Jjulaayi
Lwakusatu, Jjulaayi 1
Sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa.—Zab. 37:25.
Abamu ku baweereza ba Yakuwa boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’okukaddiwa, balwadde, oba balina obulemu. Ekyo kiyinza okubaleetera okuwulira nti si ba mugaso eri Yakuwa. Bayinza okwebuuza nti, ‘Ddala nze nkyali wa mugaso eri Yakuwa?’ Omuwandiisi wa Zabbuli 71 yalina endowooza bw’etyo. Yasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Tonjabulira ng’amaanyi gampedde.” (Zab. 71:9, 18) Wadde kyali kityo, yali mukakafu nti bwe yandyeyongedde okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, Yakuwa yandibadde amuwa obulagirizi era yandimuyambyenga. Ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyo bwe yakitegeera, Yakuwa asanyukira abo abamuweereza n’omutima gwabwe gwonna wadde nga boolekagana n’embeera enzibu. (Zab. 37:23-25) Abakaddiye, mwetunuulire nga Yakuwa bw’abatunuulira. Asobola okubayamba okumuweereza n’obwesigwa wadde nga mwolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde. (Zab. 92:12-15) Mu kifo ky’okussa ebirowoozo byammwe ku bintu bye mutakyasobola kukola, mubisse ku ebyo bye musobola okukola. w24.10 28 ¶14-16
Ku bikwata ku by’okulya ebiweereddwayo eri ebifaananyi, tukimanyi nti ekifaananyi tekirina mugaso mu nsi.—1 Kol. 8:4.
Abakristaayo abato mu by’omwoyo emirundi mingi bazibuwalirwa okumanya eky’okukola bwe wabaawo embeera ebeetaagisa okusalawo nga bagoberera emisingi gya Bayibuli. Bwe watabaawo tteeka mu Bayibuli eryogera ku mbeera emu, abamu balowooza nti basobola okukola kyonna kye baagala. Abalala bayinza okwagala okutegeezebwa etteeka ku nsonga emu naye nga tewaliiwo tteeka lyetaagisa. Ng’ekyokulabirako, kirabika Abakristaayo mu Kkolinso baagamba omutume Pawulo ababuulire etteeka eryali likwata ku kulya oba obutalya mmere eyali eweereddwayo eri ebifaananyi. Mu kifo ky’okubabuulira eky’okukola, Pawulo yakiraga nti buli omu ku bo yalina “eddembe” okusalawo ky’ayagala ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Pawulo yayogera ku gimu ku misingi gya Bayibuli egyandibayambye okusalawo mu ngeri eyandibalese nga balina omuntu ow’omunda omulungi ate nga tebeesittazza balala. (1 Kol. 8:7-9) Mu ngeri eyo, Pawulo yabayamba okukula mu by’omwoyo babe nga basobola okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza mu kifo ky’okwesigama ku muntu omulala oba ku mateeka okusobola okumanya eky’okukola. w24.04 5 ¶14
Nze Yakuwa nkebera omutima . . . ndyoke nsasule buli muntu ng’amakubo ge bwe gali.—Yer. 17:10.
Mu kiseera kya Yona, abantu b’omu Nineeve baafuna akakisa okwenenya. Ate era lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera ku ‘kuzuukirira omusango.’ Okuzuukira okwo kujja kubaamu “abo abaakolanga ebintu ebibi.” (Yok. 5:29) N’olwekyo, kirabika waliwo essuubi nti n’abamu ku bantu b’omu Sodomu ne Ggomola bajja kuzuukira, era nti tujja kufuna akakisa okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa ne Yesu Kristo. Bulijjo Yakuwa ‘akebera omutima, akebera ebirowoozo eby’omunda ennyo.’ Ku bikwata ku kuzuukira okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, ajja kukola nga bw’azzenga akola, kwe kugamba, ajja kusasula “buli muntu ng’amakubo ge bwe gali.” Wadde nga Yakuwa anywerera ku kituufu, ajja kusaasira abo abagwanidde okusaasirwa. Tetusaanidde kukitwala nti omuntu tajja kuzuukira, okuggyako nga tulina obukakafu okuva mu Byawandiikibwa! w24.05 5-6 ¶15-16
Totya. Nja kukuyamba.—Is. 41:13.
Okuviira ddala mu biseera eby’edda, obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bubaddenga buzzaamu abaweereza ba Katonda amaanyi nga waliwo obuvunaanyizibwa obutali bwangu bwe balina okutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nnabbi Yeremiya. Yawulira ng’atidde Yakuwa bwe yamuwa omulimu gw’okubuulira. Yagamba nti: “Simanyi kwogera, kubanga ndi mwana muto.” (Yer. 1:6) Kiki ekyamuyamba n’asobola okufuna obuvumu okubuulira? Ekigambo kya Katonda kye kyamuyamba. Yagamba nti: “Ekigambo kye kyali ng’omuliro ogubuubuuka munda mu magumba gange, nnawulira nga nkooye okusirika.” (Yer. 20:8, 9) Wadde ng’ekitundu Yeremiya kye yali abuuliramu kyali kizibu nnyo, obubaka bwe yaweebwa okubuulira bwamuyamba okufuna amaanyi ge yali yeetaaga okukola omulimu ogwo. Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda buzzaamu Abakristaayo amaanyi. Omutume Pawulo yagamba nti okufuna okumanya okutuufu kwandiyambye bakkiriza banne “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa” nga beeyongera “okubala ebibala mu buli mulimu omulungi.”—Bak. 1:9, 10. w24.04 14-15 ¶2-4
Awo kabona Zadooki . . . n’afuka amafuta ku Sulemaani.—1 Bassek. 1:39.
