Luganda
Febwali
/assets/ct/fa815d8e9f/images/syn_placeholder_sqr.png
es26 lup. 17-26

Febwali

Ssande, Febwali 1

Febwali

Kya kitiibwa omuntu okwewala enkaayana, Naye buli muntu omusirusiru ajja kuzeeyingizaamu.—Nge. 20:3.

Ab’oluganda abakulaakulanyizza engeri ez’Ekikristaayo baba ba mugaso nnyo eri ekibiina. Omusajja atali mukakanyavu aba wa mirembe era ayamba n’abalala okuba mu mirembe. Bw’oba ng’oyagala okumanyibwa ng’omuntu atali mukakanyavu, wuliriza abalala era fuba okutegeera endowooza yaabwe. Bwe muba mu lukuŋŋaana, oba mwetegefu okuwagira ekyo abasinga obungi kye baba basazeewo kasita waba nga tewaliiwo musingi gwa Bayibuli gumenyeddwa? Towaliriza balala kukola bintu nga ggwe bw’oyagala. Kitwale nti kikulu okuwuliriza amagezi abalala ge bawa. (Lub. 13:​8, 9; Nge. 15:22) Mu kifo ky’okubeera omuntu atawa balala kitiibwa oba awakana nabo, bayise mu ngeri ey’ekisa. Olw’okuba oli muntu wa mirembe, obaako ky’okolawo okuleetawo emirembe ne mu mbeera etali nnyangu. (Yak. 3:​17, 18) Ebigambo eby’ekisa by’oyogera bisobola okuyamba abantu okukkakkana, omuli n’abo abavumirira bye tukkiririzaamu.—Balam. 8:​1-3; Nge. 25:15; Mat. 5:​23, 24. w24.11 23 ¶13

Alituma bamalayika era balikuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya, okuva ku nkomerero y’ensi okutuuka ku nkomerero y’eggulu.—Mak. 13:27.

Wadde nga Yesu yafa “omulundi gumu,” akyatukolera ebintu bingi. (Bar. 6:10) Mu ngeri ki? Akyeyongera okukola n’obunyiikivu okutuwa ebintu ebirungi bye tufuna okuyitira mu kinunulo. Lowooza ku ebyo by’akola. Akola nga Kabaka waffe, Kabona Asinga Obukulu, era Omutwe gw’Ekibiina. (1 Kol. 15:25; Bef. 5:23; Beb. 2:17) Y’awomye omutwe mu mulimu gw’okukuŋŋaanya abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene, era ng’omulimu ogwo gujja kumalirizibwa ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okukoma. (Mat. 25:32) Ate era afuba okukakasa nti abaweereza be abeesigwa baliisibwa bulungi mu by’omwoyo mu nnaku zino ez’enkomerero. (Mat. 24:45) Era mu kiseera kyonna eky’Obufuzi Bwe obw’Emyaka Olukumi, ajja kweyongera okutukolera ebintu ebirungi. Mazima ddala Yakuwa yawaayo Omwana we ku lwaffe! w25.01 24 ¶12

Baaweebwa buwa ekirabo eky’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso era baasumululwa ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.—Bar. 3:24.

Yakuwa bw’atusonyiwa, aba atusonyiyidde ddala. Ekyo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa okutusonyiwa kiba kirabo. Ekirabo ekyo akituwa ffe abantu abatatuukiridde olw’okuba atwagala era atulaga ekisa eky’ensusso, so si lwa kuba nti tugwanidde okukifuna. Mazima ddala ffenna tusiima nnyo Yakuwa Katonda ‘olw’okutusonyiyira ddala’! (Zab. 130:4; Bar. 4:8) Kyokka, okusobola okusonyiyibwa, waliwo ekintu ekikulu kye tulina okukola. Yesu yagamba nti: ‘Bwe mutasonyiwa balala, ne Kitammwe ali mu ggulu tajja kubasonyiwa nsobi zammwe.’ (Mat. 6:​14, 15) N’olwekyo, kikulu nnyo ffe okukoppa Yakuwa naffe ne tuba nga tusonyiwa abalala. w25.02 13 ¶18-19

Wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.—Bik. 24:15.

