Noovemba
Ssande, Noovemba 1
Sijja kusigala nga ndi musunguwavu mirembe gyonna.—Yer. 3:12.
Abakadde bafuba okwoleka obusaasizi ng’obwa Yakuwa nga bagezaako okuyamba omuntu aba aggiddwa mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa teyalinda bantu be abajeemu ab’omu Isirayiri ey’edda okusooka okubaako kye bakolawo. Mu kifo ky’ekyo, ye yasooka okubaako ky’akolawo okubayamba nga tewannabaawo na kabonero konna kalaga nti baali beetegefu okwenenya. Yakuwa yagamba nnabbi Koseya okukomyawo ewuwe mukyala we eyali akyenyigira mu bwenzi. Okuyitira mu kyokulabirako ekyo, Yakuwa yayamba abantu be okukiraba nti musaasizi nnyo. (Kos. 3:1; Mal. 3:7) Olw’okuba abakadde bakoppa Yakuwa, baba baagala omwonoonyi okudda eri Yakuwa era bafuba okulaba nti bakifuula kyangu gy’ali okukola ekyo. Mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana eyali azaaye, taata bwe yalengera mutabani we oyo ng’akomawo eka, ‘yadduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.’ (Luk. 15:20) Weetegereze nti taata teyalinda mutabani we kusooka kumusaba kisonyiwo. Mu kifo ky’ekyo, yadduka okumwaniriza olw’okuba yali amwagala. w24.08 28 ¶7-8
Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’anoonyaamu nsobi.—Yak. 1:5; obugambo obuli wansi.
Ng’ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa kya leero bwe biraga, Yakuwa amagezi ge tageesigaliza yekka. Agagabirako abalala. Ate era weetegereze nti Yakuwa bw’agabira abalala amagezi, “talina gw’akambuwalira,” oba “gw’anoonyaamu nsobi.” Tayagala tuwulire bubi nga tumusaba amagezi oba obulagirizi. Mu butuufu, atukubiriza okumusaba amagezi. (Nge. 2:1-6) Ate kiri kitya gye tuli? Tusobola okukoppa Yakuwa nga tugabirako abalala amagezi ge tulina. (Zab. 32:8) Abaweereza ba Yakuwa emirundi mingi bafuna akakisa okubuulirako abalala ebyo bye baba bayize. Ng’ekyokulabirako, tutera okutendeka ababuulizi abapya. Abakadde bayamba abaweereza n’ab’oluganda abalala ababatize okumanya engeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe mu kibiina. Ate ab’oluganda ne bannyinaffe abalina obumanyirivu mu kuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe, batendeka bakkiriza bannaabwe abatalina bumanyirivu okukola ku bizimbe ebikozesebwa ekibiina kya Yakuwa. w24.09 28-29 ¶11-12
Twali tubaagala nnyo.—1 Bas. 2:8.
Ow’oluganda, okusobola okufuuka omukadde olina okuba ‘nga toliiko kya kunenyezebwa,’ kwe kugamba, ng’omanyiddwa nti oli muntu mulungi mu kibiina olw’okuba tewaliiwo akulumiriza nti weeyisa bubi. (1 Tim. 3:2) Ate era olina okuba ng’oyogerwako bulungi abantu ab’ebweru. Abantu abatali baweereza ba Yakuwa bayinza okukuvumirira olw’ebyo by’okkiririzaamu, naye tebalina kuba nga babuusabuusa obanga oli mwesiga era oba nti olina empisa ennungi. (Dan. 6:4, 5) Weebuuze, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu omulungi mu kibiina n’ebweru w’ekibiina?’ Bw’oba ‘ng’oyagala ebirungi,’ oba onoonya ebirungi mu balala era oba abasiima olw’engeri zaabwe ennungi. (Tit. 1:8) Ate era oba oyagala nnyo okukolera abalala ebirungi, era ng’okola ekisukka ne ku ekyo ekyetaagisa. Lwaki kikulu nnyo abakadde okuba n’engeri eyo? Kubanga bakozesa ebiseera bingi okuzzaamu ab’oluganda mu kibiina amaanyi era n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obulala. (1 Peet. 5:1-3) Wadde kiri kityo, essanyu lye bafuna mu kuweereza abalala lisingira wala ekintu kyonna kye beefiiriza.—Bik. 20:35. w24.11 20-21 ¶3-5
Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.—Bik. 20:35.