Zadooki yasigala mwesigwa eri Yakuwa wadde nga Abiyasaali eyali kabona asinga obukulu yasalawo okuwagira Adoniya eyali agezaako okwezza obwakabaka. Dawudi yali akimanyi nti Zadooki yali mwesigwa. Olukwe lwa Adoniya bwe lwamanyibwa, Dawudi yagamba Zadooki, Nasani, ne Benaya okufuka amafuta ku Sulemaani okuba kabaka. (1 Bassek. 1:32-34) Okubeera awamu n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, gamba nga Nasani n’abalala abaali bawagira Kabaka Dawudi, kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Zadooki amaanyi. Sulemaani bwe yafuuka kabaka, yalonda ‘Zadooki okuba kabona mu kifo kya Abiyasaali.” (1 Bassek. 2:35) Oyinza otya okukoppa Zadooki? Omuntu alina enkolagana ey’oku lusegere naawe bw’asalawo okuva ku Yakuwa, ba mumalirivu okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. (Yos. 24:15) Yakuwa ajja kukuwa amaanyi n’obuvumu bye weetaaga. Musabe era kolagana ne bakkiriza banno abeesigwa eri Yakuwa. Obwesigwa bwo Yakuwa abutwala nga bwa muwendo nnyo era ajja kukuwa empeera.—2 Sam. 22:26. w24.07 6-7 ¶16-17
Ka tuleme kulekera awo kukola birungi.—Bag. 6:9.
Zabbuli 15:2, walaga nti mukwano gwa Yakuwa “y’oyo atambulira mu bugolokofu, akola ebituufu.” Ebyo tulina okubikolanga bulijjo. Naye ddala tusobola ‘okutambulira mu bugolokofu’? Yee. Kya lwatu nti tewali muntu atuukiridde, naye Yakuwa asobola okukitwala nti ‘tutambulira mu bugolokofu’ singa tukola kyonna kye tusobola okumugondera. Bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, tuba tutandika butandisi okutambula ne Katonda. Ng’ekyokulabirako, omuntu okubeera obubeezi Omuyisirayiri kyali tekimufuula mugenyi mu weema ya Yakuwa. Abamu baakoowoolanga Yakuwa naye nga tebamukoowoola “mu mazima na butuukirivu.” (Is. 48:1) Abayisirayiri okulaga nti ddala baali baagala okubeera abagenyi mu weema ya Yakuwa, baalina okuyiga by’ayagala era ne babikolerako. Mu ngeri y’emu leero, okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda, tetulina kukoma ku kubatizibwa n’okubangawo mu nkuŋŋaana. Tulina okweyongera ‘okukola ebituufu.’ w24.06 9 ¶4; 10 ¶6
Mukoppe Katonda.—Bef. 5:1.
Ebimu ku bintu Yakuwa by’atuwa bye biruwa? Ka tulabeyo ebimu ku byo. Yakuwa atuwa ebintu bye twetaaga mu bulamu. Tuyinza obutaba na bintu byonna bye twagala, naye bulijjo Yakuwa akakasa nti tulina byonna bye twetaaga. Ng’ekyokulabirako, akakasa nti tufuna emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. (Zab. 4:8; Mat. 6:31-33; 1 Tim. 6:6-8) Yakuwa atuwa ebintu ebyo olw’okuba ateekeddwa okubituwa? Nedda! Lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:25, 26. Bwe yali ayogera ku binyonyi, yagamba nti: “Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero.” Naye weetegereze ebigambo bino by’addako okwogera: “Kitammwe ali mu ggulu abiriisa.” Oluvannyuma Yesu abuuza nti: “Mmwe temuli ba muwendo nnyo okubisinga?” Kiki kye yali ayagala okutuyigiriza? Bwe kiba nti Yakuwa alabirira ebinyonyi, tuli bakakafu nti naffe ajja kutulabirira! Okufaananako taata alabirira ab’omu maka ge, Yakuwa alabirira abaweereza be olw’okuba abaagala.—Zab. 145:16; Mat. 6:32. w24.09 26-27 ¶4-6
Abasajja abaweereza mu ngeri ennungi baba n’ennyimirira ennungi era basobola okwogera n’obuvumu ku kukkiriza kwe balina.—1 Tim. 3:13.
