Jjuuni
Bbalaza, Jjuuni 1
Kubanga ggwe, Ai Yakuwa, oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.—Zab. 86:5.
Ne mu kiseera kino tuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe ng’asinziira ku kinunulo. Tekimukakatako kutusonyiwa, naye ayagala okutusonyiwa. (Zab. 103:3, 10-13) Abamu ku ffe tuyinza okuwulira nti tetusaana kusonyiyibwa Yakuwa. Ekituufu kiri nti ffenna tetusaana kusonyiyibwa. Omutume Pawulo yali akimanyi nti yali ‘tasaanira kuyitibwa mutume.’ Kyokka yagamba nti: “Naye olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso, ndi ekyo kye ndi.” (1 Kol. 15:9, 10) Bwe twenenya ebibi byaffe, Yakuwa atusonyiwa. Lwaki? Si lwa kuba nti tusaanira, naye lwa kuba atwagala. Bw’oba owulira nti tosaanira kusonyiyibwa Yakuwa, kijjukire nti Yakuwa ekinunulo teyakiweerayo bantu abatuukiridde, wabula aboonoonyi abeenenya.—Luk. 5:32; 1 Tim. 1:15. w25.01 26-27 ¶3-4
Omuntu bw’abeera ow’ekisa kimuganyula, naye omuntu omukambwe yeereetera emitawaana.—Nge. 11:17.
Tetulina buyinza ku ebyo abalala bye bakola oba bye boogera, naye tulina obuyinza ku ekyo kye tusalawo okukolawo. Emirundi mingi ekisinga obulungi kye tusaanidde okukola kwe kusonyiwa. Lwaki? Kubanga twagala Yakuwa, ate ayagala tusonyiwe abalala. Singa tusigala tusunguwadde ne tutasonyiwa balala, tuyinza okukola ekintu eky’obusiru oboolyawo ne tukosa n’obulamu bwaffe. (Nge. 14:17, 29, 30) Bwe tweggyamu obusungu, kituyamba obutayisa balala mu ngeri embi. Ate era naffe tuba twekolera ekintu ekirungi, kwe kugamba, tulekera awo okulowooza ku ebyo ebyaliwo, ne tugenda mu maaso n’obulamu era ne tuddamu okuba abasanyufu. Kiki ekiyinza okukuyamba okulekera awo okuwulira obusungu? Ekintu ekimu ekiyinza okukuyamba kwe kuleka ekiseera okuyitawo. Omuntu afunye ebisago eby’amaanyi bw’amala okufuna obujjanjabi, aba yeetaaga ekiseera okuyitawo ekiwundu okuwona. Mu ngeri y’emu, kiyinza okwetaagisa ekiseera okuyitawo ne tulyoka tuba abeetegefu okusonyiwa abalala okuviira ddala ku mutima. (Mub. 3:3; 1 Peet. 1:22) Saba Yakuwa akuyambe okuba omwetegefu okusonyiwa. w25.02 16-17 ¶8-11
Emmere enkalubo ya bantu bakulu.—Beb. 5:14.
Ezimu ku njigiriza ezisookerwako ze zino: Okwenenya, okukkiriza, okubatizibwa, n’okuzuukira. (Beb. 6:1, 2) Ezo ze zimu ku njigiriza ezisookerwako Abakristaayo ze balina okukkiririzaamu. Eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yazoogerako bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu ku lunaku lwa Pentekooti. (Bik. 2:32-35, 38) Tulina okukkiriza enjigiriza ezo ezisookerwako okusobola okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yagamba nti omuntu yenna atakkiririza mu njigiriza ey’okuzuukira tasobola kugamba nti Mukristaayo ow’amazima. (1 Kol. 15:12-14) Naye tetulina kumanya njigiriza ezo ezisookerwako zokka. Okwawukana ku njigiriza ezisookerwako, emmere ey’eby’omwoyo enkalubo ezingiramu amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye egituyamba okumanya endowooza ye. Okusobola okuganyulwa mu mmere eyo, tulina okwesomesa, okufumiitiriza, n’okukolera ku ebyo bye tuba tuyize mu Kigambo kya Katonda. Bwe tukola bwe tutyo, tuba twetendeka okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. w24.04 5 ¶12-13
Abantu b’omu Nineeve [balizuukira] . . . mu kiseera eky’okusala omusango.—Mat. 12:41.