Abaweereza bakola emirimu egy’omugaso ennyo mu kibiina. Omutume Pawulo yasiima nnyo abasajja abo abeesigwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Firipi, yaweereza okulamusa kwe eri abaweereza n’abakadde. (Baf. 1:1) Ab’oluganda bangi ababatize, abato n’abakulu, bafuna essanyu lingi mu kukola ng’abaweereza mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Devan yalondebwa okukola ng’omuweereza mu kibiina ng’alina emyaka 18. Ate ow’oluganda Luis yalondebwa okukola ng’omuweereza ng’asussizza emyaka 50. Bangi bakkiriziganya n’ebyo Luis bye yayogera ku buweereza obwo. Yagamba nti: “Ngitwala nga nkizo ya maanyi nnyo okukola ng’omuweereza mu kibiina, naddala bwe ndowooza ku kwagala ekibiina kwe kindaze!” Bw’oba ng’oli wa luganda mubatize era nga toli muweereza, osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuba omuweereza mu kibiina? w24.11 14 ¶1-3
Ai Yakuwa, nkwegayiridde, jjukira bwe . . . nkoze ebirungi mu maaso go.—2 Bassek. 20:3.
Kabaka Keezeekiya owa Yuda bwe yali wa myaka 39, yakitegeera nti obulwadde bwe yalina bwali bugenda kumutta. Nnabbi Isaaya yamutegeeza obubaka obwali buva eri Yakuwa nti yali agenda kufa. (2 Bassek. 20:1) Keezeekiya yawulira nga takyalina ssuubi lyonna, era yakaaba nnyo olw’amawulire ago. Yasaba nnyo Yakuwa amuyambe. Yakuwa yawulira okusaba kwa Keezeekiya era yalaba amaziga ge yakaaba. Yamusaasira era n’amugamba nti: “Mpulidde essaala yo era ndabye amaziga go. Ŋŋenda kukuwonya.” Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yamugamba nti yali agenda kwongezaayo ekiseera ky’obulamu bwe era nti yali agenda kununula Yerusaalemi kireme okuwambibwa Abaasuli. (2 Bassek. 20:4-6) Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba ng’olina obulwadde obukuluma era nga kirabika nti tebusobola kuwona? Tegeeza Yakuwa engeri gye weewuliramu. Ajja kukuwuliriza ne bwe kiba nti omusaba okaaba. Bayibuli etukakasa nti “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna” ajja kutubudaabuda mu bizibu byonna bye tufuna.—2 Kol. 1:3, 4. w24.12 24 ¶15-17
Nnina essuubi mu Katonda nga nabo lye balina, nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.—Bik. 24:15.
Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okwaniriza abantu baffe abanaazuukizibwa! Ate era lowooza ku ssanyu ly’ojja okufuna ng’oyiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu bintu ebingi bye yatonda. (Zab. 104:24; Is. 11:9) N’ekisinga ebyo byonna, tujja kuba tuweereza Yakuwa nga tetulina kibi kyonna era nga tetwetaaga kusonyiyibwa! Wandifiiriddwa emikisa egyo gyonna olw’okwagala “essanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera”? (Beb. 11:25) Kya lwatu nedda! Emikisa egyo gisingira wala ekintu kyonna kye twefiiriza kati. Kijjukire nti ekiseera kigenda kutuuka Olusuku lwa Katonda tube nga tetusuubira lusuubire, wabula nga tululimu. Ebyo byonna bijja kubaawo olw’okuba Yakuwa yawaayo Omwana we okutufiirira! w25.01 29 ¶12
Omukono gwa Yakuwa mumpi?—Kubal. 11:23.
Musa y’omu ku bantu aboogerwako mu kitabo ky’Abebbulaniya abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi. (Beb. 3:2-5; 11:23-25) Musa teyeesigira bwereere Yakuwa, kubanga Yakuwa yasobola okufunira abantu be emmere n’amazzi mu ddungu eryo eryali ekkalu ennyo. (Kuv. 15:22-25; Zab. 78:23-25) Kyokka wadde nga Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi, nga wayise omwaka nga gumu ng’Abayisirayiri bavudde e Misiri, yabuusabuusa obanga Yakuwa yali asobola okuwa abantu be ennyama. Yeebuuza engeri Yakuwa gye yandifuniddemu abantu abo abaali abangi ennyo ennyama nga bali mu ddungu. Yakuwa yaddamu Musa ng’amubuuza nti: “Omukono gwa Yakuwa mumpi?” (Kubal. 11:21-23) Mu ngeri endala, Yakuwa yali ng’abuuza Musa nti, ‘Ddala olowooza nti sisobola kukola ekyo kye mba ŋŋambye nti nja kukola?’ w25.03 26 ¶1-2
[Katonda] teyalema kubonereza nsi ey’edda.—2 Peet. 2:5.
