Maayi
Lwakutaano, Maayi 1
Katonda tasosola.—Bar. 2:11.
Oluvannyuma lwa Yakuwa okuggya abantu be mu buddu e Misiri, yalonda bakabona okuweerezanga ku weema entukuvu. Abaleevi baalondebwa okukolanga emirimu emirala egyabanga ku weema entukuvu. Abo abaaweerezanga ku weema entukuvu oba abo abaasiisiranga okumpi nayo, Yakuwa yabalabiriranga bulungi okusinga Abayisirayiri abalala bonna? Nedda! Yakuwa tasosola. Buli Muyisirayiri yali asobola okuba n’omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakakasa nti Abayisirayiri bonna baali basobola okulaba empagi y’ekire n’empagi ey’omuliro ebyabeeranga waggulu wa weema entukuvu. (Kuv. 40:38) Ekire bwe kyatandikanga okutambula, n’Abayisirayiri abaali basembayo okuba ewala ne weema entukuvu, baali basobola okukiraba ne batandika okusiba ebintu byabwe, okupangulula weema zaabwe, era ne bagendera wamu n’Abayisirayiri abalala bonna. (Kubal. 9:15-23) Mu ngeri y’emu leero, tusobola okuganyulwa mu kwagala Yakuwa kw’atulaga ne mu bukuumi bw’atuwa ka wabe wa we tubeera ku nsi. w24.06 4 ¶10-12
Musituke tudduke; kubanga tewajja kubaawo awona Abusaalomu!—2 Sam. 15:14.
Obulamu bwa Dawudi bwali mu kabi. Mutabani we Abusaalomu yali amaliridde okwezza obwakabaka bwe. (2 Sam. 15:12, 13) Dawudi yalina okuva mu Yerusaalemi amangu ddala! Abaweereza be bwe baali badduka, Dawudi yakiraba nti kyali kyetaagisa omuntu omu okusigala mu Yerusaalemi abeere ng’amutegeeza ku nteekateeka za Abusaalomu. Bwe kityo yagamba Zadooki ne bakabona abalala okuddayo e Yerusaalemi babe nga bamutegeeza ebigenda mu maaso. (2 Sam. 15:27-29) Ekyo baalina okukikola n’obwegendereza ennyo. Dawudi alina enteekateeka gye yakola era ng’enteekateeka eyo yali ezingiramu Zadooki ne Kusaayi, mukwano gwe eyali omwesigwa gy’ali. (2 Sam. 15:32-37) Ng’akolera ku nteekateeka eyo, Kusaayi yeefuula okuba mukwano gwa Abusaalomu n’amuwa amagezi ku ngeri y’okulumbamu Dawudi, era ekyo kyawa Dawudi akakisa okweteekerateekera olutalo. Oluvannyuma Kusaayi yategeeza Zadooki ne Abiyasaali ekyo kye yali agambye Abusaalomu. (2 Sam. 17:8-16) Abasajja abo ababiri baasobola okusindikira Dawudi obubaka obwo n’atatuukibwako kabi.—2 Sam. 17:21, 22. w24.07 4-5 ¶9-10
“Kaakano mujje tutereeze ensonga,” Yakuwa bw’agamba.—Is. 1:18.
Abamu ku baweereza ba Yakuwa bakyeraliikirira olw’ebibi bye baakola mu biseera eby’emabega nga tebannabatizibwa oba nga bamaze okubatizibwa. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yawaayo ekinunulo olw’okuba atwagala nnyo. Tewali kubuusabuusa nti ayagala tukkirize ekirabo ekyo. Atukakasa nti bwe ‘tutereeza ensonga’ wakati waffe naye, aba takyatuvunaana bibi bye tuba twakola. Mazima ddala tusiima nnyo okuba nti Kitaffe atwagala yeerabira ebibi bye tuba twakola! Kyokka era teyeerabira birungi bye tukola. (Zab. 103:9, 12; Beb. 6:10) Bw’oba nga weeraliikirira olw’ebibi bye wakola mu biseera eby’emabega, fuba okussa ebirowoozo byo ku bintu ebiriwo kati n’ebyo ebijja mu maaso, mu kifo ky’okubimalira ku bintu eby’emabega. Tosobola kukyusa ebyaliwo emabega. Naye osobola okutendereza Yakuwa n’okumusanyusa mu kiseera kino era n’okussa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi by’asuubiza. w24.10 8 ¶8-9
Mwambale omuntu omuggya.—Bak. 3:10.
