Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 35

Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo

Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo

MATAYO 5:1–7:29 LUKKA 6:17-49

  • OKUYIGIRIZA OKW’OKU LUSOZI

Yesu ateekwa okuba nga mukoowu nnyo oluvannyuma lw’okumala ekiro kyonna ng’asaba era oluvannyuma n’alonda abayigirizwa 12 okuba abatume be. Kati obudde bwa misana, naye era ayagala nnyo okuyamba abantu, era ekyo ky’akola ng’ali e Ggaliraaya, oboolyawo okumpi n’e Kaperunawumu.

Abantu bangi bazze eri Yesu okuva mu bitundu ebitali bimu. Abamu bavudde mu bukiikaddyo, mu Yerusaalemi ne mu bitundu bya Buyudaaya. Abalala bavudde mu bibuga Ttuulo ne Sidoni, ebisangibwa ku lubalama lw’ennyanja. Lwaki bazze eri Yesu? “Bazze okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe.” Ekyo kyennyini Yesu ky’akola. ‘Abawonya bonna.’ Kirowoozeeko! Abalwadde bonna bawonyezebwa. Ate era Yesu awonya abo ‘abatawaanyizibwa emyoyo emibi,’ kwe kugamba, abantu ababonyaabonyezebwa bamalayika ba Sitaani ababi.​—Lukka 6:17-19.

Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu afuna ekifo ekigulumivu ku lusozi n’atuula era ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaanira w’ali. Abayigirizwa be, naddala abatume 12, oboolyawo be bamuliraanye. Abantu bonna beesunga okuwuliriza omuyigiriza oyo akola ebyamagero eby’amaanyi. Yesu atandika okuyigiriza abantu ebintu eby’omugaso ennyo gye bali. Ebintu by’ayigiriza bya kuganyula abantu bangi. Ebintu ebyo naffe bisobola okutuganyula. Yesu ayigiriza ng’akozesa ebyokulabirako by’ebintu abantu bye bamanyi obulungi. Ekyo kiyamba abo bonna abaagala okukola Katonda by’ayagala okutegeera ebyo by’ayigiriza. Bintu ki ebikulu Yesu by’ayogerako ng’ayigiriza?

BAANI ABALINA ESSANYU ERYA NNAMADDALA?

Buli muntu ayagala okuba omusanyufu. Olw’okuba ekyo Yesu akimanyi bulungi, atandika ng’ayogera ku abo abalina essanyu erya nnamaddala. Lowooza ku ngeri ekyo gye kikwata ku abo abamuwuliriza. Kyokka ebintu ebimu by’ayogera bibeewuunyisa.

Agamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe. Balina essanyu abakungubaga, kubanga balibudaabudibwa. . . . Balina essanyu abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, kubanga balikkusibwa. . . . Balina essanyu abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe. Mulina essanyu abantu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga . . . ku lwange. Musanyuke era mujaguze.”​—Matayo 5:3-12.

Kiki Yesu ky’ategeeza bw’ayogera ku ‘ssanyu’? Yesu tayogera ku ssanyu omuntu ly’afuna nga yeesanyusaamu. Essanyu erya nnamaddala lisingako awo. Lisibukira ddala mu mutima era omuntu alirina aba mumativu mu bulamu.

Yesu agamba nti abantu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, abanakuwalira obutali butuukirivu bwabwe, era abategedde Katonda era ne bamuweereza be balina essanyu erya nnamaddala. Ne bwe baba bakyayibwa oba nga bayigganyizibwa olw’okukola Katonda by’ayagala, baba basanyufu kubanga bakimanyi nti basiimibwa mu maaso ga Katonda era nti ajja kubawa ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.

Abantu bangi balowooza nti eby’obugagga n’eby’amasanyu bye bireeta essanyu. Kyokka Yesu si bw’atyo bw’agamba. Okusobola okuyamba abamuwuliriza okufumiitiriza ku nsonga eyo, agamba nti: “Zibasanze mmwe abagagga, kubanga okubudaabudibwa kwammwe mukulina kati mu bujjuvu. Zibasanze mmwe abakkufu kati, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kati, kubanga mulikungubaga era mulikaaba. Zibasanze abantu bonna buli lwe banaaboogerangako obulungi, kubanga bwe batyo bajjajjaabwe bwe baakola bannabbi ab’obulimba.”​—Lukka 6:24-26.