Katonda yagamba Yona nti abantu b’omu Nineeve baali tebasobola na “kwawula kituufu ku kikyamu.” (Yon. 1:1, 2; 3:10; 4:9-11) Oluvannyuma Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’abantu abo okutuyigiriza ebikwata ku bwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe. Kiseera ki eky’okusala “omusango” abantu b’omu Nineeve kye bajja ‘okuzuukiriramu’? Yesu yayogera ku ‘kuzuukirira omusango’ okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. (Yok. 5:29) Yali ategeeza ekiseera eky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, era nga mu kiseera ekyo “abatuukirivu n’abatali batuukirivu” bajja kuzuukizibwa. (Bik. 24:15) Eri abatali batuukirivu, okuzuukira okwo kujja kuba ‘kuzuukirira musango,’ kwe kugamba, Yakuwa ne Yesu bajja kwekenneenya enneeyisa yaabwe era n’engeri gye banaaba batwalamu ebyo bye banaaba bayigiriziddwa. Omuntu yenna ow’omu Nineeve anaaba azuukiziddwa anaagaana okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu, Yakuwa tajja kumukkiriza kusigala nga mulamu. (Is. 65:20) Naye abo bonna abanaasalawo okusinza Yakuwa n’obwesigwa, bajja kufuna akakisa okubeerawo emirembe gyonna!—Dan. 12:2. w24.05 5 ¶13-14
Omwana w’omuntu yajja kunoonya na kulokola abo abaabula.—Luk. 19:10.
Yesu yali musaasizi nga Kitaawe. (Yok. 14:9) Mu bye yayogeranga ne bye yakolanga, yakiraga nti Kitaawe omusaasizi ayagala nnyo abantu era nti buli omu ku bo ayagala okumuyamba okulwanyisa ekibi. Yesu yayamba abantu aboonoonyi okuba abeetegefu okukyusa amakubo gaabwe bamugoberere. (Luk. 5:27, 28) Yesu yali amanyi bulungi bye yali agenda okuyitamu. Emirundi egisukka mu gumu, yagamba abagoberezi be nti yandiriiriddwamu olukwe era n’attibwa ku muti. (Mat. 17:22; 20:18, 19) Yali akimanyi nti ssaddaaka ye yandibadde eggyawo ebibi by’ensi. Yesu era yagamba nti oluvannyuma lw’okuwaayo obulamu bwe, yandibadde ‘asika abantu aba buli kika’ okujja gy’ali. (Yok. 12:32) Abantu aboonoonyi bandibadde basobola okusanyusa Yakuwa nga bakkiririza mu Yesu, era nga batambulira mu bigere bye. Bwe bandikoze bwe batyo oluvannyuma bandibadde ‘baggibwa mu buddu bw’ekibi.’ (Bar. 6:14, 18, 22; Yok. 8:32) N’olwekyo, Yesu yali muvumu era yali mwetegefu okufa mu ngeri ey’obulumi ennyo.—Yok. 10:17, 18. w24.08 5 ¶11-12
Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.—Mak. 13:10.
Lowooza ku ngeri gye wawuliramu lwe wasooka okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Wakitegeera nti Kitaawo ow’omu ggulu akwagala nnyo era nti ayagala obe omu ku baweereza be. Ate era wakitegeera nti yasuubiza okumalawo obulumi n’okubonaabona, nti waliwo essuubi ery’okuddamu okulaba abantu bo abaafa mu nsi empya, n’ebirala bingi. (Mak. 10:29, 30; Yok. 5:28, 29; Bar. 8:38, 39; Kub. 21:3, 4) Ebintu ebyo byatukwatako nnyo. (Luk. 24:32) Wayagala nnyo bye wali oyiga era wali tosobola kubisirikira! (Geraageranya Yeremiya 20:9.) Bwe tuba nga twagala nnyo amazima agali mu Bayibuli, tetusobola kugasirikira. (Luk. 6:45) Tuwulira ng’abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka abaagamba nti: “Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.” (Bik. 4:20) Twagala nnyo amazima ne kiba nti twagala okugabuulirako abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka. w24.05 15 ¶5; 16 ¶7
“Muweereze Yakuwa n’essanyu.”—Zab. 100:2.
Abaweereza ba Yakuwa tubuulira abalala amawulire amalungi olw’okuba twagala Kitaffe ow’omu ggulu era twagala okuyamba bantu bannaffe okumumanya. Naye abamu tebanyumirwa kubuulira. Lwaki? Bayinza okuba nga balina ensonyi era nga beenyooma. Abamu bakaluubirirwa okugenda mu maka g’abantu nga tebayitiddwa. Abamu batya nti abantu bajja kubakambuwalira. Abalala bayinza okuba nga baayigirizibwa nti tebasaanidde kumalako bantu mirembe. Bakkiriza bannaffe abo bazibuwalirwa okutuukirira abantu be batamanyi okubabuulira amawulire amalungi. Oluusi naawe ozibuwalirwa okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira? Bwe kiba bwe kityo, toggwaamu maanyi. Ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti oli mwetoowaze era nti toyagala balala kukussaako nnyo birowoozo. Ate era kiyinza okuba nga kiraga nti toyagala kuwakana na bantu. Tewali n’omu ayagala butawulirizibwa nnaddala bw’aba ng’agezaako okukolera abalala ebirungi. Kitaawo ow’omu ggulu amanyi okusoomooza kw’oyitamu, era ayagala okukuyamba.—Is. 41:13. w24.04 14 ¶1-2
Abeetoowaze baba ba magezi.—Nge. 11:2.
