Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abafu Basobola Okuyamba Abalamu?

Abafu Basobola Okuyamba Abalamu?

Abafu Basobola Okuyamba Abalamu?

OMUVUBUKA ayitibwa Tamba, abeera mu Afirika ow’Ebugwanjuba bwe yali anaatera okukola ebibuuzo, maama we yamugamba nti yali yeetaaga obuyambi bw’ab’eŋŋanda ze abaafa okusobola okuyita obulungi. * Abalambuzi bangi bagenda mu kifo ekimu ekiri mu kibuga Palermo eky’omu Sicily, okulaba ebikumi n’ebikumi by’emirambo egyakazibwa egiriyo. Abamu balowooza nti abafu abo basobola okuwa abantu abalamu obukuumi. Buli mwaka, abantu bagenda mu kibuga Lily Dale ekiri mu bugwanjuba bw’Essaza lya New York, mu Amerika, ekimanyiddwa nti kirimu abasamize bangi. Abo abagendayo, baba basuubira okwogera era n’okufuna obuyambi okuva eri ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe abaafa.

Okwetooloola ensi yonna, bangi balowooza nti abafu basobola okuyamba abalamu. Ggwe olowooza otya? Oyinza okuba nga wayigirizibwa bw’otyo oba ng’obeera n’abantu abalina endowooza ng’eyo. Kya mu butonde okuba nga twagala nnyo okuddamu okubeera awamu n’abaagalwa baffe abaafa. Abasamize basuubiza abantu nti basobola okubayamba okuddamu okuwuliziganya n’abaagalwa baabwe abaafa. Magazini eyitibwa Time eyogera ku musamize omu eyagamba nti ‘emyoyo gy’abafu gisobola okuyamba omuntu yenna ayagala obuyambi.’ Ekyo kituufu? Ddala abafu basobola okuyamba abalamu? Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno kiyinza okukwewuunyisa.

Abafu Baliko Gye Bali nga Balamu?

Baibuli etuyamba okutegeera obulungi embeera abafu gye balimu. Weetegereze Omubuulizi 9:5 bwe wagamba: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” Abafu basobola okwoleka enneewulira yaabwe? Olunyiriri 6 lugamba nti: “Okwagala kwabwe kwenkana n’okukyawa n’obuggya bwabwe okuzikirira kaakano: so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba.” Era weetegereze nti olunyiriri 10 mu ssuula y’emu lugamba nti “tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” Ekigambo ‘Amagombe’ ekyakozesebwa mu lunyiriri luno kyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya “Sheol. Ate era, ekigambo ky’Oluyonaani “Hades” ekirina amakulu ge gamu kikozesebwa mu Byawandiikibwa okutulaga Yesu gye yali okumala akaseera ng’amaze okuttibwa.​—Ebikolwa 2:31.

Yesu yayamba abantu bangi ng’akyali mulamu, naye era yali akimanyi nti ekiseera kyandituuse n’afa. Ddala yali asuubira nti yandibadde asobola okuyamba abantu ng’ali emagombe? Nedda. Yageraageranya okufa kwe ku budde obw’ekiro mw’atandisoboledde kukolera mirimu. (Yokaana 9:4) Yesu yali akimanyi nti abantu bwe bafa, baba ‘tebalina kye basobola kukola.’​—Isaaya 26:14.

Yesu era yageraageranya okufa ku kintu ekirala. Mukwano gwe Lazaalo bwe yafa, Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka. (Yokaana 11:11-13) Ddala tuyinza okusuubira omuntu eyeebase okutuyamba? N’akatono. Omuntu bw’aba yeebase aba tasobola kuyamba muntu mulala.

Waliwo Ekiwonawo ng’Omuntu Afudde?

Bangi bayigiriziddwa nti waliwo ekintu ekitalabika ekiwonawo ng’omuntu afudde. Naye Baibuli si bw’etyo bw’eyigiriza. Zabbuli 146:4 lugamba nti omuntu bw’afa “omukka gwe gumuvaamu n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” Omukka oba amaanyi ag’obulamu bwe gava mu muntu ebirowoozo bye bikoma awo; era tebirina walala wonna we bigenda. Omuntu n’ensolo byombi birina omukka oba amaanyi ag’obulamu. (Omubuulizi 3:19-21) Bwe kityo, Baibuli etukakasa nti tewali kintu kyonna ku muntu ekisigala nga kiramu bw’aba ng’amaze okufa.

