Okitobba
Lwakuna, Okitobba 1
Yakuwa gwe nnaatunuuliranga.—Mi. 7:7.
Emirundi mingi tufuna obulagirizi obutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa okuva eri abakadde mu kibiina, abalabirizi abakyalira ebibiina, ofiisi y’ettabi, oba Akakiiko Akafuzi. Naye watya singa tetutegeera nsonga lwaki batuwadde obulagirizi obumu? Tuyinza okutandika okubuusabuusa obanga obulagirizi obwo bukola. Tuyinza n’okutandika okussa ebirowoozo ku bunafu bw’ab’oluganda ababa batuwadde obulagirizi obwo. Bwe tuba nga tutambula lwa kukkiriza, tuba bakakafu nti Yakuwa awa ekibiina kye obulagirizi era nti amanyi embeera zaffe. Ekyo kituleetera okuba abawulize n’okukolera amangu ku bulagirizi obuba butuweereddwa. (Beb. 13:17) Tukimanyi nti bwe tukolera ku bulagirizi obuba butuweereddwa, tweyongera okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. (Bef. 4:2, 3) Tuli bakakafu nti bwe tweyongera okugondera abo Yakuwa b’alonze okutukulembera wadde nga tebatuukiridde, Yakuwa ajja kutuwa emikisa. (1 Sam. 15:22) Ate era tuli bakakafu nti bwe wabaawo ensobi eyeetaaga okutereezebwa, Yakuwa aba ajja kugitereeza mu kiseera kye ekituufu. w25.03 23-24 ¶13-14
Katonda . . . Omubikkuzi w’ebyama.—Dan. 2:28.
Ebiseera bye tulimu bikulu nnyo! Buli lunaku tulaba obunnabbi obuli mu Bayibuli nga butuukirizibwa. Ng’ekyokulabirako, tulaba “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” nga basindikagana, nga buli omu afuba okulaga nti y’asinga amaanyi mu nsi yonna. (Dan. 11:40) Tulaba amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda nga gabuulirwa mu nsi yonna ku kigero ekitabangawo, era abantu bukadde na bukadde basazeewo okuweereza Yakuwa. (Is. 60:22; Mat. 24:14) Era tufuna emmere ey’eby’omwoyo nnyingi nnyo “mu kiseera ekituufu.” (Mat. 24:45-47) Yakuwa akyeyongera okutuyamba okutegeera obulungi ebintu ebikulu ebinaatera okubaawo. (Nge. 4:18) Tuli bakakafu nti ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira, tujja kuba tumanyi ebyo byonna bye twetaaga okumanya okusobola okugumiikiriza n’okusigala nga tuli bumu mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo. Kyokka tulina okukikkiriza nti waliwo ebintu bye tutamanyi ebikwata ku ebyo ebinaatera okubaawo. w24.05 8 ¶1-2
Takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala.—Zab. 15:3.
Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera ku kuwaayiriza. Okuwaayiriza kye ki? Okutwalira awamu, okuwaayiriza kwe kwogera ebigambo eby’obulimba ku muntu ebisobola okwonoona erinnya lye. Zabbuli 15:3 era lulaga nti abo abakyala mu weema ya Yakuwa tebakola bannaabwe bintu bibi era tebaboogerako bubi. (Zab. 15:1) Ekyo kizingiramu ki? Mu butali bugenderevu tuyinza okwogera obubi ku balala nga tulaalaasa ebintu ebitali birungi ebibakwatako. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera zino: (1) mwannyinaffe alekera awo okuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna, (2) ow’oluganda ne mukyala we balekera awo okuweereza ku Beseri, oba (3) ow’oluganda alekera awo okuweereza ng’omukadde oba omuweereza mu kibiina. Tekiba kituufu kutandika kuteebereza nsonga lwaki baafunye enkyukakyuka ezo ne tutandika okubuulira abalala ekyo kye tulowooza. Wayinza okubaawo ensonga eziwerako ezaviiriddeko enkyukakyuka ezo, era ng’ensonga ezo tetuzimanyi. Omugenyi mu weema ya Yakuwa “takola muntu munne kintu kibi, era tayogera bubi ku mikwano gye.” w24.06 11 ¶11-13
Yakuwa mmuteeka mu maaso gange bulijjo. Olw’okuba ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.—Zab. 16:8.
Okusobola okweyongera okuyiga okutya Yakuwa, tusaanidde okulowooza ku ekyo ky’ayagala mu buli kimu kye tuba tusalawo. Bw’oba ng’olina abantu b’osomako mu Bayibuli, weebuuze: ‘Singa nze nnali mu mbeera eyo, kiki kye nnandisazeewo okukola?’ Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’owuliriza abakessi ekkumi abava okuketta ensi ensuubize nga bagamba nti Abayisirayiri tebasobola kuwangula Bakanani. Wandikkirizza kye bagamba n’otya abantu, oba okwagala kw’olina eri Yakuwa n’okuba nti oyagala nnyo okumusanyusa kwandibadde kukuleetera obutakkiriza kye bakugamba? Omulembe ogwo gwonna ogw’Abayisirayiri gwalemererwa okukkiriza amazima Yoswa ne Kalebu ge baabagamba. N’ekyavaamu, baafirwa enkizo ey’okuyingira mu nsi ensuubize.—Kubal. 14:10, 22, 23. w24.07 10 ¶7
Yakuwa y’akebera emitima.—Nge. 17:3.