Lowooza ku bantu b’omu Sodomu ne Ggomola. Lutti, omusajja eyali omutuukirivu, yali abeera mu bantu abo. Naye tetumanyi obanga yabuulira abantu abo bonna. Kyo kituufu nti abantu abo baali babi, naye bonna baali bamanyi ekituufu n’ekikyamu? Kijjukire nti abasajja b’omu kibuga ekyo baali baagala okukwata abagenyi abaali bakyalidde Lutti. Bayibuli eraga nti abasajja bonna mu kibuga ekyo “okuva ku mulenzi okutuuka ku musajja omukadde” be baali baagala okukola ekyo. (Lub. 19:4; 2 Peet. 2:7) Ddala tumanyi obanga Yakuwa Katonda omusaasizi yasalira buli omu ku basajja abo ekibonerezo eky’okufa awatali ssuubi lya kuzuukira? Yakuwa yagamba Ibulayimu nti mu kibuga ekyo mwali temuweramu bantu kkumi abatuukirivu. (Lub. 18:32) N’olwekyo, abantu abo tebaali batuukirivu era Yakuwa yali mutuufu okubazikiriza. Ddala tuli bakakafu nti tewali n’omu ku bantu abo ajja kuzuukizibwa mu ‘kuzuukira kw’abatali batuukirivu’? Nedda. w24.05 2 ¶3; 3 ¶8

Musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebyo ebirala byonna biribongerwako.—Mat. 6:33.

Olw’embeera y’eby’enfuna ekyukakyuka, abamu bakkirizza okukola emirimu egibeetaagisa okugenda mu bitundu ebiri ewala okuva awali ab’omu maka gaabwe, naye bangi oluvannyuma bakizudde nti ekyo kye baba baasalawo tekyali kya magezi. Bwe wabaawo omulimu gw’oweereddwa, tolowooza ku kya ssente mmeka z’onoofuna kyokka, naye okusingira ddala lowooza ku ngeri omulimu ogwo gye gunaakwata ku nkolagana yo ne Yakuwa awamu n’ab’omu maka go. (Luk. 14:28) Weebuuze: ‘Kiki ekinaatuuka ku bufumbo bwaffe bwe nnaaba nga nkolera mu kitundu eky’ewala? Nnaasobola okubangawo mu nkuŋŋaana, mu kubuulira, n’okubaako awamu ne bakkiriza bannange?’ Bw’oba olina abaana, era osaanidde okwebuuza ekibuuzo kino ekikulu: ‘Nnaasobola ntya okukuliza abaana bange “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa” nga sibeera nabo?’ (Bef. 6:4) Bw’oba ng’osalawo ku nsonga eyo, kolera ku ndowooza ya Yakuwa so si ku ndowooza z’ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo abatassa kitiibwa mu misingi gya Bayibuli. w25.03 29 ¶12

Ka tuleme kuba nate baana bato.—Bef. 4:14.

Omukristaayo aba akonye mu by’omwoyo atwalirizibwa mangu ‘obukuusa bw’abantu n’endowooza ez’obulimba.’ Kiba kyangu gy’ali okutwalirizibwa endowooza za bakyewaggula n’ebintu ebirala eby’obulimba ebiba ku mikutu gy’eby’empuliziganya. Ate era kyangu omuntu oyo okukwatirwa abalala obuggya, okufuna obutategeeragana n’abalala, okunyiiga amangu, n’okukola ekibi ng’akemeddwa. (1 Kol. 3:3) Mu Byawandiikibwa, okukula mu by’omwoyo kugeraageranyizibwa ku kukula kw’omwana. (Bef. 4:15) Waliwo ebintu bingi omwana by’aba tamanyi, n’olwekyo aba yeetaaga okumuwa obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, maama bw’aba n’omwana we nga basala oluguudo amukwata ku mukono. Omwana oyo bw’agenda akula, maama we ayinza okumukkiriza okutandika okwesaza yekka oluguudo, naye era n’amujjukiza okutunula eruuyi n’eruuyi nga tannasala. Omwana oyo bw’akula, aba amanyi eky’okukola ng’asala oluguudo. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bwe babaako kye baagala okusalawo, bafumiitiriza ku misingi gya Bayibuli okusobola okumanya endowooza ya Yakuwa era ne bakolera ku ekyo Bayibuli ky’egamba. w24.04 3 ¶5-6

Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo?—Zab. 15:1.

Okumala ekiseera, mikwano gya Yakuwa baali abo bokka be yali abeera nabo mu ggulu. Oluvannyuma yatonda abantu era nabo yali agenda kubakyaza babe abagenyi be. Abamu ku bantu abaali abagenyi mu weema ya Yakuwa mwe muli Enoka, Nuuwa, Ibulayimu, ne Yobu. Bayibuli eraga nti abantu abo baali mikwano gya Yakuwa era baatambula ne “Katonda ow’amazima.” (Lub. 5:24; 6:9; Yob. 29:4; Is. 41:8) Ebyasa bwe byagenda biyitawo, Yakuwa yeeyongera okukyaza mikwano gye mu weema ye. (Ezk. 37:​26, 27) Ng’ekyokulabirako, obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga nti Katonda ayagala abaweereza be abeesigwa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Yasuubiza okukola “nabo endagaano ey’emirembe.” Obunnabbi obwo bwali busonga ku kiseera abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi lwe bandibadde awamu mu weema ya Yakuwa ey’akabonero nga bali “ekisibo kimu.” (Yok. 10:16) Ekiseera ekyo kye tulimu kati! w24.06 2 ¶2, 4; 3 ¶5

Katonda waffe yatusobozesa okuba abavumu.—1 Bas. 2:2.

