Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 81

Yesu Abuulira ku Lusozi

Yesu Abuulira ku Lusozi

Oluvannyuma lw’okulonda abatume 12, Yesu yakka okuva waggulu ku lusozi n’agenda awaali wakuŋŋaanidde ekibiina ky’abantu. Abantu abo baali bavudde Ggaliraaya, Buyudaaya, Ttuulo, Sidoni, Busuuli, ne mu bitundu ebiri emitala wa Yoludaani. Baaleeta abantu abalwadde n’abo abaali batawaanyizibwa dayimooni, Yesu n’abawonya bonna. Oluvannyuma yatuula ku lusozi n’atandika okuyigiriza. Yalaga bye tulina okukola okusobola okufuuka mikwano gya Katonda. Tulina okukimanya nti twetaaga Yakuwa era tulina okumwagala. Kyokka tetusobola kwagala Katonda bwe tuba nga tetwagala bantu bannaffe. Tulina okulaga abantu bonna ekisa, nga mw’otwalidde n’abo abatatwagala.

Yesu yagamba nti: ‘Tosaanidde kwagala mikwano gyo gyokka. Olina n’okwagala abo abatakwagala era olina okusonyiwa abalala. Bw’onyiiza omuntu yenna, genda gy’ali omwetondere. Abalala bayise nga bwe wandyagadde bakuyise.’

Yesu era yawa abantu amagezi amalungi ku ndowooza gye basaanidde okuba nayo ku bintu. Yagamba nti: ‘Kikulu okuba mukwano gwa Yakuwa okusinga okuba n’essente ennyingi. Omubbi asobola okubba ssente zo, naye tewali asobola kubba nkolagana gy’olina ne Yakuwa. Mulekere awo okweraliikirira kye munaalya, kye munaanywa, oba kye munaayambala. Mutunuulire ebinyonyi. Bulijjo Katonda abiriisa. Okweraliikirira tekusobola kwongera ku bulamu bwammwe wadde olunaku olumu. Mukijjukire nti Yakuwa amanyi ebyo bye mwetaaga.’

Abantu baali tebawulirangako muntu ayigiriza nga Yesu. Abakulembeze b’eddiini baali tebabayigiriza bintu ebyo. Lwaki Yesu yali muyigiriza mulungi nnyo? Kyali kityo kubanga byonna bye yayigiriza byava eri Yakuwa.

“Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.”​—Matayo 11:29