Luganda
Jjanwali
/assets/ct/28ada02fb0/images/syn_placeholder_sqr.png
es26 lup. 7-17

Jjanwali

Lwakuna, Jjanwali 1

Jjanwali

Mubeere bakulu mu kutegeera.—1 Kol. 14:20.

Ekimu ku bintu ebisanyusa ennyo abafumbo kwe kuzaala omwana omulamu obulungi. Kyokka wadde ng’abazadde baba baagala nnyo omwana waabwe omuwere, baba tebaagala asigale nga muwere emirembe gyonna. Mu butuufu, singa omwana oyo teyeeyongera kukula, ekyo kibeeraliikiriza nnyo. Mu ngeri y’emu, Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tutandise okuyiga ebimukwatako, naye tayagala tusigale nga tuli bato mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:1) Mu kifo ky’ekyo, atukubiriza okubeera Abakristaayo ‘abakulu.’ Mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘abakulu’ era kiyinza okutegeeza “abatuukiridde” oba “abataliiko kibabulako.” (1 Kol. 2:6) Ng’omwana bwe yeeyongera okukula, naffe tusaanidde okweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Mu ngeri eyo, tuba tufuuse Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo. Kya lwatu, ne bwe tuba nga tukuze mu by’omwoyo tetusaanidde kulekera awo kubaako nkyukakyuka ze tukola okulongoosaamu.—1 Tim. 4:15. w24.04 2 ¶1, 3

Weema yange ejja kuba wamu nabo, era nja kuba Katonda waabwe.—Ezk. 37:27.

Omuntu bw’akubuuza nti: ‘Yakuwa omutwala otya?’ Oyinza kumuddamu otya? Oyinza okumugamba nti: ‘Mmutwala nga Kitange, Katonda wange, era Mukwano gwange.’ Waliwo n’ebitiibwa ebirala by’osobola okukozesa ku Yakuwa. Naye wali omututteko ng’oyo akukyaza mu weema ye? Kabaka Dawudi yageraageranya enkolagana eriwo wakati wa Yakuwa n’abaweereza be ku nkolagana ebaawo wakati w’abagenyi n’oyo aba abakyazizza. Yagamba nti: “Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo? Ani ayinza okubeera ku lusozi lwo olutukuvu?” (Zab. 15:1) Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa biraga nti tusobola okubeera abagenyi mu weema ya Yakuwa, oba nti tusobola okuba mikwano gye. Yakuwa bwe yali nga tannatonda kintu kyonna yali abeera yekka. Kyokka ekiseera kyatuuka n’atonda Omwana we omubereberye. Mu ngeri ey’akabonero yalinga akyazizza omugenyi eyasooka mu weema ye, era ekyo kyamusanyusa nnyo. Bayibuli eraga nti Yakuwa yali ‘ayagala nnyo’ Omwana we. Omugenyi wa Yakuwa eyasooka, ‘yasanyukiranga mu maaso ge bulijjo.’—Nge. 8:30. w24.06 2 ¶1-3

Zadooki [yali muvubuka] ow’amaanyi era omuzira.—1 Byom. 12:28.

Lowooza ku mbeera eno eyaliwo. Abasajja abasukka mu 340,000 baali bakuŋŋaanye okufuula Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Baali bamaze ennaku ssatu nga bali mu nsozi ezaali ziriraanye Kebbulooni, era baali basanyufu nnyo nga bayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa. (1 Byom. 12:39) Mu basajja abo mwalimu omuvubuka eyali ayitibwa Zadooki era kirabika bangi baali tebamulaba. Kyokka Yakuwa ye yali amulaba era yakakasa nti tumanya nti yaliwo mu bantu abo. (1 Byom. 12:​22, 26-28) Zadooki yali kabona eyakoleranga awamu ne kabona eyali asinga obukulu eyali ayitibwa Abiyasaali. Katonda yawa Zadooki amagezi mangi n’obusobozi bw’okumanyanga bye yali ayagala. (2 Sam. 15:27) Ate era yali musajja muvumu nnyo. Mu nnaku zino ez’enkomerero, Sitaani ayongedde amaanyi mu kulumba abantu ba Katonda. (1 Peet. 5:8) Kitwetaagisa okuba abavumu nga bwe tulindirira Yakuwa okuggyawo Sitaani n’ensi ye embi. (Zab. 31:24) Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukoppa Zadooki mu kwoleka obuvumu. w24.07 2 ¶1-3

Emyaka gyonna Adamu gye yawangaala gyali 930, n’afa.—Lub. 5:5.