Bw’oba osoma Bayibuli oluusi oyinza okuwulira ng’oweddemu amaanyi, kubanga oyinza okukiraba nti waliwo ebintu bingi nnyo bye weetaaga okulongoosaamu. Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti leero osomye ku kubuulirira okuli mu Bayibuli okukwata ku butasosola balala. (Yak. 2:1-8) Okiraba nti weetaaga okulongoosa mu ngeri gy’oyisaamu abalala era osalawo okukola enkyukakyuka. Olunaku oluddako osoma ku byawandiikibwa ebiraga obukulu bw’okufuga olulimi. (Yak. 3:1-12) Okiraba nti oluusi oyogera ebintu ebitali bya kisa oba ebimalamu abalala amaanyi. Bwe kityo osalawo nti ojja kwogera mu ngeri ey’ekisa era ezimba abalala. Ku lunaku oluddako ebyo by’osoma mu Bayibuli biraga nti kya kabi okuba mukwano gw’ensi. (Yak. 4:4-12) Okiraba nti weetaaga okweyongera okwegendereza eby’okwesanyusaamu by’olondawo. Olunaku olw’okuna we lutuukira, oyinza okuwulira nti by’olina okulongoosaamu biyitiridde obungi. Naye toggwaamu maanyi, kubanga ‘okwambala omuntu omuggya’ kintu kye tulina okukola awatali kulekera awo. w24.09 5-6 ¶11-12
Mutukuzenga Kristo nga Mukama wammwe mu mitima gyammwe, nga bulijjo muba beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe, kyokka nga mukikola n’obukkakkamu era nga mumussaamu ekitiibwa.—1 Peet. 3:15.
Yesu yali akimanyi nti engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ensonga y’esinga obukulu. Yeesiga Yakuwa nti yandikoze ku butali bwenkanya obwo mu kiseera ekituufu. Tusobola okukoppa Yesu nga twegendereza ebyo bye twogera nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ebintu ebimu ebitali bya bwenkanya abalala bye batukola biba bitono era tusobola okubibuusa amaaso. Oba tusobola okusirika ne twewala okwogera ekintu ekiyinza okwongera obwongezi okwonoona embeera. (Mub. 3:7; Yak. 1:19, 20) Ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okubaako kye twogera bwe tulaba nga waliwo ayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, oba bwe kiba nga kitwetaagisa okulwanirira ebyo bye tukkiririzaamu. (Bik. 6:1, 2) Bwe tuba twogera tulina okufuba ennyo okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tuwa abalala ekitiibwa. Ate era tusobola okukoppa Yesu ng’ensonga tuzirekera “Oyo asala omusango mu butuukirivu.”—1 Peet. 2:23. w24.11 5-6 ¶10-12
Bamalayika ba Katonda basanyuka nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenya.—Luk. 15:10.
Omwonoonyi bwe yeenenya kireeta essanyu lingi nnyo! (Luk. 15:7) Ani aba agwanidde okutenderezebwa? Bakadde? Weetegereze ebigambo bino omutume Pawulo bye yawandiika ebikwata ku boonoonyi: “Oboolyawo Katonda anaabasobozesa okwenenya.” (2 Tim. 2:25) N’olwekyo, Yakuwa so si muntu yenna, y’ayamba Omukristaayo okukyusa endowooza ye. Pawulo yalaga ebintu ebirungi ebivaamu oluvannyuma lw’omuntu okwenenya. Omuntu oyo yeeyongera okutegeera amazima, era yeekuba mu kifuba ne kimusobozesa ‘okuva mu mutego gw’Omulyolyomi.’ (2 Tim. 2:26) Omwonoonyi bwe yeenenya, abakadde bakola enteekateeka okweyongera okumukyalira asobole okufuna obuyambi bwe yeetaaga okwewala okugwa mu mitego gya Sitaani, era asobole okukola ekituufu.—Beb. 12:12, 13. w24.08 23 ¶14-15
Munnoonya, si lwa kuba mwalaba ebyamagero, wabula lwa kuba mwalya emigaati ne mukkuta.—Yok. 6:26.
Abantu Yesu be yaliisa baali beemalidde ku kukussa byetaago byabwe eby’omubiri n’ebyo bye baali beegomba. Mu ngeri ki? Enkeera bwe bajja mu kifo Yesu we yali abaweeredde emigaati, baakiraba nti ye n’abatume be tebaaliwo. Bwe kityo baalinya amaato agaali gava e Tiberiyo, ne basaabala okugenda e Kaperunawumu okumunoonya. (Yok. 6:22-24) Ekyo baakikola olw’okuba baali baagala okuyiga ebikwata ku Bwakabaka? Nedda. Okusingira ddala baali baagala Yesu ayongere okubawa emigaati. Ekyo tukimanya tutya? Weetegereze ekyo ekyaliwo abantu bwe baasanga Yesu okumpi n’e Kaperunawumu. Yesu yabagamba kaati nti baali bamunoonyezza olw’okuba baali baagala abawe eky’okulya. Wadde nga baali balidde emigaati ne bakkuta, Yesu yabagamba nti emigaati egyo gyali giggwaawo, era yabakubiriza balye “emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 6:26, 27) Yesu yabagamba nti Kitaawe yali asobola okubawa emmere eyo. w24.12 5 ¶8-9
Omutima gw’omuntu ow’amagezi guwa akamwa ke okutegeera, era gumusobozesa okwogera ebigambo ebisikiriza.—Nge. 16:23.