Bw’oba osoma Bayibuli, mu kifo ky’okugezaako okukolera ku byonna by’osoma mu kiseera kye kimu, kolako kimu oba bibiri. Gezaako kino: Kola olukalala lw’ebintu bye weetaaga okukolako oluvannyuma olondemu kimu oba bibiri by’onoosooka okukolako, ebirala obikoleko oluvannyuma. Kiki ky’osaanidde okutandikirako? Oyinza okusalawo okutandikira ku kintu ekisinga obwangu okukolako. Oba oyinza okusalawo okutandikira ku ekyo ky’owulira nti ky’osinga okwetaaga okulongoosaamu. Bw’omala okusalawo ekyo ky’ogenda okukolako, noonyereza mu bitabo byaffe. Tegeeza Yakuwa ku ekyo ky’oyagala okukolako omusabe ‘akuwe amaanyi era akwagazise okukikola.’ (Baf. 2:13) Oluvannyuma kolera ku ebyo by’oyize. Bw’omala okulongoosa mu ekyo ky’osoose okulondako, ojja kuwulira ng’oyagala okulongoosa ne mu kirala. Mu butuufu, bw’omala okulongoosa mu ngeri emu ey’Ekikristaayo, kiyinza okukwanguyira okulongoosa ne mu ngeri endala ez’Ekikristaayo. w24.09 6 ¶13-14
Mu buli ngeri yonna mwalaga nti muli balongoofu mu nsonga eno.—2 Kol. 7:11.
Oyinza okuba ng’owulira bubi olw’okuba ebimu ku bintu bye wakola mu biseera eby’emabega birina be byalumya. Kiki ekiyinza okukuyamba? Kola kyonna ky’osobola okutereeza ensonga, nga mw’otwalidde okwetondera be walumya. Saba Yakuwa ayambe abo be walumya. Ggwe n’abo be walumya asobola okubayamba okugumiikiriza n’okuddamu okufuna emirembe. Yigira ku nsobi ze wakola mu biseera eby’emabega, era ba mwetegefu okukkiriza Yakuwa okukukozesa mu ngeri yonna gy’aba asazeewo. Lowooza ku nnabbi Yona. Mu kifo ky’okugenda e Nineeve nga Yakuwa bwe yali amulagidde, yasalawo kugenda walala. Yakuwa yakangavvula Yona era Yona yayigira ku nsobi ye. (Yon. 1:1-4, 15-17; 2:7-10) Yakuwa teyalekera awo kukozesa Yona nga nnabbi. Yaddamu okumutuma e Nineeve era ku luno Yona teyalonzalonza kugenda. Wadde nga Yona yejjusa olw’ensobi gye yali akoze, yakkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba okukola.—Yon. 3:1-3. w24.10 8-9 ¶10-11
Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulwe, Yakuwa kennyini alyoke abawe ekiwummulo.—Bik. 3:19.
Yakuwa tasazaamu busaza mabanja gaffe oba bibi byaffe, wabula abisangula. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’omuntu akutte ekkalaamu n’asazaamu omuwendo gwa ssente ezikubangibwa eziragibwa ku lisiiti. Wadde ng’aba asazizzaamu ebbanja eryo, omuwendo gwa ssente ezibadde zikubangibwa guba gukyalabika ku lisiiti. Kyokka okusangula ekintu kiba kya njawulo ku kukisazaamu obusaza. Okusobola okutegeera ekyokulabirako ekyo, tusaanidde okukijjukira nti bwino eyakozesebwanga edda omuntu yabanga asobola okumusangula ng’akozesa akagoye akabisi. N’olwekyo, ebbanja bwe ‘lyasangulwanga,’ lyabanga liviiriddewo ddala. Ebyo ebyabanga biwandiikiddwa ebikwata ku bbanja eryo byabanga tebikyasobola kulabibwa. Byabanga tebikyaliwo. Tukwatibwako nnyo okukimanya nti Yakuwa takoma ku kusazaamu bibi byaffe naye era abisangulira ddala!—Zab. 51:9. w25.02 10 ¶11
Tonyiiganga n’okola ebintu ebibi.—Zab. 37:8.
Abalala bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya tuba bakakafu nti Yakuwa amanyi ekituufu. Ekyo kisobola okutuyamba okugumira obutali bwenkanya kubanga tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kugonjoola ensonga mu kiseera ekituufu. Bwe tuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa, kituyamba okwewala obusungu n’okusiba ekiruyi. Enneewulira ezo zisobola okutuleetera okukola ekintu ekitali kya magezi, okutumalako essanyu, n’okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Kya lwatu tetusobola kugoberera Yesu mu ngeri etuukiridde. Ebiseera ebimu tuyinza okukola oba okwogera ekintu oluvannyuma ne twejjusa. (Yak. 3:2) Ate era obutali bwenkanya obumu bwe twolekagana nabwo, buyinza okutuleetera obulumi obuyinza obutavaawo mu nteekateeka y’ebintu eno. Bwe kiba bwe kityo gy’oli, beera mukakafu nti Yakuwa amanyi by’oyitamu. Ne Yesu yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. N’olwekyo ategeera engeri gye weewuliramu. (Beb. 4:15, 16) Tuli basanyufu nnyo kubanga Yakuwa atuwa n’amagezi amalungi agatuyamba nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. w24.11 6 ¶12-13
Kino Katonda ky’ayagala, mmwe okukkiririza mu oyo gwe yatuma.—Yok. 6:29.