Omuweereza aba wa luganda mubatize eyalondebwa omwoyo omutukuvu okuyambako abakadde okukola emirimu egitali gimu egyetaagisa mu kibiina. Okusingira ddala abaweereza baba basajja abaagala Yakuwa era abatambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Ate era baagala nnyo bakkiriza bannaabwe. (Mat. 22:37-39) Ow’oluganda omubatize ayinza atya okuluubirira enkizo ey’okukola ng’omuweereza mu kibiina? Bayibuli eraga ebisaanyizo abo abayinza okulondebwa okuba abaweereza bye balina okutuukiriza. (1 Tim. 3:8-10, 12) Bw’oba ng’oyagala okukola ng’omuweereza mu kibiina, weekenneenye ebisaanyizo ebyo era ofube okubituukiriza. Naye okusookera ddala lowooza ku nsonga lwaki oyagala okufuuka omuweereza. w24.11 15 ¶4-5
Temwakikkiriza ng’ekigambo ky’abantu, naye mwakikkiriza ng’ekigambo kya Katonda, nga bwe kiri ddala.—1 Bas. 2:13.
Abantu abamu bagamba nti basomye Bayibuli enfunda n’enfunda. Naye ddala bakkiririza mu ebyo by’eyigiriza? Babikoleddeko mu balamu bwabwe? Nedda. Naye si bwe kiri eri abantu ba Yakuwa! Tufuba nnyo okukolera ku kubuulirira okugirimu. Oluusi tekiba kyangu okusoma Kigambo kya Katonda n’okukikolerako. Tuyinza okuzibuwalirwa okufuna ebiseera eby’okukisoma. Oba tuyinza okukisoma nga twanguyiriza ne tutafumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Oba tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’okuba tulina ebintu bingi bye twetaaga okulongoosaamu. Ka kube kusoomooza ki kw’oyinza okuba nakwo, osobola okukuvvuunuka. Yakuwa asobola okukuyamba okukuvvuunuka. Ka tube bamalirivu okuba abakozi b’Ekigambo. Tewali kubuusabuusa nti gye tunaakoma okusoma Ekigambo kya Katonda ne tukikolerako, gye tunaakoma okuba abasanyufu.—Yak. 1:25. w24.09 7 ¶15-16
Musabenga, muliweebwa.—Luk. 11:9.
Ekintu ekibi ennyo bwe kitutuukako, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutubudaabuda. Bw’oba ng’olina ekizibu eky’amaanyi ky’oyolekagana nakyo, tegeeza Yakuwa ebikuli ku mutima ng’omusaba emirundi gyonna gy’oyagala era okumala ekiseera ky’oyagala. (Zab. 86:3; 88:1) Buli kiseera musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Ajja kuddamu essaala zo. Owulira nga tolina maanyi olw’ekintu ekibi ennyo ekyakutuukako? Omwoyo omutukuvu gusobola okukuwa amaanyi ne weeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Bef. 3:16) Bw’osaba Yakuwa okukuwa omwoyo gwe omutukuvu, oyinza otya okukolera ku ssaala yo? Kola ebintu ebinaakusobozesa okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Ebintu ebyo bizingiramu okubangawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira abalala. Soma Ekigambo kya Katonda buli lunaku kikuyambe okufumiitirizanga ku birowoozo bye. (Baf. 4:8, 9) Bw’oba osoma, weetegereze abantu aboogerwako mu Bayibuli abaayolekagana n’ebizibu era ofumiitirize ku ngeri Yakuwa gye yabayamba okubigumira. w24.10 9 ¶12-14
Katonda yayagala nnyo ensi.—Yok. 3:16.
Okufaananako Yakuwa n’Omwana we, twagala nnyo abantu. (Nge. 8:31) Tusaasira nnyo abo ‘abatalina Katonda’ era ‘abatalina ssuubi.’ (Bef. 2:12) Olw’ebizibu ebingi bye balina, bawulira ng’abali mu kinnya ekiwanvu ennyo. Naye ffe tulina omuguwa ogusobola okubasikayo. Omuguwa ogwo ge mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba twagala abantu ng’abo era tubakwatirwa ekisa, tufuba okubabuulira amawulire amalungi. Obubaka obwo obw’omuwendo busobola okubazzaamu amaanyi, okubayamba okuba n’obulamu obw’amakulu kati, era n’okuba n’essuubi ery’okufuna “obulamu obwa nnamaddala,” nga buno bwe bulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya. (1 Tim. 6:19) Olw’okuba twagala abantu, tufuba okubalabula nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. (Ezk. 33:7, 8) Twagala bamanye nti mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, amadiini ag’obulimba gajja kusaanyizibwawo ate oluvannyuma enteekateeka ya Sitaani yonna esaanyizibwewo ku lutalo Amagedoni.—Kub. 16:14, 16; 17:16, 17; 19:11, 19, 20. w24.05 16-17 ¶8-9
Temuwooleranga ggwanga, naye muleke Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe kubanga kyawandiikibwa nti: “‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,’ Yakuwa bw’agamba.”—Bar. 12:19.
Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okuleka Katonda okwoleka obusungu bwe.’ Tuleka Yakuwa okwoleka obusungu bwe nga tumuleka okuleetawo obwenkanya mu kiseera kye ekituufu era mu ngeri ye entuufu. Ow’oluganda John bwe yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya yagamba nti: “Nnalina okufuba okufuga obusungu nneme okukola ekintu ekikyamu, naye tekyali kyangu. Ebiri mu Abaruumi 12:19 byannyamba okuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa.” Bwe tulindirira Yakuwa okutereeza ensonga tuganyulwa nnyo. Ekyo kituyamba okwewala okweraliikirira n’okuggwaamu amaanyi nga tugezaako okugonjoola ekizibu mu ngeri yaffe. Yakuwa ayagala okutuyamba. Alinga atugamba nti, ‘Obutali bwenkanya mubundekere; nja kubukolako.’ Bwe tukkiriza ekisuubizo kya Yakuwa ekigamba nti: “Nze ndisasula,” tusobola okuleka ensonga mu mikono gye nga tuli bakakafu nti ajja kuzikolako mu ngeri esingayo obulungi. w24.11 6 ¶14-15
Tuwe emmere yaffe buli lunaku okusinziira ku bwetaavu bwaffe obw’olunaku.—Luk. 11:3.
Tusaanidde okwegendereza tuleme kutwala bintu nti bye bisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Ekyo omutume Pawulo yakyogerako bwe yali awandiikira Abakristaayo abaaliwo ng’enteekateeka y’Ekiyudaaya eneetera okutuuka ku nkomerero yaayo. Yayogera ku bintu ebyaliwo mu byafaayo by’Abayisirayiri, omwali n’ebyo ebyaliwo nga bali kumpi n’Olusozi Sinaayi. Yalabula Abakristaayo okwewala “okwegomba ebintu ebibi nga [Abayisirayiri] bwe baakola.” (1 Kol. 10:6, 7, 11) Yakuwa yali awadde Abayisirayiri abo emmere mu ngeri ey’ekyamagero. Naye olw’okuba baalina omululu, emmere eyo yabafuukira ‘ekintu ekibi.’ (Kubal. 11:4-6, 31-34) Ate era ne bwe baali basinza akayana aka zzaabu, baalya, ne banywa, era ne basanyuka. (Kuv. 32:4-6) Pawulo yalaga nti ebyo ebyaliwo byali birabula Abakristaayo abaaliwo ng’enteekateeka y’Ekiyudaaya eneetera okuzikirizibwa mu mwaka 70 E.E. Okubuulirira kwa Pawulo okwo tusaanidde okukutwala nga kukulu nnyo, kubanga naffe tuli mu kiseera ng’enkomererero y’enteekateeka y’ebintu eno eneetera okujja. w24.12 6 ¶13
Sanyukanga n’omukazi ow’omu buvubuka bwo.—Nge. 5:18.
Yakuwa ye “Katonda omusanyufu,” era naffe ayagala tubeere basanyufu. (1 Tim. 1:11) Yatuwa ebirabo bingi ebitusobozesa okuba abasanyufu. (Yak. 1:17) Ekimu ku birabo ebyo bwe bufumbo. Omusajja n’omukazi bwe bafumbiriganwa, beeyama okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. Bwe basigala nga baagalana ekyo kibaleetera okuba abasanyufu. Eky’ennaku, abafumbo bangi leero beerabira ebyo bye beeyama nga bafumbiriganwa, era ekyo kibaviiriddeko obutaba basanyufu. Omwami Yakuwa amusuubira kuyisa atya mukyala we? Yakuwa alagira omwami okuwa mukyala we ekitiibwa. Omwami awa mukyala we ekitiibwa aba amuyisa mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala.—1 Peet. 3:7. w25.01 8 ¶1-2; 9 ¶4-5
Yakuwa ye muyambi wange; siityenga.—Beb. 13:6.
Tewali kubuusabuusa nti ebbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya yayamba Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka okweteekerateekera okubonaabona kwe baali bagenda okuyitamu. Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okweyongera okusoma Ebyawandiikibwa n’okubitegeera. Ekyo kyandibayambye okumanya enjigiriza ezandibadde zinafuya okukkiriza kwabwe era ne bazeewala. Yabakubiriza okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe basobole okukolera mu bwangu ku bulagirizi bwa Yesu, ne ku bw’abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina. Ate era yayamba bakkiriza banne okweyongera okukulaakulanya obugumiikiriza nga batunuulira ebigezo ng’ebyali bibawa akakisa okutendekebwa Kitaabwe abaagala. Naffe ka tufube okukolera ku kubuulirira okwo okwaluŋŋamizibwa. Ekyo kijja kutuyamba okugumiikiriza n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero.—Beb. 3:14. w24.09 13 ¶17, 19
Tutukuziddwa okuyitira mu kuweebwayo kw’omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.—Beb. 10:10.