Yakuwa bwe yatonda omusajja n’omukazi abaasooka, yali ayagala babeere basanyufu. Yabawa ekifo ekirungi ennyo eky’okubeeramu, ekirabo eky’obufumbo, n’omulimu oguleeta essanyu. Baali ba kuzaala baale bajjuze ensi yonna, era bagifuule ekifo ekirabika obulungi ennyo ng’olusuku Edeni bwe lwali. Naye yabawa etteeka limu lyokka eritaali zzibu kugondera. Era yabalabula nti bwe bandisazeewo okumenya etteeka eryo, bandifudde. Tumanyi ekyabaawo. Malayika omu eyali tayagala Katonda era eyali tayagala bantu, yabakema okukola ekibi. Adamu ne Kaawa baawuliriza ebyo malayika oyo bye yabagamba. Baajeema, bwe kityo ne bakyoleka nti baali tebeesiga Kitaabwe eyali abaagala. Nga bwe tukimanyi obulungi, ekyo Yakuwa kye yabagamba kyali kituufu. Okuva ku olwo baayolekagana n’ebyo ebyava mu bujeemu: baatandika okukaddiwa era oluvannyuma ne bafa.—Lub. 1:​28, 29; 2:​8, 9, 16-18; 3:​1-6, 17-19, 24. w24.08 3 ¶3

Mubeere bakozi ba kigambo.—Yak. 1:22.

Yakuwa n’Omwana we gw’ayagala ennyo baagala tube basanyufu. Zabbuli 119:2 lugamba nti: “Balina essanyu abo abakolera ku ebyo by’atujjukiza, abo abamunoonya n’omutima gwabwe gwonna.” Yesu naye yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako! (Luk. 11:28) Abaweereza ba Yakuwa tufuna essanyu lingi bwe tusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa era ne tufuba okukolera ku ebyo bye tuyiga. (Yak. 1:​22-25) Yakuwa naye asanyuka bwe tukolera ku ebyo bye tusoma. (Mub. 12:13) Era bwe tukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda, enkolagana yaffe n’abo be tubeera nabo mu maka awamu ne bakkiriza bannaffe mu kibiina yeeyongera okulongooka. Ate era twewala ebizibu bingi abo abatakolera ku bulagirizi bwa Katonda bye bafuna. Mazima ddala tukkiriziganya n’ekyo Kabaka Dawudi kye yagamba. Oluvannyuma lw’okwogera ku mateeka ga Yakuwa, ebiragiro bye, awamu n’emisango gy’asala, yagamba nti: “Okubikolerako kulimu empeera nnene.”—Zab. 19:​7-11. w24.09 2 ¶1-3

Awonya abamenyese omutima; asiba ebiwundu byabwe.—Zab. 147:3.

Yakuwa bw’atunuulira abaweereza be ku nsi, kiki ky’alaba? Alaba ebintu ebituleetera essanyu n’ebyo ebituleetera obulumi. (Zab. 37:18) Bw’akiraba nti tufuba okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna wadde nga waliwo ebintu ebituleetera obulumi asanyuka nnyo. Era aba mwetegefu okutuyamba n’okutubudaabuda. Zabbuli 147:3 wagamba nti Yakuwa “asiba ebiwundu” by’abo abalina omutima ogumenyese. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku abo ababa n’obulumi ku mutima. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu buyambi Yakuwa bw’atuwa? Lowooza ku kyokulabirako kino. Omusawo omukugu asobola okubaako ne kyakolawo okuyamba omuntu afunye ebiwundu okuwona. Kyokka omuntu oyo okusobola okuwona alina okukolera ku bulagirizi bw’omusawo. Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, Yakuwa ayogera n’abo abalina obulumi ku mutima n’abawa amagezi amalungi. w24.10 6 ¶1-2

Byonna ne bisaanawo ku nsi.—Lub. 7:23.

Ebitabo byaffe bibaddenga byogera ku ekyo ekijja okutuuka ku bantu abatali batuukirivu Yakuwa be yasalira omusango. Bibaddenga biraga nti abantu abo tebajja kuzuukizibwa. Bayibuli eyogera ku bantu abawerako abatali batuukirivu Yakuwa be yasalira omusango, gamba ng’abantu abatamanyiddwa muwendo abaafiira mu mataba g’omu kiseera kya Nuuwa, oba abantu ab’omu mawanga omusanvu agaali mu Nsi Ensuubize Yakuwa be yalagira abantu be okuzikiriza, oba abasirikale ba Bwasuli 185,000 malayika wa Yakuwa be yazikiriza mu kiro kimu. (Ma. 7:​1-3; Is. 37:​36, 37) Bayibuli bw’eba eyogera ku bantu abo, egamba nti Yakuwa yasalawo nti buli omu ku bo yazikirira ddala era talizuukira? Nedda. Tetumanyi ngeri Yakuwa gye yalamulamu buli omu ku bantu abo, era tetumanyi obanga baafuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa basobole okwenenya. w24.05 3 ¶5-7

Wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.—Bar. 12:21.

Yesu yagera olugero olukwata ku nnamwandu eyeetayiriranga omulamuzi ng’ayagala okufuna obwenkanya. Bangi ku bayigirizwa ba Yesu baali bategeera engeri nnamwandu oyo gye yali awuliramu, kubanga mu kiseera ekyo abantu aba bulijjo baali bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (Luk. 18:​1-5) Naffe tutegeera engeri nnamwandu oyo gye yali awuliramu, kubanga ffenna twali tuyisiddwako mu ngeri etali ya bwenkanya. Olw’okuba mu nsi leero abantu bangi basosola abalala, si ba kisa, era banyigiriza abalala, tekitwewuunyisa nti naffe tusobola okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (Mub. 5:8) Tetusuubira bakkiriza bannaffe kutuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya, naye ekyo oluusi kiyinza okubaawo. Kya lwatu nti obutafaananako abo abatuyigganya oba abatuziyiza, bakkiriza bannaffe tebakigenderera kutuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya. Oluusi batuyisa bwe batyo olw’okuba tebatuukiridde. Waliwo bingi bye tuyinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yeeyisaamu ng’abantu ababi bamuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya. Bwe kiba nti tusobola okugumiikiriza abantu abatuziyiza, tetwandisinzeewo nnyo okugumiikiriza basinza bannaffe! w24.11 2 ¶1-2

Tunaagula wa emigaati abantu bano gye banaalya?—Yok. 6:5.