Kyokka, abamu bayinza okubuuza nti, ‘Ate ebyo ebyogerwa nti waliwo abantu aboogera n’abafu, abawulira amaloboozi gaabwe, oba ababalaba?’ Ebintu ng’ebyo bitera okwogerwa mu bitundu bingi eby’ensi. Ebyo ebyogerwa biwa abantu abaafiirwako ab’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe essuubi, era biviirako bangi okunoonya abasamize abagamba nti basobola okubayamba okuwuliziganya n’abafu.

Ddala ebyo ebyogerwa bituufu? Bwe biba nga bituufu, biba tebikontana n’Ebyawandiikibwa bye tumaze okwetegereza? Kristo Yesu yagamba nti Ekigambo kya Katonda ge mazima. (Yokaana 17:17) Amazima tegakubagana mpawa. Mu butuufu, Baibuli etulaga bulungi engeri gye tusaanidde okutwalamu ebyo abantu bye boogera nti abafu basobola okuyamba abalamu. Etutegeeza ku muntu eyagezaako okufuna obuyambi okuva eri omufu. Okwekenneenya ebyaliwo kijja kutuyamba okumanya ekituufu.

Kabaka Asaba Obuyambi Okuva eri Omufu

Waali wabaluseewo olutalo mu mambuka ga Isiraeri. Kabaka Sawulo n’amagye ge baali balumbiddwa eggye ly’Abafirisuuti eryali ery’entiisa. Sawulo bwe yalaba eggye ly’Abafirisuuti ‘yatya nnyo.’ Mu kiseera ekyo, Sawulo yali avudde ku kusinza okw’amazima. N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yali takyasobola kumwanukula. Sawulo yandifunye wa obuyambi? Ne nnabbi wa Katonda Samwiri yali yafa dda.​—1 Samwiri 28:3, 5, 6.

Sawulo yagenda ew’omusamize ow’e Endoli. Yeegayirira omusamize ‘amuyimusize Samwiri’ okuva mu bafu. Omusamize alina omwoyo ogutalabika gwe yayita. “Samwiri” ono omusamize gwe yayita yagamba Sawulo nti Abafirisuuti bandimuwangudde era nti Sawulo ne batabani be bandifiiridde mu lutalo. (1 Samwiri 28:7-19) Ddala oyo omusamize gwe yayita ye yali Samwiri yennyini eyafa?

Baibuli egamba nti omuntu bw’afa, ‘addayo mu ttaka lye’ era nti “ebirowoozo bye bibula.” (Zabbuli 146:4) Sawulo ne Samwiri baali bakimanyi nti Katonda yali tayagala bantu be kukolagana na basamize. Era emabegako Sawulo ye yali awomye omutwe mu kumalawo abasamize abaali mu ggwanga lya Isiraeri.​—Eby’Abaleevi 19:31.

Lowooza ku kino. Singa Samwiri omwesigwa yaliko waali nga mulamu, yandibadde amenya etteeka lya Katonda n’akolagana n’omusamize okusobola okwogera ne Sawulo? Yakuwa yali agaanye okwogera ne Sawulo. Omusamize yandisobodde okuwaliriza Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna okwogera ne Sawulo ng’ayitira mu Samwiri eyali afudde? Nedda. Kya lwatu, “Samwiri” oyo si ye yali nnabbi wa Katonda omwesigwa. Ogwo gwali omwoyo omubi, kwe kugamba dayimooni eyali yeefudde Samwiri eyafa.

Badayimooni be bamalayika abaajeemera Katonda ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu. (Olubereberye 6:1-4; Yuda 6) Badayimooni bano basobola okwetegereza omuntu ng’akyali mulamu; bamanyi buli omu bwe yali ayogera, bwe yali afaanana, n’engeri gye yeeyisangamu ng’akyali mulamu. Baagala nnyo okutumbula endowooza egamba nti Baibuli by’eyigiriza si bituufu. Eno ye nsonga lwaki Baibuli etulabula obutaba na nkolagana yonna na myoyo mibi. (Ekyamateeka 18:10-12) Ne leero emyoyo gino emibi weegiri.

Kati tutegeera ensonga lwaki bangi bagamba nti “bawulira” oba “balaba” abaagalwa baabwe abaafa. Wadde ng’oluusi emyoyo egyo emibi giyinza okulabika ng’emirungi, ekigendererwa kyagyo kwe kulimbalimba abantu. * (Abeefeso 6:12) Era lowooza ne ku kino: Yakuwa ye Katonda ow’okwagala era atufaako. Bwe kiba nti abafu waliwo gye bali nga balamu era nga basobola okuyamba mikwano gyabwe n’ab’omu maka gaabwe, Omutonzi waffe ow’okwagala yanditugaanye okukolagana nabo era n’akiyita “eky’omuzizo”? Nedda. (1 Peetero 5:7) Kati olwo, waliwo gwe tusobola okwesiga okutuwa obuyambi?