Abantu ba Yakuwa tuwagira Obwakabaka bwa Katonda n’omutima gwaffe gwonna, naye emirundi mingi ekyo kitwetaagisa okuba abavumu. (Mat. 6:33) Ng’ekyokulabirako, mu nsi eno embi kitwetaagisa okuba bavumu okutambulira ku mitindo gya Katonda n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Era emirundi mingi kitwetaagisa okuba abavumu okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi eno eyeeyongedde okweyawulayawulamu. (Yok. 18:36) Bangi ku bantu ba Yakuwa balina obuzibu bw’eby’enfuna, bakubiddwa, oba basibiddwa mu makomera olw’okugaana okwenyigira mu by’obufuzi oba okuyingira amagye. Bwe twekenneenya ekyokulabirako ky’abo aboolese obuvumu mu kuwagira obufuzi bwa Yakuwa, naffe kituyamba okuba abavumu. Kabaka waffe, Kristo Yesu, bwe yali ku nsi yagaanira ddala okubaako oludda lw’awagira mu by’obufuzi by’ensi ya Sitaani eno embi. (Mat. 4:​8-11; Yok. 6:​14, 15) Bulijjo yeesiganga Yakuwa okumuwa amaanyi. w24.07 3 ¶4; 4 ¶7

Bw’atyo n’anoga ku bibala byagwo n’alya. Oluvannyuma bwe yali n’omwami we n’amuwaako naye n’alya.—Lub. 3:6.

Ebyo ebyaliwo Yakuwa yabiwandiisa mu Bayibuli tusobole okubiganyulwamu. Bituyamba okutegeera ensonga lwaki akyayira ddala ekibi. Ekibi kyonoona enkolagana yaffe ne Kitaffe, era kituviirako okufa. (Is. 59:2) Sitaani tayagalira ddala Yakuwa era tayagala bantu. Eyo ye nsonga lwaki yakema Adamu ne Kaawa okwonoona, era akyeyongera okukema abantu leero. Adamu ne Kaawa bwe baamuwuliriza, ayinza okuba nga yalowooza nti yali alemesezza ekigendererwa kya Yakuwa okutuukirira. Naye yali takimanyi nti Yakuwa alina okwagala kungi nnyo. Katonda takyusanga kigendererwa kye yalina eri bazzukulu ba Adamu ne Kaawa. Olw’okuba ayagala nnyo abantu, mangu ddala yabaako ky’akolawo okubawa essuubi. (Bar. 8:​20, 21) Yakuwa yali akimanyi nti abamu ku bantu bandibadde basalawo okumwagala n’okumugondera. Era olw’okuba ye Kitaabwe era Omutonzi waabwe, yandibadde abasobozesa okumusemberera basobole okununulwa okuva mu kibi n’okufa. w24.08 3 ¶3-4

Mumanye ebintu ebisinga obukulu.—Baf. 1:10.

Abaweereza ba Yakuwa abasinga obungi balina eby’okukola bingi nnyo. Tukola emirimu egituyamba okweyimirizaawo awamu n’ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Abakristaayo bangi balabirira ab’eŋŋanda zaabwe abalwadde oba abakaddiye. Ate era ffenna tulina okufaayo ku bulamu bwaffe, era ekyo kyetaagisa ebiseera. Ng’oggyeeko ebyo, waliwo n’obuvunaanyizibwa bwe tulina okutuukiriza mu kibiina. Obumu ku buvunaanyizibwa obukulu ennyo bwe tulina okutuukiriza kwe kubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Okusoma Bayibuli kye kimu ku ‘bintu ebisinga obukulu’ Abakristaayo bye tulina okukola. Zabbuli esooka eyogera bw’eti ku muntu omusanyufu: “Amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro.” (Zab. 1:​1, 2) Ekyo kiraga nti tusaanidde okussaawo ekiseera okusoma Bayibuli. Kiseera ki ekisinga obulungi eky’okusomeramu Bayibuli? Buli omu alina ekiseera ekimwanguyira. Ekikulu kwe kuba nti tulonda ekiseera ekinaatusobozesa okusoma Bayibuli obutayosa. w24.09 3 ¶5-6

Buli omu ajja kwetikka obuvunaanyizibwa bwe.—Bag. 6:5.