Emigaati gyali gitwalibwa nga mmere nkulu nnyo mu biseera eby’edda. (Lub. 18:6; Luk. 9:3) Oluusi Bayibuli ekozesa ekigambo “emigaati” okutegeeza emmere. (1 Bassek. 17:​11, 12) Ate era ku byamagero Yesu bye yakola, bibiri ku byo yaliisa abantu emigaati. (Mat. 16:​9, 10) Ekimu ku byamagero ebyo tukisomako mu Yokaana essuula 6. Oluvannyuma lw’abatume ba Yesu okukomawo nga bava okubuulira, baali beetaaga okuwummula era bwe kityo baalinnya eryato n’abatwala emitala w’ennyanja y’e Ggaliraaya. (Mak. 6:​7, 30-32; Luk. 9:10) Baatuuka mu kifo ekyali kyesudde, mu kitundu ky’e Besusayida. Kyokka waayita ekiseera kitono, abantu nkumi na nkumi ne bajja ne bakuŋŋaanira we baali. Yesu teyagoba bantu abo. Mu kifo ky’ekyo, yabayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era n’awonya abalwadde. Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa baatandika okwebuuza wa abantu abo gye bandiggye eky’okulya. Oboolyawo abamu ku bantu abo baalinawo eby’okulya ebitonotono, naye abasinga obungi kyali kibeetaagisa okugenda mu byalo ebyali biriraanyeewo okugula eky’okulya.—Mat. 14:15. w24.12 2 ¶1-2

Ekirabo Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Kristo Yesu Mukama waffe.—Bar. 6:23.

Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baali batuukiridde era nga babeera mu kifo ekirabika obulungi ennyo. (Lub. 1:27; 2:​7-9) Baalina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna nga bali mu bulamu obweyagaza. Naye buli kintu kyakyuka. Baafiirwa olusuku Edeni mwe baali babeera, era baafiirwa n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. Kya busika ki kye bandirekedde abaana baabwe? Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu [Adamu] ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Bar. 5:12) Eky’obusika Adamu kye yatulekera kye kibi, era ng’ekibi ekyo kireeta okufa. Ekibi ekyo kye twasikira kiringa ebbanja eddene ennyo, era tewali n’omu ku ffe asobola kulisasula. (Zab. 49:8) Yesu yageraageranya ebibi ku ‘mabanja.’ (Mat. 6:12; Luk. 11:4) Bwe twonoona tuba ng’abafunye ebbanja lye tulina okusasula Yakuwa. Singa Yakuwa teyakola nteekateeka yonna ya kusasulira bbanja eryo, twandibadde tulina kufa okusobola okulisasulira era nga tetulina ssuubi lyonna lya kuddamu kuba balamu.—Bar. 6:7. w25.02 2-3 ¶2-3

Mbamanyisizza erinnya lyo.—Yok. 17:26.

Tugitwala nga nkizo ya maanyi okubuulira abalala amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda! Enkizo eyo si ya buli omu. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali ku nsi teyakkiriza myoyo mibi kumuwaako bujulirwa. (Luk. 4:41) Leero omuntu bw’aba tannatandika kubuulira wamu n’abantu ba Yakuwa, alina okutuukiriza ebisaanyizo by’okubuulira. Tukiraga nti tusiima enkizo ey’okubuulira nga tufuba okubuulira abantu wonna we tubasanga na buli lwe tuba tufunye akakisa. Okufaananako Yesu, ekigendererwa kyaffe kya kusiga nsigo ez’amazima mu mitima gy’abantu n’okuzifukirira. (Mat. 13:​3, 23; 1 Kol. 3:6) Ekibiina kya Yakuwa kikoppa ekyokulabirako Yesu kye yassaawo nga kifuba okuyamba abalala okumanya erinnya lya Katonda. Engeri emu ekibiina kya Yakuwa gye kikozeemu ekyo kwe kufulumya enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Mu nkyusa eyo erinnya lwa Katonda lyazzibwa mu bifo byonna we lirina okubeera. Enkyusa ya Bayibuli eyo kati eri mu nnimi 270 mu bulambalamba oba mu bitundutundu. w24.04 9 ¶8-9

Omwami we asituka n’amutendereza.—Nge. 31:28.

