoyo omutukuvu mwe gwabalondera okuba abalabirizi.—Bik. 20:28.

Okwetooloola ensi twetaaga ab’oluganda abalala bangi okukola ng’ebirabo mu bantu. (Bef. 4:8) Bw’oba ng’oli wa luganda mubatize, ‘osobola okuyambako’ mu nsonga eyo? (Nge. 3:27) Oli mwetegefu okutuukiriza ebisaanyizo eby’okukola ng’omuweereza? Bw’oba ng’oli muweereza, oli mwetegefu okuluubirira okuweereza ng’omukadde? Oli mwetegefu okukyusa mu nteekateeka zo, n’osaba okugenda mu ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka? Essomero eryo lijja kukutendeka era lijja kukuyamba nnyo, Yesu asobole okukukozesa mu bujjuvu. Bw’oba owulira nga totuukiriza bisaanyizo, saba Yakuwa akuyambe. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu, gukuyambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna bw’oba okwasiddwa. (Luk. 11:13) Okuba nti tulina ab’oluganda abaweereza ng’ebirabo mu bantu, bukakafu obulaga nti Yesu atukulembera mu nnaku zino ez’enkomerero. (Mat. 28:20) Mazima ddala tusiima nnyo okuba nti tulina Kabaka atwagala, omugabi, atufaako, era atuwadde ab’oluganda abafaayo ku byetaago byaffe. w24.10 23 ¶16-17

Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa.—Is. 65:17.

Kiki ekinaabaawo ku bintu byonna ebireetedde abantu ba Katonda obulumi n’okubonaabona? Ebintu ebyo oluvannyuma “tebirijjukirwa; [era] biriggibwa mu maaso [ga Katonda].” (Is. 65:16) Ebizibu byonna bye twolekagana nabyo Yakuwa ajja kubiggyawo, era oluvannyuma lw’ekiseera obulumi obuleetebwa ebizibu ebyo tujja kubwerabirira ddala. Ne mu kiseera kino bwe tuba mu nkuŋŋaana zaffe tuwulira nga tukkakkanye era ebirowoozo tetubissa ku bintu ebiri mu nsi ya Sitaani ebireeta okweraliikirira. Tuyambako baganda baffe okuwulira nga bakkakkannye bwe twoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, gamba ng’okwagala, essanyu, emirembe, ekisa, n’obukkakkamu. (Bag. 5:​22, 23) Mazima ddala tusiima nnyo okubeera mu kibiina kya Yakuwa! Abo abasigala mu lusuku olw’eby’omwoyo bajja kulaba ng’ekisuubizo kya Katonda ekikwata ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya’ kituukirira mu bujjuvu. w24.04 22 ¶9-10

Kuba kwesuula mu mutego omuntu okwanguwa okugamba nti, “Kitukuvu!” Ate oluvannyuma n’alyoka alowooza ku ebyo bye yeeyamye.—Nge. 20:25.

Ekiseera eky’okwogerezeganya kiba kya ssanyu, naye era omusajja n’omukazi basaanidde okukitwala nga kikulu nnyo, kubanga mu kiseera ekyo baba balina okusalawo obanga banaafumbiriganwa. Ku lunaku lw’embaga, bombi balayira mu maaso ga Yakuwa nti bajja kwagalana era nti bajja kuwaŋŋana ekitiibwa ekiseera kyonna kye banaamala nga balamu. Bwe tubaako ekintu kyonna kye twagala okweyama, tulina okusooka okukifumiitirizaako ennyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku bweyamo bwe tukola nga tuyingira obufumbo. Okwogerezeganya kusobozesa omusajja n’omukazi buli omu okumanya munne obulungi. Oluusi basobola okusalawo okuyingira obufumbo oba okulekera awo okwogerezeganya. Singa basalawo obutayingira bufumbo, tekitegeeza nti balina ekikyamu kye baakola. Mu kifo ky’ekyo, baba batuukirizza ekigendererwa ky’okwogerezeganya, kwe kugamba, kuba kubayambye okusalawo obulungi. Lwaki kikulu okumanya ekigendererwa ekituufu eky’okwogerezeganya? Abo abali obwannamunigina bwe baba nga balina ekigendererwa ekituufu eky’okwogerezeganya, tebajja kwogerezeganya na muntu nga si beetegefu kumuwasa oba kumufumbirwa. w24.05 26-27 ¶3-4

Tokwatibwanga nsonyi kubuulira bikwata ku Mukama waffe.—2 Tim. 1:8.

