Yobu 26:1-14

  • Yobu addamu (1-14)

    • “Ng’oyambye oyo atalina maanyi!” (1-4)

    • ‘Katonda awanika ensi awatali kigiwanirira’ (7)

    • ‘Ebyo bitono nnyo ku ebyo Katonda by’akola’ (14)

26  Awo Yobu n’addamu nti:   “Ng’oyambye oyo atalina maanyi! Ng’olokodde omukono ogutalina maanyi!+   Amagezi g’owadde oyo atalina magezi nga mangi nnyo,+Ng’omanyisizza amagezi go!   Ani gw’ogezaako okwogera naye,Era ani eyakuleetedde okwogera ebigambo ng’ebyo?*   Abaafa bakankana;Bali wansi n’okusinga amazzi n’ebyo ebigalimu.   Emagombe* teri kikwekeddwa Katonda,+Era alaba byonna ebiri mu kifo eky’okuzikiririramu.   Abamba eggulu ery’ebukiikakkono* mu bbanga ejjereere.+ Era awanika ensi awatali kigiwanirira.   Asiba amazzi mu bire bye,+Ebire ne bitaabika olw’obuzito;   Asiikiriza entebe ye ey’obwakabaka,Ng’agibikkako ekire kye.+ 10  Ateeka ensalo ku mazzi;+Ateekawo ensalo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza. 11  Empagi z’eggulu zeenyeenya;Bw’akangula ku ddoboozi zikankana. 12  Afuukuula ennyanja ng’akozesa amaanyi ge,+Era ng’akozesa okutegeera kwe, amenyaamenya ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja.*+ 13  Omukka gw’assa gwerula eggulu;Engalo ze zifumita omusota omuzibu okukwata. 14  Naye ebyo bitono nnyo ku ebyo by’akola;Bye tumuwulirako bye bitono ddala.+ Kale ani ayinza okutegeera engeri gy’aleeteramu eggulu okubwatuka n’amaanyi?”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Era mukka (mwoyo) gw’ani ogukuvuddemu?”
Laba Awanny.
Obut., “obukiikakkono.”
Obut., “Lakabu.”