Okusobola okufuna “obulamu obutaggwaawo” kitwetaagisa okukkiririza mu Yesu. (Yok. 3:16-18, 36; 17:3) Abayudaaya bangi baali tebakkiriza nti ekintu ekipya Katonda kye yali abeetaagisa kwe kukkiririza mu Yesu. Baamubuuza nti: “Kati olwo, kyamagero ki ky’onookola, tukirabe tulyoke tukukkirize?” (Yok. 6:30) Baagamba nti bajjajjaabwe mu biseera bya Musa, baali baweereddwa emmaanu, emmere gye baalyanga buli lunaku. (Nek. 9:15; Zab. 78:24, 25) Kyeyoleka lwatu nti Abayudaaya abo ebirowoozo baali bakyabimalidde ku kuweebwa mmere. Yesu bwe yayogera ku ‘mmere eya ddala eva mu ggulu’ eyandibasozesezza okufuna obulamu, tebaamubuuza kye yali ategeeza. (Yok. 6:32) Baali beemalidde nnyo ku byetaago byabwe eby’omubiri ne kiba nti tebaawuliriza ekyo Yesu kye yali agezaako okubayigiriza ekikwata ku ngeri gye bandifunyeemu obulamu obutaggwaawo. w24.12 5-6 ¶10-11
Eyakola ebintu byonna ye Katonda.—Beb. 3:4.
Omwana wo bwe yeeyongera okuyiga ebyo bye bayigiriza mu ssaayansi ku ssomero, ajja kukiraba nti waliwo amateeka agafuga enkula y’ebitonde ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, emiti egisinga gikula mu ngeri y’emu. Gisooka kuba na nduli, oluvannyuma enduli emerako amatabi, ate amatabi ago nago ne gamerako amatabi amalala. Enkula eyo esangibwa ne mu bitonde ebirala bingi. Ani yassaawo amateeka agasobozesa ebitonde okukula mu ngeri eyo eyeewuunyisa? Omwana wo bw’afumiitiriza ku kibuuzo ng’ekyo kisobola okumuyamba okuba omukakafu nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo, oyinza okumubuuza ekibuuzo kino, “Bwe kiba nti Katonda ye yatutonda, tolaba nga kikola amakulu okugamba nti yatuteerawo amateeka agakwata ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu tusobole okuba abasanyufu?” Oluvannyuma oyinza okumugamba nti amateeka ago gasangibwa mu Bayibuli. w24.12 16 ¶8
Mpulira nti mu mmwe mulimu omusajja eyeddiza muka kitaawe. Obugwenyufu ng’obwo tebuli na mu ba mawanga.—1 Kol. 5:1.
Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiikira ekibiina ebbaluwa n’abagamba nti omwonoonyi oyo aggibwe mu kibiina. (1 Kol. 5:13) Abakristaayo abeesigwa baalina kumuyisa batya? Pawulo yabagamba ‘obutakolagana’ naye. Ekyo kyali kitegeeza ki? Yakiraga nti ekiragiro ekyo kyali kizingiramu ‘n’obutalya na muntu ng’oyo.’ (1 Kol. 5:11) Emirundi mingi bw’oliira awamu n’omuntu, muba munyumya era ekyo kiyinza okubaviirako okweyongera okukolagana. Kyeyoleka bulungi nti Pawulo yali ategeeza nti ab’omu kibiina tebaalina kubeerako wamu na musajja oyo. Ekyo kyandibadde kikuuma ab’omu kibiina ne batakoppa mpisa ze. (1 Kol. 5:5-7) Ate era okwewala okukolagana naye kyandibadde kimuleetera okukitegeera nti yali awabye nnyo okuva mu makubo ga Yakuwa, era ekyo kyandibadde kimuleetera okukwatibwa ensonyi ne yeenenya. w24.08 15 ¶4-5
Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.—Yok. 3:16.
Mu Isirayiri, Olunaku olw’Okutangirira Ebibi lwakwatibwanga omulundi gumu buli mwaka. Ku lunaku olwo, kabona asinga obukulu yawangayo ssaddaaka z’ensolo ku lw’abantu. Kya lwatu, ssaddaaka z’ensolo zaali tezisobola kutangirira mu bujjuvu bibi bya muntu yenna kubanga ensolo za wansi ku bantu. Naye Abayisirayiri bwe beenenyanga ne bawaayo ssaddaaka Yakuwa ze yali abeetaagisa, yabanga mwetegefu okubasonyiwa ebibi byabwe. (Beb. 10:1-4) Ssaddaaka ze baawangayo zaabayambanga okukijjukira nti baali boonoonyi. Naye nteekateeka ki ey’enkalakkalira Yakuwa gye yakola okusobola okusonyiwa ebibi by’abantu? Yasindika omwana we gw’ayagala ennyo okwewaayo “omulundi gumu okwetikka ebibi by’abangi.” (Beb. 9:28) Yesu ‘yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’—Mat. 20:28. w25.02 4 ¶9-10
Musigale nga mutunula era nga musaba, muleme kugwa nga mukemeddwa.—Mat. 26:41.
“Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.” (Mat. 26:41b) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yakiraga nti akimanyi nti tetutuukiridde era nti tukola ensobi. Kyokka era ebigambo ebyo birimu okulabula kuno: Tulina okwewala okwekakasa ekisukkiridde. Mu kiro Yesu mwe yayogerera ebigambo ebyo, abayigirizwa be baali bagambye nti bajja kumunywererako. (Mat. 26:35) Baali baagala okukola ekituufu. Wadde kyali kityo, baali tebakimanyi nti mu kaseera katono embeera enzibu bwe yandizzeewo, bandibadde balemererwa okukola ekituufu. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yabagamba ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa kya leero. Eky’ennaku, abayigirizwa abo baalemererwa okusigala nga batunula. Yesu bwe yakwatibwa, baasobola okumunywererako, oba baatya ne badduka? Nga tebakisuubira, abayigirizwa abo baakolera ddala ekyo kye baali bagambye nti tebasobola kukola. Baayabulira Yesu.—Mat. 26:56. w24.07 14 ¶1-2
Twatabaganyizibwa ne Katonda okuyitira mu kufa kw’Omwana we.—Bar. 5:10.
Adamu ne Kaawa baafiirwa enkolagana gye baalina ne Kitaabwe, Yakuwa. Mu kusooka baali mu maka ga Yakuwa. (Luk. 3:38) Naye bwe baayonoona, Yakuwa yabagoba mu maka ge nga tebannazaala baana. (Lub. 3:23, 24; 4:1) N’olwekyo, bazzukulu baabwe baali beetaaga okutabaganyizibwa ne Yakuwa. (Bar. 5:10, 11) Mu ngeri endala, twetaaga okufuna enkolagana ennungi naye. Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okutabaganya’ kiyinza okutegeeza “okufuula mulabe wo mukwano gwo.” Ekyewuunyisa kiri nti, Yakuwa ye yabaako ne ky’akolawo okusobozesa kino okubaawo. Mu ngeri ki? Yakola enteekateeka okutangirira ebibi byaffe tusobole okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Enteekateeka y’okutangirira ezingiramu okuwaanyisaamu ekintu ekimu n’ofunamu ekirala ekikyenkana. Mu ngeri eyo, ekyo ekiba kyabula oba ekyayonoonebwa kisobola okuddamu okufunibwa oba okuzzibwawo. w25.02 3-4 ¶7-8
Okunakuwala mu ngeri Katonda gy’ayagala kuvaamu okwenenya okuleeta obulokozi.—2 Kol. 7:10.
Omutume Pawulo yagamba nti okunenya okw’abangi kwali kumala omusajja oyo. (2 Kol. 2:5-8) Tuyinza okugamba nti okukangavvula okwamuweebwa kwali kutuukirizza ekigendererwa kyakwo eri omusajja eyeddiza muka kitaawe. (1 Kol. 5:1) Kigendererwa ki? Kwamusobozesa okwenenya. (Beb. 12:11) Pawulo yagamba ab’oluganda mu kibiina nti: “Mubeere beetegefu okumusonyiwa n’okumubudaabuda.” Era yabakubiriza “okumulaga okwagala.” Weetegereze nti Pawulo yali ayagala ab’oluganda mu kibiina okukola ekisingawo ku kukkiriza obukkiriza omusajja oyo okukomawo mu kibiina. Yali ayagala bakakase omusajja oyo eyeenenya nti ddala baali bamusonyiye era nti bamwagala, okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa. Bwe bandikoze bwe batyo bandibadde bakyoleka nti baali basanyufu nnyo okuba nti yali akomyewo mu kibiina. w24.08 15 ¶4; 16-17 ¶6-8
Mwafuukanga ng’ekyerolerwa nga muvumibwa era nga mubonyaabonyezebwa.—Beb. 10:33.
Omutume Pawulo yali amanyi ekyetaagisa okusobola okugumiikiriza. Yajjukiza Abakristaayo nti bwe bandibadde boolekagana n’ebigezo bandibadde balina okwesiga Yakuwa so si kwesiga busobozi bwabwe. Pawulo yali asobola okugamba nti: “Yakuwa ye muyambi wange; siityenga.” (Beb. 13:6) Mu kiseera kino abamu ku bakkiriza bannaffe bayigganyizibwa. Tusobola okubayamba nga tubasabira, oba okubaako bye tubakolera. Kyokka Bayibuli ekyoleka bulungi nti, “abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Tim. 3:12) N’olwekyo, ffenna twetaaga okweteekerateekera ebijja mu maaso. Ka tweyongere okwesigira ddala Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja kutuyamba okugumira ekigezo kyonna kye tuyinza okufuna. Mu kiseera kye ekituufu ajja kuggyawo ebintu byonna ebiviirako abaweereza be okubonaabona.—2 Bas. 1:7, 8. w24.09 13 ¶17-18
Bangi ku Bakkolinso abaawulira amawulire amalungi bakkiriza ne babatizibwa.—Bik. 18:8.