Lwaki Yesu agamba nti zisanze abagagga, abaseka, n’abo abatenderezebwa abalala? Ekyo kiri kityo kubanga omuntu ayagala ennyo ebintu ebyo ayinza okulagajjalira okuweereza Katonda era n’alemwa okufuna essanyu erya nnamaddala. Yesu tagamba nti omuntu okubeera obubeezi omwavu oba omuyala kye kimufuula omusanyufu. Naye emirundi mingi abantu abali mu mbeera ng’eyo be bakkiriza ebigambo bya Yesu, bwe batyo ne bafuna essanyu erya nnamaddala.

Ng’ayogera ku bayigirizwa be, Yesu agamba nti: “Mmwe muli munnyo gwa nsi.” (Matayo 5:13) Kya lwatu nti abayigirizwa be si munnyo ogwa bulijjo. Naye kikulu okukijjukira nti omunnyo bwe guteekebwa mu kintu, ekintu ekyo tekyonooneka mangu. Mu butuufu, omunnyo mungi guterekebwa okumpi n’ekyoto ekiri mu yeekaalu ya Katonda era guteekebwa ku biweebwayo. Era omunnyo gukiikirira obutayonooneka oba obutavunda. (Eby’Abaleevi 2:13; Ezeekyeri 43:23, 24) Abayigirizwa ba Yesu “munnyo gwa nsi” mu ngeri nti bayamba abantu obutayonoonebwa mu by’omwoyo ne mu mpisa. Mu butuufu, obubaka bwe babuulira buwonya obulamu bw’abo bonna ababukolerako.

Yesu era agamba abayigirizwa be nti: “Mmwe muli kitangaala kya nsi.” Ettaala bw’ekoleezebwa, tevuunikibwako kibbo, wabula eteekebwa ku kikondo n’emulisa ekifo kyonna. Bwe kityo, Yesu abagamba nti: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.”​—Matayo 5:14-16.

OMUTINDO OGWA WAGGULU ABAGOBEREZI BE GWE BALINA OKUGOBERERA

Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya balowooza nti Yesu amenya Amateeka ga Katonda era emabegako baagezaako okukola olukwe okumutta. N’olwekyo, Yesu agamba nti: “Temulowooza nti nnajja kuggyawo Mateeka oba ebigambo bya Bannabbi. Sajja kubiggyawo wabula okubituukiriza.”​—Matayo 5:17.

Mu butuufu, Yesu assa nnyo ekitiibwa mu Mateeka ga Katonda era akubiriza abalala okukola kye kimu. Agamba nti: “Omuntu yenna amenya erimu ku mateeka agatwalibwa nti si makulu nnyo, era n’ayigiriza abantu okugamenya, aliyitibwa asembayo mu Bwakabaka obw’omu ggulu.” Yesu alaga nti omuntu ng’oyo tasobola kuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. Agattako nti: “Naye oyo agakwata era n’agayigiriza, aliyitibwa mukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu.”​—Matayo 5:19.

Yesu akubiriza abantu okwewala okuba n’engeri eziyinza okubaleetera okumenya Amateeka ga Katonda. Oluvannyuma lw’okulaga nti Amateeka gagamba nti “Tottanga,” Yesu agattako nti: “Buli asigala ng’asunguwalidde muganda we ajja kuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.” (Matayo 5:21, 22) Omuntu okusigala ng’asunguwalidde omulala kya kabi nnyo era kiyinza n’okumuviirako okumutta. Bwe kityo, Yesu akubiriza abantu okufuba okukuuma emirembe, ng’agamba nti: “Bw’oba oleeta ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo, n’oluvannyuma okomewo, oweeyo ekirabo kyo.”​—Matayo 5:23, 24.

Ate era Amateeka galagira abantu okwewala obwenzi. Yesu agamba nti: “Mwawulira bwe kyagambibwa nti: ‘Toyendanga.’ Naye mbagamba nti, buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:27, 28) Wano Yesu yali tayogera ku kirowoozo ekibi ekijja amangu era ne kigenda; mu kifo ky’ekyo, alaga obuzibu obuyinza okubaawo singa omuntu yeeyongera ‘okutunuulira’ oyo gw’atafaanaganya naye kikula. Ekyo kiyinza okumuleetera okufuna okwegomba okubi. Akakisa bwe kajja, omuntu oyo ayinza okukola obwenzi. Ekyo omuntu ayinza atya okukyewala? Alina okufuba okubaako ky’akolawo. Yesu agamba nti: “Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likuleetera okwesittala, liggyemu olisuule. . . . Omukono gwo ogwa ddyo bwe guba nga gukuleetera okwesittala, gusaleko ogusuule.”​—Matayo 5:29, 30.