Obuyambi Obwa Nnamaddala eri Abalamu n’Abafu

Okusinziira ku ebyo bye tulabye tukitegedde nti abafu tebasobola kuyamba balamu. Ate era, okufuba okunoonya obuyambi okuva eri abafu kya bulabe nnyo gye tuli okuva bwe kiri nti tuba tumenya etteeka lya Katonda era kituleetera okuba wansi w’obuyinza bwa badayimooni.

Baibuli etulaga nti Omutonzi waffe, Yakuwa, ye yekka asobola okutuwa obuyambi obusingayo obulungi. Asobola okutununula okuva mu kufa. (Zabbuli 33:19, 20) Leero, mwetegefu okutuyamba. Obutafaananako eby’obulimba abasamize bye basuubiza, Yakuwa atuwa essuubi ekkakafu.

Tamba eyayogeddwako ku ntandikwa, yalaba enjawulo eriwo wakati w’obulimba bw’abasamize n’amazima Yakuwa g’atuwa. Abasamize baagamba nti singa tawaayo ssaddaaka eri bajjajjaabe abaafa, yali tajja kuyita bibuuzo. Tamba yali atandise okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Yali ayize embeera abafu gye balimu era ng’ategedde nti emyoyo emibi gye gyefuula okuba bajjajja abaafa. Wadde nga maama we yamupikiriza nnyo okufuna obuyambi okuva eri omusamize, Tamba yagaana era nnamugamba nti, “Bwe siiyite bibuuzo, omwaka ogujja nja kufuba okukola obulungi.”

Kiki ekyavaamu? Ye yasinga okukola obulungi ebibuuzo! Kino kyewuunyisa nnyo maama we, n’alekera awo okukkiririza mu basamize, era teyaddamu kwogera ku ssaddaaka ezo. Tamba yayiga nti Yakuwa atukubiriza okwewala ‘okubuuza abafu ebikwata ku balamu.’ (Isaaya 8:19) Okuyiga Baibuli kwayamba Tamba okuba omukakafu nti okusanyukira amateeka ga Katonda, kisobola okumuyamba okutuuka ku buwanguzi.​—Zabbuli 1:1-3.

Ate kiri kitya eri abaagalwa baffe abaafa? Baliddamu okuba abalamu nate? Ng’oggyeko okuba nti Yakuwa atuyamba ffe abalamu, asuubizza okuyamba n’abo abali mu ntaana. Ng’amaze okunnyonnyola nti abafu tebasobola kutuyamba, weetegereze nnabbi Isaaya ky’agamba mu Isaaya essuula 26, olunyiriri 19: “Abafu bo baliba balamu. . . . Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu!” Obunnabbi bweyongera ne bugamba nti ‘abafu abatalina kye basobola kukola’ baliddamu okuba abalamu.

Kirowoozeeko! Ng’obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abeebase mu ntaana bazzeemu okuba abalamu! Mu butuufu, Baibuli ekiraga bulungi nti Yakuwa ‘yeegomba’ okuzuukiza abafu. (Yobu 14:14, 15) Ebisuubizo nga bino birabika ng’ebitasobola kutuukirizibwa? Yesu Kristo yali mukakafu ku ssuubi lino ne kiba nti yatuuka n’okugamba nti abafu Yakuwa abatwala nga balamu mu maaso ge.​—Lukka 20:37, 38.

Wandyagadde okuba n’essuubi lino? * Weeyongere okufuna okumanya okutuufu okuli mu Baibuli. Bw’oneeyongera okuyiga Baibuli, ojja kukitegeera nti Yakuwa asobola okuyamba abalamu n’abafu era nti ebisuubizo bye bya “bwesige era bya mazima.”​—Kubikkulirwa 21:4, 5.

[Obugambo obuli wansi]

^ Erinnya likyusiddwa.

^ Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba brocuwa erina omutwe ogugamba nti Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri? eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ Okumanya ebisingawo ku kisuubizo kya Baibuli eky’okuzuukira, laba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? essuula 7 akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 21]

Kya mu butonde okuba nga twagala nnyo okuddamu okubeera awamu n’abaagalwa baffe abaafa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Ddala nnabbi Samwiri yakomawo okuva mu bafu era n’ayogera ne Kabaka Sawulo?