Kiba kituufu okugamba nti ebyo ebyaliwo mu kiseera ky’amataba byali bya bunnabbi? Nedda. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga tewali kyawandiikibwa kyonna kiraga nti byali bya bunnabbi. Kyo kituufu nti Yesu yageraageranya “ennaku za Nuuwa” ku kiseera ky’okubeerawo kwe, naye teyagamba nti buli kimu ekyaliwo mu kiseera ky’amataba, kyalina ekintu kye kyali kisongako ekyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Teyagamba nti Yakuwa okuggalawo eryato kyalina kye kikiikirira. (Mat. 24:37-39) Kiki Nuuwa kye yakola Yakuwa bwe yamulabula? Yakiraga nti alina okukkiriza ng’azimba eryato. (Beb. 11:7; 1 Peet. 3:20) Mu ngeri y’emu, abantu abawulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda balina okukolera ku ebyo bye bawulira. (Bik. 3:17-20) Peetero yagamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi w’obutuukirivu.’ Leero twenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna era tufuba okugukola n’obunyiikivu. Kyokka ne bwe tufuba tutya, tetusobola kutuusa ku buli muntu mawulire malungi ng’enkomerero tennajja. w24.05 9-10 ¶3-5
Abatya Yakuwa abawa ekitiibwa.—Zab. 15:4.
Tulina okunoonya engeri gye tusaanidde okulaga ekisa mikwano gya Yakuwa n’okubassaamu ekitiibwa. (Bar. 12:10) Ekyo tuyinza kukikola kitya? Emu ku ngeri gye tuyinza okukikolamu eyogerwako mu Zabbuli 15:4 awalaga nti oyo akyala mu weema ya Yakuwa “atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa.” Ng’ekyokulabirako, abo Yakuwa b’akyaza mu weema ye abasuubira okutuukiriza obweyamo bwe baakola nga bafumbiriganwa. Ate era asanyuka nnyo abazadde bwe bafuba okutuukiriza ebyo bye basuubiza abaana baabwe. Bwe tutatuukiriza ebyo bye tuba tusuubizza kirumya abalala. (Mat. 5:37) Okwagala kwe tulina eri Katonda n’eri bantu bannaffe kutuleetera okukola kyonna kye tusobola okutuukiriza bye tusuubiza. Engeri endala gye tulagamu nti tussa ekitiibwa mu mikwano gya Yakuwa kwe kubasembeza n’okubagabira ku bye tulina. (Bar. 12:13) Bwe tubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe mu biseera byaffe eby’eddembe, kyongera okunyweza omukwano gwe tulina nabo era kinyweza n’enkolagana gye tulina ne Yakuwa. Ate era bwe tusembeza abalala tuba tukoppa Yakuwa. w24.06 12 ¶15-16
Omuntu kye ki, ggwe okumulowoozaako?—Zab. 8:4.
Abeetoowaze Yakuwa b’ayamba okutegeera amazima. (Mat. 11:25) Obwetoowaze bwatuyamba okukkiriza okuyigirizibwa amazima. (Bik. 8:30, 31) Wadde kiri kityo, tulina okwegendereza tuleme okufuna amalala. Bwe tufuna amalala tuyinza okutandika okulowooza nti endowooza zaffe nazo ntuufu okufaananako emisingi gya Bayibuli n’obulagirizi bwe tufuna okuva eri ekibiina kya Yakuwa. Okusobola okusigala nga tuli beetoowaze tusaanidde okukimanya nti tuli ba wansi nnyo ku Yakuwa. (Zab. 8:3, 4) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba okuba abeetoowaze n’okuba abeetegefu okuyigirizibwa. Yakuwa ajja kutuyamba okukiraba nti endowooza ye esangibwa mu Kigambo kye Bayibuli n’ebyo bye tuyigirizibwa okuva eri ekibiina kye, bisinga endowooza yaffe. Bw’oba osoma Bayibuli weetegereze obukakafu obulaga nti Yakuwa ayagala nnyo obwetoowaze era nti akyawa amalala. Ate era fuba nnyo okusigala ng’oli mwetoowaze singa oweebwa enkizo ekusobozesa okuba n’obuyinza ku balala, oba ereetera abalala okumanya by’okola. w24.07 10 ¶8-9
Omutono alifuuka lukumi, era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi. Nze Yakuwa ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.—Is. 60:22.
Okuva mu 1919, Yesu azze akozesa abasajja abatonotono abaafukibwako amafuta okuteekateeka omulimu gw’okubuulira n’okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo. (Luk. 12:42) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa awa omulimu gwe bakola omukisa. (Is. 65:13, 14) Singa twali tetutegekeddwa bulungi, twandibadde tetusobola kutuukiriza mulimu Yesu gwe yatuwa. (Mat. 28:19, 20) Ng’ekyokulabirako, kyandibadde kitya singa buli kibiina kyali tekiweereddwa bitundu bye kibuuliramu nga buli muntu abuulira wonna w’aba ayagadde? Ebitundu ebimu byandibadde bibuulirwamu enfunda n’enfuda, ate ebirala byandibadde biragajjalirwa. Waliwo engeri endala gy’oyinza okulowoozaako gye tuganyulwa olw’okuba tutegekeddwa bulungi? Yesu akyeyongera okuteekateeka abantu ba Katonda leero nga bwe yateekateeka abagoberezi be ng’ali ku nsi. w24.04 8-9 ¶2-4
Bw’onookyusa n’okola ebirungi toddemu n’osiimibwa? Naye bw’otookyuse kukola birungi, ekibi kibwamye ku luggi, era ojja kufugibwa okwegomba kwakyo.—Lub. 4:7.