Gomeri, mukyala wa nnabbi Koseya, yaleka omwami we n’agenda n’abasajja abalala. Yali takyasobola kuyambibwa? Yakuwa, oyo asobola okulaba ekiri mu mutima gw’omuntu, yagamba Koseya nti: “Genda nate oyagale omukazi ayagalibwa omusajja omulala era ayenda, nga ne Yakuwa bw’ayagala abantu ba Isirayiri kyokka nga bo bagenda eri bakatonda abalala.” (Kos. 3:1; Nge. 16:2) Weetegereze nti mukyala wa Koseya yali akyenyigira mu kibi eky’amaanyi. Kyokka Yakuwa yagamba Koseya agende gy’ali amusonyiwe, atabagane naye, era amukomyewo mu maka ge. Okuyitira mu kyokulabirako ekyo, Yakuwa yali ayagala abantu be okumanya engeri gye yali abatwalamu. Wadde nga baali bakola ebintu ebibi ennyo, yali akyabaagala era yeeyongera okubayamba beenenye bakyuse amakubo gaabwe. Ekyokulabirako ekyo kiraga nti Yakuwa amanyi buli kimu ekikwata ku muntu era afuba okuyamba omuntu akyenyigira mu kibi eky’amaanyi asobole okwenenya. w24.08 10 ¶7
Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebirungi ebigenda okujja.—Beb. 10:1.
Abakristaayo Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baalina okusoomooza okw’amaanyi. Edda Abayudaaya be baali abantu Yakuwa be yali alonze. Bakabaka abaali bakiikirira Yakuwa baali bafuga nga basinziira mu kibuga ekyo, era mwe mwali ne yeekaalu abantu gye baagendanga okusinza Yakuwa. Abayudaaya bonna abeesigwa baagonderanga Amateeka ga Musa abakulembeze b’eddiini ge baabannyonnyolanga. Amateeka ago gaali gakwata ku bintu gamba ng’eby’okulya, okukomolebwa, n’engeri gye baalina okukolaganamu n’ab’amawanga. Kyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Yakuwa yali takyakkiriza ssaddaaka Abayudaaya ze baawangayo. Eyo yali nkyukakyuka ya maanyi eri Abakristaayo Abayudaaya abaali bamanyidde okukwata Amateeka ga Musa. (Beb. 10:1, 4, 10) N’Abakristaayo abaali abakulu mu by’omwoyo gamba ng’omutume Peetero, baakisanga nga kizibu okutuukana n’enkyukakyuka eyo. (Bik. 10:9-14; Bag. 2:11-14) Olw’okuba Abakristaayo abo baali tebakyagoberera Mateeka ga Musa mu kusinza kwabwe, baayigganyizibwa nnyo abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya. w24.09 9 ¶4
“Mujjukirenga abo ababakulembera, abababuulidde ekigambo kya Katonda.—Beb. 13:7.
Buli Yakuwa lw’awa abantu be obuvunaanyizibwa ababa abasuubira okubutuukiriza mu ngeri entegeke obulungi. (1 Kol. 14:33) Ng’ekyokulabirako, ayagala amawulire amalungi gabuulirwe mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Yakuwa yalonda Yesu okulabirira omulimu ogwo. Yesu akakasizza nti omulimu ogwo gukolebwa mu ngeri entegeke obulungi. Mu kyasa ekyasooka, ebibiina bwe byali bitandikibwawo mu bitundu ebitali bimu, abakadde baalondebwa okuwa obulagirizi mu bibiina ebyo. (Bik. 14:23) Mu Yerusaalemi, abatume n’abakadde abatonotono be baasalangawo ku nsonga ezitali zimu ebibiina byonna bye zaalinanga okugoberera. (Bik. 15:2; 16:4) Olw’okuba ebibiina byagobereranga obulagirizi obwabiweebwanga, “byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga.”—Bik. 16:5. w24.04 8 ¶1
Maliyamu Magudaleena n’agenda n’abuulira abayigirizwa nti: “Ndabye Mukama waffe!”—Yok. 20:18.
Ku makya ennyo nga Nisaani 16, abakazi abeesigwa abawerako baagenda ku ntaana Yesu mwe yali aziikiddwa. (Luk. 24:1, 10) Omu ku bakazi abo yali Maliyamu Magudaleena. Maliyamu bwe yatuuka ku ntaana yakiraba nti yali njereere. Yadduka n’agenda ategeezaako Peetero ne Yokaana era oluvannyuma n’abagoberera nga badduka okugenda ku ntaana. Oluvannyuma lwa Peetero ne Yokaana okukakasa nti entaana yali njereere, baddayo eka. Naye Maliyamu ye teyaddayo. Yasigala awo ng’akaaba. Yali takimanyi nti Yesu yali amulaba. Yesu yalaba amaziga omukyala oyo ge yali akaaba era yakwatibwako nnyo. Bwe kityo yamulabikira n’amugamba ekintu ekyamuzzaamu ennyo amaanyi. Yayogera naye era n’amuwa obuvunaanyizibwa okutegeeza abayigirizwa abalala nti yali azuukidde.—Yok. 20:17, 18. w24.10 13 ¶7
Nja kukola obubonero bungi n’ebyamagero bingi mu nsi ya Misiri.—Kuv. 7:3.