Oluusi abaana Abakristaayo batya okunnyonnyola abalala ebyo bye bakkiririzaamu. Bayinza okutya okubuulira abalala endowooza gye balina ku njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka. Lwaki? Kubanga abasomesa baabwe bayinza okuba nga bayigiriza enjigiriza eyo mu ngeri eraga nti ntuufu. Bw’oba oli muzadde, oyinza otya okuyamba abaana bo okuba abakakafu nti ebyo bye bakkiririzaamu bituufu? Omwana wo mubuulire nti tasaanidde kukwatibwa nsonyi olw’okuba akkiriza nti eriyo Omutonzi. Lwaki? Kubanga waliwo bannassaayansi bangi abakkiriza nti ebintu tebyajjawo byokka. Balaba obukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi ow’amagezi ennyo eyatonda ebintu ebiramu ebyakula mu ngeri eyeewuunyisa ennyo. Era olw’ensonga eyo tebakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka. Ekintu ekimu ekisobola okuyamba omwana wo okwongera okunyweza okukkiriza kwe, kwe kumanya ekyo ekyayamba bakkiriza banne okuba abakakafu nti ebintu byatondebwa. w24.12 18 ¶14-15

N’ajjula essanyu n’omwoyo omutukuvu.—Luk. 10:21.

Yesu yali mukakafu nti wandibaddewo abantu abandisiimye amawulire amalungi. Ekyo kyamuyamba okusigala nga musanyufu n’okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ng’ekyokulabirako, nga wayise omwaka nga gumu bukya atandika okubuulira, yakiraba nti abantu bangi baali beetegefu okuwuliriza amawulire amalungi, era yabageraageranya ku nnimiro etuuse okukungulwa. (Yok. 4:35) Ate nga wayise omwaka nga gumu, yagamba abayigirizwa be nti: “Eby’okukungula bingi.” (Mat. 9:​37, 38) Ate era oluvannyuma yaddamu n’abagamba nti: “Eby’okukungula bingi, . . . Musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu mulimu gw’okukungula.” (Luk. 10:2) Yesu yasigala alina essuubi nti abantu abamu bandiwulirizza amawulire amalungi, era bwe baagawuliriza yasanyuka nnyo. Yesu yayamba abayigirizwa be okusigala nga banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, ng’ababuulira ebirungi ebyandivuddemu. w25.03 18-19 ¶15-16

Katonda wange lwe lwazi lwange.—Zab. 94:22.

Yakuwa kiddukiro kyaffe. Ng’empuku eyasimibwa mu lwazi bw’ewa obukuumi omuntu agyewogomamu ng’enkuba ey’amaanyi etonnya, Yakuwa atukuuma nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Atuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye, era atukakasa nti tewali kintu kyonna kisobola kutukolako kabi ka lubeerera. Ate era atusuubiza nti mu biseera eby’omu maaso ajja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okweraliikirira oba okubonaabona. (Ezk. 34:​25, 26) Engeri emu gye tuyinza okufuula Yakuwa Ekiddukiro kyaffe kwe kumusaba. Bwe tumusaba, atuwa ‘emirembe gye’ ne gikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe. (Baf. 4:​6, 7) Yakuwa bulijjo waali okutuyamba. Tusobola okumwesiga kubanga lwe “Lwazi olw’emirembe n’emirembe.” (Is. 26:​3, 4) Bulijjo waali okutuukiriza ebyo by’atusuubiza, okuwulira essaala zaffe, n’okutuwa obuyambi bwe tuba twetaaga. Era tusobola okumwesiga kubanga mwesigwa eri abo abamuweereza. (2 Sam. 22:26) Tasobola kwerabira ebyo bye tumukolera, era ajja kutuwa empeera.—Beb. 6:10; 11:6. w24.06 27 ¶4-6

Kuumanga omutima gwo . . . kubanga gwe gusibukamu ensulo ez’obulamu.—Nge. 4:23.