Ab’oluganda abamu abali mu bufumbo obulimu essanyu balina ebintu bye bakola buli lunaku okulaga bakyala baabwe okwagala. (1 Yok. 3:18) Omusajja asobola okulaga mukyala we nti amwagala ng’abaako obuntu obutono bw’akola, gamba ng’okumukwata ku mukono oba okumuwambaatira. Ayinza okumusindikira mesegi n’amugamba nti “Nkwagala nnyo” oba n’amubuuza bw’ali. Buli luvannyuma lwa kiseera, ayinza okukyoleka nti amwagala ng’amuwandiikirayo ka kaadi akaliko ebigambo ebiraga nti amwagala nnyo. Omwami bw’akola ebintu ebyo aba akyoleka nti ayagala nnyo mukyala we, amussaamu ekitiibwa, era ekyo kinyweza obufumbo bwabwe. Omwami ayagala mukyala we era amussaamu ekitiibwa, aba amuzimba era aba amuzzaamu amaanyi. Engeri emu gy’akolamu ekyo kwe kujjukiranga okumwebaza olw’ebyo byonna by’akola okumuwagira. (Bak. 3:15) Omwami bw’akyoleka mu bwesimbu nti asiima mukyala we, ekyo kizzaamu nnyo omukyala amaanyi. Omukyala awulira nti alina obukuumi, ayagalibwa, era nti assibwamu ekitiibwa. w25.01 11 ¶15; 13 ¶16

Nze Yakuwa, nze Katonda wo, . . . akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.—Is. 48:17.

Zabbuli 15 ekomekkereza n’ebigambo bino: “Oyo akola ebyo taasagaasaganenga.” Olunyiriri olwo lulaga ensonga lwaki Yakuwa ayagala tukole ebintu ebyogerwako mu zabbuli eyo. Yakuwa ayagala tubeere basanyufu. N’olwekyo, atuwa obulagirizi obunaatusobozesa okufuna emikisa gye n’obukuumi. Abo Yakuwa b’akyaza mu weema ye bajja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Abaafukibwako amafuta abasigala nga beesigwa bajja kuweebwa “ebifo bingi” Yesu bye yabateekerateekera mu ggulu. (Yok. 14:2) Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna beesunga okulaba okutuukirizibwa kw’ebyo ebiri mu Okubikkulirwa 21:3. Mazima ddala, nkizo ya kitalo nnyo okuba nti Yakuwa yatuyita okuba mikwano gye n’okuba abagenyi mu weema ye emirembe gyonna!—Zab. 15:​1-5. w24.06 13 ¶19-20

Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.—Zab. 96:8.

Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda wa kitiibwa nnyo. Yakuwa yayoleka ekitiibwa kye ekingi mu ngeri ewuniikiriza nga waakayita ekiseera kitono ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri. Kuba akafaananyi ku ekyo ekyaliwo. Abayisirayiri mitwalo na mitwalo bakuŋŋaanidde wansi w’Olusozi Sinaayi okuwuliriza Katonda ky’agenda okubagamba. Ekire ekikutte kibuutikira olusozi. Mangu ddala olusozi olwo lutandika okunyooka omukka, ettaka likankana, wabaawo okumyansa n’okubwatuka okw’amaanyi, era eddoboozi ly’eŋŋombe evugira waggulu ennyo liwulirwa. (Kuv. 19:​16-18; 24:17; Zab. 68:8) Abayisirayiri bateekwa okuba nga baawuniikirira nnyo bwe baalaba engeri Yakuwa gye yayolekamu ekitiibwa kye. Leero tuwa Yakuwa ekitiibwa nga tubuulira abalala ebyo bye yakola era nga tubayamba okutegeera engeri ze ennungi. Ate era tumuwa ekitiibwa nga ye gwe tutendereza bwe waabaawo ekintu kyonna ky’aba atuyambye okukola.—Is. 26:12. w25.01 2 ¶2-3

Yakuwa ye yantuma.—Kubal. 16:28.

Abayisirayiri bwe baali bagenda mu Nsi Ensuubize, abamu ku bantu ab’ebitiibwa mu bo baawakanya obuyinza bwa Musa era baagaana okukkiriza nti Katonda ye yali amulonze. Baagamba nti: “Ab’omu kibiina bonna [si Musa yekka] batukuvu era Yakuwa ali mu bo.” (Kubal. 16:​1-3) Wadde nga kituufu nti mu maaso ga Yakuwa ekibiina kyonna kyali kitukuvu, Yakuwa yali alonze Musa okukulemberamu abantu be. Abasajja abo okuwakanya Musa, baali bawakanya Yakuwa. Tebassa birowoozo byabwe ku ebyo Yakuwa bye yali ayagala, wabula baabissa ku ekyo bo kye baali baagala, kwe kugamba, obuyinza obusingawo n’ettutumu. Yakuwa yatta abo abaakulemberamu obujeemu obwo awamu n’abalala nkumi na nkumi abaabeegattako. (Kubal. 16:​30-35, 41, 49) Kya lwatu nti ne leero, Yakuwa tasanyukira abo abatagoberera bulagirizi butuweebwa okuyitira mu kibiina kye. w24.07 11 ¶11

Okwolesebwa . . . kwa mu kiseera kyakwo ekigereke.—Kaab. 2:3.