Musa yaweereza nga nnabbi, omulamuzi, omudduumizi w’amagye, era munnabyafaayo. Yakulemberamu eggwanga lya Isirayiri okuva mu buddu e Misiri, era yalaba eby’amagero bingi Yakuwa bye yakola. Yakuwa yamukozesa okuwandiika ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli, Zabbuli 90, era oboolyawo ne Zabbuli 91. Era kirabika ye yawandiika n’ekitabo kya Yobu. Bwe waali wabula ekiseera kitono Musa afe, ng’alina emyaka 120, yakuŋŋaanya wamu Abayisirayiri bonna okubajjukiza ebintu bye baali balabye ne bye baali bayiseemu. Baalaba obubonero bungi n’eby’amagero Yakuwa bye yakola mu Misiri awamu n’emisango gye yasalira Abamisiri. (Kuv. 7:4) Baali bayise ku ttaka ekkalu wakati mu nnyanja emmyufu era baali balabye amagye ga Falaawo nga gazikirizibwa. (Kuv. 14:29-31) Mu ddungu, baali balabye engeri Yakuwa gye yabakuumamu era n’engeri gye yabalabiriramu. (Ma. 8:3, 4) Mu kiseera nga banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Musa eyali anaatera okufa yakozesa akakisa akasembayo okubazzaamu amaanyi. w24.11 8-9 ¶3-4
Omuntu yenna bw’alya ku mmere eno ajja kubeerawo emirembe gyonna . . . Emmere gye nnaagaba ku lw’obulamu bw’ensi gwe mubiri gwange.—Yok. 6:51.
Ebyo Yesu bye yayogera eri Abatume be ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe byawukanamu n’ebyo bye yayogera eri abantu abangi ng’ali e Ggaliraaya. Yesu bwe yali mu Ggaliraaya mu mwaka gwa 32 E.E., okusingira ddala yali ayogera eri Abayudaaya abaali baagala abawe emmere. Naye yagezaako okubayamba okutegeera ekintu ekisinga emmere obukulu, era ng’ekintu ekyo kyandibasobozesezza okufuna obulamu obutaggwaawo. Ate era yagamba nti abafu bandizuukiziddwa ku lunaku olw’enkomerero babeerewo emirembe gyonna. Wano Yesu yali tayogera ku bantu batonotono nga bwe kyali ng’atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Mu kifo ky’ekyo, yali alaga omukisa abantu bonna gwe basobola okufuna. w24.12 11 ¶10-11
Abaami, mwagalenga bakyala bammwe.—Bak. 3:19.
Yakuwa akyawa omuntu yenna akola ebikolwa eby’obukambwe. (Zab. 11:5) Akyayira ddala omusajja atulugunya mukyala we. (Mal. 2:16) Singa omusajja ayisa bubi mukyala we, ayonoona enkolagana ye ne Yakuwa. Yakuwa ayinza n’obutawuliriza ssaala ze. (1 Peet. 3:7) Abaami abamu boogera ne bakyala baabwe mu ngeri ey’obukambwe era babagamba ebigambo ebirumya. Kyokka Yakuwa akyawa ‘okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, n’okuvuma.’ (Bef. 4:31, 32) Omwami ayogera obubi ne mukyala we takoma ku kwonoona nkolagana ye ne mukyala we, naye era ayonoona n’enkolagana ye ne Katonda. (Yak. 1:26) Ate era omwami alaba ebifaananyi eby’obuseegu ayonoona enkolagana ye ne Yakuwa era aweebuula mukyala we. Yakuwa asuubira omwami okuba omwesigwa eri mukyala we mu bikolwa ne mu birowoozo. Yesu yagamba nti omusajja atunuulira omukazi omulala n’amwegomba aba amaze okumwendako “mu mutima gwe.”—Mat. 5:28, 29. w25.01 9 ¶6-8
Omuntu ayitibwa mutuukirivu . . . olw’okukkiririza mu Yesu Kristo.—Bag. 2:16.
Okuyitibwa abatuukirivu kitegeeza nti omusango ogwali gutuvunaanibwa gwatuggibwako, era nti twejjeerezebwa. Yakuwa okukola ekyo teyasambajja mitindo gye egy’obwenkanya. Atuyita batuukirivu si lwa kuba nti ekyo twakikolerera; ate era tawagira bibi bye tukola. Naye olw’okuba tukkiririza mu nteekateeka y’okutangirira ne mu kinunulo ekyasasulwa, Yakuwa alina ky’asinziirako okusazaamu amabanja gaffe. (Bar. 3:24) Ekyo kirina makulu ki gye tuli? Abo abaalondebwa okufugira awamu ne Yesu mu ggulu baamala dda okuyitibwa abatuukirivu ne bafuuka abaana ba Katonda. (Tit. 3:7; 1 Yok. 3:1) Baasonyiyibwa ebibi byabwe. Mu ngeri endala, balinga abatakolanga bibi, era bwe kityo bagwanira okufuga mu Bwakabaka. (Bar. 8:1, 2, 30) Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna bayitibwa batuukirivu, nga mikwano gya Katonda era ebibi byabwe byasonyibwa.—Yak. 2:21-23. w25.02 5 ¶17; 7 ¶18
Endowooza yo si ya Katonda wabula ya bantu.—Mat. 16:23.