Waliwo abantu abamu abakkiriza okutemebwako omukono gwabwe oguba gulwadde oba okugulu kwabwe basobole okutaasa obulamu bwabwe. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yesu agamba nti kisingako omuntu ‘okusuula’ ekintu kyonna, ne bwe kiba kya muwendo ng’eriiso oba omukono, okusobola okwewala okwegomba okubi n’ebyo ebiyinza okuvaamu. Yesu agamba nti: “Waakiri ofiirwa ekitundu ekimu eky’omubiri gwo, okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Ggeyeena” (ekifo we bookera kasasiro ekisangibwa wabweru w’ekibuga Yerusaalemi), ekikiikirira okuzikirira okw’emirembe n’emirembe.

Yesu era awa amagezi ku ngeri y’okuyisaamu abo ababa batukoze ekibi oba ababa batunyiizizza. Agamba nti: “Temulwanyisanga muntu mubi; buli akukuba oluyi ku ttama lyo erya ddyo, omukyusizanga n’erya kkono.” (Matayo 5:39) Yesu tagezaako kulaga nti omuntu talina kwetaasa oba okutaasa ab’omu maka ge nga balumbiddwa. Yesu ayogera ku luyi omuntu lw’akuba omulala nga talina kigendererwa kya kumutuusaako bulabe oba okumutta, wabula ng’ayagala kumukyokooza bukyokooza. Yesu alaga nti singa omuntu ayagala okukuleetera okulwana oba okuyomba, ng’akukuba oluyi oba ng’akuvuma, tolina kumuddiza.

Amagezi ago gakwatagana n’etteeka lya Katonda erikubiriza abantu okwagala bannaabwe. Yesu agamba abamuwuliriza nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.” Era abalaga ensonga lwaki ekyo basaanidde okukikola ng’agamba nti: “Mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu, olw’okuba omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi.”​—Matayo 5:44, 45.

Yesu afundikira ekitundu kino eky’okuyigiriza kwe ng’agamba nti: “Mulina okuba abatuukiridde nga Kitammwe ow’omu ggulu bw’atuukiridde.” (Matayo 5:48) Kya lwatu nti Yesu tategeeza nti tusobola okuba abatuukiridde mu bujjuvu. Kyokka, bwe tukoppa Katonda, tusobola okwoleka okwagala n’eri abalabe baffe. Mu ngeri endala Yesu atugamba nti: “Mweyongere okuba abasaasizi nga Kitammwe bw’ali omusaasizi.”​—Lukka 6:36.

OKUSABA N’OKWESIGA KATONDA

Yesu yeeyongera okuyigiriza ng’akubiriza abamuwuliriza nti: “Mwegendereze muleme kwoleka butuukirivu bwammwe mu maaso g’abantu olw’okwagala okubalaba.” Yesu akubiriza abantu okwewala okweraga, ng’agamba nti: “Bw’obangako by’owa abaavu, teweefuuyira kkondeere nga bannanfuusi bwe bakola.” (Matayo 6:1, 2) Bwe tubaako omuntu ali mu bwetaavu gwe twagala okuyamba, kiba kirungi okukikola mu kyama.

Ate era Yesu agamba nti: “Bwe muba musaba, temuba nga bannanfuusi; kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne mu masaŋŋanzira, abantu babalabe.” Mu kifo ky’ekyo, agamba nti: “Bw’obanga osaba, yingira mu kisenge munda, era bw’omala okuggala oluggi, saba Kitaawo ali mu kyama.” (Matayo 6:5, 6) Yesu tagamba nti tetusaanidde kusaba mu lujjudde kubanga emirundi egimu naye yasabanga mu lujjudde. Mu kifo ky’ekyo, atukubiriza okwewala okusaba essaala nga tulina ekigendererwa eky’okuwuniikiriza abalala oba okubaleetera okutuwaana.

Agamba ekibiina ky’abantu nti: “Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga bigambo ng’ab’amawanga bwe bakola.” (Matayo 6:7) Yesu tategeeza nti kikyamu okusaba ekintu ekimu enfunda n’enfunda. Mu kifo ky’ekyo, akubiriza abantu okwewala ‘okuddiŋŋana’ ebigambo, kwe kugamba, okusaba essaala ze baakwata obukusu. Bwe kityo, abawa essaala ey’okulabirako, erimu ebintu ebikulu musanvu bye basobola okwogerako nga basaba. Ebisatu ebisooka bikwata ku bufuzi bwa Yakuwa n’ebigendererwa bye, kwe kugamba, okutukuzibwa kw’erinnya lye, Obwakabaka bwe okujja, n’okuba nti by’ayagala bikolebwa. Oluvannyuma lw’okwogera ku bintu ng’ebyo nga tusaba, olwo nno tusobola okwogera ku bintu ebyaffe ku bwaffe, gamba ng’okusaba okufuna eby’okulya, okusonyiyibwa ebibi byaffe, obutakemebwa kusukka ku ekyo kye tuyinza okugumira, n’okusaba okulokolebwa okuva eri omubi.