Mu kiseera kye tulimu, abantu abasinga obungi tebakkiriza nti enkomerero eneetera okujja, era batusekerera olw’okuba ffe tukkiriza nti eneetera okujja. (2 Peet. 3:​3, 4) Wadde nga waliwo ebintu bingi mu kiseera kino bye tutamanyi, tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okukikkiriza nti enkomerero eneetera okutuuka era nti Yakuwa ajja kutulabirira. Ate era tusaanidde okwesiga “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” omukutu leero Yakuwa gw’akozesa okutuwa obulagirizi. (Mat. 24:45) Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, tuyinza okuweebwa obulagirizi obunaawonyaawo obulamu bwaffe. Kino kye kiseera okweyongera okwesiga obulagirizi bwe tufuna okuva eri abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Tekijja kutubeerera kyangu kugoberera bulagirizi bwabwe bwe tuba nga tuzibuwalirwa okubugoberera mu kiseera kino. w24.09 11 ¶11-12

Mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi ekisiimibwa, era ekituukiridde.—Bar. 12:2.

Abazadde Abakristaayo bakimanyi nti okuba nti bakkiririza mu Katonda tekitegeeza nti n’abaana baabwe balina okuba nga bamukkiririzaamu. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omwana wo ayinza okutandika okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Mmanya ntya nti Katonda gy’ali? Ddala ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu?’ Bayibuli etukubiriza okukozesa ‘obusobozi bwaffe obw’okulowooza’ era ‘n’okwekenneenya ebintu byonna.’ (Bar. 12:1; 1 Bas. 5:21) Naye oyinza otya okuyamba omwana wo okunyweza okukkiriza kwe? Muyambe okwekakasiza nti ebyo by’akkiririzaamu ge mazima. Bw’akubuuza ebibuuzo, kozesa akakisa ako okumulaga engeri gy’ayinza okufuna eby’okuddamu ng’akozesa ebintu bye tukozesa okunoonyereza, gamba nga “Watch Tower Publications Indexn’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe “Bayibuli,” ayinza okwekenneenya ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono, “Yaluŋŋamizibwa Katonda,” okulaba obukakafu obulaga nti Bayibuli si kitabo butabo ekirungi ekyawandiikibwa abantu, wabula nti ‘kigambo kya Katonda.’—1 Bas. 2:13. w24.12 14-15 ¶4-5

Ebintu [bino] bitegeeze abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala.—2 Tim. 2:2.

Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu? Basaanidde okutendeka n’okuyamba ab’oluganda, omuli n’abo abakyali abato, okusobola okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo. Tebasaanidde kusuubira nti abo be batendeka batuukiridde. Basaanidde okuwabula ab’oluganda abo mu ngeri ey’okwagala basobole okufuna obumanyirivu n’okukitegeera nti kikulu nnyo okuba abeetoowaze, okuba abeesigwa, n’okuba abeetegefu okuweereza abalala. (1 Tim. 3:1; 1 Peet. 5:5) Yesu yawa abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obw’okubuulira n’okuyigiriza. Abayigirizwa be bayinza okuba nga baawulira nti tebasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo. Naye Yesu yali mukakafu nti baali basobola okubutuukiriza. Yabagamba nti: “Nga Kitange bwe yantuma nange mbatuma.”—Yok. 20:21. w24.10 16 ¶15; 17 ¶17

Dawudi . . . , asanyusa omutima gwange.—Bik. 13:22.

Dawudi yali kabaka wa maanyi. Ate era yali muyimbi, muyiiya wa bitontome, mulwanyi muzira, era yali nnabbi. Yayolekagana n’ebizibu bingi. Okumala emyaka, yalina okudduka okutaasa obulamu bwe olwa Kabaka Sawulo eyali ayagala okumutta. Oluvannyuma lw’okufuuka kabaka, Dawudi era yalina okudduka okutaasa obulamu bwe mutabani we Abusaalomu bwe yagezaako okwezza obwakabaka bwe. Wadde nga Dawudi yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu era nga yalina obunafu obw’enjawulo, yasigala mwesigwa eri Yakuwa okutuusiza ddala okufa. Yakuwa yamwogerako ng’omusajja eyali “asanyusa omutima” gwe. N’olwekyo, tusaanidde okuwuliriza amagezi Dawudi ge yawa! (1 Bassek. 15:5) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku magezi Dawudi ge yawa mutabani we Sulemaani eyali agenda okumuddira mu bigere. Yakuwa yali alonze Sulemaani okuzimba yeekaalu abantu mwe bandibadde basinziza Yakuwa. (1 Byom. 22:5) Sulemaani yandibadde ayolekagana n’ebizibu. Kiki Dawudi kye yamugamba? Dawudi yagamba mutabani we nti bwe yandigondedde Yakuwa, yandituuse ku buwanguzi mu bulamu.—1 Bassek. 2:​2, 3w24.11 10 ¶9-11

Amakubo go gakwasenga Yakuwa; mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.—Zab. 37:5.