Waliwo omulundi Peetero lw’ataayoleka ndowooza ng’eya Yakuwa. Yesu yali agambye abatume be nti yali ajja kugenda e Yerusaalemi, aweebweyo mu mikono gy’Abakulembeze b’eddiini, abonyaabonyezebwe, era oluvannyuma attibwe. (Mat. 16:21) Okuva bwe kiri nti Peetero yali akimanyi nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa eyandirokodde abantu ba Katonda, kiyinza okuba nga kyamubeerera kizibu okukkiriza nti Yakuwa yandirese Yesu okuttibwa. (Mat. 16:16) Bwe kityo Peetero yazza Yesu ebbali n’amugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” (Mat. 16:22) Olw’okuba Peetero teyalina ndowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo, endowooza ye yali tekwatagana na ya Yesu. Yesu yali akimanyi nti okusobola okutuukiriza Kitaawe by’ayagala, yalina okubonaabona n’oluvannyuma attibwe. N’olwekyo wadde nga Peetero teyalina kigendererwa kikyamu, Yesu yagaana okukolera ku magezi ge yamuwa. Ekyo ekyaliwo kyayamba Peetero okuyiga nti kikulu okuba n’endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu. Naffe leero tusaanidde okuyiga okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa. w25.03 9 ¶5-6
Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.—Zab. 34:18.
Owulira obulumi obw’amaanyi olw’okuba omuntu gwe wali weesiga yakukola ekintu ekibi oba yakulyamu olukwe? Abantu ka babe nga bakuyisizza batya, Kitaawo ow’omu ggulu akwagala nnyo. Bwe tuba nga tulina obulumi olw’okuba waliwo eyatulyamu olukwe, tusobola okuzzibwamu amaanyi bwe tufumiitiriza ku bigambo bya Dawudi ebiri mu kyawandiikibwa kya leero. Okusinziira ku bugambo obuli wansi obuli ku lunyiriri olwo, ekitabo ekimu kigamba nti abo “abaweddemu amaanyi” bayinza okuba “abo abatalina kirungi kyonna kye beesunga.” Yakuwa akolawo ki bw’alaba abo abawulira bwe batyo? Alinga omuzadde asitula omwana we aba akaaba n’amubudaabuda. Bayibuli eraga nti “ali kumpi” naffe. Ategeera obulumi bwe tubaamu era abaako ky’akolawo mu bwangu okutuyamba. Ayagala nnyo okutubudaabuda bwe tuba nga tulina obulumi ku mutima oba nga tuwulira nti tetuli ba mugaso. Atusuubizza ebirungi bingi mu biseera eby’omu maaso, era bwe tubirowoozaako tusobola okugumira ebizibu bye tuba nabyo.—Is. 65:17. w24.12 23 ¶13-14
Yakuwa y’ajja okubawa . . . empeera.—Bak. 3:24.
Abakadde basobola okuba abakakafu nti Yakuwa alaba era asiima omulimu omulungi gwe bakola. Ng’oggyeeko okubuulira, okuyigiriza, n’okukyalira abalala okubazzaamu amaanyi, abakadde bangi bayambako mu kuzimba ebizimbe by’ekibiina n’okudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Abalala bali ku bukiiko obukyalira abalwadde oba obwo Obukwanaganya eby’Eddwaliro. Abakadde abeenyigira mu buweereza ng’obwo, ekibiina bakitwala ng’enteekateeka ya Yakuwa. Baweereza n’omutima gwabwe gwonna nga bakakafu nti Yakuwa ajja kubawa empeera. (Bak. 3:23, 24) Si buli omu nti asobola okuweereza ng’omukadde. Naye ffenna tulina kye tusobola okuwa Yakuwa. Katonda waffe asiima nnyo bwe tukola kyonna kye tusobola okumuweereza. Alaba bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, ka bibe bitono bitya. Era kimusanyusa nnyo bwe tusonyiwa abo ababa batunyiizizza. Ba mukakafu nti Yakuwa asiima ebyo by’okola. Akwagala nnyo era ajja kukuwa empeera.—Luk. 21:1-4. w24.06 23 ¶12-13
Temukkirizanga mitima gyammwe okutwalirizibwa ne mugoberera amakubo ge. Temuwabanga ne mutambulira mu mpenda ze.—Nge. 7:25.