Omukristaayo akuze mu by’omwoyo yeetaaga abalala okumuwa magezi? Yee. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo oluusi nabo beetaaga okusaba obuyambi. Omukristaayo omuto mu by’omwoyo ayinza okusuubira abalala okumubuulira eky’okukola oba okumusalirawo ku kintu ye kennyini ky’alina okwesalirawo. Ku luuyi olulala, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo abaako ky’ayigira ku magezi abalala ge bamuwa ne ku byokulabirako by’abalala naye ng’akimanyi nti Yakuwa amusuubira ‘okwetikka obuvunaanyizibwa bwe.’ Abantu abakulu baawukana mu ndabika. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo baawukana mu ngeri gye boolekamu engeri gamba ng’amagezi, obuvumu, omwoyo omugabi, n’okulumirirwa abalala. Ate era Abakristaayo babiri abakulu mu by’omwoyo bwe baabaako ekintu kye kimu kye balina okusalawo, bayinza okusalawo mu ngeri za njawulo naye nga tezikontana na Byawandiikibwa. Ekyo kiri kityo naddala ku bintu buli omu by’alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. N’olwekyo, beewala okusalira abalala omusango naddala ku bintu ng’ebyo. Mu kifo kyekyo, bafuba okulaba nga bakuuma obumu.—Bar. 14:10; 1 Kol. 1:10. w24.04 4 ¶7-8

Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.—Zab. 94:19.

Kiki ky’osaanidde okukola singa owulira nti tolina mugaso? Soma ebyawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa akutwala ng’oli wa muwendo era obifumiitirizeeko. Bw’oba ng’olina ekiruubirirwa ky’oyagala okutuukako, oba ng’owulira oweddemu amaanyi olw’okuba tokyasobola kukola bingi ng’abalala, teweesalira musango. Yakuwa takusuubiramu ky’otosobola. (Zab. 103:​13, 14) Bwe kiba nti waliwo eyayogera oba eyakola ebintu ebyakulumya, teweesalira musango olw’ebyo omuntu oyo bye yakukola. Wali togwanidde kuyisibwa bw’otyo! Kijjukire nti abo abakola ebintu ebikyamu Yakuwa b’avunaana so si abo abakoleddwako ebintu ebyo. (1 Peet. 3:12) Bulijjo kijjukirenga nti Yakuwa asobola okukukozesa okuyamba abalala. Akuwadde enkizo ey’okukolera awamu naye mu mulimu gw’okubuulira. (1 Kol. 3:9) Ebyo bye wayitamu biyinza okuba nga bikuleetedde okulumirirwa abalala oboolyawo n’okumanya engeri gye baba bawuliramu. Waliwo bingi by’osobola okukola okubayamba. w24.10 7-8 ¶6-7

Katonda talifaayo okulaba nti obwenkanya bubaawo eri abalonde be abamukaabirira emisana n’ekiro, era n’aba mugumiikiriza gye bali? Mazima mbagamba nti, alikakasa nti balagibwa obwenkanya mu bwangu.—Luk. 18:​7, 8.

Yakuwa ayagala tuyisibwe bulungi era bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya alaba. “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zab. 37:28) Yesu yagamba nti mu kiseera ekituufu Yakuwa “alikakasa nti [abantu be] balagibwa obwenkanya mu bwangu.” Era mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okubonaabona era ajja kuggyawo obutali bwenkanya bwonna. (Zab. 72:​1, 2) Nga tulindirira ekiseera Yakuwa lw’ajja okuggyawo ebizibu byonna, mu kiseera kino atuyamba okugumira obutali bwenkanya bwonna. (2 Peet. 3:13) Atuyigiriza engeri gye tuyinza okwewala okukola ebintu ebitali bya magezi nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Okuyitira mu kyokulabirako ekirungi Omwana we kye yassaawo, Yakuwa atuyigiriza engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Era atuwa amagezi amalungi ge tulina okukolerako. w24.11 2-3 ¶3-4

Mmwe mubawe eky’okulya.—Mat. 14:16.

Ekyo Yesu kye yagamba abatume be okukola kyali kizibu kubanga waaliwo abasajja nga 5,000. Era bw’oba ng’obaliddeko abakazi n’abaana, wayinza okuba nga waaliwo abantu nga 15,000 abaali beetaaga eky’okulya. (Mat. 14:21) Andereya yagamba nti: “Wano waliwo omulenzi alina emigaati gya ssayiri etaano n’obwennyanja bubiri. Naye bino binaagasa ki ku bantu abangi bwe bati?” (Yok. 6:9) Emigaati gya ssayiri gy’ateranga okuliibwa abantu, era ebyennyanja ebyo biyinza okuba nga byali byassibwamu omunnyo ne bikazibwa. Naye ebyennyanja ebyo n’emigaati omulenzi oyo bye yalina byali tebisobola kumala bantu abo. Olw’okuba Yesu yali ayagala okukolera abantu abo ekintu ekirungi, yabalagira batuule wansi ku muddo nga bali mu bibinja. (Mak. 6:​39, 40; Yok. 6:​11-13) Bayibuli eraga nti oluvannyuma Yesu yasaba nga yeebaza Kitaawe olw’emigaati egyo n’ebyennyanja. Kyali kituukirawo okwebaza Katonda kubanga ye yali abasobozesezza okufuna eky’okulya ekyo. Kikulu naffe okukoppa Yesu ne tusaba nga tugenda okulya. Oluvannyuma Yesu yalagira abatume be okugabira abantu emmere eyo, era bonna baalya ne bakkuta. w24.12 2-3 ¶3-4

Mutendereze Yakuwa Katonda wammwe.—1 Byom. 29:20.