Okusinziira ku Bayibuli, ekinunulo gwe muwendo ogusasulwa okusobola okutangirira oba okutabaganya. Yakuwa atwala ekinunulo okuba nga kye kisinziirwako okuzzaawo ekyo kye twali tufiiriddwa. Mu ngeri ki? Kijjukire nti Adamu ne Kaawa baafiirwa obulamu obutuukiridde awamu n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. N’olwekyo, omuwendo gw’ekinunulo gwali gulina okuba nga gwenkana n’ekyo kye baatufiiriza. (1 Tim. 2:6) Gwali gusobola kusasulwa muntu omukulu (1) atuukiridde; (2) asobola okubeerawo emirembe gyonna ku nsi; era (3) nga mwetegefu okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. Weetegereze ensonga ssatu lwaki Yesu yasobola okusasula omuwendo gw’ekinunulo. (1) Yali atuukiridde, “teyakola kibi.” (1 Peet. 2:22) (2) Olw’okuba yali atuukiridde, yali asobola okubeera ku nsi emirembe gyonna. (3) Yali mwetegefu okufa n’awaayo obulamu obwo ku lwaffe.—Beb. 10:9. w25.02 4-5 ¶11-12
Katonda agaba omwoyo gwe mu bungi.—Yok. 3:34.
Ba mukakafu nti Yakuwa akwagala era ayagala obeere omu ku baweereza be. Ekyo kisoboka k’obe nga weetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okubatizibwa. Yesu yagamba abamu ku bayigirizwa be nti: “Singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ era lujja kuvaawo, era tewali kijja kubalema.” (Mat. 17:20) Abo be yali ayogera nabo baali bamaze naye emyaka mitono. N’olwekyo, okukkiriza kwabwe kwali kukyakula. Naye Yesu yabagamba nti bwe bandinywezezza okukkiriza kwabwe, Yakuwa yandibasobozesezza okuvvuunuka ebizibu ebiringa ensozi. Naawe Yakuwa ajja kukuyamba okukola kye kimu! Singa okiraba nti waliwo ebikulemesa okubatizibwa, baako ky’okolawo mu bwangu okubivvuunuka. Weeweyo eri Yakuwa era obatizibwe. Ekyo kye kintu ekisingayo obulungi mu byonna by’oyinza okusalawo! w25.03 7 ¶18-20
Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga.—Zab. 118:6.
Tusobola okwaŋŋanga ekizibu kyonna singa bulijjo tukijjukira nti Katonda omulamu mwetegefu okutuyamba. Tusobola okuba abakakafu nti mwetegefu okutuyamba singa tufumiitiriza ku bintu bye yakola mu biseera eby’emabega. (Is. 37:17, 33-37) Ate era soma ebiri ku mukutu gwaffe jw.org ebiraga engeri Yakuwa gy’azze ayambamu bakkiriza bannaffe mu kiseera kino. Lowooza ne ku ngeri gy’azze akuyambamu. Oboolyawo owulira nti Yakuwa takukolerangako kintu ekyewuunyisa. Wadde kiri kityo, ekituufu kiri nti akukoledde ebintu bingi nnyo mu bulamu bwo! Ng’ekyokulabirako, yakuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. (Yok. 6:44) Musabe akuyambe okujjukira engeri gy’azze addamu essaala zo, engeri gye yakuyamba mu kiseera kyennyini we wali weetaagira obuyambi, oba engeri gye yakuyamba okuyita mu kizibu eky’amaanyi ennyo. Okufumiitiriza ku bintu ng’ebyo kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okukuyamba. w24.06 21 ¶8
Okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.—Bar. 5:12.
Tuyinza okuba nga tumaliridde obutakkiriza kintu kyonna kutuggya ku Yakuwa. Wadde kiri kityo, tetutuukiridde era kyangu nnyo okukola ekibi nga tukemeddwa. (Bar. 7:21-23) Nga tetukisuubira, tuyinza okwesanga mu mbeera ezikifuula ekyangu gye tuli okukola ekibi. Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’eri Omwana we, tulina okukolera ku kubuulirira Yesu kwe yawa, tusigale nga tutunula tuleme okukola ekibi nga tukemeddwa. Buli omu ku ffe akemebwa okukola ebintu ebikyamu. Ffenna tulina obunafu obw’enjawulo. N’olwekyo, ebintu ebimu bikifuula kyangu gye tuli okukola ekibi okusinga ebirala. Ng’ekyokulabirako, omuntu omu ayinza okuba ng’asikirizibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Omulala ayinza okuba ng’asikirizibwa okwenyigira mu bikolwa ebitali birongoofu, gamba ng’okwemazisa oba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ate omulala ayinza okuba ng’alina ekizibu ky’okutya abantu, oba okusunguwala amangu, oba endowooza ya kyetwala, oba ekintu ekirala. w24.07 14 ¶3; 15 ¶5
Mubeere beetegefu okumusonyiwa n’okumubudaabuda, aleme okutendewalirwa olw’okunakuwala ennyo.—2 Kol. 2:7.