Kayini ye yali omwana wa Adamu ne Kaawa omubereberye. Okufaananako abaana ba Adamu abalala bonna, naye yasikira ekibi okuva ku bazadde be. Ate era Bayibuli egamba nti: “Ebikolwa bye byali bibi.” (1 Yok. 3:12) Oboolyawo eyo ye nsonga lwaki Yakuwa ‘teyasiima Kayini era n’ekiweebwayo kye.’ Mu kifo kya Kayini okukyusaamu, ‘yasunguwala nnyo era ne yennyamira.’ Kiki Yakuwa kye yakola? Yayogera naye. (Lub. 4:3-7) Weetegereze nti Yakuwa yayogera ne Kayini mu ngeri ey’ekisa n’amugamba nti yandimuwadde emikisa bwe yandikoze ebirungi. Yakuwa era yalabula Kayini ku busungu, obwandimuviiriddeko okukola ekintu ekibi. Eky’ennaku Kayini teyawuliriza. Teyakkiriza Yakuwa kumuyamba kwenenya. Oluvannyuma lwa Kayini okugaana okumuwuliriza, Yakuwa yalekera awo okugezaako okuyamba aboonoonyi abalala okwenenya? Nedda. w24.08 10 ¶8
Weeroboze obulamu olyoke obeere mulamu.—Ma. 30:19.
Abayisirayiri bandibadde n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Yakuwa yandibawadde emikisa ne bawangaalira mu nsi gye yali abasuubizza. Ensi eyo yali nnungi nnyo era ng’ebala emmere! Ng’ayogera ku nsi eyo, Musa yabagamba nti: “Ensi omuli ebibuga ebinene era ebirabika obulungi by’otaazimba, n’ennyumba ezijjude ebintu ebirungi ebya buli ngeri by’otaakolerera, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeyituuni gy’otaasimba.” (Ma. 6:10, 11) Musa era yalabula Abayisirayiri. Okusobola okweyongera okubeera mu nsi eyo ennungi, baalina okugondera ebiragiro bya Yakuwa. Yabakubiriza ‘okweroboza obulamu’ nga bawuliriza Yakuwa era nga ‘bamunywererako.’ (Ma. 30:20) Kyokka Abayisirayiri baajeemera Yakuwa. N’olwekyo, nga wayise ekiseera Yakuwa yaleka Abaasuli n’oluvannyuma Abababulooni okuwamba ensi yaabwe era n’okubatwala mu buwaŋŋanguse.—2 Bassek. 17:6-8, 13, 14; 2 Byom. 36:15-17, 20. w24.11 9 ¶5-6
Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.—Yok. 6:44.
Abantu bangi abeeyita Abakristaayo balowooza nti bajja kulokolebwa bwe bagamba obugambi nti bakkiririza mu Yesu ng’omulokozi waabwe. (Yok. 6:29) Naye ekyo tekimala. Waliwo bangi mu Ggaliraaya abaali bakkiririza mu Yesu naye oluvannyuma ne bamuvaako. Lwaki? Abantu abasinga obungi ku abo Yesu be yaliisa mu ngeri ey’ekyamagero baali bamugoberera lwa kwagala kubawa bye baali baagala. Baali baagala abawonye mu ngeri ey’ekyamagero, abawe emmere ey’obwereere, oba abayigirize ebyo bye baali baagala okuwulira. Naye Yesu yalaga nti waliwo ebirala ebisuubirwa mu bayigirizwa be ab’amazima. Yakyoleka kaati nti teyajja ku nsi kukola bukozi ebyo abantu bye baali baagala. Abantu baalina ‘okujja gy’ali,’ kwe kugamba, nga bamuwuliriza era nga bamugoberera.—Yok. 5:40. w24.12 12 ¶12-13
Abaami mweyongere okwagala bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina.—Bef. 5:25.
Kiki ekiyinza okuyamba omwami okulekera awo okuyisa obubi mukyala we? Asaanidde okufuba okukoppa Yesu. Engeri Yesu gye yayisaamu abayigirizwa be kyakulabirako kirungi abaami kye basaanidde okukoppa bwe kituuka ku ngeri gye balina okuyisaamu bakyala baabwe. Lowooza ku ekyo abasajja kye bayinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abatume be era n’engeri gye yayogerangamu nabo. Yesu yayisanga abatume be mu ngeri ey’ekisa era eraga nti yali abawa ekitiibwa. Teyabakambuwaliranga era teyabakajjalangako. Teyabaleetera kuwulira nti ba wansi ku ye oba okumutya. Mu kifo ky’ekyo, yabaweereza mu bwetoowaze. (Yok. 13:12-17) Yagamba abayigirizwa be nti: “Muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Mat. 11:28-30) Weetegereze nti Yesu yali muteefu. Omuntu omuteefu taba munafu. Mu kifo ky’ekyo, aba wa maanyi kubanga aba asobola okwefuga. Abalala bwe bakola ebintu ebiyinza okumunyiiza, asigala mukkakkamu era yeefuga. w25.01 10 ¶10-11
Buli ky’okola kikwase Yakuwa.—Nge. 16:3.
Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira embeera y’eby’enfuna okweyongera okukaluba. Obutabanguko obujjawo olw’eby’obufuzi, entalo, obutyabaga, oba ebirwadde eby’amaanyi, biyinza okutuviirako okufiirwa omulimu gwaffe, ebintu byaffe, oba amaka gaffe. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri eraga nti twesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira? Ekintu ekisinga obukulu ky’osaanidde okukola kwe kutegeeza Yakuwa ebikweraliikiriza. Musabe akuwe amagezi osobole okusalawo obulungi n’okusigala ng’oli mukkakkamu, oleme “okweraliikirira” ennyo embeera gy’oyitamu. (Luk. 12:29-31) Mwegayirire akuyambe okuba omumativu n’ebyo bye weetaaga mu bulamu. (1 Tim. 6:7, 8) Noonyereza mu bitabo byaffe olabe ekyo ky’osobola okukola ng’oyolekagana n’ebizibu by’ebyenfuna. Bangi bagamba nti baganyuddwa nnyo mu vidiyo n’eby’okusoma ebiri ku mukutu gwaffe, jw.org, ebikwata ku bizibu by’eby’enfuna. w25.03 28-29 ¶10-11
Katonda andaze nti sirina kutwala muntu yenna nti si mulongoofu oba nti si muyonjo.—Bik. 10:28.
Ekiseera kyali kituuse ab’Amawanga okufuuka abaweereza ba Katonda. Katonda yatuma Peetero okubuulira Koluneeriyo, eyandibadde omu ku b’amawanga abandisoose okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Olw’okuba Abayudaaya baali tebakolagana na b’amawanga, tekyewuunyisa nti Peetero yali yeetaaga okuyambibwa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Bwe yategeera endowooza Katonda gye yalina ku b’amawanga, yakyusa endowooza ye. N’olwekyo Koluneeriyo bwe yamutumya agende gy’ali, Peetero ‘teyagaana’ kugenda. (Bik. 10:28, 29) Yabuulira Koluneeriyo n’ab’omu maka ge amawulire amalungi era ne babatizibwa. (Bik. 10:21-23, 34, 35, 44-48) Nga wayise emyaka, Peetero yakubiriza bakkiriza banne ‘okubeera n’endowooza emu.’ (1 Peet. 3:8) Abantu ba Yakuwa tusobola okuba n’endowooza emu singa tukoppa endowooza ya Yakuwa, era nga bwe tusoma Bayibuli tutegeera endowooza ye. w25.03 9-10 ¶7-8
Temutwalirizibwa njigiriza ezitali zimu era ezitali za bulijjo.—Beb. 13:9.
Buli lukya endowooza y’abantu mu nsi n’engeri gye batunuuliramu ebintu yeeyongera kukontana n’engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebintu. (Nge. 17:15) N’olwekyo, kikulu nnyo okutegeera endowooza ezo ez’obulimba n’okuzeewala, era n’obutakkiriza abo abatuziyiza okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. Naffe tusaanidde okufuba okukula mu by’omwoyo ng’omutume Pawulo bwe yakubiriza Abakristaayo Abebbulaniya. Ekyo kitegeeza nti tusaanidde okusoma Bayibuli n’obwegendereza tusobole okweyongera okumanya endowooza ya Yakuwa. Ekyo tulina okweyongera okukikola n’oluvannyuma lw’okwewaayo n’okubatizibwa. Ka tube nga tumaze bbanga ki mu mazima, ffenna tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa. (Zab. 1:2) Okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa kijja kutuyamba okweyongera okukulaakulanya okukkiriza, engeri omutume Pawulo gye yayogerako ennyo mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya.—Beb. 11:1, 6. w24.09 10 ¶7-8
Musemberere Katonda naye anaabasemberera.—Yak. 4:8.
Yakuwa bw’aba owa ddala gye tuli, kitubeerera kyangu okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Ekyo bwe kityo bwe kyali eri Yusufu. Yagaana okukola ekintu eky’obugwenyufu. Katonda yali wa ddala gy’ali, era yali tayagala kumunyiiza. (Lub. 39:9) Yakuwa okusobola okuba owa ddala gye tuli, tulina okufissangawo ebiseera okumusaba n’okusoma Ekigambo kye. Mu ngeri eyo, enkolagana yaffe naye ejja kweyongera okunywera. Okufaananako Yusufu, bwe tunaaba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tujja kwewala okukola ekintu kyonna ekimunyiiza. Abo abeerabira nti Yakuwa ye Katonda omulamu, kiba kyangu gye bali okumuvaako. Lowooza ku ekyo ekyaliwo ng’Abayisirayiri bali mu ddungu. Baali bakimanyi nti Yakuwa gy’ali, naye baatandika okubuusabuusa nti yandibalabiridde. (Kuv. 17:2, 7) Oluvannyuma baamujeemera. Kya lwatu tetwagala kukoppa ekyokulabirako kyabwe ekibi.—Beb. 3:12. w24.06 24 ¶14-15
Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe.—Zab. 34:15.