Kiki ekyayamba Abakkolinso okubatizibwa? (2 Kol. 10:4, 5) Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu, bye byabasobozesa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (Beb. 4:12) Abantu b’omu Kkolinso abakkiriza amawulire amalungi agakwata ku Kristo baasobola okulekayo emize emibi gamba ng’obutamiivu, obubbi, n’okulya ebisiyaga. (1 Kol. 6:9-11) Weetegereze nti wadde ng’abamu ku Bakkolinso baali beenyigira mu mize egitaali myangu kulekayo, tebaakitwala nti baali tebasobola kuleka mize egyo okusobola okufuuka Abakristaayo. Baafuba nnyo okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa okusobola okutambulira mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu obutaggwaawo. (Mat. 7:13, 14) Olina omuze gw’ofuba okwekutulako osobole okubatizibwa? Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi! Saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okulwanyisa okwegomba okubi. w25.03 6 ¶15-17
Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda.—Yak. 1:5.
Yakuwa atusuubiza okutuwa amagezi tusobole okumanya oba ng’ekkubo lye tuba twagala okukwata linaamusanyusa. Amagezi ago ‘agagabira bonna nga talina gw’akambuwalira.’ Bw’omala okusaba Yakuwa okukuwa obulagirizi, weetegereze engeri gy’addamu essaala yo. Ng’ekyokulabirako, singa obula ng’ogenze mu kitundu ekimu, oyinza okusaba omuntu abeera mu kitundu ekyo okukuyamba. Naye onootambula butambuzi nga tannabaako ky’akugamba? Kya lwatu nedda. Ojja kuwuliriza n’obwegendereza ng’akulagirira. Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa okukuwa amagezi, fuba okutegeera engeri gy’addamu okusaba kwo ng’onoonya amateeka oba emisingi gya Bayibuli egikwata ku mbeera yo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’osalawo obanga onoogenda ku kabaga, oyinza okufumiitiriza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku binyumu, ku mikwano emibi, ne ku bukulu bw’okukulembeza Obwakabaka mu kifo ky’okukulembeza ggwe by’oyagala.—Mat. 6:33; Bar. 13:13; 1 Kol. 15:33. w25.01 16 ¶6-7
Laba! Abaweereza bange balirya, naye mmwe mulirumwa enjala.—Is. 65:13.
Obunnabbi bwa Isaaya bulaga enjawulo eyandibaddewo wakati w’abo abandibadde mu lusuku olw’eby’omwoyo n’abo abandibadde ebweru waalwo. Yakuwa awa abaweereza be buli kimu kye beetaaga okusobola okusigala nga balina enkolagana ennungi naye. Tulina omwoyo gwe omutukuvu, Ekigambo kye, n’emmere ey’eby’omwoyo nnyingi, ne kiba nti ‘tulya, tunywa, era tuli basanyufu.’ (Geraageranya Okubikkulirwa 22:17.) Kyokka abo abali ebweru w’olusuku olw’eby’omwoyo ‘balumwa enjala, balumwa ennyonta, era baswala.’ Obwetaavu bwabwe eby’eby’omwoyo tebukolwako. (Am. 8:11) Yakuwa awa abantu be mu bungi ebintu byonna bye beetaaga omuli n’emmere ey’eby’omwoyo. (Yow. 2:21-24) Ekyo akikola okuyitira mu Bayibuli, ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, omukutu gwaffe, awamu n’enkuŋŋaana ennene n’entono. N’olw’ensonga eyo, tusobola okulya emmere ey’eby’omwoyo buli lunaku, era ekyo kituleetera okuwulira nti tuliisibwa bulungi mu by’omwoyo era tuzziddwamu amaanyi. w24.04 21 ¶5-6
Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa.—Bak. 4:6.