Omwami ayisa obubi mukyala we mu bigambo ne mu bikolwa, alina okubaako ky’akolawo okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa era ne mukyala we. Okusookera ddala, alina okukikkiriza nti alina ekizibu eky’amaanyi. Yakuwa alaba buli ky’akola na buli ky’ayogera. (Zab. 44:21; Mub. 12:14; Beb. 4:13) Eky’okubiri, alina okulekera awo okuyisa obubi mukyala we era alina okukyusa enneeyisa ye. (Nge. 28:13) Eky’okusatu, alina okwetondera mukyala we ne Yakuwa, era asaanidde okusaba Yakuwa ne mukyala we bamusonyiwe. (Bik. 3:19) Ate era asaanidde okusaba Yakuwa amwagazise okukola enkyukakyuka era amuyambe okufuga ebirowoozo bye, enjogera ye, n’ebikolwa bye. (Zab. 51:​10-12; 2 Kol. 10:5; Baf. 2:13) Eky’okuna, asaanidde okukolera ku ssaala ye ng’akyawa ebikolwa eby’obukambwe ebya buli ngeri era n’ebigambo ebirumya. (Zab. 97:10) Eky’okutaano, mangu ddala asaanidde okusaba abakadde mu kibiina bamuyambe. (Yak. 5:​14-16) Eky’omukaaga, asaanidde okukola enteekateeka gy’anaagoberera okusobola okumuyamba okwewala okuddamu okweyisa mu ngeri eyo. w25.01 11 ¶14

Lwaki olwa? Yimuka obatizibwe.—Bik. 22:16.

Owulira ng’oyagala nnyo Yakuwa Katonda eyakuwa buli kintu ekirungi ky’olina, omuli n’obulamu? Oyagala okukiraga nti omwagala? Engeri esingayo obulungi gy’oyinza okukikolamu kwe kwewaayo gy’ali era ekyo n’okyoleka mu lujjudde ng’obatizibwa. Bw’okola bw’otyo, ojja kufuuka omu ku b’omu maka ga Yakuwa. N’ekinaavaamu, Kitaawo oyo ow’omu ggulu akwagala ennyo ajja kukuwanga obulagirizi era ajja kukulabiriranga olw’okuba ojja kuba ofuuse wuwe. (Zab. 73:24; Is. 43:​1, 2) Ate era bwe weewaayo n’obatizibwa, oba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Peet. 3:21) Waliwo ekikulemesa okubatizibwa? Bwe kiba kityo, toli wekka. Waliwo abantu bukadde na bukadde abaalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu nneeyisa yaabwe ne mu ndowooza yaabwe ne basobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Kati baweereza Yakuwa n’obunyiikivu era basanyufu nnyo. w25.03 2 ¶1-2

Ggwe osonyiyira ddala.—Zab. 130:4.

Mu Bayibuli, emirundi mingi ebibi bigeraageranyizibwa ku migugu emizito. Kabaka Dawudi yayogera bw’ati ku bibi bye yakola: “Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange; ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.” (Zab. 38:4) Naye Yakuwa asonyiwa ebibi by’aboonoonyi abeenenya. (Zab. 25:18; 32:5) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okusonyiwa” mu nnyiriri ezo kitegeeza “okusitula.” Yakuwa tuyinza okumutwala ng’omusajja ow’amaanyi mu ngeri ey’akabonero asitula omugugu gw’ebibi byaffe n’abitwala. Ekyokulabirako ekirala Bayibuli ky’ekozesa kiraga nti Yakuwa asitula ebibi byaffe n’abitwala wala nnyo okuva we tuli. Zabbuli 103:12 wagamba nti: “Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba, bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.” Ebuvanjuba we wasingayo okuba ewala ennyo okuva ebugwanjuba. Ekyo kitegeeza nti Yakuwa ebibi byaffe abitwala wala nnyo okuva we tuli. N’olwekyo, Yakuwa bw’asonyiwa asonyiyira ddala! w25.02 9 ¶5-6

Bw’obangako by’owa abaavu, teweefuuyira kkondeere.—Mat. 6:2.

Oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, omutume Peetero yakola ekyamagero bwe yawonya omusajja eyali yazaalibwa nga mulema. (Bik. 1:​8, 9; 3:​2, 6-8) Kya lwatu nti ekyo kyaviirako abantu bangi okukuŋŋaana. (Bik. 3:11) Naye Peetero teyayagala bantu abo kumutendereza, wadde nga mu buwangwa mwe yakulira abantu baali bakitwala nti kikulu nnyo okutenderezebwa. Mu kifo ky’ekyo, yayoleka obwetoowaze, ekitiibwa n’ettendo n’abiwa Yakuwa ne Yesu. Yagamba abantu abo nti: “[Okuyitira mu linnya lya Yesu], oba okukkiriza kwe tulina mu linnya lye, kwe kusobozesezza omusajja ono gwe mulaba era gwe mumanyi okufuna amaanyi.” (Bik. 3:​12-16) Naffe tusobola okukoppa Peetero nga tuyiga okuba abeetoowaze. Tukolera abalala ebintu ebirungi olw’okuba twagala Yakuwa n’abantu, so si lwa kuba nti twagala kutenderezebwa. Bwe tukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa ne bakkiriza bannaffe, ka kibe nti abalala balaba bye tukola oba nedda, kiba kiraga nti tuli beetoowaze.—Mat. 6:​1-4. w25.03 10-11 ¶11-12

Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.—1 Tim. 4:16.