Tuli wala nnyo mu nnaku ez’enkomerero, era tusuubira nti ebintu ebituleetera okukaaba bijja kweyongera bweyongezi. Yakuwa alaba amaziga ge tukaaba era awulira bubi nnyo nga tuli mu mbeera eyo. Amaziga gaffe ga muwendo gy’ali. N’olwekyo, bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi ennyo, tusaanidde okumusaba ne tumutegeeza engeri gye tuba twewuliramu. Era tetusaanidde kweyawula ku bakkiriza bannaffe mu kibiina. Ate era bwe tusoma Bayibuli tubudaabudibwa. Era tuli bakakafu nti bwe tweyongera okugumiikiriza n’obwesigwa, Yakuwa ajja kutuwa empeera. Empeera eyo ezingiramu ekyo ky’atusuubiza nti ekiseera kijja kutuuka aggyewo amaziga gonna ge tukaaba olw’obulumi, olw’okuliibwamu olukwe, oba olw’okuwulira nti tetulina ssuubi lyonna. (Kub. 21:4) Mu kiseera ekyo tujja kukaaba maziga ga ssanyu gokka. w24.12 20 ¶3; 25 ¶19
“Muli bajulirwa bange,” Yakuwa bw’agamba.—Is. 43:12.
Yakuwa yatuwa omulimu gw’okumuwaako obujulirwa era yatusuubiza okutuyamba okuba abavumu. (Is. 43:10, 11) Lowooza ku bintu bina ebiraga engeri gy’atuyambamu. Ekisooka, buli lwe tubuulira amawulire amalungi, Yesu aba wamu naffe. (Mat. 28:18-20) Eky’okubiri, Yakuwa yassaawo bamalayika okutuyamba. (Kub. 14:6) Eky’okusatu, Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okujjukira ebintu bye tuba twayiga. (Yok. 14:25, 26) Eky’okuna, Yakuwa atuwadde bakkiriza bannaffe okukolera awamu naffe. Olw’okuba Yakuwa atuyamba era nga tukolera wamu ne bakkiriza bannaffe, tulina buli kimu kye twetaaga okusobola okuba abavumu ne tweyongera okubuulira. Naye bw’owulira ng’oweddemu amaanyi olw’obutasanga bantu waka, weebuuze, ‘Abantu b’omu kitundu kino mu kiseera kino bali ludda wa?’ (Bik. 16:13) ‘Bagenze ku mulimu oba bagenze kugula bintu?’ Bwe kiba kityo, osobola okusalawo okubuulira ku luguudo. w24.04 17 ¶10-11
Omuntu bw’aba nga tamanyi ngeri ya kufugamu ba mu maka ge, anaalabirira atya ekibiina kya Katonda?—1 Tim. 3:5.
Bw’oba ng’oli mutwe gw’amaka era ng’oyagala okufuuka omukadde, ab’omu maka go balina okuba nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi. N’olwekyo, olina okuba ‘ng’ofuga bulungi amaka go.’ Ekyo kitegeeza nti olina okuba ng’olabirira ab’omu maka go mu ngeri ey’okwagala era nga by’osalawo bibaganyula. Ekyo kizingiramu okuwoma omutwe mu bintu byonna bye tukola mu kusinza kwaffe. Bw’oba ng’oli taata, olina okuyamba abaana bo abato okuba “abawulize era ab’empisa ennungi.” (1 Tim. 3:4) Olina okubayigiriza n’okubatendeka mu ngeri ey’okwagala. Kya lwatu oyagala abaana bo babe basanyufu era bazannye ng’abaana abalala bwe bakola. Naye olw’okuba obatendeka bulungi, balina okuba abawulize, abassaamu abalala ekitiibwa, era abalina empisa ennungi. Ate era olina okufuba ennyo okubayamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, okukolera ku misingi gya Bayibuli, n’okukulaakulana mu by’omwoyo batuuke okubatizibwa. w24.11 22 ¶10-11
Tewali alina kwagala kusinga kw’oyo awaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.—Yok. 15:13.
