Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 4

Yesu ng’Azzeeyo e Buyudaaya

“Musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi.”​—Lukka 10:2

Yesu ng’Azzeeyo e Buyudaaya

MU KITUNDU KINO

ESSUULA 66

Mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira

Lwaki abamu abawuliriza Yesu balowooza nti aliko dayimooni?

ESSUULA 67

“Tewali Muntu Eyali Ayogedde bw’Atyo”

Okutwalira awamu abo bonna abali ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya baziyiza Yesu, naye omu ku bo amuwolereza.

ESSUULA 68

Omwana wa Katonda Kye “Kitangaala ky’Ensi”

Yesu yagamba nti “amazima gajja kubafuula ba ddembe.” Mu ngeri ki?

ESSUULA 69

Kitaabwe y’Ani—Ibulayimu oba Omulyolyomi?

Yesu alaga engeri y’okutegeeramu bazzukulu ba Ibulayimu, era alaga Kitaawe y’ani.

ESSUULA 70

Yesu Azibula Amaaso g’Omusajja Eyazaalibwa nga Muzibe

Abayigirizwa babuuza Yesu lwaki omusajja oyo muzibe wa maaso. Ye yayonoona oba bazadde be be baayonoona? Yesu bw’awonya omusajja oyo abantu baba n’endowooza za njawulo.

ESSUULA 71

Abafalisaayo Batiisatiisa Omusajja Eyali Omuzibe w’Amaaso

Ebyo omusajja eyazibulwa amaaso by’ayogera binyiiza nnyo Abafalisaayo. Abafalisaayo bamugoba mu kkuŋŋaaniro.

ESSUULA 72

Yesu Atuma Abayigirizwa 70 Okugenda Okubuulira

Mu Buyudaaya, Yesu atuma abayigirizwa 70 n’abagamba okubuulira ku Bwakabaka. Abayigirizwa babuulira wa—mu makuŋŋaaniro oba mu maka g’abantu?

ESSUULA 73

Omusamaliya Akiraga nti Muliraanwa owa Nnamaddala

Yesu akozesa atya olugero ‘lw’Omusamaliya omulungi’ okuyigiriza ekintu ekikulu ennyo?

ESSUULA 74

Ayigiriza Ebikwata ku Kusembeza Abagenyi n’Okusaba

Yesu akyalirako Maliyamu ne Maliza ewaabwe. Kiki ky’abayigiriza ku kusembeza abagenyi? Era oluvannyuma ayigiriza atya abayigirizwa be engeri y’okusabamu?

ESSUULA 75

Yesu Alaga Ekyo Ekireeta Essanyu Erya Nnamaddala

Yesu addamu abamuwakanya ng’ababuulira ku “ngalo ya Katonda” ne ku ngeri Obwakabaka bwa Katonda gye bubasubyemu. Era alaga engeri abantu gye basobola okufuna essanyu erya nnamaddala.

ESSUULA 76

Yesu Alya n’Omufalisaayo

Yesu ayanika obunnanfuusi bw’Abafalisaayo n’abawandiisi. Migugu ki emizito abantu gye bakakibwa okwetikka?

ESSUULA 77

Yesu Alabula ku by’Obugagga

Yesu agera olugero olukwata ku musajja eyazimba amawanika amanene. Kulabula ki kw’addamu okuwa okukwata ku kunoonya eby’obugagga?

ESSUULA 78

Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa

Yesu akiraga nti afaayo ku mbeera y’abayigirizwa be ey’eby’omwoyo. Omuwanika yandibayambye atya mu by’omwoyo? Lwaki kikulu nnyo okuba abeetegefu?

ESSUULA 79

Ensonga Lwaki Boolekedde Okuzikirizibwa

Yesu agamba nti singa abo abamuwuliriza tebeenenya boolekedde okuzikirizibwa. Banaaganyulwa mu kulabula Yesu kw’awa kibayambe okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda?

ESSUULA 80

Omusumba Omulungi n’Ebisibo

Enkolagana eba wakati w’omusumba n’endiga eraga engeri Yesu gy’atwalamu abayigirizwa be. Banaawulira eddoboozi lye ne bamugoberera?

ESSUULA 81

Yesu ne Kitaawe Bali Omu, Naye Yesu Si Katonda

Abamu ku abo abawakanya Yesu bagamba nti Yesu yeefuula okuba eyenkanankana ne Katonda. Yesu akiraga nti ebyo bye boogera bikyamu?