Ebyo Sulemaani bye yawandiika biraga ekiyinza okutuuka ku muweereza wa Yakuwa yenna. Ayinza okukola ekibi eky’amaanyi naye oluvannyuma n’alowooza nti ebintu byabaddewo mangu mangu. Oba ayinza okugamba nti, “Kyaguddewo bugwi.” Kyokka bw’afumiitiriza, ayinza okukiraba nti waliwo ebintu ebitali bya magezi bye yasooka okukola ebyamuviiriddeko okukola ekibi. Ebintu ebyo biyinza okuba nga bizingiramu emikwano emibi, eby’okwesanyusaamu ebitasaana, oba okugenda mu bifo ebitali birungi, ka kibe mu buntu oba okuyitira ku Intaneeti. Oboolyawo ayinza n’okuba nga yali alekedde awo okusaba, okusoma Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, oba okubuulira. Okufaananako omuvubuka ayogerwako mu Engero, ekibi ky’aba yakoze kiyinza okuba nga tekyaguddewo bugwi. Kiki kye tuyiga? Tetulina kukoma ku kwewala kukola kibi, wabula tulina n’okwewala ebintu ebiyinza okutuviirako okukola ekibi. Ensonga eyo Sulemaani yagyogerako.—Mat. 5:29, 30. w24.07 16 ¶10-11
Obugagga buno tubulina mu bibya eby’ebbumba.—2 Kol. 4:7.
Bugagga ki obwo? Gwe mulimu gw’okubuulira ebikwata ku Bwakabaka oguwonyaawo obulamu bw’abantu. (2 Kol. 4:1) Ebibya eby’ebbumba kye ki? Bikiikirira abaweereza ba Katonda ababuulira abalala amawulire amalungi. Mu kiseera kya Pawulo, abasuubuzi baakozesanga ensumbi ez’ebbumba okutambulizaamu ebintu eby’omuwendo, gamba ng’emmere, omwenge, n’essente. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yatukwasa amawulire amalungi ag’omuwendo. Yakuwa atuyamba okufuna amaanyi ne tweyongera okubuulira. Oluusi tuyinza okutya abantu. Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ekyo? Lowooza ku ssaala abatume gye baasaba bwe baalagirwa okulekera awo okubuulira. Mu kifo ky’okulekera awo okubuulira olw’okutya, baasaba Yakuwa abayambe okweyongera okwogera n’obuvumu. Essaala eyo Yakuwa yagiddamu mu bwangu. (Bik. 4:18, 29, 31) Oluusi bwe tuwulira nga tutidde abantu, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe tweyongere okwagala abantu, tusobole okuggwaamu okutya. w24.04 16 ¶8-9
Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.—Mat. 6:9.
Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okutukuza erinnya lye. Twagala okuggya ekivume Sitaani kye yaleeta ku linnya lya Yakuwa bwe yamwogerako eby’obulimba. (Lub. 3:1-5; Yob. 2:4; Yok. 8:44) Twagala nnyo okubuulira abantu abeetegefu okuwuliriza amazima agakwata ku Katonda waffe. Twagala abantu bonna bamanye nti engeri ye esinga obukulu kwe kwagala, nti obufuzi bwe bwa butuukirivu era bwa bwenkanya, era nti Obwakabaka bwe bunaatera okumalawo okubonaabona buleetere abantu emirembe n’essanyu. (Zab. 37:10, 11, 29; 1 Yok. 4:8) Bwe tubuulira abantu ebintu ebyo ebikwata ku Yakuwa, tuba tutukuza erinnya lye. Ate era tuba bamativu olw’okukimanya nti tutuukana n’erinnya lyaffe. w24.05 18 ¶12
Bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, abalema, n’abazibe b’amaaso; era oliba musanyufu, kubanga tewali kye balikusasula. Olisasulwa mu kuzuukira kw’abatuukirivu.—Luk. 14:13, 14.
Ow’oluganda, kyoleke nti olina omwoyo ‘gw’okusembeza abagenyi’ ng’okolera abalala ebirungi, omuli n’abo abatali mikwano gyo egy’oku lusegere. (1 Peet. 4:9) Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebyo ebiri mu Bayibuli kigamba nti: ‘Omuntu alina omwoyo gw’okusembeza abagenyi aba wa kisa n’eri abantu b’atamanyi era aba musanyufu okubasembeza mu maka ge.’ Weebuuze, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu asembeza abagenyi?’ (Beb. 13:2, 16) Omuntu alina omwoyo gw’okusembeza abagenyi aba mwetegefu okugabana n’abalala ekyo kyonna ky’aba nakyo, omuli abaavu, n’abaweereza ba Yakuwa abakola ennyo, gamba ng’abalabirizi abakyalira ebibiina oba ab’oluganda ababa bazze mu kibiina okuwa emboozi.—Lub. 18:2-8; Nge. 3:27; Bik. 16:15; Bar. 12:13. w24.11 21 ¶6
Abawala abaali beetegese ne bayingira naye mu nnyumba omwali ekijjulo ky’embaga ey’obugole.—Mat. 25:10.