Yesu bwe yali ku nsi, yagulumiza Kitaawe ng’ayamba abalala okukitegeera nti ye yamusobozesanga okukola ebyamagero bye yakolanga. (Mak. 5:​18-20) Ate era Yesu yagulumiza Yakuwa okuyitira mu ebyo bye yamwogerangako era n’engeri gye yayisangamu abalala. Lumu bwe yali ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, mu abo abaali bamuwuliriza mwalimu omukazi eyali amaze emyaka 18 ng’atawaanyizibwa dayimooni. Dayimooni yali emuleetedde okwewetamu nga tasobola kuyimirira busimba. Embeera ye yali mbi nnyo. Olw’okuba Yesu yasaasira omukyala oyo, yamutuukirira n’amugamba mu ngeri ey’ekisa nti: “Osumuluddwa okuva mu bulwadde bwo.” Oluvannyuma yamussaako emikono, era amangu ago mukazi oyo yayimirira busimba “n’atandika okugulumiza Katonda” olw’okumuwonya! (Luk. 13:​10-13) Mazima ddala omukazi oyo yalina ensonga ennungi kw’asinziira okuwa Yakuwa ekitiibwa, era naffe tusaanidde okukola kye kimu. w25.01 2-3 ¶3-4

Tusonyiwe ebibi byaffe.—Luk. 11:4.

Ku lwaffe tetusobola kuzzaawo ebyo byonna Adamu ne Kaawa bye baatufiiriza. (Zab. 49:​7-9) Singa tetwayambibwa, tetwandibadde na ssuubi lya kubaawo mirembe gyonna oba ery’okuzuukira. Okufaananako ensolo, bwe twandifudde tetwandibadde na ssuubi lyonna lya kuddamu kuba balamu. (Mub. 3:19; 2 Peet. 2:12) Yakuwa Kitaffe atwagala ennyo, yatuwa ekirabo ekisasulira ekibi kye twasikira ku Adamu. Ekirabo ekyo Yesu yakyogerako bw’ati: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Ate era, ekirabo ekyo kitusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Tusobola okuganyulwa mu kirabo kino eky’omuwendo ne tusonyiyibwa ebibi byaffe, oba “amabanja” gaffe. w25.02 3 ¶3-6

[Sawulo] n’asituka n’abatizibwa.—Bik. 9:18.

Kiki ekyayamba Sawulo Okubatizibwa? Oluvannyuma lwa Yesu okulabikira Sawulo, Sawulo yaziba amaaso. (Bik. 9:​3-9) Yamala ennaku ssatu nga talina ky’alya, era ateekwa okuba nga mu kiseera ekyo yali afumiitiriza ku ebyo ebyali bimutuuseeko. Sawulo yakitegeera nti Yesu ye Masiya era nti abagoberezi be baali basinza Katonda mu ngeri entuufu. Tulina bye tusobola okuyigira ku Sawulo. Yandibadde akkiriza amalala oba okutya abantu okumulemesa okubatizibwa. Naye ekyo teyakikola. Yali mwetegefu okufuuka Omukristaayo wadde nga yali akimanyi nti yali ajja kuyigganyizibwa. (Bik. 9:​15, 16; 20:​22, 23) Oluvannyuma lw’okubatizibwa, yeeyongera okwesiga Yakuwa okumuyamba okugumira ebizibu ebitali bimu. (2 Kol. 4:​7-10) Bw’onoobatizibwa n’ofuuka Omujulirwa wa Yakuwa, okukkiriza kwo kuyinza okugezesebwa oba oyinza okufuna ebizibu ebitali bimu. Naye ba mukakafu nti Katonda ne Kristo bajja kukuwa obuyambi bwe weetaaga okusobola okugumiikiriza n’okusigala ng’oli mwesigwa.—Baf. 4:13. w25.03 4 ¶8-9

Sidduka ng’atamanyi gye ndaga.—1 Kol. 9:26.