Ow’oluganda, okusobola okuyigiriza obulungi, by’oyogera ng’owa emboozi oba ng’oliko b’owabula birina okuba nga byesigamye ku Kigambo kya Katonda. Nyiikira okwesomesa Bayibuli n’ebitabo byaffe. (Nge. 15:28) Bw’oba weesomesa, weetegereze engeri gy’oyinza okukolera ku Byawandiikibwa mu ngeri entuufu. Ate bw’oba ng’oyigiriza, fuba nnyo okutuuka ku mitima gy’abakuwuliriza. Osobola okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu nga weebuuza ku bakadde abalina obumanyirivu era ng’okolera ku magezi ge bakuwa. (1 Tim. 5:17) Abakadde balina okuba nga basobola okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi, naye oluusi kibeetaagisa okuwabula abalala era n’okubanenya. Ka babe nga bazzaamu balala maanyi oba nga babanenya, balina okuba ab’ekisa. Bw’oba ng’oli wa kisa, ng’olaga abalala okwagala, era nga by’oyigiriza byesigamye ku Byawandiikibwa, ojja kuba oyigiriza bulungi kubanga ojja kuba okoppa Yesu, Omuyigiriza Omukulu.—Mat. 11:28-30; 2 Tim. 2:24. w24.11 24 ¶16
Mulangirire ekitiibwa kye mu mawanga.—Zab. 96:3.
Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu ebyo bye tumwogerako. Mu nnyiriri ezo, abantu ba Yakuwa bakubirizibwa ‘okumuyimbira,’ ‘okutendereza erinnya lye,’ ‘okulangirira amawulire amalungi ag’obulokozi bwe,’ ‘n’okulangirira ekitiibwa kye mu mawanga.’ (Zab. 96:1-3) Bwe tukola ebintu ebyo, tuba tuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. (Bik. 4:29) Era tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa nga tukozesa ebintu byaffe. Ekyo abaweereza ba Yakuwa ab’amazima babaddenga bakikola. (Nge. 3:9) Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri baawaayo ssente n’ebintu eby’omuwendo okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu n’okugirabirira. (2 Bassek. 12:4, 5; 1 Byom. 29:3-9) Abamu ku bayigirizwa ba Kristo baamuweerezanga n’abatume be “nga bakozesa ebintu byabwe.” (Luk. 8:1-3) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo baliko ebintu bye baawaayo okudduukirira bakkiriza bannaabwe. (Bik. 11:27-29) Leero naffe tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa okuyitira mu ebyo bye tuwaayo kyeyagalire okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. w25.01 4 ¶8; 5 ¶11
Waliwo ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n’amazzi?—Bik. 10:47.
Kiki ekyayamba Koluneeriyo okubatizibwa? Bayibuli egamba nti: “Ye n’ab’omu nnyumba ye bonna baali batya Katonda.” Ate era Koluneeriyo yasabanga Katonda obutayosa. (Bik. 10:2) Peetero bwe yabuulira Koluneeriyo amawulire amalungi, ye n’ab’omu nnyumba ye bakkiriza Kristo era ne babatizibwa awatali kulonzalonza. (Bik. 10:47, 48) Koluneeriyo yali mwetegefu okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa asobole okuweereza Yakuwa awamu n’ab’omu maka ge. (Yos. 24:15; Bik. 10:24, 33) Koluneeriyo naye teyakkiriza bitiibwa bye yalina kumulemesa kufuuka Mukristaayo. Naawe weetaaga okubaako enkyukakyuka ez’amaanyi z’okola osobole okubatizibwa? Bwe kiba kityo, Yakuwa ajja kukuyamba. Bw’onooba omumalirivu okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwo okusobola okumuweereza, ajja kukuwa emikisa. w25.03 5 ¶12-13
Weewalenga enfumo ez’obulimba era ezitalina mugaso.—1 Tim. 4:7.
Bw’owulira ebintu ebibi ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa oba ku b’oluganda abatwala obukulembeze, jjukira engeri abalabe ba Katonda gye baayisaamu Yesu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Leero abantu ba Yakuwa bayigganyizibwa era boogerwako ebintu ebibi nga Bayibuli bwe yalagula. (Mat. 5:11, 12) Tetujja kubuzaabuzibwa ebintu eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa bwe tumanya oyo ali emabega waabyo era ne tubaako kye tukolawo amangu ddala okubyewala. Kiki kye tusaanidde okukola? Weewale ebintu eby’obulimba ebyogerwa. Omutume Pawulo yawa obulagirizi obutegeerekeka obulungi ku ekyo kye tusaanidde okukola nga tuwulidde ebintu eby’obulimba. Yagamba Timoseewo ‘alagire abamu obutassaayo mwoyo ku ngero ez’obulimba n’okwewala enfumo ez’obulimba.’ (1 Tim. 1:3, 4) Twewala ebintu eby’obulimba ebyogerwa kubanga tumanyi ali emabega waabyo. Tunywerera ku ‘bigambo eby’omuganyulo’ eby’amazima.—2 Tim. 1:13. w24.04 11 ¶16; 13 ¶17
Bakozesa ebigambo ebiwaanawaana ne basendasenda emitima gy’abo abatalina bumanyirivu.—Bar. 16:18.