Mu lugero olukwata ku bawala embeerera, Yesu yayogera ku bawala embeerera kkumi, abaagenda okwaniriza omugole omusajja. (Mat. 25:1-4) Bonna baali basuubira okuwerekera omugole omusajja ku kijjulo ky’embaga ey’obugole. Yesu yagamba nti bataano ku bo baali ba ‘b’amagezi’ ate abataano abalala baali “basirusiru.” Ab’amagezi baali beeteeseteese bulungi. Baali beetegefu okulindirira omugole omusajja ekiseera kyonna we yandijjidde, ne bwe yandituuse ekiro mu ttumbi. N’olwekyo baaleeta ettaala okusobola okubamulisa ekiro. Baaleetayo n’amafuta ge bandibadde bakozesa omugole omusajja bwe yandiruddewo okutuuka. Bwe batyo ettaala zaabwe baali baziteeseteese okusigala nga zaaka. (Mat. 25:6-10) Omugole omusajja bwe yatuuka, abawala ab’amagezi baagenda naye ku kijjulo ky’embaga ey’obugole. Mu ngeri y’emu, abaafukibwako amafuta abanaakiraga nti beeteeseteese nga basigala beesigwa okutuuka ku kujja kwa Kristo, bajja kuweebwa empeera ey’okubeera awamu ne Yesu, Omugole Omusajja, mu bwakabaka obw’omu ggulu.—Kub. 7:1-3. w24.09 21 ¶6
Ne ndaba . . . ekibiina ekinene . . . nga bava mu mawanga gonna.—Kub. 7:9.
Bwe tulowooza ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye guyambye abantu bangi okwetooloola ensi, kituleetera okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ng’ekyokulabirako, buli mwaka abantu bukadde na bukadde abawuliriza obubaka bwaffe, babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo era batandika okuyiga Bayibuli. Ate era abantu mitwalo na mitwalo babatizibwa ne batwegattako mu mulimu gw’okubuulira. Tetumanyi bantu bameka abajja okuwuliriza obubaka bwaffe, naye tukimanyi nti Yakuwa akuŋŋaanya ab’ekibiina ekinene abagenda okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene ekijja. (Kub. 7:9, 14) Yakuwa nnannyini makungula akiraba nti wakyaliyo abantu bangi abaagala okuwuliriza amawulire amalungi. N’olwekyo tusaanidde okweyongera okubuulira. (Luk. 10:2) Okuva edda n’edda abagoberezi ba Yesu babaddenga babuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Mu kyasa ekyasooka, abantu bwe baakiraba nti abatume ba Yesu baali boogera n’obuvumu, ‘baakitegeera nti baabeeranga ne Yesu.’ (Bik. 4:13) Naffe bwe tubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu, abalala bayinza okukiraba nti tukoppa Yesu. w25.03 18 ¶15; 19 ¶17-18
Ai Yakuwa, omuntu kye ki ggwe okumulowoozaako?—Zab. 144:3.
Bwe tusoma Bayibuli, tukiraba nti Yakuwa afaayo ku abo abalala be bayinza okutwala ng’abatali ba muwendo nnyo. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yatuma nnabbi Samwiri ewa Yese okufuka amafuta ku omu ku batabani be eyandibadde kabaka wa Isirayiri eyandizzeeko. Yese yalina abaana ab’obulenzi munaana, naye yayitako musanvu. Ow’omunaana yali Dawudi eyali asembayo obuto, naye teyamuyita. Kyokka Dawudi Yakuwa gwe yali alonze. (1 Sam. 16:6, 7, 10-12) Yakuwa yalaba ekyo Dawudi kye yali munda. Yakiraba nti yali atwala ebintu eby’omwoyo nga bikulu nnyo. Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’akirazeemu nti akulaba. Akuwa obulagirizi obukuyamba mu mbeera gy’obaamu. (Zab. 32:8) Ekyo teyandikikoze singa yali takumanyi bulungi. (Zab. 139:1) Bw’okolera ku bulagirizi Yakuwa bw’akuwa era n’olaba engeri gye bukuyambamu, weeyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akufaako. (1 Byom. 28:9; Bik. 17:26, 27) Yakuwa alaba okufuba kwo. Alaba engeri zo era ayagala okuba mukwano gwo.—Yer. 17:10. w24.10 25-26 ¶7-9
N’abasaasira kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba.—Mak. 6:34.
Kya lwatu, oyagala nnyo Yakuwa era oyagala okuweereza abalala. Kiki ekiyinza okukuyamba okwagala okukikola? Lowooza ku ssanyu eriva mu kuweereza abalala. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Ye kennyini yakolera ku bigambo ebyo, era yafuna essanyu eriva mu kuweereza abalala. Lowooza ku kyokulabirako ekiri mu Makko 6:31-34. Ku mulundi guno ye n’abatume be baali bakooye nnyo era nga bagenda mu kifo ekyesudde okusobola okuwummulako. Naye abantu baabasookayo nga baagala Yesu abayigirize. Yandibadde asobola okugaana okubayigiriza. Ye ne banne ‘baali tebafunye na kiseera kya kuwummulamu wadde eky’okulya emmere.’ Oba yandibadde ayigiriza abantu abo ekintu kimu oba bibiri n’abasiibula. Naye olw’okuba yali abaagala, ‘yatandika okubayigiriza’ okutuusa obudde lwe “bwawungeera.”—Mak. 6:35. w24.11 16 ¶9-10
Mujja kuweebwa empeera olw’ebyo bye mukola.—2 Byom. 15:7.