Bw’oba nga wandyagadde okutandika okwogereza omuntu, oyinza okukola enteekateeka okunyumyako n’omuntu oyo nga muli mu kifo ekya lukale oba ng’omukubira essimu. Mu ngeri etegeerekeka obulungi mutegeeze ekyo ky’oyagala. (1 Kol. 14:9) Bwe kiba nga kyetaagisa, muwe ekiseera okulowooza ku ebyo by’omugambye. (Nge. 15:28) Ate omuntu bw’aba nga tayagala kutandika kwogerezeganya naawe, ssa ekitiibwa mu ndowooza ye. Watya singa omuntu akutuukirira n’akugamba nti yandyagadde okweyongera okukumanya? Kiyinza okuba ng’omuntu oyo tekyamubeeredde kyangu kukutuukirira. N’olwekyo, ba wa kisa era mmusseemu ekitiibwa. Bw’owulira nti weetaaga ekiseera okulowooza ku ky’okutandika okwogerezeganya naye, mugambe. Naye totwala kiseera kiwanvu nnyo nga tonnamuddamu. (Nge. 13:12) Bw’owulira nga tewandyagadde, ekyo kimutegeeze mu ngeri ey’ekisa era etegeerekeka obulungi. Bw’oba nga wandyagadde okwogerezeganya n’omuntu, mubuulire ebyo by’osuubira okubaawo mu kiseera nga mwogerezeganya. Ebyo by’osuubira biyinza okuba nga byawukana ku ebyo by’asuubira. w24.05 23-24 ¶12-13
Nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa ow’eggye.—1 Sam. 17:45.
Lumu, kirabika nga Dawudi tannaweza myaka 20, yagendako awaali abalwanyi ba Isirayiri abaali basiisidde okulwana. Yakiraba nti abalwanyi abo baali batidde nnyo olw’Omufirisuuti omuwagguufu eyali ayitibwa Goliyaasi okuvaayo ‘n’asoomooza eggye lya Isirayiri.’ (1 Sam. 17:10, 11) Abalwanyi abo baatya nnyo olw’okuba ebirowoozo baabissa ku Mufirisuuti oyo ne ku bigambo bye yali ayogera. (1 Sam. 17:24, 25) Naye ye Dawudi ebirowoozo yabissa walala. Yali akimanyi nti Omufirisuuti oyo bwe yasoomooza eggye lya Isirayiri, yali asoomooza “eggye lya Katonda omulamu.” (1 Sam. 17:26) Dawudi yali alowooza ku Yakuwa. Yali mukakafu nti Katonda eyamuyamba ng’alunda endiga, era yandimuyambye ne mu mbeera eyo. Bwe kityo, Dawudi yalwana ne Goliyaasi, era n’amuwangula!—1 Sam. 17:45-51. w24.06 21 ¶7
Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.—Is. 41:10.
Okufumiitiriza ku ngeri obulamu bwaffe gye bwandibaddemu singa twali tetuweereza Yakuwa, kisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Naffe tujja kwogera ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Okusemberera Katonda kirungi gye ndi.” (Zab. 73:28) Tusobola okugumira ekizibu kyonna kye tufuna mu nnaku zino ez’enkomerero, kubanga tuweereza “Katonda omulamu era ow’amazima.” (1 Bas. 1:9) Katonda waffe wa ddala, era abaako ky’akolawo okuyamba abaweereza be. Yalinga wamu n’abaweereza be mu biseera eby’edda, era ali wamu naffe leero. Tunaatera okwolekagana n’okubonaabona okugenda okusingayo okuba okw’amaanyi wano ku nsi. Naye tetujja kuba ffekka; Yakuwa ajja kuba wamu naffe. Ka bulijjo “tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; siityenga.’”—Beb. 13:5, 6. w24.06 25 ¶17-18
Muliddamu . . . okulaba enjawulo eriwo wakati w’omutuukirivu n’omubi.—Mal. 3:18.
Bayibuli etubuulira ebikwata ku basajja abasukka mu 40 abaafuga nga bakabaka ba Isirayiri. Bakabaka abaali abalungi balina ebibi bye baakola. Lowooza ku Kabaka Dawudi eyali omulungi. Yakuwa yagamba nti: “Omuweereza wange Dawudi . . . [yangoberera] n’omutima gwe gwonna, ng’akola ebyo byokka ebyali ebirungi mu maaso gange.” (1 Bassek. 14:8) Kyokka Dawudi yayenda ku mukyala omufumbo era n’akola olukwe bba w’omukyala oyo n’attibwa mu lutalo. (2 Sam. 11:4, 14, 15) Ku luuyi olulala, bangi ku bakabaka abataali beesigwa balina ebintu ebirungi bye baakola. Lowooza ku Lekobowaamu. Mu maaso ga Yakuwa, “yakola ebintu ebibi.” (2 Byom. 12:14) Kyokka Lekobowaamu yagondera Katonda kye yamulagira, n’aleka ebika ekkumi okwekutula ku bwakabaka bwe. Ate era yakolera eggwanga lye ebirungi, bwe yazimba ebibuga ebyaliko bbugwe. (1 Bassek. 12:21-24; 2 Byom. 11:5-12) Yakuwa yasinziiranga ku ki okutwala abamu ku bakabaka abo nti baali beesigwa ate nti abalala tebaali beesigwa mu maaso ge? Awatali kubuusabuusa yatunuuliranga ekyali mu mutima gwa kabaka, obanga yali yeenenyezza, era obanga yali anywerera ku kusinza okw’amazima. w24.07 20 ¶1-3
Mubakulize mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.—Bef. 6:4.