Sigala ng’oli bumu n’abo abeesigwa eri Yakuwa. Katonda ayagala tube bumu mu kusinza. Tujja kusigala nga tuli bumu singa tunywerera ku mazima. Abo bonna abawaba okuva mu mazima, baleetawo enjawukana mu kibiina. Eyo ye nsonga lwaki Katonda atugamba nti, “mubeewale.” Bwe tutabeewala naffe tusobola okuva ku mazima. (Bar. 16:17) Bwe tumanya amazima era ne tuganywererako, kituyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. (Bef. 4:15, 16) Kituyamba obutatwalirizibwa njigiriza za Sitaani ez’obulimba ne pokopoko gw’asaasaanya, era mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, Yakuwa ajja kutukuuma. N’olwekyo, weeyongere okunywerera ku mazima era “Katonda ow’emirembe anaabeeranga [naawe].”—Baf. 4:8, 9. w24.07 13 ¶16-17
Yawaayo ssaddaaka emu olw’ebibi emirembe n’emirembe.—Beb. 10:12.
Okusingira ddala Yesu yassa essira ku kuyamba abantu abaali bawulira nga bazitoowereddwa olw’ekibi, era yabakubiriza okufuuka abagoberezi be. Yali akimanyi nti ekibi kye kyali kiviirako abantu okubonaabona. Okusingira ddala yayamba abasajja n’abakazi abaali bamanyiddwa okuba aboonoonyi. Yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” Era yagattako nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Mat. 9:12, 13) Ekyo kyennyini Yesu kye yakola. Ng’ekyokulabirako, omukazi omwonoonyi bwe yajja gy’ali n’atonnyesa amaziga ku bigere bye era n’abisimuula ng’akozesa enviiri ze, yamusonyiwa ebibi bye. (Luk. 7:37-50) Yabuulira omukazi Omusamaliya amazima ag’omuwendo wadde nga yali akimanyi bulungi nti omukazi oyo yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Yok. 4:7, 17-19, 25, 26) Era Katonda yamuwa n’obuyinza okuggyawo ekintu ekisingayo obubi ekireetebwa ekibi, nga kwe kufa. Yamusobozesa okuzuukiza abantu ab’enjawulo, omwali abasajja, abakazi, n’abaana.—Mat. 11:5. w24.08 4 ¶9-10
Ajja kulamula ensi mu butuukirivu era ajja kulamula amawanga mu bwesigwa bwe.—Zab. 96:13.
Yakuwa anaagulumiza atya erinnya lye mu kiseera ekitali kya wala? Ajja kuligulumiza okuyitira mu misango gy’asala. Mu maaso awo agenda kuzikiriza Babulooni Ekinene olw’okuleeta ekivume ku linnya lye ettukuvu. (Kub. 17:5, 16; 19:1, 2) Abamu ku abo abanaalaba nga Babulooni ekinene kizikirizibwa, bayinza okutwegattako mu kusinza Yakuwa. Oluvannyuma ku Amagedoni, Yakuwa ajja kuzikiriza enteekateeka ya Sitaani yonna, asaanyeewo abo bonna abamuwakanya era abaleeta ekivume ku linnya lye, kyokka awonyeewo abo bonna abamwagala era abamugondera era abaagala ennyo okumuwa ekitiibwa. (Mak. 8:38; 2 Bas. 1:6-10) Oluvannyuma lw’okugesebwa okusembayo okunaabaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, Yakuwa ajja kuba amaze okutukuliza ddala erinnya lye. (Kub. 20:7-10) Mu kiseera ekyo, “ensi erijjula okumanya okukwata ku kitiibwa kya Yakuwa ng’amazzi bwe gajjula ennyanja.” (Kaab. 2:14) Mazima ddala essanyu lijja kuba lingi nnyo nga buli muntu awa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa ekirigwanidde! w25.01 7 ¶15-16
Mugumiikirize, nga mukitwala nti eyo ye ngeri emu ey’okukangavvulwamu.—Beb. 12:7.
Kiki ekyandiyambye Abakristaayo abo okugumira okuyigganyizibwa? Omutume Pawulo yabayamba okulaba emiganyulo egyandivudde mu kugumira ebigezo bye baali boolekagana nabyo. Yabannyonnyola nti Katonda ayinza okuleka abaweereza be okuyita mu kugezesebwa basobole okutendekebwa. Okutendekebwa okwo kusobola okuyamba omuntu okweyongera okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. Abakristaayo abo bwe bandirowoozezza ku ebyo ebyandivudde mu bigezo bye baali boolekagana nabyo, kyandibabeeredde kyangu okugumira ebigezo ebyo. (Beb. 12:11) Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya okuba abavumu n’obutaggwaamu maanyi nga boolekagana n’ebigezo. Yali asobola okubawa amagezi amalungi agakwata ku kugumira okuyigganyizibwa. Olw’okuba edda yali yayigganyanga Abakristaayo yali amanyi bulungi engeri embi gye baali bagenda okuyisibwamu. Ate era olw’okuba Pawulo yayigganyizibwa mu ngeri nnyingi oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo, yali amanyi kye kitegeeza okugumira okuyigganyizibwa.—2 Kol. 11:23-25. w24.09 12-13 ¶16-17
Mubeere bulindaala.—Mat. 25:13.