Kirungi nnyo okweteerawo ekiruubirirwa eky’okusomanga Bayibuli. Naye bw’oba ow’okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo by’osoma, osaanidde okukola ekisingawo ku kugisoma obusomi. Lowooza ku kino: Ebimera byetaaga enkuba okusobola okukula obulungi. Naye enkuba ennyingi bw’etonnya mu kiseera kitono, ettaka liyinza okubaamu amazzi mangi. Enkuba bwe yeeyongera okutonnya, eba tegasa kubanga amazzi gaba tegagenda mu ttaka era ebimera tebigaganyulwamu. Kiba kirungi enkuba okutonnya empolampola kubanga awo amazzi gaba gagenda mu ttaka ne gayamba ebimera okukula. Mu ngeri y’emu, tusaanidde okwewala okusoma Bayibuli nga twanguyiriza ne tulema okufumiitiriza, okujjukira, n’okukolera ku ebyo bye tuba tusoma. (Yak. 1:24) Oluusi weesanga ng’osoma Bayibuli ng’oyanguyiriza? Bwe kiba kityo, kiki ky’osaanidde okukola? Kendeeza ku sipiidi. Fuba okufumiitiriza ku ebyo by’osoma oba ebyo bye waakamala okusoma. Osobola okusalawo okwongera ku kiseera ky’omala nga weesomesa osobole okufuna obudde okufumiitiriza. w24.09 4 ¶7-9

Muwulirenga abo ababakulembera.—Beb. 13:17.

Abakadde bwe baweebwa obulagirizi, basaanidde okubusoma n’obwegendereza era ne bafuba okubukolerako. Ng’oggyeeko okuba nti baweebwa obulagirizi obukwata ku ngeri y’okukubirizaamu enkuŋŋaana n’okukulemberamu ekibiina mu kusaba, era baweebwa n’obulagirizi obukwata ku ngeri y’okulabiriramu endiga za Kristo. Abakadde abakolera ku bulagirizi obubaweebwa, bayamba ab’oluganda mu bibiina okuwulira nti baagalibwa era nti balina obukuumi. Bwe tufuna obulagirizi okuva eri abakadde, tusaanidde okuba abeetegefu okubukolerako. Bwe tubukolerako, tukifuula kyangu gye bali okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Bayibuli etukubiriza okuba abawulize era n’okugondera abo abatwala obukulembeze. (Beb. 13:​7, 17) Naye oluusi ekyo tekiba kyangu. Lwaki? Kubanga abakadde tebatuukiridde. Bwe tussa ebirowoozo ku ngeri zaabwe embi mu kifo ky’okubissa ku ngeri zaabwe ennungi, tuba tuyambako abalabe baffe. Mu ngeri ki? Abalabe baffe baagala tulowooze bubi ku kibiina kya Yakuwa era tulekere awo okukyesiga. w24.04 10 ¶11-12

Alyawulamu abantu.—Mat. 25:32.

Abo bonna abanaafa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene tebajja kuzuukira? Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti abo abawakanya Yakuwa, era Yakuwa b’ajja okuzikiriza ku Amagedoni ng’akozesa eggye lye, tebajja kuzuukira. (2 Bas. 1:​6-10) Kati ate bo abantu abalala abayinza okufa mu kiseera ekyo olw’obulwadde, olw’okukaddiwa, olw’obubenje, oba olw’okuttibwa bantu bannaabwe? (Mub. 9:11; Zek. 14:13) Kyandiba nti abamu ku bantu abo bajja kubalirwa mu “batali batuukirivu” abanaazuukizibwa mu nsi empya? (Bik. 24:15) Tetumanyi. Naye waliwo ebintu ebiwerako bye tumanyi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti ku Amagedoni abantu bajja kulamulwa okusinziira ku ngeri gye banaaba bayisizzaamu baganda ba Kristo. (Mat. 25:40) Abo abanaalamulwa nti ndiga bajja kuba baawagira Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne Kristo.—Kub. 12:17. w24.05 10-11 ¶9-11

Yakuwa mulamu! Olwazi lwange lutenderezebwe! Katonda ow’obulokozi bwange agulumizibwe.—Zab. 18:46.

Bayibuli eraga nti ‘ebiseera bye tulimu bizibu nnyo.’ (2 Tim. 3:1) Ng’oggyeeko ebizibu abantu bonna bye bafuna mu nteekateeka y’ebintu eno, abantu ba Yakuwa boolekagana n’okuziyizibwa awamu n’okuyigganyizibwa. Kiki ekituyamba okweyongera okusinza Yakuwa wadde nga twolekagana n’ebizibu ebyo? Ekintu ekikulu ekituyamba kiri nti tukimanyi nti Yakuwa “ye Katonda omulamu.” (Yer. 10:10; 2 Tim. 1:12) Yakuwa wa ddala era bulijjo aba mwetegefu okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. (2 Byom. 16:9; Zab. 23:4) Bwe tukijjukira nti Yakuwa ye Katonda omulamu, kisobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna kye twolekagana nakyo. w24.06 20 ¶1-2

Ekkubo ly’abatuukirivu liringa ekitangaala ekibaawo ng’obudde bwakakya, ekigenda kyeyongerayongera okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.—Nge. 4:18.