Lowooza ku ekyo ekyandibaddewo singa abakadde baagaana okukkiriza omusajja oyo eyeenenya mu bwesimbu okukomawo mu kibiina, oba singa oluvannyuma lw’okukomawo ab’oluganda baagaana okumulaga okwagala. Yandibadde aggwaamu amaanyi “olw’okunakuwala ennyo.” Yali asobola okulowooza nti tayinza kuddamu kuweereza Yakuwa. Yandibadde alekera awo n’okufuba okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa. N’ekisinga obubi, singa ab’oluganda mu kibiina baagaana okusonyiwa omwonoonyi oyo eyeenenya, ekyo kyandibadde kikosa enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Lwaki? Kubanga bandibadde tebooleka ndowooza Yakuwa gy’alina ku boonoonyi abeenenya, wabula bandibadde booleka endowooza ya Sitaani ow’ettima era atalina busaasizi. Mu ngeri eyo, Sitaani yandibadde abakozesa okulemesa omusajja oyo okuddamu okuweereza Yakuwa.—2 Kol. 2:10, 11; Bef. 4:27. w24.08 17 ¶7, 10-11
Bwe yalinnya waggulu . . . , yagaba abantu ng’ebirabo.—Bef. 4:8.
Kristo Yesu yalonda abasajja abamu okuyamba ekibiina mu ngeri endala. Nga bakolera ku bulagirizi bwe, abakadde mu Yerusaalemi baatuma Pawulo, Balunabba, n’abalala okukola ng’abalabirizi abakyalira ebibiina. (Bik. 11:22) Lwaki? Olw’ensonga y’emu eyateekesaawo abaweereza n’abakadde: okunyweza ebibiina. (Bik. 15:40, 41) Abalabirizi abakyalira ebibiina buli kiseera baba batambula. Abamu batambula mayiro nnyingi nnyo okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala. Buli wiiki omulabirizi awa emboozi eziwerako, agenda okuzzaamu ab’oluganda amaanyi, akubiriza olukuŋŋaana lwa bapayoniya, olw’abakadde, n’enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Ateekateeka emboozi, awamu n’enkuŋŋaana ez’olunaku olumu n’ez’ennaku essatu. Asomesa mu masomero ga bapayoniya, ateekateeka olukuŋŋaana lwa bapayoniya ababa mu kitundu ky’alabirira, ate era akola ne ku nsonga endala ofiisi y’ettabi z’eba emugambye okukolako, era ng’ezimu zeetaagisa okukolwako mu bwangu. w24.10 21 ¶12-13
Ndibasonyiwa ensobi zaabwe, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.—Yer. 31:34.
Okuyitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yayogera ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa kya leero. Omutume Pawulo yali ajuliza ebigambo ebyo bwe yagamba nti: “Siriddamu kujjukira bibi byabwe.” (Beb. 8:12) Naye ebigambo ebyo bitegeeza ki? Mu Bayibuli, oluusi ekigambo “okujjukira” tekitegeeza nti omuntu aba ajjukira ekintu ekyabaawo, oba nti aba akirowoozaako. Oluusi kiba kitegeeza omuntu okubaako ky’akolawo. Omumenyi w’amateeka eyakomererwa ku muti okumpi ne Yesu yagamba Yesu nti: “Yesu, onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” (Luk. 23:42, 43) Yali tasaba busabi Yesu kumulowoozaako mu kiseera ekyo. Ekyo Yesu kye yaddamu kiraga nti yandibaddeko ne kyakolawo n’azuukiza omumenyi w’amateeka oyo. N’olwekyo, Yakuwa bw’agamba nti takyajjukira bibi byaffe, aba ategeeza nti atusonyiye era nti tajja kubaako ky’akolawo kutubonereza olw’ebibi ebyo. w25.02 10-11 ¶14-15
Okumanya Oyo Asingayo Okuba Omutukuvu kwe kutegeera.—Nge. 9:10.
Okumanya okutuufu kuva mu kumanya engeri za Yakuwa, ekigendererwa kye, n’ebyo by’ayagala oba by’akyawa. Weebuuze, ‘Okusinziira ku ebyo bye mmanyi ku Yakuwa, nnyinza ntya okusalawo mu ngeri emusanyusa?’ (Bef. 5:17) Oluusi okusobola okusanyusa Yakuwa, kitwetaagisa okukola ekintu ekitajja kusanyusa balala. Ng’ekyokulabirako, abazadde bayinza okwagala muwala waabwe afumbirwe omusajja alina ssente, oba oyo anaaleeta ebintu ebingi ku kwanjula wadde nga si munywevu mu by’omwoyo. Kyo kituufu nti baagala muwala waabwe alabirirwe mu by’omubiri, naye ani anaamuyamba okuba omunywevu mu by’omwoyo? Ensonga eyo Yakuwa agitunuulira atya? Eky’okuddamu kiri mu Matayo 6:33. Mu kyawandiikibwa ekyo, Abakristaayo bakubirizibwa ‘okusooka okunoonyanga Obwakabaka.’ Wadde nga twagala nnyo bazadde baffe, era nga tussa ekitiibwa mu bantu b’omu kitundu gye tubeera, ekiruubirirwa kyaffe ekikulu kwe kusanyusa Yakuwa. w25.01 17 ¶9-10
Mukama waffe yali kumpi nange n’ampa amaanyi.—2 Tim. 4:17.