Buli lunaku oluyitawo, kitwetaagisa okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Lwaki? Kubanga ekiseera kiweddeyo. Lowooza ku ebyo Yesu bye yayogera ku mulimu gw’okubuulira mu nnaku ez’enkomerero ebiri mu Makko 13:10. Okusinziira ku ebyo Matayo bye yawandiika ebyogera ku nsonga eyo y’emu, Yesu yagamba nti amawulire amalungi gandibuuliddwa mu nsi yonna “enkomerero” n’eryoka ejja. (Mat. 24:14) Ekigambo “enkomerero” kitegeeza okuzikirizibwa kw’ensi ya Sitaani. Yakuwa yassaawo dda ‘olunaku n’ekiseera’ ebintu ebitali bimu bye tulindirira lwe bijja okubaawo. (Mat. 24:36; Bik. 1:7) Buli lunaku oluyitawo tweyongera okusemberera ekiseera ekyo. (Bar. 13:11) Ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tulina okweyongera okubuulira amawulire amalungi okutuusa enkomerero lw’enajja. Bwe tufumiitiriza ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira, kikulu okwebuuza ekibuuzo kino: Lwaki tubuulira amawulire amalungi? Okwagala kwe kutuleetera okubuulira. Ebyo bye tukola mu mulimu gw’okubuulira biraga okwagala kwe tulina eri amawulire amalungi, eri abantu, n’okusingira ddala eri Yakuwa n’erinnya lye. w24.05 14-15 ¶2-3
Katonda n’alaba nga byonna bye yali akoze birungi nnyo.—Lub. 1:31.
Omuzadde, yamba omwana wo okufumiitiriza ku butonde. Bw’oba ng’otambulako n’omwana wo mu bifo ebimu oba nga muli mu nnimiro mulima, muyambe okufumiitiriza ku bitonde ebyewuunyisa bye tulaba. Ebitonde ebyo bukakafu bwa maanyi obulaga nti waliyo omukugu eyabikola era nti wa magezi nnyo. Ng’ekyokulabirako, bannassaayansi bamaze emyaka mingi nga beekenneenya ebitonde ebirina dizayini efaananako eggongolo eryezinze oba ekibbo ekirukibwa. Waliwo ebitonde bingi ebirina dizayini ng’eyo, gamba ng’ebimu ku bibinja by’emmunyeenye, amasonko g’amakovu agamu, ebikoola by’ebimera ebimu, n’ebimuli ebimu. w24.12 16 ¶7
Ye bwe bulamu bwo.—Ma. 30:20.
Ebiseera Musa, Dawudi, ne Yokaana we baabeererawo byali bya njawulo ku byaffe. Naye bingi bye tufaanaganya nabo. Baaweereza Katonda ow’amazima nga naffe bwe tukola. Okufaananako abasajja abo, tusaba Yakuwa era gwe twesiga okutuyamba n’okutuwa obulagirizi. Era okufaananako abasajja abo, tuli bakakafu nti Yakuwa awa emikisa abo bonna abamugondera. N’olwekyo, ka tukolere ku bigambo ebyasembayo eby’abasajja abo abeesigwa nga tugondera Yakuwa. Bwe tukola tutyo tujja kutuuka ku buwanguzi mu buli kimu kye tukola. Tujja kuba balamu bulungi era ‘tujja kuwangaala mu nsi’ emirembe gyonna! Ate era tujja kufuna essanyu eriva mu kukimanya nti tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu atwagala era ajja okutuwa emikisa emingi.—Bef. 3:20. w24.11 13 ¶20-21
Katonda ataddewo abantu ab’enjawulo mu kibiina.—1 Kol. 12:28.
Mu kyasa ekyasooka, abamu ku b’oluganda baalondebwa okukola ng’abaweereza mu kibiina. (1 Tim. 3:8) Kirabika beebo omutume Pawulo be yayogerako nti baali ‘bayamba abantu.’ Kya lwatu, abaweereza mu kibiina baakolanga emirimu egyetaagisa, kisobozese abakadde okwemalira ku kuyigiriza n’okuzzaamu abalala amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba nga baayambangako mu kukoppolola Ebyawandiikibwa oba okugula ebintu ebyali bikozesebwa mu kubikoppolola. Lowooza ku bintu ebimu abaweereza bye bakola mu kibiina kyammwe. (1 Peet. 4:10) Bayinza okuba nga bakola ku by’embalirira y’ekibiina, ebitundu ekibiina bye kirina okubuuliramu, okulagiriza ebitabo n’okubiwa ababuulizi, okukola ku by’amaloboozi ne vidiyo, okwaniriza abagenyi, oba okuyambako mu kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Ebintu ebyo byonna byetaagisa ekibiina okusobola okutambula obulungi.—1 Kol. 14:40. w24.10 19 ¶4-5
Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.—Baf. 4:13.