Gye tukoma okwenyigira mu buweereza, gye tukoma okukiraba nti Yakuwa atuyamba, era ekyo kituviirako okweyongera okumwesiga. (1 Kol. 3:9) Naye kijjukire nti ebyo by’okola mu buweereza bwo Yakuwa tabigeraageranya n’ebyo abalala bye bakola. Alaba ekyo ekiri mu mutima gwo. Asanyuka nnyo bw’alaba ng’osiima ekirabo kye yatuwa eky’ekinunulo okuviira ddala ku mutima gwo. (1 Sam. 16:7; Mak. 12:41-44) Olw’okuba ekinunulo kyaweebwayo, tusonyiyibwa ebibi byaffe, tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa, era tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ka bulijjo tukiragenga nti tusiima okwagala kwa Yakuwa okwamuleetera okutuwa emikisa egyo. (1 Yok. 4:19) Ate era ka tukiragenga nti tusiima nnyo Yesu eyatwagala ennyo n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe! w25.01 31 ¶16-18
Nnabanga mweraliikirivu okuzibya obudde.—Zab. 73:14.
Lowooza ku ngeri omuwandiisi wa Zabbuli 73 gye yawuliramu. Yalaba abalala nga balinga abali mu bulamu obulungi era obutaliimu kyeraliikiriza kyonna. (Zab. 73:3-5, 12) Bwe yalaba obulamu bwe baalimu, kyamuleetera okulowooza nti yali atawaanidde bwereere okuweereza Yakuwa. Endowooza eyo emalamu amaanyi yamuleetera okuba ‘omweraliikirivu okuzibya obudde.’ (Zab. 73:13, 14) Kiki kye yakolawo? Omuwandiisi wa zabbuli oyo yagenda mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu. (Zab. 73:16-18) Ng’ali eyo, yasobola okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Yakiraba nti wadde ng’abamu baali balabika ng’abali obulungi, tebaalina ssuubi lya mu biseera bya mu maaso. Ng’ekyo amaze okukitegeera yafuna emirembe, ng’akimanyi nti okukulembeza Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi omuntu ky’asaanidde okusalawo. N’ekyavaamu, yaddamu okuba omumalirivu okweyongera okuweereza Yakuwa.—Zab. 73:23-28. w24.10 27 ¶11-12
Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.—Zab. 83:18.
Yakuwa yatusembeza gy’ali tube ‘abajulirwa’ be. (Is. 43:10-12) Emyaka mingi emabega, ebbaluwa okuva eri Akakiiko Akafuzi yagamba nti: “Enkizo esinga zonna gye tulina kwe kuba nti tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.” Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku kyokulabirako kino. Bw’oba nga weetaaga omuntu ow’okutwala mu kkooti okukuwaako obujulizi, wandironze omuntu gw’omanyi obulungi, gwe weesiga, amanyiddwa nti muntu mulungi, era abalala gwe basobola okwesiga. Yakuwa okutulonda okuba abajulirwa be akiraga nti atumanyi bulungi era nti atwesiga okumuwaako obujulirwa nti ye Katonda omu ow’amazima. Tugitwala nga nkizo ya maanyi okuba abajulirwa be ne kiba nti tukozesa buli kakisa ke tufuna okumanyisa abalala erinnya lye era n’okwanika obulimba obumwogerwako. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tutuukana n’erinnya lyaffe, Abajulirwa ba Yakuwa, erinnya lye twenyumiririzaamu ennyo!—Bar. 10:13-15. w24.05 18 ¶13
N’awonya bonna abaali balumizibwa.—Mat. 8:16.
Okuweereza abalala kwaleetera Yesu essanyu lingi. Yesu teyakoma ku kuyigiriza bantu abo, wabula yakola ne ku by’etaago byabwe eby’omubiri. Yabafunira emmere mu ngeri ey’ekyamagero era n’agamba abayigirizwa be bagibagabire. (Mak. 6:41) Mu kukola bw’atyo, yayigiriza abayigirizwa be engeri y’okuweerezaamu abalala. Ate era yabalaga nti emirimu ng’egyo gya muganyulo nnyo. Lowooza ku ssanyu abatume lye baafuna mu kukolera awamu ne Yesu ne bagabira abantu abo emmere “bonna ne balya ne bakkuta”! (Mak. 6:42) Kya lwatu nti ogwo si gwe mulundi gwokka Yesu lwe yakulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Obulamu bwe bwonna ku nsi yabukozesa okuweereza abalala. (Mat. 4:23) Yesu yafuna essanyu lingi n’obumativu mu kuyigiriza abalala n’okukola ku byetaago byabwe. w24.11 16 ¶10-11
Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.—2 Tim. 3:1.