Tulina okweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa. Bwe wabaawo enkyukakyuka ezeetaagisa okukolebwa mu ngeri gye tutegeeramu agamu ku mazima agali mu Bayibuli oba mu ngeri omulimu gw’Obwakabaka gye guteekeddwateekeddwamu, abo abatwala obukulembeze tebalonzalonza kukola nkyukakyuka eziba zeetaagisa. Ekyo bakikola kubanga okusingira ddala baagala nnyo okusanyusa Yakuwa. Ate era bafuba nnyo okulaba nga byonna bye basalawo babyesigamya ku Kigambo kya Katonda, nga guno gwe mutindo abantu ba Katonda bonna gwe basaanidde okugoberera. Omutume Pawulo yagamba nti: “Nywereranga ku mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo.” (2 Tim. 1:13) ‘Omutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo’ ze njigiriza ez’Ekikristaayo ezisangibwa mu Bayibuli. (Yok. 17:17) Enjigiriza ezo gwe musingi gw’ebyo byonna bye tukkiririzaamu. Ekibiina kya Yakuwa kituyigirizza okunywerera ku mutindo ogwo. Bwe tugunywererako, Yakuwa atuwa emikisa. w24.07 11-12 ¶12-13

Yakuwa . . . abagumiikiriza mmwe kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.—2 Peet. 3:9.

Olw’okuba omutume Peetero yali amanyi kye kitegeeza okwenenya n’okusonyiyibwa, yali asobola okuyigiriza abalala ebikwata ku nsonga ezo. Nga wayise ekiseera oluvannyuma lw’Embaga ya Pentekooti, Peetero yayogera eri Abayudaaya abataali bagoberezi ba Yesu n’abalaga nti baali basse Masiya. Naye yabagamba nti: “Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulwe, Yakuwa kennyini alyoke abawe ekiwummulo.” (Bik. 3:​14, 15, 17, 19) Bwe kityo Peetero yakiraga nti okwenenya kuleetera omuntu okukyuka, kwe kugamba, akyusa endowooza ye n’enneeyisa ye embi n’atandika okukola ebisanyusa Katonda. N’olwekyo, Peetero yakiraga nti Yakuwa yandisangudde ebibi byabwe ne biba nga tebikyaliwo. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti bwe tukola ebibi, ka bibe bya maanyi bitya, Yakuwa atusonyiyira ddala! w24.08 12 ¶14

Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente.—Beb. 13:5.

Bwe tuba nga tukkiriza nti Yakuwa anaatera okuzikiriza ensi ya Sitaani eno embi, tetujja kulowooza nti okuba ne ssente kye kintu ekisinga obukulu. Bayibuli eraga nti abantu “bajja kusuula ffeeza waabwe mu nguudo” kubanga bajja kukiraba nti “ffeeza waabwe ne zzaabu tebijja kusobola kubawonya ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa.” (Ezk. 7:19) Mu kifo ky’okwemalira ku kunoonya ssente, tusaanidde okusalawo mu ngeri eneetusobozesa okwerabirira n’okulabirira ab’omu maka gaffe nga bwe tuweereza Yakuwa. Ekyo kizingiramu okwewala okufuna amabanja agateetaagisa oba okumala ebiseera bingi nga tulabirira eby’obugagga byaffe. Ate era kizingiramu okwewala okwagala ennyo ebintu bye tulina. (Mat. 6:​19, 24) Ng’enkomerero egenda esembera, tusaanidde okusalawo obanga tuneesiga Yakuwa oba eby’obugagga. w24.09 11 ¶13-14

Alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.—1 Kol. 10:12.

Kirabika obunafu obumu tusobola okubulwanyisa ne tubuvvuunuka. Naye obunafu obulala kiyinza okutwetaagisa okubulwanyisa okumala ekiseera kiwanvu. Lowooza ku mutume Peetero. Okutya abantu kwamuleetera okwegaana Yesu emirundi esatu. (Mat. 26:​69-75) Peetero yalabika ng’eyali avvuunuse ekizibu ekyo, bwe yawa obujulirwa n’obuvumu mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. (Bik. 5:​27-29) Kyokka nga wayise emyaka, okumala akaseera yalekera awo okuliira awamu n’Abakristaayo ab’amawanga “olw’okutya abakomole.” (Bag. 2:​11, 12) Peetero yali azzeemu okutya abantu. Oboolyawo ekizibu ekyo yali takivvuunukiranga ddala. Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera efaananako eya Peetero. Naye tusaanidde okufuba ennyo obutakkiriza bunafu bwe tutannavvuunukira ddala kutuleetera kukola kibi, nga tukolera ku kubuulirira kuno Yesu kwe yawa: “Musigale nga mutunula.” (Mat. 26:41) Ne mu kiseera lw’owulira nti oli munywevu mu by’omwoyo, weeyongere okwewala embeera eziyinza okukuviirako okukola ekintu ekibi. Weeyongere okukola ebintu ebyakuyamba okulwanyisa obunafu bwo.—2 Peet. 3:14. w24.07 18-19 ¶17-19

Yagaba abantu ng’ebirabo.—Bef. 4:8.