Tusobola okugumira ekizibu kyonna, ka kibe kinene oba kitono, bwe tukijjukira nti Yakuwa mulamu era nti bulijjo w’ali okutuyamba. Ye Muyinza w’Ebintu Byonna era asobola okutuwa amaanyi ne tusobola okugumiikiriza. Ekyo kituyamba obutaterebuka nga twolekagana n’ebizibu. Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu nga twolekagana n’ebizibu ebitono, kituyamba okuba abakakafu nti ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Lowooza ku mbeera za mirundi ebiri ezaayamba Kabaka Dawudi okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa yandimuyambyenga. Dawudi bwe yali omuto ng’alunda endiga za kitaawe, lumu eddubu lyajja ne litwala endiga, ate olulala empologoma ye yajja n’etwala endiga. Ku mirundi egyo gyombi Dawudi yagoba ensolo ezo n’ataasa endiga ze zaali zitutte. Naye teyagamba nti ekyo yakikola mu maanyi ge. Yali akimanyi nti Yakuwa ye yamuyamba. (1 Sam. 17:34-37) Okufumiitiriza ku ebyo ebyaliwo kyayamba Dawudi okuba omukakafu nti Katonda omulamu yandimuyambye ne mu biseera eby’omu maaso. w24.06 21 ¶5-6
Omuntu yenna bw’addamu nga tannawuliriza nsonga, aba akoze kya busirusiru era kimuswaza.—Nge. 18:13.
Ka tugambe nti oyitiddwa ku kabaga akamu. Onoogenda? Bwe kiba nti oyo akateeseteese tomumanyi bulungi, oba nga tomanyi bulungi nteekateeka zikoleddwa, kiyinza okukwetaagisa okumubuuza ebibuuzo nga bino: “Akabaga ako kagenda kubeera wa era kanaabaawo biseera ki? Kanaabaako abantu benkana wa? Ani agenda okuba n’obuvunaanyizibwa okulaba nti buli kimu kitambula bulungi? Baani abanaabaayo? Biki ebinaakolebwayo? Wanaabaayo omwenge?” Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Oluvannyuma lw’okumanya ebizingirwamu, fumiitiriza ku mbeera. Ng’ekyokulabirako, watya singa okimanya nti ku kabaga ako kujja kubaako abantu abatassa kitiibwa mu misingi gya Bayibuli, oba nti wajja kubaayo omwenge naye nga tewali muntu alondeddwa kukakasa nti abantu tebanywa kisukkiridde? Okiraba nti akabaga ako kayinza obutatambula bulungi? (1 Peet. 4:3) Bw’omala okufumiitiriza ku ebyo byonna, oba osobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi. w25.01 15 ¶4-5
Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira.—Is. 1:18.
Yakuwa akozesa ebyokulabirako okutuyamba okutegeera engeri gy’asangulamu ebibi by’aboonoonyi abeenenya okuyitira mu kinunulo. Kiba kizibu nnyo okuggya mu lugoye ebbala erimyufu. Kyokka okuyitira mu kyokulabirako ekyo, Yakuwa atukakasa nti ebibi byaffe bisobola okutunaazibwako ne biba nga tebikyalabika. Ebibi era bigeraageranyizibwa ku ‘mabanja.’ (Mat. 6:12; Luk. 11:4) N’olwekyo, buli lwe twonoona mu maaso ga Yakuwa tuba ng’abongera ku bunene bw’ebbanja lye tulina. Ebbanja lye tulina okusasula ddene nnyo! Naye Yakuwa bw’atusonyiwa aba ng’asazizzaamu ebbanja lye twandibadde tulina okumusasula. Tatulagira kusasulira bibi bye yatusonyiwa. Ekyokulabirako ekyo ekiraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu nga kizzaamu nnyo amaanyi! w25.02 9-10 ¶9-10
Abaana si be bateekeddwa okuteekerateekera abazadde wabula abazadde be basaanidde okuteekerateekera abaana baabwe.—2 Kol. 12:14.
Abazadde bwe bagenda bakaddiwa, bayinza okwetaaga abaana baabwe okubalabirira mu by’ensimbi ne mu bintu ebirala, era abaana bangi ekyo bakikola n’essanyu. (1 Tim. 5:4) Naye abazadde abeesiga Yakuwa bakimanyi nti ekijja okusinga okubaleetera essanyu kwe kuyamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa, mu kifo ky’okubakuza n’ekiruubirirwa eky’okukola ssente ennyingi basobole okubalabirira mu biseera eby’omu maaso. (3 Yok. 4) Bw’oba oyamba abaana bo okuyiga engeri gye bayinza okweyimirizaawo gye bujja, balage nti weesiga Yakuwa. Okuviira ddala nga bakyali bato, balage nti kikulu nnyo okukola emirimu n’obunyiikivu. (Nge. 29:21; Bef. 4:28) Bwe bagenda bakula, bayambe okukimanya nti kikulu okussaayo omwoyo ku ebyo bye bayigirizibwa ku ssomero. Abazadde basaanidde okunoonyereza bazuule emisingi gya Bayibuli gye basobola okukozesa okuyamba abaana baabwe nga basalawo buyigirize ki bwe banaafuna. Abazadde bwe bakola bwe batyo, bayamba abaana baabwe okweyimirizaawo nga bwe baweereza Yakuwa mu bujjuvu. w25.03 30-31 ¶15-16
[Mwambale] omuntu omuggya.—Bef. 4:24.