Ng’embeera mu ‘nnaku zino ez’enkomerero’ egenda yeeyongera obuzibu, kijja kutwetaagisa nnyo okuyambagana. Ate era tusobola okubudaabuda n’okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Engeri emu ekyo gye tuyinza okukikolamu kwe kunyumyako nabo nga bazze mu nkuŋŋaana. N’olwekyo bakkiriza bannaffe bwe bajja mu nkuŋŋaana, twagala okukola kyonna kye tusobola okubalaga okwagala, okubazzaamu amaanyi, n’okubaleetera okuwulira nti balina obukuumi. Abakadde bayinza okuba ng’ekiddukiro eri bakkiriza bannaabwe aboolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Akatyabaga bwe kagwawo oba bwe wabaawo abeetaaga obujjanjabi obw’amangu, abakadde basitukiramu okubayamba. Ate era babayamba ne mu by’omwoyo. Ab’oluganda ne bannyinaffe banguyirwa okutuukirira omukadde ow’ekisa, alumirirwa abalala, era omwetegefu okubawuliriza. Engeri ezo zireetera abalala okuwulira nti bafiibwako, era kibanguyira okukolera ku bulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli omukadde bw’ayinza okubawa.—1 Bas. 2:7, 8, 11. w24.06 29 ¶12-13
Teyalemwa kuwaayo Mwana we ku lwaffe ffenna.—Bar. 8:32.
Tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba Katonda ye muyinza w’ebintu byonna, talina nneewulira. Olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kye, nga tulina enneewulira, naye ateekwa okuba ng’alina enneewulira. Bayibuli eraga nti ‘anakuwala.’ (Zab. 78:40, 41) Yakuwa ateekwa okuba nga yawulira obulumi bungi nnyo n’okusingawo bwe yalaba Omwana we ng’atulugunyizibwa era oluvannyuma n’attibwa abantu abatatya Katonda. Ekinunulo kituyamba okukimanya nti tewali n’omu atwagala kusinga Yakuwa, ka babe ab’eŋŋanda zaffe be tusingayo okwagala oba mikwano gyaffe. (Bar. 8:32, 38, 39) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa atwagala nnyo n’okusinga ffe bwe tweyagala. Oyagala okubaawo emirembe gyonna? Yakuwa y’asinga okwagala obeewo emirembe gyonna. Oyagala okusonyiyibwa ebibi byo? Yakuwa y’asinga okwagala okukusonyiwa. Ekintu kyokka ky’atwetaagisa okukola kwe kusiima ekirabo ekyo kye yatuwa, nga tuba n’okukkiriza era nga tumugondera. Mazima ddala ekinunulo kirabo kya muwendo nnyo ekyoleka okwagala kwa Yakuwa.—Mub. 3:11. w25.01 22-23 ¶8-9
Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.—Bef. 5:10.
Kya lwatu, ffenna oluusi tusalawo nga tusinziira ku ebyo bye tulaba, bye tuwulira, oba engeri gye twewuliramu. Naye ebyo bye tulaba oba bye tuwulira, ebiseera ebimu biyinza obutaba bituufu. Naye ne bwe biba ebituufu, singa tusalawo nga tusinziira ku ebyo byokka, tuyinza okukola ekintu Katonda ky’atayagala. (Mub. 11:9; Mat. 24:37-39) Naye bwe tuba nga twesiga Yakuwa, ebyo bye tusalawo biba ‘bikkirizibwa Mukama waffe.’ Bwe tukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa, tuba n’emirembe era tuba basanyufu. (Zab. 16:8, 9; Is. 48:17, 18) Ate era bwe tweyongera okukolera ku bulagirizi obwo, tujja kufuna obulamu obutaggwaawo. (2 Kol. 4:18) Tuyinza tutya okumanya obanga tutambula lwa kukkiriza oba lwa kulaba? Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: Nsinziira ku ki bwe mba nga nnina bye nsalawo? Nsinziira ku ebyo byokka bye ndaba? Oba nsinziira ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa? w25.03 20-21 ¶3-4
Buli muntu abeere mu mirembe ne munne.—1 Bas. 5:13.
Buli omu ku ffe alina ky’asobola okukolawo okusikiriza abalala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo. Ekyo tusobola okukikola nga tukoppa Yakuwa. Yakuwa tawaliriza bantu kujja mu kibiina kye. Mu kifo ky’ekyo, abasembeza mpolampola gy’ali. (Yok. 6:44; Yer. 31:3) Abantu ab’emitima emirungi abayiga ebikwata ku ngeri za Yakuwa, bakwatibwako nnyo ne bajja gy’ali. Tuyinza tutya okusikiriza abantu okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo? Engeri emu gye tuyinza okubasikirizaamu, kwe kuyisa bakkiriza bannaffe mu ngeri ey’okwagala era ey’ekisa. Abapya bwe bajja mu nkuŋŋaana zaffe, twagala bawulire ng’abapya abaagenda mu nkuŋŋaana z’omu kibiina ky’e Kkolinso eky’edda bwe bayinza okuba nga baawulira. Bayinza okuba nga baagamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.” (1 Kol. 14:24, 25; Zek. 8:23) N’olwekyo, tulina okweyongera okukolera ku kubuulira okuli mu kyawandiikibwa kya leero. w24.04 23-24 ¶16-17