Eby’obugagga bye tulina bisaanidde kuba bikulu kwenkana wa gye tuli? Yesu agamba ekibiina ky’abantu nti: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi, ebiwuka we bibiriira era obutalagge we bubyonoonera, era n’ababbi we bayinza okubibbira.” Ng’amagezi ago malungi nnyo! Eby’obugagga bisobola okusaanawo, era enkolagana yaffe ne Katonda tesinziira ku bya bugagga bye tulina. Eyo ye nsonga lwaki Yesu agamba nti: “Mweterekere eby’obugagga mu ggulu.” Ekyo tusobola okukikola ng’okuweereza Katonda kye tukulembeza mu bulamu bwaffe. Tewali n’omu asobola kutuggyako enkolagana ennungi gye tulina ne Yakuwa awamu n’obulamu obutaggwaawo, ekirabo Katonda ky’agenda okuwa abo abalina enkolagana ennungi naye. Yesu agamba nti: “Eby’obugagga byo gye biba n’omutima gwo gye gubeera.”​—Matayo 6:19-21.

Ng’akkaatiriza ensonga eyo, Yesu awa ekyokulabirako kino: “Ettaala y’omubiri lye liiso. Eriiso lyo bwe liba litunula wamu, omubiri gwo gwonna guba mutangaavu; naye eriiso lyo bwe liba ery’obuggya, omubiri gwo gwonna guba kizikiza.” (Matayo 6:22, 23) Eriiso lyaffe bwe liba nga liraba bulungi, liba ng’ettaala eri omubiri gwaffe. Naye ekyo okusobola okubaawo, eriiso lyaffe tulina okuba nga tulikuumidde ku kintu kimu kubanga bwe tutakola bwe tutyo tuyinza okusalawo mu ngeri eteri ntuufu. Bwe twemalira ku kunoonya eby’obugagga mu kifo ky’okwemalira ku kuweereza Katonda, ‘omubiri gwaffe gwonna guba kizikiza,’ oboolyawo nga twegomba okukola ebintu ebibi.

Oluvannyuma Yesu awa ekyokulabirako kino: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; akyawako omu n’ayagala omulala, oba anywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kubeera baddu ba Katonda na ba Byabugagga.”​—Matayo 6:24.

Abamu ku abo abawuliriza Yesu bayinza okuba nga beebuuza ndowooza ki gye basaanidde okuba nayo ku byetaago byabwe eby’omubiri. Bw’atyo, Yesu abagamba nti bwe kiba nti okuweereza Katonda kye bakulembeza mu bulamu bwabwe, tebasaanidde kweraliikirira. Abagamba nti: “Mwetegereze ebinyonyi by’omu bbanga. Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero; naye Kitammwe ali mu ggulu abiriisa.”​—Matayo 6:26.

Ate era Yesu ayogera ne ku malanga agali ku lusozi awo. Agamba nti “ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’erimu ku go.” Ekyo kiraga ki? “Bwe kiba nti bw’atyo Katonda bw’ayambaza omuddo ogw’oku ttale, ogubeerawo leero ate enkya ne gusuulibwa mu kikoomi, taasinge kwambaza mmwe?” (Matayo 6:29, 30) Yesu agamba abantu nti: “Temweraliikiriranga ne mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’ . . . Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu ebyo byonna mubyetaaga. Kale musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebyo ebirala byonna biribongerwako.”​—Matayo 6:31-33.

ENGERI Y’OKUFUNAMU OBULAMU

Abatume n’abantu abalala abeesimbu baagala okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda, naye embeera gye balimu ekifuula kizibu gye bali okukikola. Ng’ekyokulabirako, Abafalisaayo bangi bavumirira abalala era basalira abalala omusango mu ngeri eteri ntuufu. Bw’atyo, Yesu agamba abo abamuwuliriza nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe baleme kubasalira musango; kubanga nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa.”​—Matayo 7:1, 2.

