Yobu 38:1-41
38 Awo Yakuwa n’ayanukula Yobu ng’asinziira mu mbuyaga:+
2 “Ani oyo aziyiza okubuulirira kwangeEra ayogeza obutamanya?+
3 Weeteeketeeke ng’omusajjaNkubuuze ebibuuzo onziremu.
4 Wali ludda wa nga nzisaawo emisingi gy’ensi?+
Mbuulira, bw’oba olowooza nti otegeera.
5 Ani yasalawo ebipimo byayo, bw’oba omanyi,Era ani yagireegako omuguwa okugipima?
6 Emisingi gyayo gyateekebwa ku ki,Era ani yasimba ejjinja lyayo ery’oku nsonda,+
7 Emmunyeenye ez’oku makya+ bwe zaayogerera waggulu n’essanyu,Abaana ba Katonda*+ bonna ne baleekaana olw’essanyu?
8 Ani yaggalira ennyanja+Bwe yawaguza n’eva mu lubuto,
9 Bwe nnagyambaza ebireEra ne ngizinga mu kizikiza ekikutte,
10 Bwe nnagiteerawo w’erina okukomaNe ngiteekako enzigi n’ebisiba,+
11 Ne ngigamba nti, ‘Okomanga wano, era tosukkangawo;Wano amayengo go ag’amalala we ganaakomanga’?+
12 Wali owaddeko amakya ebiragiroOba n’omanyisa emmambya ekifo kyayo,+
13 Ggwe wagamba ekitangaala eky’oku makya kibune mu buli kanyomero k’ensiKigobeyo ababi?+
14 Ensi ekyuka ng’ebbumba eriri wansi w’akabonero,N’ebintu ebigiriko biringa ekyambalo ekitoneddwatoneddwa.
15 Naye ababi baggibwako ekitangaala kyabwe,N’omukono gwabwe oguwanikiddwa gumenyebwa.
16 Wali ogenze ebuziba awasibuka ensulo z’ennyanja,Oba wali olambuddeko obuziba bw’ennyanja?+
17 Wali olagiddwa enzigi z’okufa,+Oba wali olabye enzigi z’ekizikiza ekikutte?*+
18 Omanyi obugazi bw’ensi?+
Nziraamu, bw’oba nga bino byonna obimanyi.
19 Ekitangaala kisula wa?+
Era ekizikiza kibeera wa,
20 Obitwale mu kifo kyabyoEra otegeere amakubo agagenda gye bibeera?
21 Kino okimanyi olw’okuba wali wazaalibwa ddaEra ng’owangadde emyaka mingi?*
22 Wali oyingiddeko mu materekero g’omuzira,+Oba wali olabye ku materekero g’omuzira,+
23 Bye nnaterekera ebiseera eby’okulabiramu ennaku,N’olunaku olw’olutalo?+
24 Ekitangaala* kiva wa okusaasaana,Era embuyaga ez’ebuvanjuba ziva wa okukunta ku nsi?+
25 Ani yassaawo emikutu amataba mwe gayitaEra eyakola ekkubo ly’enkuba erimu okubwatuka,+
26 Esobole okutonnya abantu gye batabeera,Mu ddungu eteri bantu,+
27 Efukirire ensi eyayonoonebwaEra emeze omuddo?+
28 Enkuba erina kitaawe waayo,+Era ani yazaala amatondo g’omusulo?+
29 Omuzira gwava mu lubuto lw’ani,Era ani yazaala omuzira oguva mu ggulu+
30 Amazzi ne gaba ng’agabikkiddwako ejjinja,Ne kungulu ku nnyanja ne kukwata?+
31 Osobola okusiba emiguwa gy’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kima,Oba okusumulula emiguwa gy’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kesiri?+
32 Osobola okufulumya ekibinja ky’emmunyeenye mu kiseera kyakyo?
Oba okuluŋŋamya ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Asi n’abaana baakyo?
33 Omanyi amateeka agafuga eggulu,+Oyinza okugakozesa ku nsi?
34 Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebireAmazzi amangi ennyo ne gakuyiikako?+
35 Oyinza okusindika ebimyanso?
Binajja ne bikugamba nti, ‘Tuutuno!’
36 Ani yateeka mu bire* amagezi,+Era ani yawa ebbanga okutegeera?+
37 Ani ow’amagezi asobola okubala ebire,Oba ani asobola okuttulula ensumbi z’amazzi ez’omu ggulu+
38 Enfuufu n’efuuka ebisootoN’ettaka ne lyekwata?
39 Osobola okuyiggira empologoma eky’okulyaOba okukkusa empologoma envubuka+
40 Bwe zibwama mu bisulo byazoOba bwe ziteegera gye zibeera?
41 Ani ateekerateekera nnamuŋŋoona emmere+Abaana be bwe bakaabira Katonda abayambeEra ne babundabunda olw’okubulwa eky’okulya?