Mu Isaaya essuula 65, Yakuwa yalaga embeera bwe yandibadde eri abo abandibadde babeera mu lusuku olw’eby’omwoyo. Obunnabbi obwo mu kusooka bwatuukirizibwa mu 537 E.E.T. Mu kiseera ekyo, Abayudaaya abaali beenenyezza baasumululwa okuva mu buwambe e Babulooni ne baddayo mu nsi yaabwe. Yakuwa yawa omukisa abantu be ne basobola okuddamu okuzimba ekibuga Yerusaalemi ekyali kyazikirizibwa, era n’okuzzaawo yeekaalu eyali entabiro y’okusinza okw’amazima mu Isirayiri. (Is. 51:11; Zek. 8:3) Okutuukirizibwa okw’okubiri okw’obunnabbi bwa Isaaya kwatandika mu 1919 E.E., abantu ba Yakuwa ab’omu kiseera kino bwe baasumululwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Oluvannyuma olusuku olw’eby’omwoyo lwatandika okubuna mpolampola mu nsi yonna. Ababuulizi b’Obwakabaka abanyiikivu baatandikawo ebibiina bingi era baayoleka engeri ez’Ekikristaayo. Abasajja n’abakazi edda abaali beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu, baayambala ‘omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.’ w24.04 20-21 ¶3-4.
Buli omu ajja kwetikka obuvunaanyizibwa bwe.—Bag. 6:5.
Mu nsi ezimu, abazadde oba abantu abalala abakulu be basuubirwa okulondera omu ku b’eŋŋanda zaabwe atali mufumbo omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Mu nsi endala, omuntu ali obwannamunigina ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye be bamufunira ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa oluvannyuma ne bakola enteekateeka abantu abo bombi basisinkane balabe obanga bayinza okutandika okwogerezeganya. Bw’osabibwa okubaako gw’okufunira ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa, lowooza ku ebyo bombi bye baagala. Bw’omala okuzuula omuntu, fuba okumanya embeera ze, engeri ze, n’okusingira ddala, bw’ayimiridde mu by’omwoyo. Enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa esingira wala ssente, obuyigirize, oba ebitiibwa. Kyokka kijjukire nti ow’oluganda oba mwannyinaffe ali obwannamunigina y’asaanidde okusalawo eky’enkomeredde obanga anaayingira obufumbo. w24.05 23 ¶11
Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna.—Nge. 17:17.
Tusobola okuyamba aboogerezeganya okuyitira mu bye twogera. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okwefuga. (Nge. 12:18) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuwulira nga twagala nnyo okubuulirako abalala ku baani abatandise okwogerezeganya, kyokka ng’aboogerezeganya be baagala okubeegambira. Tetusaanidde kugenda nga tubuulira buli muntu ebikwata ku abo aboogerezeganya oba okubavumirira. (Nge. 20:19; Bar. 14:10; 1 Bas. 4:11) Ate era tetusaanidde kwogera bigambo oba kubuuza bibuuzo ebiyinza okuleetera aboogerezeganya okuwulira nti bapikirizibwa okufumbiriganwa. Watya singa aboogerezeganya basalawo okulekera awo okwogerezeganya? Tulina okwewala okweyingiza mu nsonga oba okubaako gwe tunenya. (1 Peet. 4:15) Abo aboogerezeganya bwe balekera awo okwogerezeganya, kiba tekitegeeza nti basazeewo bubi. Emirundi mingi kiba kiraga nti okwogerezeganya okwo kutuukirizza ekigendererwa kyakwo. Kuba kubayambye okusalawo mu ngeri entuufu. Wadde kiri kityo, ekyo kye baasazeewo kisobola okubaleetera obulumi. N’olwekyo tusaanidde okubayamba. w24.05 31 ¶15-16
Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.—Nge. 24:10.
Omu ku b’omu maka gaffe oba mukwano gwaffe ow’oku lusegere bw’ava ku Yakuwa, kye kimu ku bintu ebisingayo okutuleetera obulumi. (Zab. 78:40) Gye tukoma okuba nga twagala omuntu oyo gye kikoma okutubeerera ekizibu okukkiriza embeera eyo. Bw’oba wali oyolekaganyeko n’embeera eyo, ekyokulabirako kya Zadooki kisobola okukuzzaamu amaanyi. Zadooki yasigala mwesigwa eri Yakuwa Abiyasaali mukwano gwe ow’oku lusegere bwe yasalawo obutaba mwesigwa. Kabaka Dawudi bwe yali anaatera okufa, mutabani we Adoniya yagezaako okwezza obwakabaka Yakuwa bwe yali asuubizza Sulemaani. (1 Byom. 22:9, 10) Abiyasaali yasalawo okuwagira Adoniya. (1 Bassek. 1:5-8) Mu kukola bw’atyo, teyali mwesigwa eri Dawudi, eri Zadooki, n’eri Yakuwa! Okumala emyaka mingi, Zadooki ne Abiyasaali baali baweererezza wamu nga bakabona.—2 Sam. 8:17; 15:29; 19:11-14. w24.07 6 ¶14-15
Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera.—Nge. 28:14.