Eby’okwesanyusaamu ebitasaana, emikwano emibi, n’okwagala ennyo ebintu ne ssente biyinza okutulemesa okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Singa tukiraba nti waliwo ekintu kyonna ekireetera okwagala kwe tulina eri Yakuwa okukendeera, tulina okukyewala mu bwangu. (Mat. 5:​29, 30) Tetusaanidde kukkiriza mutima gwaffe kweyawulamu. Tusobola okwerimbalimba nti bwe tuba tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu tekitwetaagisa kwewala bintu bibi. Kuba akafaananyi ng’oyonjezza ennyumba kyokka n’oleka ng’oluggi n’amadirisa biggule, ate ng’ebweru embuyaga erimu enfuufu ekunta. Kya lwatu ennyumba eddamu n’eddugala. Ekyokulabirako ekyo tusobola okukigeraageranya ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tetusaanidde kukoma ku kukola bintu birungi ebitusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nga bwe tuggalawo amadirisa n’enzigi oluvannyuma lw’okuyonja enfuufu ereme kuyingira, tusaanidde okwewala okuyingiza mu mitima gyaffe ekintu kyonna ekiyinza okukendeeza okwagala kwe tulina eri Yakuwa.—Bef. 2:2. w24.07 21 ¶6-7

Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.—Mat. 5:44.

Mu butuufu tetusobola kutegeerera ddala bulumi Yesu bwe yayitamu, okuweebuulwa, awamu n’obutali bwenkanya bye yagumira. Kyokka yasigala ayagala Yakuwa era nga mwesigwa gy’ali wadde nga yabonyaabonyezebwa nnyo. Mu kifo ky’okusaba Yakuwa abonereze abasirikale abamukomerera ku muti, yasaba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.” (Luk. 23:34) Bwe tusabira abo abatuyisa obubi, kiyinza okukendeeza ku bulumi n’obusungu bwe tuba nabwo era kiyinza n’okukyusa engeri gye tubatunuuliramu. Nga tukyali mu nsi eno embi, ekiseera kyonna tusobola okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ka kibe ki ekitutuukako, ka tweyongere okusabanga Yakuwa okutuyamba. Ate era ka tweyongere okukoppa engeri Yesu gye yeeyisaamu bwe yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Era ka tweyongere okussa mu nkola amagezi agali mu Bayibuli. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa.—1 Peet. 3:​8, 9w24.11 6 ¶16; 7 ¶17, 19

Oli Katonda atasanyukira bintu bibi; tewali mubi n’omu ayinza kusigala w’oli.—Zab. 5:4.

Yakuwa akyayira ddala ekibi, era tekiri nti buli ngeri yonna abantu gye beeyisaamu ekkirizibwa mu maaso ge. (Zab. 5:​4-6) Ayagala tukolere ku mitindo gye egy’obutuukirivu gye yatuwa mu Kigambo kye. Kya lwatu nti Yakuwa tasuubira bantu abatatuukiridde kukwata mateeka ge mu ngeri etuukiridde. (Zab. 130:​3, 4) Kyokka era tagumiikiriza ‘bantu abatatya Katonda, abafuula ekisa kye eky’ensusso okuba ekyekwaso eky’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwagwa.’ (Yud. 4) Mu butuufu, Bayibuli eraga nti “abantu abatatya Katonda” bajja kuzikirizibwa ku lutalo Amagedoni. (2 Peet. 3:7; Kub. 16:16) Naye Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirira. Bayibuli ekyoleka bulungi nti Yakuwa ayagala abantu “bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Okufaananako Yakuwa, abakadde baba bagumiikiriza nga bagezaako okuyamba omwonoonyi okwenenya n’okuddamu okuba n’enkolagana ne Yakuwa. w24.08 26 ¶1-2

Oyanjuluza engalo zo n’owa buli kiramu bye kyagala.—Zab. 145:16.

Okufaananako Yakuwa, naffe tusobola okugabira abalala ababa mu bwetaavu olw’okuba tubaagala. Ng’ekyokulabirako, olinayo mukkiriza munno gw’omanyi eyeetaaga emmere oba eby’okwambala? Yakuwa asobola okukukozesa okukola ku byetaago bya mukkiriza munno oyo. Abaweereza ba Yakuwa bamanyiddwa nnyo nti bayamba abalala nga waguddewo akatyabaga. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19 abaweereza ba Yakuwa baagabiranga bannaabwe abaabanga mu bwetaavu emmere, engoye, n’ebintu ebirala bye baabanga beetaaga. Ate era bangi baawaayo ssente okuwagira omulimu gw’ensi yonna. Ekyo kyayamba ekibiina kya Yakuwa okudduukirira ab’oluganda mu nsi yonna abaali mu bwetaavu. Ab’oluganda abo abagabi baakolera ku bigambo bino ebiri mu Abebbulaniya 13:16: “Temwerabiranga kukola birungi n’okugabana n’abalala bye mulina, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.” w24.09 27 ¶6-7

Mumanye ebintu ebisinga obukulu.—Baf. 1:10.