Omuzadde, yamba omwana wo okukozesa buli kakisa k’afuna okubuulirako abalala ebiri mu Bayibuli. (Bar. 10:10) Okufuba kw’assaamu okubuulirako abalala oyinza okukugeraageranya ku kufuba omuntu kw’assaamu ng’ayiga okukuba ekivuga ekimu. Mu kusooka, yeegezaamu ng’akuba ennyimba ennyangu. Oluvannyuma lw’ekiseera, ayanguyirwa okukuba ennyimba zonna. Mu ngeri y’emu, omwana Omukristaayo ayinza okutandika okubuulirako abalala, ng’akikola mu ngeri ennyangu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okubuuza muyizi munne nti: “Obadde okimanyi nti ebintu bingi bayinginiya bye bakola babikoppa ku bitonde? Ka nkulageyo vidiyo emu.” Oluvannyuma lw’okumulaga emu ku vidiyo eziri mu kitundu, Kyajjawo Kyokka?, ayinza okumubuuza nti: “Bwe kiba nti bayinginiya batenderezebwa olw’ebyo bye bakola nga babikoppye ku bitonde, ani asaanidde okutenderezebwa olw’ebitonde ebyo?” Bw’abuulira muyizi munne mu ngeri ennyangu bw’etyo, kisobola okumuyamba okwagala okumanya ebisingawo. w24.12 19 ¶17-18
Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.—Bar. 5:12.
Okusobola okutusumulula okuva mu kibi n’okufa, Yakuwa yakola enteekateeka Yesu aweeyo ekinunulo. Naye ssaddaaka y’omuntu omu atuukiridde yandisobodde etya okununula obukadde n’obukadde bw’abantu? Omutume Pawulo yagamba nti: “Ng’obujeemu bw’omuntu omu [Adamu] bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi, n’obuwulize bw’omuntu omu [Yesu] bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.” (Bar. 5:19; 1 Tim. 2:6) Wano Pawulo yalaga nti omuntu omu eyali atuukiridde bwe yajeema, kyatuviirako ffenna okuba mu buddu bw’ekibi n’okufa. N’olwekyo kyali kyetaagisa omuntu omu atuukiridde okutusumulula mu buddu obwo. Yakuwa yali tasobola kusalawo kuleka bulesi bazzukulu ba Adamu ab’emitima emirungi okubaawo emirembe gyonna? Eri abantu abatatuukiridde ekyo kiyinza okulabika ng’ekikola amakulu. Naye eri Yakuwa ekyo tekyandibadde kituufu kukola. Kubanga kyandibadde kiraga nti ekibi Adamu kye yakola tekyali kya maanyi era nti n’abaana be si boonoonyi. Kyokka ng’ekyo si kituufu. w25.01 21 ¶3-4
Tutambula lwa kukkiriza, so si lwa kulaba.—2 Kol. 5:7.
Omutume Pawulo yali akimanyi nti anaatera okuttibwa naye yali mumativu n’engeri gye yali akozesezzaamu obulamu bwe. Yagamba nti: “Nnwanye olutalo olulungi, embiro nzimalirizza, okukkiriza nkukuumye.” (2 Tim. 4:6-8) Pawulo yasalawo bulungi okukozesa obulamu bwe okuweereza Yakuwa era yali mukakafu nti Yakuwa amusiima. Naffe twagala okusalawo obulungi tusobole okusiimibwa Yakuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Pawulo bwe yali yeeyogerako era ng’ayogera ne ku Bakristaayo banne yagamba nti: “Tutambula lwa kukkiriza, so si lwa kulaba.” Emirundi egimu Bayibuli ekozesa ekigambo “okutambula” ng’eyogera ku ngeri omuntu gy’akozesaamu obulamu bwe. Omuntu atambula olw’okukkiriza bw’aba alina by’asalawo alowooza ku ebyo Yakuwa by’ayagala. Ebikolwa bye biraga nti mukakafu nti Yakuwa ajja kumuwa emikisa era nti ajja kuganyulwa bw’anaakolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye.—Zab. 119:66; Beb. 11:6. w25.03 20 ¶1-2
Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.—Bar. 12:2.
Omwoyo gwa Katonda guyambye bangi abaalina engeri eziri ng’ez’ensolo okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (Is. 65:25) Bafubye nnyo okweggyamu engeri embi. (Bef. 4:22-24) Kyo kituufu nti abantu ba Katonda tebatuukiridde era bakola ensobi. Kyokka Yakuwa akuŋŋaanyizza “abantu aba buli ngeri” abamwagala era abalagaŋŋana okwagala. N’ekivuddemu, tulina emirembe egya nnamaddala era tuli bumu. (Tit. 2:11) Ekyo kyamagero, era Yakuwa yekka y’asobola okukikola! Bulijjo Yakuwa by’asuubiza bituukirira. (Is. 55:10, 11) Olusuku olw’eby’omwoyo weeruli era lwa ddala. Yakuwa asobozesezza abaweereza be okuba n’oluganda oluli mu nsi yonna. Olw’okuba tulina oluganda luno, tulina emirembe era tuwulira nga tulina obukuumi mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obukambwe. (Zab. 72:7) Eyo ye nsonga lwaki twagala okuyamba abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka okutwegattako. Ekyo tusobola okukikola nga tufuba okukola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20. w24.04 23 ¶13, 15
Tulina endowooza ya Kristo.—1 Kol. 2:16.