Twetaaga Yakuwa okutuyamba okusobola okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. (Kub. 12:17) Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba? Lowooza ku ssaala Yesu gye yasaba esangibwa mu Yokaana essuula 17. Mu ssaala eyo Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abatume be, era Yakuwa yagiddamu. Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga engeri Yakuwa gye yayambamu abatume okweyongera okubuulira n’obunyiikivu wadde nga baali bayigganyizibwa. Mu ssaala eyo era Yesu yasabira n’abo abandiwulirizza obubaka abatume bwe bandibadde babuulira. Mu bantu abo naawe mw’oli. Ne leero Yakuwa akyaddamu essaala eyo. Ajja kukuyamba nga bwe yayamba abatume. (Yok. 17:11, 15, 20) Ng’enkomerero egenda esembera, kiyinza okweyongera okutubeerera ekizibu okubuulira amawulire amalungi. Naye Yesu yatukakasa nti tujja kuba n’obuyambi bwe twetaaga okusobola okubuulira n’obunyiikivu.—Luk. 21:12-15. w25.03 18 ¶13-14
Abaweereza bange balyogerera waggulu n’essanyu.—Is. 65:14.
Abantu ba Katonda ‘boogerera waggulu n’essanyu’ olw’okuba basiima nnyo ebyo Yakuwa by’abakolera. Amazima agali mu Bayibuli aganyweza okukkiriza kwaffe, ebisuubizo ebirimu ebitubudaabuda, n’essuubi lye tulina olwa ssaddaaka Yesu gye yawaayo, bitusobozesa okuba n’essanyu lingi mu mutima. Okunyumya ku bintu ebyo kituleetera essanyu erya nnamaddala! (Zab. 34:8; 133:1-3) Okwagala n’obumu ebiri mu bantu ba Yakuwa bye bimu ku bintu ebikulu ebiri mu lusuku olw’eby’omwoyo. Okwagala okwo n’obumu bituyamba okukuba akafaananyi ku ngeri obulamu bwe buliba mu nsi empya ng’abantu ba Yakuwa balagaŋŋana okwagala ku kigero ekisingayo, era nga bali bumu n’okusinga bwe kiri leero. (Bak. 3:14) Buli muntu ayagala okuba n’essanyu erya nnamaddala n’okubeera omumativu asaanidde kubeera mu lusuku lwaffe olw’eby’omwoyo. Ensi k’ebe ng’erina ndowooza ki ku baweereza ba Yakuwa, beekoledde erinnya eddungi eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaabwe.—Is. 65:15. w24.04 21 ¶7-8
Muzimbaganenga.—1 Bas. 5:11.
Ffenna tuyinza tutya okuwagira Abakristaayo abali obwannamunigina abaagala okuwasa oba okufumbirwa? Engeri emu kwe kwegendereza ebyo bye twogera. (Bef. 4:29) Tuyinza okwebuuza: ‘Oluusi ebyo bye njogera mu kusaaga bireetera abo abaagala okuwasa oba okufumbirwa okuwulira obubi? Bwe ndaba muganda waffe ne mwannyinaffe abatali bafumbo nga boogera, nkitwala nti kirabika baagalana?’ (1 Tim. 5:13) Ate era tetusaanidde kuleetera Bakristaayo abatali bafumbo okulowooza nti bayinza okuba nga baliko ekibabulako olw’okuba si bafumbo. Mu kifo ky’okubaleetera okulowooza bwe batyo, kirungi okukozesa akakisa konna ke tufuna okubasiima! Watya singa olowooza nti ow’oluganda omu ne mwannyinaffe bagwana okuba omwami n’omukyala? Bayibuli etukubiriza okufaayo ku nneewulira y’abalala. (Bar. 15:2) Abakristaayo bangi abatali bafumbo tebaagala balala kubalabira wa kuwasa oba wa kufumbirwa, era tusaanidde okussa ekitiibwa mu ekyo kye baagala. (2 Bas. 3:11) Abalala bayinza okwetaaga okubayambako, naye singa baba tebatusabye tetusaanidde kukikola.—Nge. 3:27. w24.05 24-25 ¶14-15
Olwazi lwabwe teruli ng’Olwazi lwaffe.—Ma. 32:31.
Oluusi tufuna ebizibu bye tuba tutasuubira era ng’ebimu ku byo biyinza okukyusiza ddala obulamu bwaffe. Kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa w’ali okutuyamba! Bwe tulaba engeri gy’atuyambamu, tweyongera okuba abakakafu nti “Yakuwa mulamu!” (Zab. 18:46) Kyokka oluvannyuma lwa Dawudi okugamba nti “Yakuwa mulamu,” yagamba nti lwe ‘Lwazi lwe.’ Lwaki yageraageranya Yakuwa, Katonda ku lwazi olutalina bulamu? Bayibuli egeraageranya Yakuwa ku ‘lwazi,’ okutuyamba okutegeera ezimu ku ngeri ze. Emirundi mingi abaweereza ba Yakuwa baageraageranya Yakuwa ku lwazi nga bamutendereza olw’engeri ze. Mu Bayibuli Yakuwa asooka okwogerwako ‘ng’Olwazi’ mu Ekyamateeka 32:4. Ate Kaana bwe yali asaba, yagamba nti: “Tewali lwazi lulinga Katonda waffe.” (1 Sam. 2:2) Kaabakuuku yayita Yakuwa “Olwazi” lwe. (Kaab. 1:12) Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yagamba nti: “Katonda lwe lwazi lw’omutima gwange.” (Zab. 73:26) Ate era ne Yakuwa kennyini yeeyita olwazi.—Is. 44:8. w24.06 26 ¶1, 3
Yekosafaati . . . yanoonya Yakuwa n’omutima gwe gwonna.—2 Byom. 22:9.