Tusobola okweyongera okunyumirwa omulimu gw’okubuulira bwe tweyongera okwagala Yakuwa n’abantu. (Mat. 22:​37-39) Lowooza ku ssanyu Yakuwa ly’awulira bw’atulaba nga tukola omulimu gw’okubuulira era ne ku ssanyu abantu lye bafuna nga batandise okuyiga Bayibuli! Ate era kijjukire nti abo abawuliriza obubaka bwaffe bajja kulokolebwa. (Yok. 6:40) Embeera tekusobozesa kuva waka? Bwe kiba kityo, lowooza ku ekyo ky’osobola okukola okulaga nti oyagala Yakuwa n’abantu. Mu kiseera kya COVID-19, Samuel ne Dania baayolekagana n’embeera eyali tebasobozesa kuva waka. Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, baabuuliranga nga bakozesa essimu n’amabaluwa, era baayigirizanga abantu nga bakozesa enkola ya Zoom. Embeera Samuel ne Dania gye baalimu yali tebasobozesa kuweereza mu bujjuvu nga bwe baakolanga edda, naye baakola kyonna kye basobola era baafuna essanyu. w24.04 18 ¶15-16

Ani ayinza okuzuula omukyala omulungi? Wa muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja.—Nge. 31:10.

Wadde ng’okuwasa oba okufumbirwa si kye kisinziirwako okuba abasanyufu, Abakristaayo bangi abali obwa nnamunigina, ka babe bato oba bakulu bandyagadde okufuna ow’okufumbiriganwa naye. Kya lwatu, okusobola okutandika okwogereza omuntu olina okuba n’enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa, ng’oli mukulu mu birowoozo, era ng’osobola okuyimirizaawo amaka mu by’ensimbi. (1 Kol. 7:36) Ate era kiba kirungi okumanya ebyo bye wandyagadde mu muntu ow’okuwasa nga tonnatandika kwogereza. Bw’otokola bw’otyo, oyinza okubuusa amaaso omuntu omutuufu ow’okuwasa oba oyinza okwogerezeganya n’omuntu atali mutuufu. Kya lwatu omuntu yenna gw’olowoozaako, asaanidde okuba Omukristaayo omubatize. (1 Kol. 7:39) Naye tekiri nti buli Mukristaayo omubatize aba muntu mutuufu ow’okuwasa. N’olwekyo osaanidde okwebuuza nti: ‘Biruubirirwa ki bye nnina mu bulamu? Ngeri ki ze njagala mu muntu ow’okuwasa? Bye nsuubira bisoboka?’ w24.05 20 ¶1; 21 ¶3

Mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne.—Bef. 4:32.

Musaanidde kukwata mutya obutakkaanya bwe muyinza okufuna nga mwogerezeganya? Singa mutera okufuna obutakkaanya, kiba kiraga nti temusobola kukwatagana? Kiyinza obutaba kityo. Abaagalana bonna basobola okufuna obutakkaanya. Obufumbo obulungi bubaamu abantu babiri abakolera awamu okugonjoola obutakkaanya. N’olwekyo, engeri gye mugonjoolamu obutakkaanya esobola okulaga obanga obufumbo bwammwe bunaaba bulungi. Mwebuuze: ‘Bwe tufuna obutakkaanya, tubwogerako mu bukkakkamu era tuwaŋŋana ekitiibwa? Tukkiriza ensobi zaffe era ne tufuba okulongoosaamu? Tuba beetegefu okukyusaamu we kisaana, twetonda, era tuba beetegefu okusonyiwa?’ (Bef. 4:31) Kijjukire nti bwe muba nga buli kiseera mufuna obutakkaanya obanga muyombayomba, embeera tejja kukyuka nga mumaze okufumbiriganwa. Bw’okiraba nti oyo gw’oyogerezeganya naye si ye muntu omutuufu, kiba kirungi ne mulekera awo okwogerezeganya. w24.05 29 ¶12

Yakuwa Olwazi lwange, atenderezebwe, Oyo ayigiriza emikono gyange.—Zab. 144:1.

Bakkiriza bannaffe baganyulwa nnyo bwe tuba nga tunywerera ku kituufu era nga bye tusalawo tubyesigamya ku misingi gya Bayibuli. Bwe twesomesa Ekigambo kya Katonda ne tunyweza okukkiriza kwaffe, tuba beesigwa eri Yakuwa era tunywerera ku mitindo gye. Tetuba bantu abatasalawo oba abatwalirizibwa amangu enjigiriza ez’obulimba n’endowooza y’ensi. (Bef. 4:14; Yak. 1:​6-8) Ate era tuba tusobola okuyamba abo aboolekagana n’ebizibu. (1 Bas. 3:​2, 3) Abakadde basaanidde okuba n’empisa ezisaana, n’endowooza ennuŋŋamu, ng’obulamu bwabwe babutambuliza ku nteekateeka ennungi, nga si bakakanyavu, nga bakkakkamu, era nga banyweza okukkiriza kw’abalala nga ‘banywerera ku kigambo ekyesigwa.’ (Tit. 1:9; 1 Tim. 3:​1-3) Abakadde bwe bassaawo ekyokulabirako ekirungi era ne bakyalirangako bakkiriza bannaabwe okubazzaamu amaanyi, bayamba bakkiriza bannaabwe okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okubuuliranga obutayosa, n’okwesomesa. Ab’oluganda ne bannyinaffe bwe baba nga boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, abakadde babayamba okussa ebirowoozo byabwe ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye. w24.06 31 ¶16-18

Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.—Mat. 4:17.

Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza nti Kitaawe mwetegefu okutusonyiwa nga tukoze ensobi. Lowooza ku lugero olukwata ku mwana omujaajaamya. Omuvubuka oyo yasalawo okuva awaka ne yeenyigira mu bintu ebibi ennyo. Naye “bwe yeerowooza,” yasalawo okudda awaka. Kiki kitaawe kye yakola? Yesu yagamba nti omuvubuka oyo “bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera . . . , n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.” Omwana oyo yali ayagala kusaba kitaawe amufuule ng’omu ku bapakasi be. Kitaawe yali mwetegefu okumusonyiwa. Yamuyita “omwana wange” era n’amwaniriza awaka. Kitaawe yagamba nti “yali azaaye naye azaawuse.” (Luk. 15:​11-32) Yesu bwe yali akyabeera mu ggulu nga tannajja ku nsi, yalabanga Kitaawe ng’alaga obusaasizi aboonoonyi bangi abeenenya. Olugero lwa Yesu olwo lutuzzaamu amaanyi era lutulaga nti Yakuwa Kitaffe musaasizi. w24.08 11 ¶11-12

Mubeere n’endowooza ennuŋŋamu.—1 Peet. 4:7.

Omukristaayo alina endowooza ennuŋŋamu afuba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga bw’aba alina ky’ayagala okusalawo. Aba akimanyi nti enkolagana ye ne Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwe. Aba teyeetwala nti wa kitalo, era aba akimanyi nti waliwo ebintu by’atamanyi. Ate era omuntu alina endowooza ennuŋŋamu akiraga nti yeesiga Yakuwa ng’amusaba obutayosa. Tukimanyi nti ka tube nga tulina busobozi ki, tulina okusabanga Yakuwa okutuyamba. N’olwekyo, tusaanidde okusaba Yakuwa obulagirizi naddala nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo, nga tuli bakakafu nti amanyi ekijja okutuganyula. Tusiima nnyo Yakuwa okuba nga yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ze. (Lub. 1:26) Kya lwatu tetusobola kukoppa Yakuwa mu ngeri etuukiridde.—Is. 55:9. w25.03 11 ¶13; 13 ¶17-18

[Okwagala] kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.—1 Kol. 13:7.

Weewale okulowooza nti abalala tebasiima. Abalala bwe batakyoleka nti basiimye kye tubakoledde, tusaanidde okwebuuza: ‘Ddala tebasiimye oba beerabidde bwerabizi okwebaza?’ Oboolyawo waliwo ensonga endala ebaleetedde obutooleka kusiima. Abamu bayinza okuba nga basiimye nnyo kye tubakoledde naye nga bazibuwalirwa okwoleka okusiima okwo. Bayinza okuba nga baswala okuweebwa obuyambi naddala bwe baba nga mu biseera eby’emabega be baayambanga abalala. Naye bwe tuba nga ddala twagala bakkiriza bannaffe, tetujja kubalowooleza kintu kibi era tujja kweyongera okugaba n’essanyu. (Bef. 4:2) Ba mugumiikiriza. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Suula omugaati gwo ku mazzi, kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.” (Mub. 11:1) Ng’ebigambo ebyo bwe biraga, abamu bayinza okulaga nti baasiima kye twabakolera “nga wayiseewo ennaku nnyingi.” w24.09 30 ¶18-19

Abantu abakola ebibi banenyenga mu maaso g’abantu bonna, abalala babayigireko.—1 Tim. 5:20.

Oluusi ekirango kiyisibwa mu kibiina nti omuntu akangavvuddwa. Mu mbeera ng’eyo tusobola okweyongera okukolagana naye nga tukimanyi nti yeenenya n’alekayo ebikolwa bye ebibi. Aba akyali wa mu kibiina, era aba yeetaaga bakkiriza banne okubeeranga awamu naye bamuzzeemu amaanyi. (Beb. 10:​24, 25) Naye si bwe kityo bwe kiri eri omuntu aba aggiddwa mu kibiina. Tulina okulekera awo ‘okukolagana’ n’omuntu oyo era ‘n’okulya tetulya naye.’ (1 Kol. 5:11) Ekyo kitegeeza nti tulina okumwewalira ddala? Kiyinza obutaba kityo. Kya lwatu, tetulina kukolagana naye. Naye Abakristaayo basobola okukozesa omuntu waabwe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli okusalawo obanga banaamuyita okujja mu nkuŋŋaana. Oboolyawo omuntu oyo ayinza okuba omu ku b’eŋŋanda zaabwe oba nga yali mukwano gwabwe ow’oku lusegere. w24.08 30 ¶13-14