Kiki ekikolebwa singa abaana ababatize abatannaweza myaka 18 bakola ekibi eky’amaanyi? Akakiiko k’abakadde kakola enteekateeka abakadde babiri ne batuulako n’omwana oyo awamu ne bazadde be abali mu mazima. Abakadde babuuza abazadde ebyo bye bakozeewo okuyamba omwana oyo okwenenya. Omwana oyo bw’aba n’endowooza ennungi era nga bazadde be basobodde okumuyamba okwenenya, abakadde abo bayinza okusalawo nti tekyetaagisa kwongerayo nsonga. Abakadde bakimanyi nti abazadde Katonda be yawa obuvunaanyizibwa obw’okutereeza abaana baabwe. (Ma. 6:6, 7; Nge. 6:20; 22:6; Bef. 6:2-4) Buli luvannyuma lwa kiseera abakadde boogerako n’abazadde okukakasa nti omwana oyo afuna obuyambi bwe yeetaaga. Naye watya singa omwana omubatize agaana okwenenya ne yeeyongera okukola ekibi? Mu mbeera ng’eyo abakadde basatu bajja kutuula boogereko n’omwana oyo ng’ali wamu ne bazadde be abali mu mazima. w24.08 24 ¶18
Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.—Bik. 20:35.
Ffenna tusanyuka nnyo ng’omuntu aliko ky’atuwadde. Naye bwe tugabira abalala tufuna essanyu erisingawo. Olw’okuba Yakuwa yatutonda bw’atyo, tusobola okwongera ku ssanyu lye tulina. Tusobola okwongera ku ssanyu lye tulina bwe tulowooza ku ngeri gye tuyinza okugabiramu abalala. Mu butuufu, tuganyulwa nnyo okuba nti Yakuwa yatutonda bw’atyo. (Zab. 139:14) Ebyawandiikibwa biraga nti okugaba kulimu essanyu lingi. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Bayibuli egamba nti Yakuwa ‘Katonda musanyufu.’ (1 Tim. 1:11) Ye yasookera ddala okugaba era y’asingayo okuba omugabi. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, ku bubwe “tuli balamu, tutambula, era weetuli.” (Bik. 17:28) Mu butuufu, “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde” kiva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) Ffenna twagala okufuna essanyu erisingawo eriva mu kugaba. Tusobola okulifuna nga tukoppa Yakuwa omugabi.—Bef. 5:1. w24.09 26 ¶1-4
Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.—Baf. 3:16.
Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebisaanyizo ebyetaagisa omuntu okufuuka omukadde, abaweereza abamu bayinza okulowooza nti bo tebasobola kubituukiriza. Kijjukire nti Yakuwa takusuubira kutuukiriza bisaanyizo ebyo mu ngeri etuukiridde, era n’ekibiina kye tekikusuubira kubituukiriza mu ngeri etuukiridde. (1 Peet. 2:21) Omwoyo gwa Yakuwa ogw’amaanyi gwe gukuyamba okutuukiriza ebisaanyizo ebyo. (Baf. 2:13) Waliwo ekisaanyizo ky’owulira nti weetaaga okufuba ennyo okukituukiriza? Saba Yakuwa omutegeeze ku nsonga eyo. Kinoonyerezeeko era saba omu ku bakadde akuwe amagezi ku ngeri gy’oyinza okukituukirizaamu. Fuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba omukadde! Saba Yakuwa akutendeke weeyongere okuba ow’omugaso gy’ali n’eri ekibiina kye. (Is. 64:8) Yakuwa k’akuwe emikisa ng’ofuba okutuukiriza ebisaanyizo by’okuba omukadde. w24.11 25 ¶17-18
Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu era nga mukyeyongera okuweereza.—Beb. 6:10.
Tewali n’omu ku ffe alina kukitwala nti Yakuwa alina okumusonyiwa olw’okuba amaze emyaka mingi ng’amuweereza. Kya lwatu Yakuwa ajjukira ebyo byonna bye tukola nga tumuweereza. Naye ekinunulo yakiwaayo ng’ekirabo; teyakiwaayo kutusasula olw’ebyo bye tukola nga tumuweereza. N’olwekyo kikyamu okulowooza nti olw’okuba tulina ebintu bingi bye tukoze nga tuweereza Yakuwa, tusaanidde okusonyiyibwa. Bwe tuba n’endowooza eyo tuba ng’abagamba nti tetwetaaga kinunulo. (Geraageranya Abaggalatiya 2:21.) Omutume Pawulo yali akimanyi nti ka bibe bintu byenkana we bye yakola ng’aweereza Yakuwa, Yakuwa kyali tekimukakatako kumusonyiwa. Kati olwo lwaki yali aweereza n’obunyiikivu? Ekyo yali takikola kulaga nti agwanira okusonyiyibwa, wabula yali akikola okulaga nti asiima ekisa kya Yakuwa eky’ensusso. (Bef. 3:7) Okufaananako Pawulo, naffe tweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ekyo tetukikola kulaga nti twagala okusonyiyibwa, wabula okulaga nti tusiima ebyo by’atukolera. w25.01 27 ¶5-6