Kya kabi nnyo okugoberera Abafalisaayo buli kiseera ababa banoonya ensobi mu balala. Eyo ye nsonga lwaki Yesu agamba nti: “Muzibe asobola okukulembera muzibe munne? Bombi tebaagwe mu kinnya?” Kati olwo abo abawuliriza Yesu basaanidde kutwala batya abalala? Tebasaanidde kuba awo nga buli kiseera banoonya ensobi mu balala, kubanga ekyo kya kabi nnyo. Yesu agamba nti: “Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasubi ku liiso lyo,’ ate nga ggwe tolaba kisiki ekiri ku liiso lyo? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggye ekisiki ekiri ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi bw’onoggya akasubi ku liiso lya muganda wo.”​—Lukka 6:39-42.

Naye ekyo tekitegeeza nti abayigirizwa ba Yesu tebalina kubaako kye basalawo. Yesu abagamba nti: “Temuwanga mbwa kintu kitukuvu, wadde okusuulira embizzi luulu zammwe.” (Matayo 7:6) Amazima agali mu Kigambo kya Katonda ga muwendo nnyo nga luulu. Singa omuntu yeeyisa ng’ensolo, nga talaga kusiima kwonna eri amazima ago, abayigirizwa ba Yesu basaanidde okumuleka ne banoonya omulala agaagala.

Yesu addamu okwogera ku kusaba n’alaga nti kikulu nnyo obutakoowa. Agamba nti: “Musabenga, muliweebwa.” Yesu era akiraga nti Katonda mwetegefu okuddamu essaala. Agamba nti: “Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng’amusabye omugaati? . . . N’olwekyo, oba nga mmwe ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebintu ebirungi abo abamusaba!”​—Matayo 7:7-11.

Oluvannyuma Yesu ayogera ku ngeri y’okuyisaamu abalala. Agamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.” Ffenna tusaanidde okukolera ku bigambo bya Yesu ebyo nga tukolagana n’abalala. Kyokka, ekyo oluusi kiyinza obutaba kyangu, era nga Yesu bw’akiraga. Agamba nti: “Muyingire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, era bangi abaliyitamu; naye omulyango oguyingira mu bulamu mufunda n’ekkubo erituukayo lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.”​—Matayo 7:12-14.

Waliwo abantu abayinza okwagala okukyamya abayigirizwa ba Yesu okuva ku kkubo erituuka mu bulamu, bwe kityo Yesu agamba nti: “Mwekuume bannabbi ab’obulimba abajjira mu byambalo by’endiga, naye nga munda gye misege egikavvula.” (Matayo 7:15) Yesu agamba nti emiti emirungi n’emiti emibi gitegeererwa ku bibala byagyo. Bwe kityo bwe kiri n’eri abantu. Tusobola okutegeera bannabbi ab’obulimba okusinziira ku njigiriza zaabwe n’ebikolwa byabwe. Yesu akiraga nti omuntu okubeera omuyigirizwa we tekisinziira ku ebyo by’ayogera byokka wabula kisinziira ne ku ebyo by’akola. Abantu abamu bagamba nti Yesu Mukama waabwe, naye watya singa baba tebakola Katonda by’ayagala? Yesu agamba nti: “Ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abakola eby’obujeemu!’”​—Matayo 7:23.

Yesu akomekkereza okuyigiriza kwe ng’agamba nti: “Buli muntu awulira ebigambo byange era n’abikolerako, aliba ng’omusajja ow’amagezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi. Enkuba n’etonnya, amataba ne gajja, embuyaga n’ekuntira ku nnyumba eyo, naye n’etagwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.” (Matayo 7:24, 25) Lwaki ennyumba eyo teyagwa? Kubanga nnyini yo yasima “wansi ennyo, n’atuuka ku lwazi n’azimba okwo omusingi.” (Lukka 6:48) N’olwekyo, tekimala kuwulira buwulizi bigambo bya Yesu. Tulina okufuba ‘okubikolerako.’

Ate omuntu “awulira ebigambo” bya Yesu “n’atabikolerako”? Omuntu oyo afaanana “ng’omusajja omusirusiru, eyazimba ennyumba ye ku musenyu.” (Matayo 7:26) Enkuba, amataba, n’embuyaga bisuula ennyumba eyo.

Ekibiina ky’abantu kiwuniikirira nnyo olw’engeri Yesu gy’ayigirizaamu. Yesu ayigiriza ng’omuntu alina obuyinza, so si ng’abakulembeze b’eddiini. Oboolyawo bangi ku abo abamuwuliriza bafuuka abayigirizwa be.