Tewali muntu eyali asinze Yesu mu kuyamba abalala. Bwe yali ku nsi, yakola eby’amagero bingi okuyamba abalala. (Luk. 9:​12-17) Yatuwa ekirabo ekikyasinzeeyo okuba ekirungi bwe yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Yok. 15:13) Okuva Yesu lwe yazuukira, akyeyongera okutuyamba. Nga bwe yasuubiza, yasaba Kitaawe okutuwa omwoyo omutukuvu okutuyigiriza n’okutubudaabuda. (Yok. 14:​16, 17, obugambo obuli wansi; 16:13) Era ng’ayitira mu nkuŋŋaana zaffe, akyeyongera okutuwa bye twetaaga okusobola okufuula abantu abayigirizwa mu nsi yonna. (Mat. 28:​18-20) Omutume Pawulo yagamba nti oluvannyuma lwa Yesu okugenda mu ggulu “yagaba abantu ng’ebirabo.” (Bef. 4:​7, 8) Pawulo yagamba nti Yesu yagaba ebirabo ebyo okusobola okuyamba ekibiina mu ngeri ezitali zimu. (Bef. 1:​22, 23; 4:​11-13) Kya lwatu nti abasajja abo tebatuukiridde era bakola ensobi. (Yak. 3:2) Naye Mukama waffe Yesu abakozesa okutuyamba. Mu butuufu, birabo by’atuwadde. w24.10 18 ¶1-2

Okutegeera kunaakukuumanga.—Nge. 2:11.

Dawudi yagamba mutabani we Sulemaani nti yandituuse ku buwanguzi olwo lwokka ng’agondera Yakuwa. Eky’ennaku, mu myaka gye egy’obukadde Sulemaani yatandika okusinza bakatonda abalala. Yali takyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa era yali takyalina magezi ga kufuga bantu mu ngeri ey’obutuukirivu n’obwenkanya. (1 Bassek. 11:​9, 10; 12:4) Kiki kye tuyiga? Bwe tuba abawulize kitusobozesa okutuuka ku buwanguzi. (Zab. 1:​1-3) Kyo kituufu nti Yakuwa tatusuubiza kutuwa byabugagga na kitiibwa nga Sulemaani bye yalina. Naye bwe tugondera Katonda waffe ajja kutuwa amagezi aganaatuyamba okusalawo mu ngeri ennungi. (Nge. 2:​6, 7; Yak. 1:5) Emisingi gye gisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi mu bintu gamba ng’emirimu, obuyigirize, eby’okwesanyusaamu, ne ssente. Okukolera ku magezi Katonda g’atuwa kituyamba obutatuukibwako kabi ka lubeerera. (Nge. 2:​10, 11) Kituyamba okufuna emikwano emirungi. Era tuba n’obulagirizi bwe twetaaga okusobola okuba n’amaka amasanyufu. w24.11 10-11 ¶11-12

Mwekenneenyenga ebintu byonna okukakasa nti bituufu; munywererenga ku kirungi.—1 Bas. 5:21.

Abazadde basobola okukozesa embeera ezitali zimu okunyumyako n’abaana baabwe ebikwata ku Bayibuli oba ebikwata ku Katonda. Osobola okwogerako n’omwana wo ku bintu ebyo ng’ogenzeeko naye mu bifo eby’obulambuzi, gamba nga mu myuziyamu. Oba oyinza okumulaga engeri ebifaananyi ebiragibwa mu bitabo oba mu vidiyo, oba ebintu ebirala ebyogerwako mu byafaayo gye bikwataganamu n’ebintu ebyogerwako mu Bayibuli. Ekyo kisobola okumuyamba okuba omukakafu nti ddala Bayibuli by’eyogera bituufu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku ebyo ebikwata ku jjinja erimu eryayolwako ebigambo, eriyitibwa Moabite Stone. Ejjinja eryo liweza emyaka 3000, era liriko erinnya lya Katonda. Mu myuziyamu eri ku kitebe kyaffe ekikulu mu Warwick, New York, eriyo ejjinja lye baakola nga bakoppa erya Moabite Stone, era ejjinja eryo lisangibwa mu kitundu awali ebyo ebyogerwa ku Bayibuli n’erinnya lya Katonda. Ebiri ku jjinja eryo biraga nti Kabaka Mesa owa Mowaabu yajeemera Isirayiri. Ekyo kikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba. (2 Bassek. 3:​4, 5) Omwana wo bwe yeerabirako kennyini obukakafu obulaga nti Bayibuli by’eyogera bituufu, okukkiriza kwe kweyongera okunywera. w24.12 14 ¶4; 15 ¶6