Tuli bakakafu nti bwe tufuba okwewala ekibi, tuganyulwa nnyo. Ekibi kisobola okuleeta essanyu “ery’akaseera obuseera,” naye okukolera ku mitindo gya Yakuwa kye kireeta essanyu erya nnamaddala. (Beb. 11:25; Zab. 19:8) Ekyo kiri bwe kityo kubanga twatondebwa nga tulina okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. (Lub. 1:27) N’olwekyo bwe twekuuma, tuba n’omuntu ow’omunda omulungi era tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Tim. 6:12; 2 Tim. 1:3; Yud. 20, 21) Kyo kituufu nti “omubiri munafu.” (Mat. 26:41) Naye ekyo tekitegeeza nti tetusobola kwewala kukola bintu bibi. Yakuwa mwetegefu okutuwa amaanyi ge twetaaga. (2 Kol. 4:7) Kikulu okukijjukira nti Yakuwa atuwa amaanyi agasinga ku ga bulijjo. Naye okusookera ddala tulina okukozesa amaanyi gaffe, kwe kugamba, tulina okukola kyonna kye tusobola okwewala okukola ekibi. Yakuwa ajja kuddamu essaala zaffe atuwe amaanyi agasinga ku ga bulijjo we tuba tugeetaagira. (1 Kol. 10:13) Mazima ddala olw’okuba Yakuwa atuyamba, tusobola okwewala okukola ebintu ebibi. w24.07 19 ¶19-21
Abantu abakola ebibi banenyenga mu maaso g’abantu bonna.—1 Tim. 5:20.
Omutume Pawulo yagamba Timoseewo naye eyali aweereza ng’omukadde nti abo “abakola ebibi” abanenyeze mu maaso g’abantu bonna. Kiki kye yali ategeeza? Ebigambo “mu maaso g’abantu bonna” biyinza obutategeeza kibiina kyonna. Biyinza okutegeeza abo abayinza okuba nga balina kye bamanyi ku kibi ekyakolebwa. Bayinza okuba nga baalaba omwonoonyi oyo ng’akola ekibi ekyo, oba bayinza okuba abo omwonoonyi be yategeezaako ku kibi kye yakola. Abakadde baba balina okutegeeza abantu ng’abo mu ngeri ey’amagezi nti ensonga ekoleddwako, era nti omwonoonyi ayambiddwa. Mu mbeera ezimu abantu bangi mu kibiina bayinza okuba nga bamanyi ekibi ekyakoleddwa, oba nga bajja kukimanya. Mu mbeera ng’ezo ebigambo “mu maaso g’abantu bonna,” biyinza okutegeeza ekibiina kyonna. N’olwekyo, omukadde aba ajja kusoma ekirango eri kibiina nti ow’oluganda oba mwannyinaffe akangavvuddwa. Lwaki? Pawulo yagamba nti: “Abalala babayigireko” baleme okugwa mu kibi. w24.08 23-24 ¶16-17
Bino bye bigambo bya Katonda eby’amazima.—Kub. 19:9.
Tulina okukola omulimu gwa Yakuwa n’obunyiikivu okutuukira ddala ku nkomerero. Abaafukibwako amafuta balina okusigala nga bali bulindaala okusobola ‘okutwalibwa’ okufuna empeera yaabwe. (Mat. 24:40) Abaafukibwako amafuta abo beesunga nnyo ‘okukuŋŋaanyizibwa’ babeere ne Yesu mu ggulu. Oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni, be bajja okuba omugole wa Yesu ku mbaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga. (2 Bas. 2:1) Wadde ng’ekiseera eky’okusala omusango kinaatera okutuuka, tetusaanidde kutya. Bwe tusigala nga tuli beesigwa, Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ajja kutuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo tusobole okuyita mu bintu ebyo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.’ (2 Kol. 4:7; Luk. 21:36) Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, tujja kusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu singa tukolera ku kulabula okuli mu ngero za Yesu. Olw’okuba Yakuwa wa kisa nnyo gye tuli, amannya gaffe gajja kusangibwa nga gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.—Dan. 12:1; Kub. 3:5. w24.09 24-25 ¶19-20
Okusemberera Katonda kirungi gye ndi.—Zab. 73:28.
Naawe Ekigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okufuna emirembe. Mu ngeri ki? Fumiitiriza ku bintu ebirungi by’olina, omuli eby’obugagga eby’omu ggulu, era okijjukire nti abo abataweereza Yakuwa tebalina bintu ebyo. Abantu abasinga obungi abataweereza Yakuwa ekintu kye basinga okutwala ng’ekikulu kwe kuba n’omulimu omulungi, kubanga tebalina ssuubi lya mu biseera eby’omu maaso. Naye ggwe Yakuwa akusuubiza ebintu ebirungi ennyo mu biseera eby’omu maaso. (Zab. 145:16) Ate era, lowooza ku kino: Ddala tumanyi obulamu bwaffe bwe bwandibadde singa twasalawo mu ngeri endala? Naye ekituufu kiri nti bw’obaako by’osalawo ng’osinziira ku kwagala kw’olina eri Yakuwa n’eri abalala, ojja kuba n’ebintu ebinaakuyamba okuba n’essanyu erisingayo mu bulamu. w24.10 27 ¶12-13