Yesu yali ayagala Yakuwa n’amagezi ge gonna. Yali amanyi bulungi Kitaawe ky’ayagala akole, era yali mumalirivu okukikola wadde ng’ekyo kyandimuviiriddeko okubonaabona. Olw’okuba Yesu yali yeemalidde ku kukola Kitaawe by’ayagala, teyakkiriza kintu kyonna kumuwugula. Peetero n’abatume abalala baafuna enkizo okubeerako awamu ne Yesu era ekyo kyabayamba okumanya endowooza ye. Mu bbaluwa esooka Peetero gye yawandiika, yakubiriza Abakristaayo okuba n’endowooza ng’eya Kristo. (1 Peet. 4:1) Ekigambo “mubeere n’endowooza” Peetero kye yakozesa wano, mu Luyonaani kyakozesebwanga nga boogera ku musirikale akutte eby’okulwanyisa nga yeeteekeddeteekedde olutalo. N’olwekyo, Abakristaayo bwe bakoppa endowooza ya Kristo, baba n’eky’okulwanyisa eky’amaanyi kye basobola okukozesa okulwanyisa okwegomba okubi n’ebikemo ebiri mu nsi efugibwa Sitaani.—2 Kol. 10:3-5; Bef. 6:12. w25.03 8-9 ¶1-3
Ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu biringa amazzi agali mu luzzi oluwanvu, naye omuntu omutegeevu abisenayo.—Nge. 20:5.
Bintu ki by’osaanidde okumanya ku oyo gw’oyogerezeganya naye? Ng’omukwano gwammwe tegunnagenda wala, kiyinza okubeetaagisa okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebimu ebikulu, gamba ng’ebiruubirirwa munno by’alina. Oyinza otya okutegeera obulungi ekyo munno ky’ali? Buli omu alina okweyabiza munne mu bwesimbu ng’abuuza ebibuuzo era ng’awuliriza bulungi. (Yak. 1:19) Ekyo okusobola okukikola, kiyinza okubeetaagisa okwenyigira mu bintu ebinaabasobozesa okunyumya, gamba ng’okuliirako awamu, okutambulako awamu mu bifo ebya lukale, n’okubuulirako awamu. Okubeerako awamu ne mikwano gyammwe oba n’ab’eŋŋanda zammwe nakyo kisobola okubayamba okumanyagana. Ate era mwenyigire mu bintu ebinaabasobozesa buli omu okulaba engeri munne gye yeeyisaamu mu mbeera ez’enjawulo ng’akolagana n’abantu abatali bamu. w24.05 27-28 ¶6-7
Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa.—Bef. 5:1.
Mu biseera ebijja, tugenda kwolekagana n’ebizibu ebijja okutwetaagisa okwesiga ennyo Yakuwa okusinga bwe kyali kibadde. Eby’okulabirako by’abaweereza ba Yakuwa aboogerwako mu Bayibuli n’ab’omu kiseera kyaffe bituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’abaddemu ng’olwazi ng’ayamba abantu be. Fumiitiriza ku ebyo by’osoma ku bantu abo. Ekyo kijja kukuyamba okufuula Yakuwa Olwazi lwo. Ate era ojja kuba osobola okunyweza okukkiriza kwa baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Yesu yatuuma Simooni erinnya Keefa (erivvuunulwa nti, “Peetero”), ekitegeeza “Olwazi.” (Yok. 1:42) Kino kiraga nti Peetero yandibadde abudaabuda bakkiriza banne mu kibiina era yandibadde anyweza okukkiriza kwabwe. Abakadde mu kibiina bageraageranyizibwa ku ‘kisiikirize ky’olwazi olunene.’ Ekyo kiraga engeri gye bakuumamu bakkiriza bannaabwe mu kibiina. (Is. 32:2) Kya lwatu nti ekibiina kiganyulwa nnyo singa bonna abakirimu bakoppa engeri za Yakuwa ezimufuula okuba ng’olwazi. w24.06 28 ¶10-11
Yakuwa . . . ayagala abantu okumwemalirako.—Ma. 4:24.
Bakabaka ba Isirayiri Yakuwa be yali atwala nti beesigwa, baanywereranga ku kusinza okw’amazima. Ate abo be yali atwala nti tebaali beesigwa baalekera awo okugondera Amateeka ge ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba. (1 Byom. 21:25, 26; 2 Byom. 12:1) Lwaki ensonga y’okusinza Yakuwa yali agitwala nga nkulu nnyo? Ekisookera ddala, bakabaka be baali bavunaanyizibwa okuyamba abantu okusinza mu ngeri entuufu. Ate era okusinza okw’obulimba kuviirako abantu okukola ebibi eby’amaanyi n’obutaba benkanya. (Kos. 4:1, 2) Okugatta ku ekyo, bakabaka n’abantu be baali bafuga baali beewaayo eri Yakuwa. N’olwekyo, abantu abo okwenyigira mu kusinza okw’obulimba Bayibuli yakigeraageranya ku kwenda. (Yer. 3:8, 9) Omuntu ayenda taba mwesigwa eri munne era amulumya. Mu ngeri y’emu, omuweereza wa Yakuwa eyeewaayo gy’ali bwe yeenyigira mu kusinza okw’obulimba, taba mwesigwa eri Yakuwa era amulumya.—Ma. 4:23. w24.07 22-23 ¶12-15