Fumiitiriza ku mbeera eno. Onoonya omulimu okusobola okulabirira ab’omu maka go. Waliwo emirimu ebiri gy’osobola okulondako. Olowooza ku byonna ebizingirwamu; emirimu egyo gya ngeri ki, biseera ki by’olina okukoleramu, lugendo lwenkana wa lw’olina okutambula okugenda okukola, n’ebirala. Emirimu egyo gyombi tegikontana na Byawandiikibwa. Oboolyawo owulira nga wandyagadde ogumu ku gyo okusinga omulala olw’ebyo ebyetaagisa okugukola, oba olw’okuba ojja kusasulwa omusaala oguwerako. Naye waliwo ebirala by’osaanidde okufumiitirizaako nga tonnasalawo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okwebuuza nti, ‘Omulimu ogwo gunaayingirira ebiseera byange eby’enkuŋŋaana? Gunannemesa okufuna ebiseera okukola ku byetaago by’ab’omu maka gange eby’eby’omwoyo n’okufaayo ku nneewulira yaabwe?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kijja kukuyamba okukulembeza “ebintu ebisinga obukulu,” kwe kugamba, okusinza Yakuwa, okukola ku byetaago by’ab’omu maka go, mu kifo ky’okukulembeza ebintu eby’omubiri. Awo ojja kuba osobola okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. w25.01 17 ¶11-13

Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese.—Zab. 34:18.

Abalala ne bwe baba nga baakuyisa bubi, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala era akutwala nti oli wa muwendo. Bw’oba ng’olina obulumi ku mutima, kijjukire nti Yakuwa alina ebirungi bye yakulabamu era ye yakusembeza gy’ali. (Yok. 6:44) Bulijjo mwetegefu okukuyamba olw’okuba oli wa muwendo gy’ali. Tusobola okumanya engeri Yakuwa gy’atutwalamu nga twekenneenya ekyokulabirako Yesu kye yassaawo. Yesu yeetegerezanga abo abaali banyoomebwa abalala era yabasaasiranga. (Mat. 9:​9-12) Ng’ekyokulabirako, omukazi eyalina ekirwadde eky’amaanyi bwe yakwata ku kyambalo kye ng’asuubira okuwonyezebwa, Yesu yamubudaabuda era n’amusiima olw’okukkiriza kwe. (Mak. 5:​25-34) Yesu ayolekera ddala engeri za Kitaawe. (Yok. 14:9) N’olw’ekyo, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo gy’ali era nti alaba engeri ennungi z’olina, omuli okukkiriza n’okwagala kw’olina gy’ali. w24.10 7 ¶4-5

Amaziga gange gakuŋŋaanyize mu nsawo yo ey’eddiba.—Zab. 56:8.

Dawudi yafuna ebizibu bingi mu bulamu bwe ebyamuleetera okukaaba. Abantu abamu baamukyawa, ate abalala be yali yeesiga baamulyamu olukwe. (1 Sam. 19:​10, 11; 2 Sam. 15:​10-14, 30) Lumu yagamba nti: “Nkooye olw’okusinda; ekiro kyonna ekitanda kyange nkitobya amaziga; obuliri bwange mbutotobaza nga nkaaba.” (Zab. 6:6) Wadde nga Dawudi yafuna ebizibu eby’amaanyi, yali mukakafu nti Yakuwa yali amwagala. Yagamba nti: “Yakuwa ajja kuwulira okukaaba kwange.” (Zab. 6:8) Ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa kya leero bikyoleka bulungi nti Yakuwa atwagala era atufaako. Dawudi yawulira nga Yakuwa eyali akuŋŋaanyiza amaziga ge mu nsawo ey’eddiba oba eyali agawandiika mu kitabo. Yali mukakafu nti Yakuwa yali alaba obulumi bwe yali ayitamu era nti yali abujjukira. Dawudi era yali mukakafu nti Kitaawe ow’omu ggulu yali alaba ebizibu bye yali ayitamu n’engeri gye byali bimuleetera okuwuliramu. w24.12 22 ¶11-12