Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 115

Yesu Anaatera Okukwata Okuyitako Okusembayo

Yesu Anaatera Okukwata Okuyitako Okusembayo

MATAYO 26:1-5, 14-19 MAKKO 14:1, 2, 10-16 LUKKA 22:1-13

  • YUDA ISUKALYOTI ASASULWA OKULYAMU YESU OLUKWE

  • ABATUME BABIRI BATEEKATEEKA EMBAGA EY’OKUYITAKO

Yesu amaze okuyigiriza abatume abana ku Lusozi olw’Emizeyituuni, ng’addamu ekibuuzo kyabwe ekikwata ku kubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka ey’ebintu.

Ng’olunaku lwa Nisaani 11 lubaddemu eby’okukola bingi! Oboolyawo bwe baba baddayo e Bessaniya, Yesu agamba abatume be nti: “Mukimanyi nti ebulayo ennaku bbiri Embaga ey’Okuyitako etuuke, era Omwana w’omuntu agenda kuweebwayo akomererwe ku muti.”​—Matayo 26:2.

Kirabika olunaku oluddako, Olwokusatu, Yesu alumala ng’ali n’abatume be bokka. Ku Lwokubiri, yanenyezza abakulembeze b’eddiini mu lujjudde era baagala kumutta. Bwe kityo, yeewala okweraga eri abantu ku lunaku lwa Nisaani 12 nga tayagala kintu kyonna kumulemesa kukwata mbaga ey’Okuyitako ng’ali wamu n’abatume be enkeera oluvannyuma lw’enjuba okugwa, ng’olunaku lwa Nisaani 14 lwakatandika.

Kyokka bo bakabona abakulu n’abakadde tebateredde. Bakuŋŋaanira mu luggya lwa kabona asinga obukulu, Kayaafa. Lwaki? Banyiivu nnyo olw’okuba Yesu abaddenga ayanika obunnanfuusi bwabwe. Kati beekobaana ‘okukwata Yesu mu lukujjukujju.’ Naye ekyo banaakikola batya era ddi? Bagamba nti: “Tetumukwata ku lunaku lwa mbaga kubanga abantu bayinza okwegugunga.” (Matayo 26:4, 5) Batya okumukwata ku olwo kubanga abantu bangi baagala nnyo Yesu.

Abakulembeze b’eddiini bwe baba bakyali awo, wabaawo omuntu ajja gye bali. Beewuunya nnyo okulaba ng’omuntu oyo y’omu ku batume ba Yesu, Yuda Isukalyoti. Sitaani amutaddemu ekirowoozo eky’okulya mu Mukama we olukwe! Yuda ababuuza nti: “Munampa ki mmuweeyo gye muli?” (Matayo 26:15) Nga basanyufu nnyo, “bakkiriza okumuwa ssente eza ffeeza.” (Lukka 22:5) Ssente mmeka? Basalawo okumuwa ebitundu bya ffeeza 30. Kikulu okukijjukira nti omuddu agulwa sekeri 30. (Okuva 21:32) Bwe kityo, abakulembeze b’eddiini bakiraga nti Yesu bamutwala okuba nga wa muwendo mutono nnyo. Kati Yuda atandika “okunoonya engeri y’okumulyamu olukwe ng’ekibiina ky’abantu tekiriiwo.”​—Lukka 22:6.

Olunaku lwa Nisaani 13 lutandika ku Lwokusatu ng’enjuba emaze okugwa, era luno lwe lunaku olw’omukaaga era olusembayo Yesu okusula mu Bessaniya. Ku lunaku oluddako, enteekateeka zonna ez’okukwata embaga ey’Okuyitako zirina okuggwa. Endiga erina okufunibwa esobole okuttibwa era eyokebwe nga nnamba ku ntandikwa y’olunaku lwa Nisaani 14. Yesu n’abatume be banaakwatira wa embaga eyo era ani anaagiteekateeka? Ebintu ebyo Yesu tannabyogerako. Bwe kityo, Yuda tabimanyi era tasobola kubibuulira bakabona abakulu.

Oboolyawo ku Lwokuna olweggulo, Yesu atuma Peetero ne Yokaana okuva e Bessaniya, ng’abagamba nti: “Mugende mututegekere Embaga ey’Okuyitako, tugirye.” Bamubuuza nti: “Oyagala tugitegekere wa?” Yesu abagamba nti: “Bwe munaayingira mu kibuga, mujja kusisinkana omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi. Mumugoberere, muyingire mu nnyumba gy’anaayingiramu. Mugambe nnannyini nnyumba nti, ‘Omuyigiriza akugambye nti: “Ekisenge ky’abagenyi mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange kiri ludda wa?”’ Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke. Eyo gye muba mututegekera.”​—Lukka 22:8-12.

Kya lwatu nti nnannyini nnyumba eyo muyigirizwa wa Yesu. Ayinza okuba ng’abadde asuubira Yesu okumusaba okukwatira embaga eyo mu nnyumba ye. Abatume ababiri bwe batuuka e Yerusaalemi, basanga buli kimu kiri ddala nga Yesu bw’abagambye. Bwe kityo, bakakasa nti endiga etegekebwa era nti n’enteekateeka endala zonna ezeetaagisa zikolebwa, kisobozese bonna 13, Yesu n’abatume be 12, okukwata embaga ey’Okuyitako.