1 Peetero 4:1-19

  • Okukola Katonda by’ayagala, nga Kristo bwe yakola (1-6)

  • Enkomerero y’ebintu byonna esembedde (7-11)

  • Okubonaabona olw’okuba Omukristaayo (12-19)

4  Okuva Kristo bwe yabonaabona mu mubiri,+ nammwe mubeere n’endowooza ng’eyiye;* kubanga omuntu abonyeebonye mu mubiri aba alekedde awo okukola ebibi,+  alyoke amale ekiseera kyonna ky’aba asigazzaayo ng’ali mu mubiri ng’akola ebyo Katonda by’ayagala+ so si ebyo abantu bye beegomba.+  Kubanga ekiseera ekyayita kyabamala okukola ebyo amawanga bye gaagala,+ bwe mwatambuliranga mu bikolwa eby’obugwagwa,* mu kwegomba okubi awatali kwekomako, mu kwekamirira omwenge, mu binyumu, mu kunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya, ne mu kusinza ebifaananyi okw’obujeemu.+  Basoberwa olw’okuba temukyatambulira wamu nabo mu mpisa zaabwe embi ennyo, era babavuma.+  Naye abantu bano bajja kuwoza eri oyo agenda okulamula abalamu n’abafu.+  Mu butuufu, eyo ye nsonga lwaki amawulire amalungi gaabuulirwa n’abafu,+ kibe nti, wadde nga balamulwa mu mubiri okusinziira ku ndowooza y’abantu, babe balamu nga bakulemberwa omwoyo gwa Katonda.  Naye enkomerero ya byonna esembedde. N’olwekyo, mubeere n’endowooza ennuŋŋamu,+ era mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.+  N’okusinga byonna, mwagalanenga nnyo,+ kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.+  Musembezeganyenga awatali kwemulugunya.+ 10  Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu.+ 11  Omuntu yenna bw’ayogera, ayogere obubaka obuva eri Katonda; omuntu yenna bw’aweereza, aweereze nga yeesigama ku maanyi Katonda g’agaba;+ Katonda alyoke agulumizibwe mu bintu byonna+ okuyitira mu Yesu Kristo. Ekitiibwa n’amaanyi bibye emirembe n’emirembe. Amiina. 12  Abaagalwa, temwewuunya olw’okugezesebwa okulinga omuliro okubatuukako,+ nga gy’obeera nti waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekibatuuseeko. 13  Wabula musanyukenga+ olw’okugabana ku kubonaabona kwa Kristo,+ ekitiibwa kye bwe kiribikkulwa+ mulyoke musanyuke era mujaguze. 14  Bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo muba basanyufu,+ kubanga omwoyo ogw’ekitiibwa, omwoyo gwa Katonda, guli ku mmwe. 15  Naye waleme kubaawo n’omu ku mmwe abonaabona olw’okuba omutemu, oba omubbi, oba omukozi w’ebintu ebibi, oba olw’okweyingiza mu nsonga z’abalala.+ 16  Kyokka singa omuntu abonaabona olw’okuba Omukristaayo, alemenga kukwatibwa nsonyi+ wabula agulumizenga Katonda ng’atambulira mu bulamu obw’Ekikristaayo. 17  Ekiseera kituuse omusango okusalibwa nga gutandikira mu nnyumba ya Katonda.+ Bwe gutandikira ku ffe,+ ate kinaaba kitya eri abo abatagondera mawulire ga Katonda amalungi?+ 18  “Era bwe kiba nga si kyangu omuntu omutuukirivu okulokolebwa, kiki ekirituuka ku mwonoonyi n’oyo atatya Katonda?”+ 19  Kale abo ababonaabona olw’okukola Katonda by’ayagala beeyongere okwekwasa Omutonzi omwesigwa nga bakola ebirungi.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “n’obumalirivu ng’obubwe.”
Laba obugambo obuli wansi ku Mak 7:22.