Bakabaka abaali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa baamusinzanga n’omutima gwabwe gwonna. Bayibuli eyogera bw’eti ku Yosiya: “Waali tewabangawo kabaka alinga ye mu abo abaamusooka, eyadda eri Yakuwa n’omutima gwe gwonna.” (2 Bassek. 23:25) Ate ye Sulemaani eyakola ebintu ebibi mu myaka gy’obulamu bwe egyasembayo? Bayibuli egamba nti: “Omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa Katonda.” (1 Bassek. 11:4) Ate era Bayibuli bw’eba eyogera ku Abiyaamu, kabaka omulala ataali mwesigwa, egamba nti: “Omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa.” (1 Bassek. 15:3) Mu Bayibuli emirundi mingi ekigambo “omutima” kitegeeza ekyo omuntu ky’ali munda, era kizingiramu ebyo bye yeegomba, by’alowooza, obusobozi bwe, n’ebiruubirirwa bye. Kati olwo kitegeeza ki okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? Omuntu aweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, aba tamuweereza kutuukiriza butuukiriza luwalo. Mu kifo kyekyo, aweereza Yakuwa olw’okuba aba amwagala nnyo, era amwemalirako obulamu bwe bwonna. w24.07 21 ¶4-5
Sangula ensobi zange zonna.—Zab. 51:9.
Yakuwa akozesa ekyokulabirako okulaga engeri gy’asangulamu ebibi. Agamba nti: “Ndisangula ebyonoono byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire, n’ebibi byo ne biba ng’ebibikkiddwa ekire ekikutte.” (Is. 44:22) Yakuwa bw’atusonyiwa abanga akozesezza ekire ekikutte okubikka ku bibi byaffe ne biba nga tebikyalabibwa. Ekyokulabirako ekyo kituyigiriza ki? Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, tetusaanidde kweyongera kulumirizibwa mutima olw’ebibi ebyo. Okuyitira mu musaayi gwa Yesu Kristo, amabanja gaffe gasazibwamu ddala. Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, tuba ng’abatabikolangako. Bw’atyo Yakuwa bw’asonyiwa abo abeenenya ebibi byabwe. Okuba nti Yakuwa musaasizi kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi naye n’obutalumirizibwa mutima olw’ebibi bye tuba twakola. w25.02 10 ¶11-14
Katonda akulaga ekisa kye akusobozese okwenenya.—Bar. 2:4.
Yakuwa yeetaagisa abakadde okukuuma ekibiina kireme okwonoonebwa abo abagaana okukwata amateeka ge. (1 Kol. 5:7) Naye era abakadde bakola kyonna kye basobola okuyamba omuntu okwenenya bwe kiba kisoboka. Era bwe baba bamuyamba baba n’essuubi nti ajja kukyusaamu. Lwaki? Kubanga baagala okukoppa Yakuwa ‘alina okwagala okungi era omusaasizi.’ (Yak. 5:11) Weetegereze engeri omutume Yokaana gye yayoleka endowooza eyo. Yagamba nti: “Baana bange abato, mbawandiikira ebintu bino mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuyambi ali ne Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.” (1 Yok. 2:1) Eky’ennaku, oluusi Omukristaayo agaana okwenenya. Ekyo bwe kibaawo aba alina okuggibwa mu kibiina. w24.08 25 ¶19-20
Munywerere mu kukkiriza.—1 Kol. 16:13.
Oluusi oyinza okwagala okwegeraageranya n’abalala. Naye ekyo kyewale! Lwaki? Kubanga Yakuwa tatugeraageranya na balala. (Bag. 6:4) Ng’ekyokulabirako, Maliyamu yawa Yesu ekirabo eky’amafuta ag’ebbeeyi. (Yok. 12:3-5) Kyokka ate ye nnamwandu omwavu yawaayo ku yeekaalu obusente bubiri obwali obw’omuwendo omutono ennyo. (Luk. 21:1-4) Wadde kyali kityo, ebirabo ebyo byombi abakazi abo bye baawaayo Yesu yabitwala nti byali byoleka okukkiriza okw’amaanyi. Kitaawe, Yakuwa, asiima nnyo ebyo byonna by’okola olw’okukkiriza kw’olina n’olw’okuba omwagala, ka bibe bitono bitya. Ffenna oluusi tuba n’okubuusabuusa. Naye Ekigambo kya Katonda ekyesigika, kisobola okutuyamba okuggwaamu okubuusabuusa. N’olwekyo, fuba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye weebuuza. Mazima ddala, Yakuwa akulaba era akufaako. Asiima ebyo byonna bye weefiiriza okusobola okumuweereza era ajja kukuwa empeera nga bwe yasuubiza. Abaweereza be bonna abaagala nnyo era abafaako. w24.10 25 ¶3; 29 ¶17-18

