Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 59

Abalenzi Bana Abaagondera Yakuwa

Abalenzi Bana Abaagondera Yakuwa

Mu bantu Nebukadduneeza be yatwala e Babulooni mwalimu ab’omu lulyo olulangira, era Nebukadduneeza yalagira abasirikale be balondemu abalenzi abalamu obulungi era abagezi. Abalenzi abo baali bagenda kutendekebwa okumala emyaka esatu. Ebyo bye baali bagenda okuyigirizibwa byali bya kubateekateeka okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Abalenzi abo Nebukadduneeza yabakwasa omukulu w’abaami ayitibwa Asupenaazi. Baalina okuyigirizibwa okwogera olulimi olwayogerwanga mu Babulooni, okulusoma, n’okuluwandiika. Era baalina okuweebwa emmere kabaka n’abakungu be gye baalyangako. Mu abo abaalondebwa mwalimu abalenzi bano bana: Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya. Asupenaazi yabatuuma amannya g’Abababulooni gano: Berutesazza, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Ekyo kyandireetedde abalenzi abo okulekera awo okuweereza Yakuwa?

Abalenzi abo abana baali bamalirivu okugondera Yakuwa. Baali bakimanyi nti tebasaanidde kulya ku mmere ya kabaka kubanga okusinziira ku Mateeka ga Yakuwa, emu ku mmere eyo teyali nnongoofu. Bwe kityo, baagamba Asupenaazi nti: ‘Tukwegayiridde, totuwa mmere ya kabaka.’ Asupenaazi yabagamba nti: ‘Bwe mutalya ku mmere ya kabaka, kabaka n’abalaba nga mulabika bubi, ajja kunzita!’

Danyeri yafuna ekirowoozo. Yagamba Asupenaazi nti: ‘Tukwegayiridde, tuwenga emmere eva mu birime n’amazzi byokka okumala ennaku kkumi. Oluvannyuma ojja kutugeraageranya n’abalenzi abalya ku mmere ya kabaka.’ Ekyo Asupenaazi yakkiriza okukikola.

Oluvannyuma lw’ennaku kkumi, Danyeri ne banne abasatu baali balabika bulungi okusinga abalenzi abalala bonna. Yakuwa yasanyuka nnyo okulaba nti Danyeri ne banne baamugondera. Yakuwa yawa Danyeri amagezi okutegeera amakulu g’ebirooto n’okwolesebwa.

Ekiseera eky’okutendekebwa bwe kyaggwaako, Asupenaazi yatwala abalenzi bonna eri Nebukadduneeza. Kabaka yayogera nabo n’akiraba nti Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya baali bagezi nnyo okusinga abalenzi abalala bonna. Abalenzi abo abana yabalonda okuweereza mu lubiri lwe. Kabaka yateranga okubeebuuzaako ku nsonga enkulu. Abalenzi abo abana Yakuwa yabafuula bagezi okusinga abasajja ba kabaka bonna abagezigezi n’abaakolanga eby’obufumu.

Wadde nga Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya tebaali mu nsi yaabwe, tebeerabira nti baali baweereza ba Yakuwa. Naawe onoonywerera ku Yakuwa nga weesanze mu mbeera nga toli na bazadde bo?

“Omuntu yenna takunyoomanga olw’obuvubuka bwo, naye beeranga kyakulabirako eri abeesigwa, mu kwogera, mu nneeyisa, mu kwagala, mu kukkiriza, ne mu bulongoofu.”​—1 Timoseewo 4:12