Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 65

Eseza Ayamba Abantu Be Okuwonawo

Eseza Ayamba Abantu Be Okuwonawo

Eseza yali muwala Omuyudaaya eyali abeera mu kibuga kya Buperusi ekiyitibwa Susani. Emyaka mingi emabega, Nebukadduneeza yali yawamba Abayudaaya okuva mu Yerusaalemi, nga muno mwe mwali n’ab’eŋŋanda za Eseza. Eseza yakuzibwa omu ku b’eŋŋanda ze ayitibwa Moluddekaayi, era Moluddekaayi yali muweereza wa Kabaka Akaswero owa Buperusi.

Ekiseera kyatuuka Kabaka Akaswero n’ayagala okufuna nnaabakyala omulala. Abaweereza be baamuleetera abakazi abaali basingayo okulabika obulungi mu bwakabaka bwe, nga muno mwe mwali ne Eseza. Mu bakazi abo bonna, kabaka yalondamu Eseza okuba nnaabakyala. Moluddekaayi yagamba Eseza obutabuulirako muntu yenna nti yali Muyudaaya.

Waaliwo omusajja ow’amalala ayitibwa Kamani eyali akulira abaami ba kabaka bonna. Kamani yali ayagala abantu bonna bamuvunnamire. Moluddekaayi yagaana okuvunnamira Kamani, era ekyo kyanyiiza nnyo Kamani n’ayagala okumutta. Kamani bwe yakimanya nti Moluddekaayi yali Muyudaaya, yakola olukwe okutta Abayudaaya bonna abaali mu bwakabaka bwa Buperusi. Kamani yagamba kabaka nti: ‘Abayudaaya bantu babi nnyo; olina okubasaanyawo.’ Akaswero yamugamba nti: ‘Bakole kyonna ky’oyagala okubakola,’ era n’amuwa n’obuyinza okubaako etteeka ly’abaga. Kamani yabaga etteeka eriragira abantu okutta Abayudaaya bonna ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi gwa Adali. Kyokka ebyo byonna Yakuwa yali abiraba.

Eseza yali talina ky’amanyi ku tteeka eryo. Bwe kityo, Moluddekaayi yamusindikira ekiwandiiko okwali etteeka eryo era n’amugamba nti: ‘Genda oyogereko ne kabaka.’ Eseza yagamba Moluddekaayi nti: ‘Omuntu yenna agenda mu maaso ga kabaka nga tayitiddwa attibwa. Kati wayise ennaku 30 nga kabaka tampita kugenda gy’ali! Naye nja kugenda. Bw’anangololera omuggo gwe, sijja kuttibwa. Naye bw’ataagugolole, nja kuttibwa.’

Eseza yagenda mu luggya lwa kabaka. Kabaka bwe yamulaba yamugololera omuggo gwe. Eseza yasembera awaali kabaka, era kabaka n’amubuuza nti: ‘Kiki kye mba nkukolera?’ Eseza yamugamba nti: ‘Nkusaba ggwe ne Kamani mujje ku kijjulo kye mbategekedde.’ Bwe baali ku kijjulo ekyo, Eseza yayita kabaka ne Kamani ku kijjulo ekirala. Ku kijjulo ekyo, kabaka yaddamu n’amubuuza nti: ‘Kiki kye mba nkukolera?’ Eseza yamugamba nti: ‘Waliwo omuntu ayagala okunzita nze n’abantu bange. Nkusaba otutaase.’ Kabaka yamubuuza nti: ‘Ani ayagala okubatta?’ Eseza yamuddamu nti: ‘Omusajja ono omubi Kamani.’ Akaswero yanyiiga nnyo era n’alagira Kamani attibwe.

Naye tewali muntu n’omu, nga mw’otwalidde ne kabaka, eyali asobola okusazaamu etteeka Kamani lye yali abaze. Bwe kityo, kabaka yafuula Moluddekaayi omukulu w’abaami era n’amuwa obuyinza okubaga etteeka eddala. Moluddekaayi yabaga etteeka eryali likkiriza Abayudaaya okwerwanako nga balumbiddwa. Ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi gwa Adali, Abayudaaya baawangula abalabe baabwe. Okuva olwo, Abayudaaya baajaguzanga olw’obuwanguzi obwo bwe baatuukako.

“Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, bube obujulirwa gye bali n’eri amawanga.”​—Matayo 10:18